Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna
ABASINGA obungi abali mu madiini g’ensi basuubira okufuna obulamu obutaggwaawo mu ngeri emu oba endala. Kalonda akwata ku nsonga eyo ayinza okwawukana mu buli ddiini, naye okutwalira awamu basuubira ekintu kye kimu—okubeera abasanyufu mu mbeera ennungi ennyo nga tebeeraliikirira kufa. Ekyo naawe si ky’oyagala? Enzikiriza ng’ezo ziyinza kunnyonnyolwa zitya? Ddala abantu balisobola okuba abalamu emirembe gyonna?
Ebyawandiikibwa biraga nti, Omutonzi bwe yatonda abantu ababiri abaasooka yabateekamu okwegomba okubeera abalamu emirembe gyonna. Baibuli egamba: “[Katonda] yateeka ensi [emirembe egitaggwaawo] mu mutima gwabwe.”—Omubuulizi 3: 11.
Kyokka, okusobola okubeerawo emirembe gyonna, abantu ababiri abaasooka baalina okukikkiriza nti Katonda y’alina okubasalirawo ekituufu n’ekikyamu. Singa ekyo baakikkiriza, Yakuwa yandirabye nti basaanira okuba abalamu ‘emirembe gyonna’ mu maka ge yali abategekedde, mu lusuku Adeni.—Olubereberye 2:8; 3:22.
Bafiirwa Obulamu Obutaggwaawo
Baibuli eraga nti Katonda yasimba mu lusuku “omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi,” era n’agaana Adamu ne Kaawa okulya ku muti ogwo, kubanga bwe bandiguliddeko bandifudde. (Olubereberye 2:9, 17) Singa Adamu ne Kaawa tebalya ku muti ogwo, kyandiraze nti bakkiriza obuyinza bwa Katonda. Kyokka, bwe bandiridde ku muti, kyandiraze nti bagaanyi obuyinza Bwe. Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa era ne beegatta ku Setaani, ekitonde eky’omwoyo ekyali kijeemedde Katonda. N’ekyavaamu, Katonda yasalawo nti Adamu ne Kaawa baali tebasaanira kubeerawo mirembe gyonna.—Olubereberye 3:1-6.
Katonda yali abateereddewo obulamu n’okufa. Bwe bandijeemye bandifudde, bandibadde tebaliiwo. Kyali tekisoboka Adamu ne Kaawa oba ezzadde lyabwe okweyongera okuba abalamu nga beeyambisa eddagala ery’ekika ekimu oba nga wabaawo ekintu ekibavaamu ne kiwonawo ku kufa.a
Bazzukulu ba Adamu bonna baabonaabona olw’obujeemu bwe. Ebyavaamu omutume Pawulo yabyogerako bw’ati. Yagamba: “Ku bw’omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.”—Abaruumi 5:12.
Baddamu Okufuna Obulamu Obutaggwaawo
Omutume Pawulo yageraageranya embeera y’ezzadde lya Adamu ku mbeera y’omuddu ow’omu kyasa ekyasooka. Olw’ekibi ekisikire, abaana ba Adamu ne Kaawa bazaalibwa nga “baddu ba kibi,” era nga balina okufa. (Abaruumi 5:12; 6:16, 17) Tebandisobodde kusumattuka kufa singa Yakuwa teyakola nteekateeka okusobola okununula abaddu ng’abo. Pawulo yannyonnyola: “Kale bwe kityo ng’olw’okwonoona kw’omu [Adamu] omusango bwe gwasinga abantu bonna, bwe kityo n’olw’obutuukirivu bw’omu ekirabo kyali ku bantu bonna okuweesa obutuukirivu bw’obulamu.” ‘Ekikolwa ekyo eky’obutuukirivu’ kyaviirako Yesu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde ‘ng’ekinunulo ekyenkanankana ku lwa bonna.’ Yakuwa yasalawo okukozesa enteekateeka y’ekinunulo okununula abantu okuva ku ‘musango ogwabasinga.’—Abaruumi 5:16, 18, 19; 1 Timoseewo 2:5, 6.
Eyo ye nsonga lwaki bannasayansi tebasobola kuzuula kisobozesa muntu kuba mulamu mirembe gyonna nga beekenneenya ebiwandiiko by’ensikirano. Ekisobozesa omuntu okuba omulamu emirembe gyonna kisangibwa walala. Okusinziira ku Baibuli, ekiviirako omuntu okufa kikwataganyizibwa na mitindo gya mpisa n’obwenkanya so si na biwandiiko bya nsikirano. Ekisobozesa omuntu okuddamu okufuna obulamu obutaggwaawo, kwe kugamba, ekinunulo kya Yesu, kikwataganyizibwa na nsonga ya bwenkanya. Era ekinunulo kyoleka obutuukirivu n’ekisa kya Katonda eky’ensusso. Kati olwo, ani anaaganyulwa mu kinunulo n’afuna obulamu obutaggwaawo?
