LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Isaaya 60
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Ekitiibwa kya Yakuwa kyakira Sayuuni (1-22)

        • Ng’amayiba agakomawo mu biyumba byago (8)

        • Zzaabu mu kifo ky’ekikomo (17)

        • Omutono alifuuka lukumi (22)

Isaaya 60:1

Marginal References

  • +Is 51:17; 52:1
  • +Is 60:19, 20

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 19-21

    10/1/1993, lup. 4-6

Isaaya 60:2

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 19-21

    3/1/2001, lup. 20

    1/1/2000, lup. 23-24

    10/1/1993, lup. 4-6

Isaaya 60:3

Marginal References

  • +Is 11:10
  • +Is 49:23
  • +Kub 21:23, 24

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 19-21

    1/1/2000, lup. 23-24

    10/1/1993, lup. 4-6

    5/1/1992, lup. 18

    9/1/1992, lup. 20

Isaaya 60:4

Marginal References

  • +Is 49:17, 18; 54:1
  • +Is 49:21, 22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 21

    1/1/2000, lup. 24

    5/1/1992, lup. 18

Isaaya 60:5

Marginal References

  • +Yer 33:9
  • +Is 61:6; Kag 2:7, 8

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 21

Isaaya 60:6

Marginal References

  • +1By 1:32, 33
  • +Mal 1:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 21

Isaaya 60:7

Marginal References

  • +Is 42:11
  • +Lub 25:13
  • +Kuv 29:39, 42; Is 56:6, 7
  • +Kag 2:9

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 21-22

Isaaya 60:8

Footnotes

  • *

    Oba, “mu bituli ebiri mu biyumba by’ebinyonyi?”

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 22

    1/1/2000, lup. 26

Isaaya 60:9

Footnotes

  • *

    Oba, “alikulungiya.”

Marginal References

  • +Is 51:5
  • +Is 60:4; 66:20
  • +Zb 149:4; Is 52:1; 55:5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 22

    1/1/2000, lup. 26

Isaaya 60:10

Marginal References

  • +Ezr 7:27; Nek 2:7, 8; Is 49:23
  • +Ma 30:3; Zb 30:5; Is 54:7; 57:17, 18

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 22-24

    1/1/2000, lup. 26

    5/1/1992, lup. 18-19

Isaaya 60:11

Marginal References

  • +Kub 21:25, 26
  • +Is 60:3, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 22-24

    1/1/2000, lup. 26

Isaaya 60:12

Marginal References

  • +Is 41:11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 24

Isaaya 60:13

Marginal References

  • +Is 35:1, 2
  • +Is 41:19; 55:13
  • +Zb 132:7

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 7-9

    7/1/2002, lup. 24

Isaaya 60:14

Marginal References

  • +Is 62:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    1/1/2000, lup. 31

Isaaya 60:15

Marginal References

  • +2By 36:20, 21; Is 49:14; Yer 30:17; Kuk 1:4
  • +Is 35:10; 61:7; Yer 33:10, 11

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 24

    1/1/2000, lup. 31

Isaaya 60:16

Marginal References

  • +Is 61:6
  • +Is 49:23
  • +Is 49:26

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    9/2021, lup. 17-18

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 24-26

    1/1/2000, lup. 31

Isaaya 60:17

Marginal References

  • +Is 1:26; 32:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/15/2015, lup. 9-11

