Olufuluma lw’Abaminsani ba Giriyadi Olwa 124
Abaminsani Balinga Nzige
BULI luvannyuma lwa myezi mukaaga, Essomero lya Giriyadi lifulumya abaminsani era ab’omu maka ga Beseri y’omu Amerika bonna bayitibwa ku programu eyo. Nga Maaki 8, 2008, abagenyi okuva mu nsi ezisukka mu 30 beegatta ku b’omu maka ga Beseri ku lufulumya lw’abayizi b’omugigi ogwa 124 ab’Essomero lya Giriyadi. Bonna 6,411 abaaliwo baasanyukira wamu n’abayizi ku lunaku lwabwe olwo olw’enjawulo.
Stephen Lett ali Kakiiko Akafuzi ye yali ssentebe era yaggulawo programu n’emboozi erina omutwe “Mugende n’Enzige za Yakuwa ez’Akabonero.” Okubikkulirwa 9:1-4 wageraageranya akabinja k’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, nga bano be baddamu okwenyigira mu mulimu gwa Yakuwa mu 1919, ku nzige nga zitandise okukola omulimu gwazo. Abayizi bajjukizibwa nti bo ‘ng’ab’endiga endala’ baali beegasse ku kibinja ekyo eky’enzige ez’akabonero.—Yokaana 10:16.
Lon Schilling, ali ku Kakiiko k’Ettabi ly’Amerika, ye yaddako n’emboozi erina omutwe “Muyambagane.” Emboozi eyo yeesigamizibwa ku kyokulabirako kya Akula ne mukyala we Pulisika, Abakristaayo abaliwo mu kyasa ekyasooka. (Bar. 16:3, 4) Omugigi guno gwalimu abayizi 56, buli omu ne mukazi we. Bajjukizibwa nti okusobola okukola obulungi omulimu gwabwe ogw’obuminsani, balina okukuuma obufumbo bwabwe nga bunywevu. Buli wamu Baibuli w’eyogera ku Akula eyogera ne ku mukazi we Pulisika. N’olwekyo, omutume Pawulo wamu n’ab’omu kibiina baali babatwala nga bali omuntu omu. Mu ngeri y’emu, abaminsani abafumbo leero bwe bakolera awamu, bwe basinziza awamu, era bwe bakwatira wamu ebizibu bye bafuna mu buweereza bwabwe, baba bayambagana.—Lub. 2:18.
Emboozi eyaddako yalina omutwe “Laga nti Osiima Obulungi bwa Yakuwa,” era yaweebwa Guy Pierce ali ku Kakiiko Akafuzi. Ow’oluganda oyo yannyonnyola nti okuba omulungi kisingawo ku kwewala obwewazi okukola ebintu ebibi. Omuntu omulungi akola ebintu ebiganyula abalala. Obulungi bwa Yakuwa bwa kitalo nnyo tebugeraageranyizika. (Zek. 9:16, 17) Obulungi bwa Katonda n’okwagala kwe bitukubiriza okukolera abalala ebirungi. Ow’oluganda Pierce yakomekkereza n’okwebaza abayizi abo ng’agamba nti: “Mubadde mukola ebirungi. Tuli bakakafu nti yonna Yakuwa Katonda gy’anabatuma, mujja kweyongera okulaga nti musiima obulungi bwe nga mukolera abalala ebirungi.”
Michael Burnett, eyaliko omuminsani era nga kati musomesa mu Ssomero lya Giriyadi, yawa emboozi erina omutwe “Mukiteeke Wakati w’Amaaso Gammwe.” Eky’okuba nti Yakuwa yabanunula okuva e Misiri mu ngeri ey’ekyamagero Abaisiraeri baalina okukijjukira, nga balinga abakitadde wakati w’amaaso gaabwe. (Kuv. 13:16) Abayizi baakubirizibwa okujjukira byonna bye bayize mu Ssomero lya Giriyadi nga biringa bye batadde wakati w’amaaso gaabwe. Ow’oluganda Burnett yakiggumiza nti obuwombeefu, obwetoowaze, n’okukolera ku misingi gya Baibuli byetaagisa nnyo mu kugonjoola obutategeeragana bwonna obujjawo wakati waabwe ne baminsani bannaabwe era n’abalala.—Mat. 5:23, 24.
