Bamalayika—Engeri Ebyo Bye Bakola Gye Bikwata ku Bantu
“Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi . . . N’ayogera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene.”—OKUBIKKULIRWA 18:1, 2.
1, 2. Kiki ekiraga nti Yakuwa akozesa bamalayika okutuukiriza ekigendererwa kye?
NG’ALI mu buwaŋŋanguse ku kizinga ky’e Patumo, omutume Yokaana eyali akaddiye, yafuna okwolesebwa okw’obunnabbi. Bwe yali mu “lunaku lwa Mukama waffe” ‘nga aluŋŋamiziddwa omwoyo,’ yalaba ebintu ebiwuniikiriza. Olunaku olwo lwatandika mu 1914 Yesu Kristo lwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka, era lukyagenda mu maaso okutuukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi.—Okubikkulirwa 1:10.
2 Okubikkulirwa kuno Yakuwa Katonda teyakuwa Yokaana butereevu. Alina omukutu gwe yakozesa. Okubikkulirwa 1:1 lugamba: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu: n’abuulirira mu malayika we ng’amutuma eri omuddu we Yokaana.” Yakuwa, ng’ayitira mu Yesu, yakozesa malayika okumanyisa Yokaana ebintu ebikulu ebikwata ku “lunaku lwa Mukama.” Waliwo Yokaana lwe yatuuka ‘n’alaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi.’ Mulimu ki malayika ono gwe yali aweereddwa? ‘Yayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, n’agamba nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene.’ (Okubikkulirwa 18:1, 2) Malayika ono ow’amaanyi yaweebwa enkizo ey’okulangirira okuggwa kwa Babulooni Ekinene, amadiini gonna ag’obulimba mu nsi. N’olwekyo, tewali kubuusabuusa nti Yakuwa akozesa bamalayika mu ngeri ey’ekitalo okutuukiriza ekigendererwa kye. Nga tetunnaba kwekenneenya mulimu bamalayika gwe bakola mu kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda era n’engeri bye bakola gye bitukwatako, ka tusooke twetegereze engeri ebitonde bino eby’omwoyo gye byajja okubaawo.
Bamalayika Bajjawo Batya?
3. Ndowooza ki enkyamu abantu bangi gye balina ku bamalayika?
3 Obukadde n’obukadde bw’abantu leero bakkiriza nti eriyo bamalayika. Naye bangi balina endowooza enkyamu ku bamalayika n’engeri gye bajja okubaawo. Ng’ekyokulabirako, mu madiini agamu abantu balowooza nti omuntu bw’afa, Katonda aba amututte kufuuka malayika. Naye ddala bwe kityo Ekigambo kya Katonda bwe kiyigiriza ku kutondebwa kwa bamalayika, ne bye bakola?
4. Kiki Ebyawandiikibwa kye byogera ku nsibuko ya bamalayika?
4 Malayika asingirayo ddala okuba n’obuyinza n’amaanyi, ng’ono y’akulira bamalayika, ayitibwa Mikaeri malayika omukulu. (Yuda 9) Ono ye Yesu Kristo. (1 Abasessaloniika 4:16) Edda ennyo, Yakuwa bwe yasalawo okutonda, ekitonde kye yasookera ddala okutonda yali malayika ono Omwana we. (Okubikkulirwa 3:14) Oluvannyuma, ng’ayitira mu Mwana we ono omubereberye, Yakuwa yatonda ebitonde ebirala byonna eby’omwoyo. (Abakkolosaayi 1:15-17) Ng’ayogera ku bamalayika ng’abaana be, Yakuwa yabuuza Yobu omusajja ow’edda nti: “Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy’ensi? Yatula oba olina okutegeera. . . . Ani yassaawo ejjinja lyayo ekkulu ery’okunsonda; emmunyeenye ez’enkya bwe zaayimbira awamu, n’abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw’essanyu?” (Yobu 38:4, 6, 7) Kyeyoleka bulungi nti bamalayika baatondebwa Katonda, era baatondebwa dda nnyo ng’abantu tebannabeerawo.
