-
Ekyamateeka 7:15Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
15 Yakuwa alikuggyako endwadde zonna; era endwadde zonna embi ennyo ez’e Misiri+ z’omanyi talizikuleetako, naye alizireeta ku abo bonna abatakwagala.
-
-
Okubikkulirwa 22:1, 2Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
22 Awo n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu,+ agatangaala ng’endabirwamu, nga gava mu ntebe ya Katonda ey’obwakabaka n’ey’Omwana gw’Endiga+ 2 ne gukulukutira mu makkati g’oluguudo olugazi. Eruuyi n’eruuyi w’omugga waaliyo emiti egy’obulamu egibala ebibala 12 buli mwaka, nga gibala buli mwezi. Era ebikoola by’emiti byali bya kuwonya mawanga.+
-