Isaaya
60 “Yimuka ggwe omukazi,+ yaka, kubanga ekitangaala kyo kituuse.
Ekitiibwa kya Yakuwa kikwakaayakanirako.+
2 Laba! ekizikiza kiribikka ensi,
Era ekizikiza ekikutte kiribikka amawanga;
Naye ggwe Yakuwa alikwakaayakanirako,
Era ekitiibwa kye kirirabibwa ku ggwe.
4 Yimusa amaaso go otunule eno n’eri olabe!
Bonna bakuŋŋaanyiziddwa; bajja gy’oli.
5 Mu kiseera ekyo oliraba n’osanyuka,+
Era omutima gwo gulijaganya era gulijjula essanyu,
Kubanga eby’obugagga eby’omu nnyanja birireetebwa gy’oli;
Eby’obugagga by’amawanga birijja gy’oli.+
Abantu b’e Seba bonna balijja;
Balireeta zzaabu n’obubaani obweru.
Balirangirira ettendo lya Yakuwa.+
7 Ebisibo bya Kedali+ byonna birikuŋŋaanyizibwa gy’oli.
Endiga za Nebayoosi+ ennume zirikuweereza.
9 Ebizinga biriteeka essuubi lyabyo mu nze;+
Ebyombo by’e Talusiisi bye bikulembeddemu,
Nga bireeta abaana bo okuva ewala.+
Balijja nga beetisse ffeeza waabwe ne zzaabu,
Okutendereza erinnya lya Yakuwa Katonda wo era Omutukuvu wa Isirayiri,
10 Abagwira balizimba bbugwe wo,
Era bakabaka baabwe balikuweereza,+
Kubanga nnakubonereza nga ndiko obusungu,
Naye ndikulaga ekisa ne nkusaasira.+
11 Enzigi zo ziriba nzigule ekiseera kyonna;+
Teziriggalwa emisana n’ekiro,
Eby’obugagga by’amawanga bisobole okuleetebwa gy’oli,
Era bakabaka baago be balikulemberamu.+
13 Ekitiibwa kya Lebanooni kirijja gy’oli,+
Omuti gw’omuberosi, ogw’omutidali, awamu n’ogw’omuteyasi,+
Okulungiya ekifo kyange ekitukuvu;
Ndigulumiza ekifo ky’ebigere byange.+
14 Abaana b’oyo eyakubonyaabonyanga balijja ne bavunnama mu maaso go;
Abo bonna abakujooga balivunnama ku bigere byo,
Balikuyita ekibuga kya Yakuwa,
Sayuuni w’Omutukuvu wa Isirayiri.+
15 Mu kifo ky’okuba eyalekebwawo era eyakyayibwa, nga tewali akuyitamu,+
Ndikufuula ensibuko y’okwenyumiriza okw’olubeerera,
Ekintu ekireeta essanyu mu buli mulembe.+
16 Era olinywa amata g’amawanga,+
Oliyonka amabeere ga bakabaka;+
Olimanya nti nze Yakuwa nze Mulokozi wo,
Era nti Katonda ow’Amaanyi owa Yakobo ye Mununuzi wo.+
17 Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zzaabu,
Mu kifo ky’ekyuma ndireeta ffeeza,
Mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,
Mu kifo ky’amayinja ndireeta kyuma;
Era ndissaawo emirembe okuba abalabirizi bo
N’obutuukirivu okuba abo abakukozesa emirimu.+
18 Ebikolwa eby’obukambwe tebiriddamu kuwulirwa mu nsi yo,
N’okuzikiriza n’okwonoona tebiriddamu kuwulirwa mu nsalo zo.+
Era bbugwe wo olimuyita Bulokozi,+ n’enzigi zo oliziyita Kutendereza.
19 Enjuba terikwakira nate emisana,
N’omwezi tegulikuwa kitangaala,
Kubanga Yakuwa y’alibeera ekitangaala eky’olubeerera gy’oli,+
Era Katonda wo alibeera bulungi bwo.+
20 Enjuba yo teriddamu kugwa,
N’omwezi gwo tegulivaawo,
Kubanga Yakuwa y’alibeera ekitangaala eky’olubeerera gy’oli,+
Era ennaku z’okukungubaga kwo ziriba zikomye.+
21 Abantu bo bonna baliba batuukirivu;
Ensi eno eriba yaabwe emirembe n’emirembe.
22 Omutono alifuuka lukumi,
Era oyo anyoomebwa alifuuka ggwanga ery’amaanyi.
Nze Yakuwa ndikyanguyaako mu kiseera kyakyo.”