LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 10/1 lup. 3
  • Omuntu Afuba Okunoonya Obulamu Obutaggwaawo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omuntu Afuba Okunoonya Obulamu Obutaggwaawo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Similar Material
  • Okunoonya Obuwangaazi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 10/1 lup. 3

Omuntu Afuba Okunoonya Obulamu Obutaggwaawo

OKUVA edda n’edda, abantu babadde n’essuubi ery’okuba abalamu emirembe gyonna. Kyokka essuubi eryo terinnatuukirira​—tewali n’omu eyali azudde engeri y’okuggyawo okufa. Kyokka, gye buvuddeko awo, abanoonyereza mu by’ekisawo bazzeemu okuba n’essuubi nti kisoboka okwongera ku myaka omuntu gy’amala nga mulamu. Weetegereze okunoonyereza kuno okukoleddwa mu bya sayansi ku nsonga eno.

Bannasayansi banoonyereza ku ngeri gye bayinza okuleetera obutoffaali bw’omubiri okweyongera okwezza obuggya awatali kulekera awo. Bannasayansi bakimanyi nti obutoffaali obuba bukaddiye buggyibwawo era obulala obuppya ne budda mu kifo kyabwo. Mu butuufu, ekitundu ekisinga obunene eky’omubiri kizibwa buggya emirundi mingi ng’omuntu akyali mulamu. Abanoonyereza bano bagamba nti singa basobola okwongera mu maaso enkola eno, “omubiri gw’omuntu gujja kusobola okwezza obuggya okumala ekiseera kiwanvu nnyo​—oboolyawo emirembe gyonna.”

Bannasayansi abalala bagamba nti okuyitira mu nkola ezimu eza sayansi, bayinza okukolera abalwadde ebibumba, ensigo n’emitima ebippya ebifaananira ddala n’ebyo bye baalina. Bagamba nti ebitundu by’omubiri ebyo biyinza okukolebwa nga bakozesa obutoffaali bw’omulwadde bwennyini.

Ate abanoonyereza abalala bagamba nti ekiseera kijja kutuuka abasawo bavumbule obuntu ebwenkanankana n’obutoffaali bwe basobola okuteeka mu musaayi gw’omuntu ne bunoonyamu era ne buzikiriza obutoffaali obuviirako omuntu okufuna kookolo awamu n’obuwuka obulala obw’akabi. Abamu balowooza nti sayansi n’okunoonyereza okw’ekika ng’ekyo bijja kusobozesa omubiri gw’omuntu okwezza obuggya emirembe gyonna.

Ate waliwo abateeka emirambo mu firiiji okuginnyogoza. Ekigendererwa mu kino, kwe kugitereka nga tegivunda okutuusa abasawo lwe balivumbula eddagala erisobola okuwonya obulwadde, okukomya okukaddiwa, era n’okuzzaawo obulamu bw’abantu abo. Magazini emu eyitibwa American Journal of Geriatric Psychiatry egamba nti, enkola eno “efaanana n’eyo eyali mu Musiri ey’edda ey’okuteeka eddagala mu mirambo gy’abantu abafudde ne batavunda.”

Eky’okuba nti abantu bafuba okunoonya engeri y’okubeerawo emirembe gyonna, kiraga nti tebaagala kufa. Naye ddala kisoboka abantu okubeerawo emirembe gyonna? Kiki Baibuli ky’eyogera ku nsonga eno? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share