Zabbuli 113:1
Research Guide
Omunaala gw’Omukuumi,
8/1/1993, lup. 3-4
Zabbuli 113:2
Research Guide
Omunaala gw’Omukuumi,
8/1/1993, lup. 3-4
Zabbuli 113:4
Research Guide
Omunaala gw’Omukuumi,
8/1/1993, lup. 4
Zabbuli 113:8
Research Guide
Omunaala gw’Omukuumi,
8/1/1993, lup. 4
Zabbuli 113:9
Research Guide
Omunaala gw’Omukuumi,
8/1/1993, lup. 4
113 Mutendereze Ya!
Mmwe abaweereza ba Yakuwa mumutendereze,
Mutendereze erinnya lya Yakuwa.
2 Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe
Okuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.+
3 Erinnya lya Yakuwa litenderezebwe+
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba.
4 Yakuwa ali waggulu okusinga amawanga gonna;+
Ekitiibwa kye kiri waggulu okusinga eggulu.+
5 Ani alinga Yakuwa Katonda waffe,+
Abeera waggulu?
6 Akutama n’atunuulira eggulu n’ensi,+
7 N’ayimusa omunaku okumuggya mu nfuufu.
Ayimusa omwavu n’amuggya mu ntuumu y’evvu,+
8 Okumutuuza n’ab’ebitiibwa,
N’ab’ebitiibwa mu bantu be.
9 Awa omukazi omugumba amaka,
N’afuna abaana n’aba musanyufu.+
Mutendereze Ya!