5. Bamalayika balimu ebiti bimeka era bye biruwa?
5 Abakkolinso ekisooka 14:33 lugamba nti “Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe.” N’olwekyo, Yakuwa yateeka abaana be ab’omwoyo mu biti ebikulu bisatu: (1) basseraafi, abaweereza Katonda ku ntebe ye ey’Obwakabaka, balangirira obutukuvu bwe, era ne bakuuma abantu be nga bayonjo mu by’omwoyo; (2) bakerubi, abalwanirira obufuzi bwa Yakuwa; ne (3) bamalayika abalala abakola emirimu egitali gimu. (Zabbuli 103:20; Isaaya 6:1-3; Ezeekyeri 10:3-5; Danyeri 7:10) Mu ngeri ki ebyo bamalayika bye bakola gye bikwata ku bantu?—Okubikkulirwa 5:11.
Bamalayika Bakola Mulimu Ki?
6. Yakuwa yakozesa atya bakerubi mu lusuku Adeni?
6 Mu Olubereberye 3:24, ebitonde eby’omwoyo we bisooka okwogerwako obutereevu. Wagamba nti: “[Yakuwa] n’agoba omuntu; n’azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n’ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery’omuti ogw’obulamu.” Bakerubi abo baaziyiza Adamu ne Kaawa okuddayo mu lusuku gye baali babeera okusooka. Ekyo kyaliwo ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu. Bamalayika babadde bakola ki okuva olwo?
7. Amakulu g’ekigambo “malayika” mu Lwebbulaniya n’Oluyonaani galaga ki ku gumu ku mirimu bamalayika gye bakola?
7 Bamalayika boogerwako emirundi nga 400 mu Baibuli. Mu Lwebbulaniya ne mu Luyonaani ekigambo “malayika,” kitegeeza “omubaka.” Bwe kityo, bamalayika bakola ng’omukutu gw’empuliziganya wakati wa Katonda n’abantu. Nga bwe tulabye mu butundu obubiri obusooka mu kitundu kino, Yakuwa yakozesa malayika okutuusa obubaka bwe ku mutume Yokaana.
8, 9. (a) Okukyala kwa malayika kwaganyula kutya Manowa ne mukyala we? (b) Kiki abazadde kye bayinza okuyigira ku ekyo Manowa kye yakola nga malayika amukyalidde?
8 Katonda era akozesa bamalayika okuzzaamu amaanyi abaweereza be ku nsi. Ng’ekyokulabirako, edda mu Isiraeri mu kiseera kya Abalamuzi, Manowa ne mukyala we eyali omugumba baali baagala nnyo okuzaala omwana. Yakuwa yatuuma malayika we okutegeeza mukyala wa Manowa nti yali ajja kuzaala omwana. Baibuli etugamba nti: “Laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; so akamwano tekayitanga ku mutwe gwe: kubanga aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto: era ye alitanula okulokola Isiraeri mu mukono gw’Abafirisuuti.”—Ekyabalamuzi 13:1-5.
9 Oluvannyuma mukyala wa Manowa yazaala omwana, Samusooni, eyafuuka omwatiikirivu mu byafaayo bya Baibuli. (Ekyabalamuzi 13:24) Ng’omwana tannazaalibwa, Manowa yasaba nti malayika akomewo ababuulire engeri gye basaanidde okukuzaamu omwana. Manowa yabuuza: “Omwana alifaanana atya, n’omulimu gwe (guliba ki)?” Malayika wa Yakuwa yaddamu n’abawa obulagirizi bwe bumu bwe yali awadde mukyala wa Manowa. (Ekyabalamuzi 13:6-14) Nga kino kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo Manowa amaanyi! Bamalayika tebakyakyalira bantu mu ngeri y’emu leero, naye okufaananako Manowa, abazadde bayinza okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa ku ngeri y’okukuzaamu abaana baabwe.—Abaefeso 6:4.
10, 11. (a) Erisa n’omuweereza we baawulira batya bwe baali beetoolooddwa amagye ga Busuuli? (b) Tuyinza kuganyulwa tutya bwe tufumiitiriza ku bino ebyaliwo?
10 Ebyaliwo mu kiseera kya nnabbi Erisa biraga engeri bamalayika gye bawa obuyambi obw’amaanyi. Erisa yali abeera mu kibuga Dosani, ekya Isiraeri. Lumu omuweereza we bwe yagolokoka n’atunula ebweru, yalaba ekibuga kyonna nga kyetooloddwa amagaali n’embalaasi. Kabaka wa Busuuli yali asindise eggye eddene okukwata Erisa. Omuweereza wa Erisa yawulira atya? Mu kutya ennyo, era nga yenna akankana, yagamba: “Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?” Ku lulwe yawulira nga tebaalina kya kukola. Naye Erisa yamuddamu nti: “Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.” Yali ategeeza ki?—2 Bassekabaka 6:11-16.