    3/1/2006, lup. 18-20

    7/1/2002, lup. 26-27

    6/1/2001, lup. 28-29

    2/1/2001, lup. 14, 29

    3/1/1990, lup. 8-9

Isaaya 60:18

Marginal References

  • +Is 2:4; 11:9; 54:14; Zek 9:8
  • +Is 26:1

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 27

Isaaya 60:19

Marginal References

  • +Zb 36:9; Is 60:1; Kub 21:23; 22:5
  • +Zek 2:4, 5

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 27

Isaaya 60:20

Marginal References

  • +Zb 27:1; 84:11
  • +Is 25:8; 30:19; 35:10

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 27

Isaaya 60:21

Marginal References

  • +Is 43:6, 7
  • +Is 44:23

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    7/1/2002, lup. 27-29

    1/1/2000, lup. 32

Isaaya 60:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi (Ogw’Okusoma),

    8/2016, lup. 20

    6/2016, lup. 23

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/15/2014, lup. 28

    7/1/2002, lup. 29

    1/1/2000, lup. 32

    6/1/1995, lup. 10

General

Is. 60:1Is 51:17; 52:1
Is. 60:1Is 60:19, 20
Is. 60:3Is 11:10
Is. 60:3Is 49:23
Is. 60:3Kub 21:23, 24
Is. 60:4Is 49:17, 18; 54:1
Is. 60:4Is 49:21, 22
Is. 60:5Yer 33:9
Is. 60:5Is 61:6; Kag 2:7, 8
Is. 60:61By 1:32, 33
Is. 60:6Mal 1:11
Is. 60:7Is 42:11
Is. 60:7Lub 25:13
Is. 60:7Kuv 29:39, 42; Is 56:6, 7
Is. 60:7Kag 2:9
Is. 60:9Is 51:5
Is. 60:9Is 60:4; 66:20
Is. 60:9Zb 149:4; Is 52:1; 55:5
Is. 60:10Ezr 7:27; Nek 2:7, 8; Is 49:23
Is. 60:10Ma 30:3; Zb 30:5; Is 54:7; 57:17, 18
Is. 60:11Kub 21:25, 26
Is. 60:11Is 60:3, 5
Is. 60:12Is 41:11
Is. 60:13Is 35:1, 2
Is. 60:13Is 41:19; 55:13
Is. 60:13Zb 132:7
Is. 60:14Is 62:12
Is. 60:152By 36:20, 21; Is 49:14; Yer 30:17; Kuk 1:4
Is. 60:15Is 35:10; 61:7; Yer 33:10, 11
Is. 60:16Is 61:6
Is. 60:16Is 49:23
Is. 60:16Is 49:26
Is. 60:17Is 1:26; 32:1
Is. 60:18Is 2:4; 11:9; 54:14; Zek 9:8
Is. 60:18Is 26:1
Is. 60:19Zb 36:9; Is 60:1; Kub 21:23; 22:5
Is. 60:19Zek 2:4, 5
Is. 60:20Zb 27:1; 84:11
Is. 60:20Is 25:8; 30:19; 35:10
Is. 60:21Is 43:6, 7
Is. 60:21Is 44:23
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Isaaya 60:1-22

Isaaya

60 “Yimuka ggwe omukazi,+ yaka, kubanga ekitangaala kyo kituuse.

Ekitiibwa kya Yakuwa kikwakaayakanirako.+

 2 Laba! ekizikiza kiribikka ensi,

Era ekizikiza ekikutte kiribikka amawanga;

Naye ggwe Yakuwa alikwakaayakanirako,

Era ekitiibwa kye kirirabibwa ku ggwe.

 3 Amawanga galijja eri ekitangaala kyo+

Ne bakabaka+ balijja eri ekitiibwa kyo ekyakaayakana.+

 4 Yimusa amaaso go otunule eno n’eri olabe!

Bonna bakuŋŋaanyiziddwa; bajja gy’oli.

Batabani bo bajja gy’oli nga bava wala,+

Era ne bawala bo nga basituliddwa.+

 5 Mu kiseera ekyo oliraba n’osanyuka,+

Era omutima gwo gulijaganya era gulijjula essanyu,

Kubanga eby’obugagga eby’omu nnyanja birireetebwa gy’oli;

Eby’obugagga by’amawanga birijja gy’oli.+

 6 Eŋŋamira ennyingi zirijjula mu nsi yo,

Eŋŋamira ento ennume ez’e Midiyaani n’ez’e Efa.+

Abantu b’e Seba bonna balijja;

Balireeta zzaabu n’obubaani obweru.