Mark Noumair, aludde ng’asomesa mu Ssomero lya Giriyadi, yawa emboozi, “Luyimba ki Olulibayimbibwako?” Mu biseera eby’edda abantu baayimbanga ne bajaganya ng’eggye lyabwe liwangudde olutalo. Oluyimba olumu olwayimbibwa lwawaana ab’ekika kya Zebbulooni olw’okulaga omwoyo gw’okwefiiriza mu lutalo, ate ne lwatuukiriza ab’ekika kya Lewubeeni, Ddaani, ne Aseri olw’okwesaasira. (Balam. 5:16-18) Okufaananako ebigambo ebiba mu luyimba, ebikolwa bya buli Mukristaayo bituuka ekiseera ne bimanyibwa abalala. Omuntu bw’aba omunyiikivu mu mulimu gwa Katonda era ng’akolera ku bulagirizi obuweebwa mu kibiina kya Yakuwa, aba yeekolera erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa era aba kyakulabirako kirungi eri ab’oluganda. Ab’oluganda abali mu kibiina bwe bawuliriza oluyimba olw’akabonero oluwandiikibwa ebikolwa byaffe, basikirizibwa okukoppa ekyokulabirako ekyo ekirungi.
Ng’oggyeko okutendekebwa mu Ssomero lya Giriyadi, abayizi b’omugigi 124 bonna awamu baamala essaawa nga 3,000 mu mulimu gw’okubuulira. Wansi w’omutwe “Okugoberera Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu,” abayizi bannyonnyola Sam Roberson akola mu Kitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda ebyokulabirako ebirungi bye baali bafunye mu buweereza bw’ennimiro, ng’ebimu babiragira ddala nga bwe byali. Oluvannyuma lw’ebyokulabirako ebyo, Patrick LaFranca ali ku Kakiiko k’Ettabi ly’Amerika yabuuza ebibuuzo abaminsani abaatendekerwa mu Giriyadi, nga kati baweereza mu nsi ezitali zimu. Abayizi abo baasiima nnyo amagezi amalungi agaabaweebwa ab’oluganda abo.
Anthony Morris ali ku Kakiiko Akafuzi yawa emboozi erina omutwe, “Jjukira, Ebintu Ebirabika Biba bya Kaseera Buseera.” Ebyawandiikibwa bitukubiriza okulowooza ku mikisa Yakuwa gy’ajja okutuwa mu biseera by’omu maaso, mu kifo ky’okwerariikirira ebizibu bye bayinza okuba nabyo kati eby’akaseera obuseera. (2 Kol. 4:16-18) Obwavu obw’amaanyi, obutali bwenkanya, okunyigirizibwa, obulwadde wamu n’okufa bye bimu ku bintu bye tulaba leero. Abaminsani bayinza okwolekagana n’ebimu ku bizibu ng’ebyo. Naye okukijjukira nti ebizibu ebyo bya kaseera buseera kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo n’obutaggwamu ssuubi.
Programu yakomekkereza ng’abayizi bonna batuuziddwa ku siteegi bawuliriza ebigambo Ow’oluganda Lett bye yamaliriza nabyo. Yabakubiriza obutalekulira ng’agamba nti: “Tewali kintu kyonna kiyinza kutulemesa bwe tuba n’obuwagizi bwa Yakuwa.” Yakuutira abaminsani abo abapya babe ng’enzige, bagende mu maaso n’okuweereza Yakuwa, babe banyiikivu, beesigwa era babe bawulize emirembe gyonna.
[Akasanduuko akali ku lupapula 30]
EBIKWATA KU BAYIZI
Ensi mwe baava: 7
Ensi mwe basindikiddwa: 16
Abayizi bonna: 56
Buli omu alina emyaka nga: 33.8
Emyaka buli omu gy’amaze mu mazima: 18.2
Emyaka buli omu gy’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna: 13.8
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Abayizi b’Essomero lya Giriyadi ab’Omugigi ogwa 124
Mu lukalala luno wammanga, amannya agali mu layini eziragiddwa gasengekeddwa okuva ku kkono okudda ku ddyo.
(1) Nicholson, T.; Main, H.; Senge, Y.; Snape, L.; Vanegas, C.; Pou, L. (2) Santana, S.; Oh, K.; Lemaitre, C.; Williams, N.; Alexander, L. (3) Woods, B.; Stainton, L.; Huntley, E.; Alvarez, G.; Cruz, J.; Bennett, J. (4) Williamson, A.; González, N.; Zuroski, J.; Degandt, I.; May, J.; Diemmi, C.; Tavener, L. (5) Lemaitre, W.; Harris, A.; Wells, C.; Rodgers, S.; Durrant, M.; Senge, J. (6) Huntley, T.; Vanegas, A.; Pou, A.; Santana, M.; Bennett, V.; Tavener, D.; Oh, M. (7) Zuroski, M.; Rodgers, G.; Diemmi, D.; Nicholson, L.; Alvarez, C.; Snape, J. (8) Harris, M.; González, P.; Main, S.; Woods, S.; Stainton, B.; Williamson, D.; Durrant, J. (9) Cruz, P.; Degandt, B.; Williams, D.; Wells, S.; Alexander, D.; May, M.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]
Essomero lya Giriyadi lisangibwa ku Watchtower Educational Center