11 Erisa yali akimanyi nti waaliwo bamalayika bangi ab’okumuyamba. Kyokka, omuweereza we ye yali tabalaba. Bwe kityo “Erisa n’asaba n’ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge galabe. Awo Mukama n’azibula amaaso g’omulenzi; n’alaba: awo, laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro ageetoolodde Erisa.” (2 Bassekabaka 6:17) Awo omuweereza yasobola okulaba eggye lya bamalayika. Naffe bwe tutegeera obulungi eby’omwoyo, tusobola okumanya nti bamalayika bonna nga bali wansi w’obulagirizi bwa Yakuwa n’obwa Kristo bawagira era bakuuma abantu ba Yakuwa.
Obuyambi bwa Bamalayika mu Kiseera kya Kristo
12. Gabulyeri yazzaamu atya Malyamu amaanyi?
12 Lowooza ku buyambi malayika bwe yawa Malyamu ng’agenda kumutuusaako amawulire agagamba nti: “Oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu.” Malayika oyo Gabulyeri eyali atumiddwa Katonda yamugamba nti: “Totya Malyamu; kubanga olabye ekisa eri Katonda.” (Lukka 1:26, 27, 30, 31) Ebigambo bino ebyalaga Malyamu nti yalina okusiimibwa kwa Katonda, nga birina okuba nga byamuzzaamu nnyo amaanyi!
13. Bamalayika baayamba batya Yesu?
13 Ate olulala bamalayika bazzaamu Yesu amaanyi bwe yali yaakamala okuziyiza Setaani okumukema emirundi esatu mu ddungu. Ebyawandiikibwa bitugamba nti oluvannyuma “Setaani n’amuleka; laba, bamalayika ne bajja, ne bamuweereza.” (Matayo 4:1-11) Ekintu kye kimu kyaliwo mu kiro ekyasembayo Yesu nga tannafa. Mu kunyolwa okungi, Yesu yafukamira n’asaba, nga agamba nti: “Kitange, bw’oyagala, nzi[g]yaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky’oyagala gwe kikolebwe. Malayika n’amulabikira ng’ava mu ggulu [n’amuzzaamu] amaanyi.” (Lukka 22:42, 43) Naye bamalayika batuyamba batya leero?
Obuyambi bwa Bamalayika mu Biseera Byaffe
14. Kuyigganyizibwa ki Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino kwe bayiseemu, era biki ebivuddemu?
14 Ebyafaayo by’omu kiseera kino eby’omulimu gw’okubuulira kw’Abajulirwa ba Yakuwa, tebikakasa nti bamalayika babadde batuyamba? Ng’ekyokulabirako, abantu ba Yakuwa baasobola okugumira okuyigganyizibwa kw’Abanazi mu Bugirimaani ne mu Bulaaya ow’Ebugwanjuba nga Ssematalo II (1939-45) tannatandika era ne bwe yali nga anyinyiitira. Okumala ebbanga erisingawo, baalina okugumira okuyigganyizibwa mu bufuzi bwa bannaakyemalira Abakatoliki mu Italy, Spain, ne mu Portugal. Era okumala emyaka mingi baagumira okuyigganyizibwa mu nsi eyali eyitibwa Soviet Union, ne mu mawanga agaali mu kinywi nayo. Ate era tetulina kubuusa maaso okuyigganyizibwa Abajulirwa ba Yakuwa kwe bayiseemu mu mawanga agamu ag’omu Afirika.a Gye buvuddeko awo, abaweereza ba Yakuwa baayigganyizibwa nnyo mu ggwanga lya Georgia. Setaani akoze buli kisoboka okukomya omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa. Wabula ng’ekibiina, basobodde okuyita mu kuyigganyizibwa ng’okwo era ne bakulaakulana. Ekimu ku bibasobozesezza okutuuka ku kino kwe kuba nti balina obukuumi bwa bamalayika.—Zabbuli 34:7; Danyeri 3:28; 6:22.
15, 16. Bamalayika bayamba batya Abajulirwa ba Yakuwa mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna?
