Okyajjukira?
Onyumiddwa okusoma magazini za Omunaala gw’Omukuumi ezaafulumizibwa gye buvuddeko awo? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
• Abakristaayo abamu boolekaganye na bizibu ki oluvannyuma lw’ofumbiriganwa, era balina kufuba kukola ki?
Abakristaayo abamu abafumbo bayinza okwesanga nga tebalina bingi bibagatta. Olw’okukimanya nti okugattululwa okutesigamiziddwa ku Byawandiikibwa kukyamu, balina okufuba okunywerera mu bufumbo bwabwe.—4/15, olupapula 17.
• Omukristaayo abeera mu kifo ekirabirira bannamukadde ayinza kufuna bizibu ki?
Ayinza obutamanya wali kibiina mu kitundu ekyo omuli ekifo ekirabirira bannamukadde. Abasinga obungi b’abeera nabo mu kifo ekyo bayinza okuba ab’enzikiriza endala era bayinza okugezaako okumuyingiza mu mikolo gyabwe egy’eddiini. Ab’eŋŋanda Abakristaayo n’ab’omu kibiina ky’omu kitundu ekyo kibeetaagisa okumanya ebizibu bino n’okubaako kye bakolawo okumuyamba.—4/15, olupapula 25-27.
• Mitendera ki ena abafumbo mwe bayinza okuyita okugonjoola ebizibu?
Musseewo ekiseera eky’okwogera ku kizibu. (Mub. 3:1, 7) Yogera ekizibu kyo mu ngeri eraga nti owa munno ekitiibwa. (Bef. 4:25) Wuliriza era fuba okutegeera engeri munno gy’awuliramu. (Mat. 7:12) Mukkiriziganye ku ngeri y’okugonjoolamu ekizibu. (Mub. 4:9, 10)—7/1, olupapula 20-22.
• Yesu bwe yatukubiriza okusaba okusonyiyibwa amabanja gaffe, yali ategeeza mabanja ki?
Bwe tugeraageranya Matayo 6:12 ne Lukka 11:4, kyeyoleka bulungi nti Yesu yali tayogera ku mabanja ga nsimbi. Yali ayogera ku bibi byaffe. Tulina okuba abeetegefu okusonyiwa abalala nga Katonda bw’akola.—5/15, olupapula 9.
• Abo abali ku kakiiko akafuzi batuula ku bukiiko ki obulala?
Akakiiko k’abo Abakwanaganya; Akakiiko Akalabirira Ababeseri; Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo; Akakiiko k’Obuweereza; Akakiiko Akayigiriza; Akakiiko Akawandiika.—5/15, olupapula 29.
• Tumanya tutya nti Amataba ga Nuuwa gaabuna ensi yonna?
Okusinziira ku Yesu, Amataba ago ddala gaaliyo era gaabuna ensi yonna. Okulabula okuli mu Baibuli kwesigamizibwa ku kuba nti ddala Amataba gaabuna ensi yonna.—7/1, olupapula 8.
• Ebikolwa ebyogerwako mu Abaruumi 1:24-32 byali mu Bayudaaya oba mu ba Mawanga?
Wadde ng’ebikolwa ebyo byali bisangibwa mu Bayudaaya ne mu b’Amawanga, Pawulo wano yali ayogera ku Baisiraeri ab’edda abaagaana okutambulira ku Mateeka okumala ebbanga eddene. Baali bamanyi bulungi ebiragiro bya Katonda, naye baali tebabikolerako.—6/15, olupapula 29.
• Lwaki okweteerawo ebiruubirirwa bye tusobola okutuukako kitwongera okuba abasanyufu?
Bwe tugezaako okukola ebintu bye tutasobola kutuukako, kijja kutumalako essanyu. Wadde kiri kityo, tetusaanidde kuddirira mu buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo nga twekwasa ebintu bye tulowooza nti bitulemesa okukola ekisingawo.—7/15, olupapula 29.