Balirangirira ettendo lya Yakuwa.+

 7 Ebisibo bya Kedali+ byonna birikuŋŋaanyizibwa gy’oli.

Endiga za Nebayoosi+ ennume zirikuweereza.

Zirijja ku kyoto kyange ne nzikkiriza,+

Era ndirungiya ennyumba yange ey’ekitiibwa.+

 8 Baani abo abaseeyeeya mu bbanga ng’ebire,

Era ababuuka ng’amayiba agakomawo mu biyumba byago?*

 9 Ebizinga biriteeka essuubi lyabyo mu nze;+

Ebyombo by’e Talusiisi bye bikulembeddemu,

Nga bireeta abaana bo okuva ewala.+

Balijja nga beetisse ffeeza waabwe ne zzaabu,

Okutendereza erinnya lya Yakuwa Katonda wo era Omutukuvu wa Isirayiri,

Kubanga alikugulumiza.*+

10 Abagwira balizimba bbugwe wo,

Era bakabaka baabwe balikuweereza,+

Kubanga nnakubonereza nga ndiko obusungu,

Naye ndikulaga ekisa ne nkusaasira.+

11 Enzigi zo ziriba nzigule ekiseera kyonna;+

Teziriggalwa emisana n’ekiro,

Eby’obugagga by’amawanga bisobole okuleetebwa gy’oli,

Era bakabaka baago be balikulemberamu.+

12 Eggwanga n’obwakabaka ebitalikuweereza birisaanawo,

Era amawanga galisaanyizibwawo.+

13 Ekitiibwa kya Lebanooni kirijja gy’oli,+

Omuti gw’omuberosi, ogw’omutidali, awamu n’ogw’omuteyasi,+

Okulungiya ekifo kyange ekitukuvu;

Ndigulumiza ekifo ky’ebigere byange.+

14 Abaana b’oyo eyakubonyaabonyanga balijja ne bavunnama mu maaso go;

Abo bonna abakujooga balivunnama ku bigere byo,

Balikuyita ekibuga kya Yakuwa,

Sayuuni w’Omutukuvu wa Isirayiri.+

15 Mu kifo ky’okuba eyalekebwawo era eyakyayibwa, nga tewali akuyitamu,+

Ndikufuula ensibuko y’okwenyumiriza okw’olubeerera,

Ekintu ekireeta essanyu mu buli mulembe.+

16 Era olinywa amata g’amawanga,+

Oliyonka amabeere ga bakabaka;+

Olimanya nti nze Yakuwa nze Mulokozi wo,

Era nti Katonda ow’Amaanyi owa Yakobo ye Mununuzi wo.+

17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zzaabu,

Mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza,

Mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,

Mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma;

Era ndissaawo emirembe okuba abalabirizi bo

N’obutuukirivu okuba abo abakukozesa emirimu.+

18 Ebikolwa eby’obukambwe tebiriddamu kuwulirwa mu nsi yo,

N’okuzikiriza n’okwonoona tebiriddamu kuwulirwa mu nsalo zo.+

Era bbugwe wo olimuyita Bulokozi,+ n’enzigi zo oliziyita Kutendereza.

19 Enjuba terikwakira nate emisana,

N’omwezi tegulikuwa kitangaala,

Kubanga Yakuwa y’alibeera ekitangaala eky’olubeerera gy’oli,+

Era Katonda wo alibeera bulungi bwo.+

20 Enjuba yo teriddamu kugwa,

N’omwezi gwo tegulivaawo,

Kubanga Yakuwa y’alibeera ekitangaala eky’olubeerera gy’oli,+

Era ennaku z’okukungubaga kwo ziriba zikomye.+

21 Abantu bo bonna baliba batuukirivu;

Ensi eno eriba yaabwe emirembe n’emirembe.

Abo ze ndokwa ze nnasimba,

Gwe mulimu gw’emikono gyange,+ nsobole okulungiyizibwa.+

22 Omutono alifuuka lukumi,

Era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi.

Nze Yakuwa ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.”

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share