15 Omulimu gwabwe ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu nsi yonna n’okufuula abalala abayigirizwa nga bayigiriza abantu Baibuli buli wantu, Abajulirwa ba Yakuwa bagutwala nga mukulu nnyo. (Matayo 28:19, 20) Kyokka, bakimanyi bulungi nti kino tebasobola kukikola mu maanyi gaabwe awatali buyambi bwa bamalayika. N’olwekyo, ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 14:6, 7 bibazzaamu nnyo amaanyi bulijjo. Wagamba: “[Nze omutume Yokaana] ne ndaba malayika omulala ng’abuuka mu bbanga ery’omu ggulu ng’alina enjiri ey’emirembe n’emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n’ekika n’olulimi n’abantu. Ng’ayogera n’eddoboozi ddene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse: mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.”
16 Ebigambo ebyo biraga bulungi nti omulimu gw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna guwagirwa bamalayika. Yakuwa akozesa bamalayika be okulagirira abantu abaagala okuyiga amazima eri Abajulirwa be. Bamalayika era balagirira Abajulirwa eri abo abagwana. Eno ye nsonga lwaki emirundi mingi Abajulirwa ba Yakuwa basanga abantu mu kiseera kye nnyini we baba beetaagira obuyambi.
Omulimu ogw’Amaanyi Bamalayika gwe Banaatera Okukola
17. Kiki malayika omu yekka kye yakola eggye ly’Abasuuli?
17 Ng’ogyeko okuweereza ng’ababaka n’okuzzaamu abasinza ba Yakuwa amaanyi, bamalayika balina omulimu omulala gwe bakola. Mu biseera eby’edda, bassa mu nkola emisango Katonda gye yali asaze. Ng’ekyokulabirako mu kyasa eky’omunaana B.C.E., Yerusaalemi yatiisibwatiisibwa okulumbibwa eggye eddene erya Bwasuli. Yakuwa yakolawo ki? Yagamba nti: “Ndirwanirira ekibuga kino okukirokola ku bwange nze ne ku bw’omuddu wange Dawudi.” Baibuli etubuulira ekyaliwo: “Awo olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano: abantu bwe bagolokoka enkya mu makya, laba, bonna baali mirambo gya bafu.” (2 Bassekabaka 19:34, 35) Amaanyi malayika omu bw’ati g’alina, gasingira wala nnyo eggye ly’abantu!
18, 19. Mulimu ki ogw’amaanyi bamalayika gwe bajja okukola mu biseera eby’omu maaso, era abantu banaakwatibwako batya?
18 Katonda ajja kukozesa bamalayika okussa mu nkola emisingo gye mu kiseera eky’omu maaso. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kujja “ne bamalayika ab’obuyinza bwe, mu muliro ogwaka.” Bajja ‘kuwalana eggwanga abatamanyi Katonda, n’abo abatagondera njiri ya Mukama waffe Yesu.’ (2 Abasessaloniika 1:7, 8) Kino kijja kukwata ku bantu bonna. Abo abagaana okuwuliriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda agabuulirwa kati mu nsi yonna bajja kuzikirizibwa. Abo bokka abanoonya Yakuwa, obutuukirivu, n’obuwombeefu be bajja ‘okukwekebwa ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa’ era tewali kabi kajja kubatuukako.—Zeffaniya 2:3.
19 Tuli basanyufu nti Yakuwa akozesa bamalayika be ab’amaanyi okuwagira n’okuzzaamu amaanyi abasinza be ku nsi. Naddala kituzzaamu nnyo amaanyi okumanya ebyo bamalayika bye bakola mu kutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa, okuva bwe kiri waliwo bamalayika abaamujeemera era nga kati bafugibwa Setaani. Ekitundu ekinnaddako kijja kwogera ku ekyo Abakristaayo ab’amazima kye basobola okukola okusobola okwekuuma eri Setaani Omulyolyomi ne balubaale.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba akatabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses aka 1983 (Angola), 1972 (Czechoslovakia), 2000 (Czech Republic), 1992 (Ethiopia), 1974 and 1999 (Germany), 1982 (Italy), 1999 (Malawi), 2004 (Moldova), 1996 (Mozambique), 1994 (Poland), 1983 (Portugal), 1978 (Spain), 2002 (Ukraine), ne 2006 (Zambia).
Kiki ky’Oyize?
• Bamalayika bajjawo batya?
• Bamalayika baakozesebwanga batya mu biseera bya Baibuli?
• Okubikkulirwa 14:6, 7 woogera ki ku mulimu bamalayika gwe bakola leero?
• Mulimu ki ogw’amaanyi bamalayika gwe bajja okukola gye bujjako awo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Malayika yazzaamu Manowa ne mukyala we amaanyi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
“Abali naffe bangi okusinga abali nabo”