Ekirabo ky’Obutafa
Yakuwa Katonda abaawo ‘mirembe na mirembe.’ Tafa. (Zabbuli 90:2) Omuntu Yakuwa gwe yasooka okuwa ekirabo eky’obutafa ye Yesu Kristo. Omutume Pawulo annyonnyola: “Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okufa tekukyamufuga.” (Abaruumi 6:9) Ng’ageraageranya Yesu ku bafuzi b’ensi, Pawulo agamba nti ye yekka atafa. Yesu ajja kuba ‘mulamu emirembe gyonna.’ Alina obulamu “obutakutuka [obutayinza kuzikirizibwa.]”—Abaebbulaniya 7:15-17, 23-25; 1 Timoseewo 6:15, 16.
Yesu si ye yekka ow’okufuna ekirabo ekyo. Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaalondebwa okufuga nga bakabaka mu ggulu bazuukizibwa mu ngeri y’emu nga Yesu. (Abaruumi 6:5) Omutume Yokaana alaga nti ekirabo ekyo kiweebwa abantu 144,000. (Okubikkulirwa 14:1) Nabo bafuna obutafa. Ku bikwata ku kuzuukira kwabwe, Pawulo agamba: “Omubiri n’omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda . . . Akagombe . . . kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n’ogufa guno okwambala obutafa.” Abazuukizibwa mu ngeri eyo okufa tekubalinako buyinza.—1 Abakkolinso 15:50-53; Okubikkulirwa 20:6.
Okubikkulirwa kuno okuva eri Katonda kwewuunyisa nnyo. Wadde bamalayika bitonde bya mwoyo, tebaatondebwa nga tebalina kufa. Ekyo kiri kityo kubanga ebitonde eby’omwoyo ebyegatta ku Setaani okujeemera Katonda bijja kuzikirizibwa. (Matayo 25:41) Ku luuyi olulala, abanaafugira awamu ne Yesu bafuna ekirabo eky’obutafa, ekikakasa nti Yakuwa abalinamu obwesige olw’obwesigwa bwabwe.
Ekyo kitegeeza nti abantu 144,000, abatono ennyo bw’obageraageranya n’obuwumbi bw’abantu abaali babaddewo, be bokka abajja okufuna obulamu obutaggwaawo? Nedda. Ka tulabe lwaki.
Obulamu Obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi
Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku kibiina ekinene eky’abantu abatayinza kubalibwa, abaweebwa obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi. Mu bo mulimu abaafa kyokka abazuukizibwa ne baddamu okuba abalamu obulungi. (Okubikkulirwa 7:9; 20:12, 13; 21:3, 4) Batwalibwa eri “omugga ogw’amazzi ag’obulamu, ogumasamasa ng’endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda.” Ku mbalama yaagwo waliwo ‘emiti egy’obulamu era amalagala gaagyo gawonya amawanga.’ Yakuwa Katonda agamba nti: “Alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.”—Okubikkulirwa 22:1, 2, 17.
Emiti egyo n’amazzi, si ddagala erisobozesa omuntu okuba omulamu oba okuba omuvubuka emirembe gyonna mu ngeri ey’ekyamagero, ng’eryo bannasayansi n’abavumbuzi ab’omu byasa eby’edda lye baanoonyanga. Wabula, bikiikirira enteekateeka za Katonda okuyitira mu Yesu Kristo ezinaasobozesa abantu okuddamu okubeera abatuukiridde nga bwe kyali olubereberye.
Ekigendererwa kya Katonda eky’okuwa abantu abawulize obulamu obutaggwaawo ku nsi tekikyukanga. Ekigendererwa ekyo kijja kutuukirizibwa kubanga Yakuwa mwesigwa. Zabbuli 37:29 lugamba: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” Awamu n’abo abaaweebwa obulamu obw’obutafa mu ggulu, ekisuubizo ekyo kitukubiriza okugamba: “Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w’ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe Kabaka ow’emirembe n’emirembe. Ani atalitya, Mukama, n’ataliwa kitiibwa erinnya lyo? [K]ubanga ggwe wekka ggwe mutukuvu.”—Okubikkulirwa 15:3, 4.
Oyagala ekirabo eky’omuwendo eky’obulamu obutaggwaawo? Bwe kiba bwe kityo, olina okubeera omwesigwa era omuwulize eri “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” Olina okuyiga ku Yakuwa ne Yesu Kristo, Katonda mw’ayitira okutuwa obulamu obwo. Abo bonna abeetegefu okukkiriza emitindo gya Yakuwa egy’ekituufu n’ekikyamu bajja kuweebwa ekirabo ‘ky’obulamu obutaggwaawo.’—Yokaana 17:3.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku ekyo ekibaawo oluvannyuma lw’okufa, osabibwa okulaba akatabo, Kiki Ekitutuukako Bwe Tufa? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.