Funa Emikisa Okuyitira mu Kabaka Akulemberwa Omwoyo gwa Katonda!
“Omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye.”—IS. 11:2.
1. Biki abamu bye boogedde ku mbeera enzibu eziriwo ku nsi?
“MU NSI eno ng’eby’obufuzi bitabanguse, ng’embeera y’obulamu n’obutonde byonoonese, olulyo lw’omuntu lusobola okwongera okubaawo emyaka emirala 100?” Ekyo kye kibuuzo omwekenneenya w’eby’omu bwengula Stephen Hawking kye yabuuza mu mwaka gwa 2006. Ekitundu ekyafulumira mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa New Statesman kyagamba nti: “Tulemereddwa okumalawo obwavu n’okuleeta emirembe. Ebyo bye tukoze byongedde bwongezi bizibu. Tekiri nti tetulina kye tukozeewo. Tugezezzaako enkola eya nnaakalyakaani n’eya sitakange; tufubye okutangira entalo nga tuteekawo Ekinywi ky’Amawanga era nga tukola ebyokulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya. Tulwanye ‘entalo nnyingi nnyo okusobola okumalawo entalo’ nga tulowooza nti tumanyi engeri ey’okumalawo entalo.”
2. Mu kiseera ekitali kya wala Yakuwa anaalaga atya nti y’agwanidde okufuga ensi?
2 Ebigambo ng’ebyo tebyewuunyisa baweereza ba Yakuwa. Baibuli eraga nti abantu tebaatondebwa kwefuga bokka. (Yer. 10:23) Yakuwa yekka y’agwanidde okubeera Omufuzi waffe. Bwe kityo, y’agwanidde okututeerawo emitindo kwe tulina okutambuliza obulamu bwaffe, okutulaga ekigendererwa ky’obulamu, era n’okutuyamba okukituukako. Era anaatera okukozesa obuyinza bwe okuggyawo gavumenti z’abantu. Ate era, ajja kuzikiriza abo bonna abagaana okukkiriza obufuzi bwe, abaagala abantu okusigala nga baddu ba kibi, nga tebatuukiridde, era nga bafugibwa “katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno,” Sitaani Omulyolyomi.—2 Kol. 4:4.
3. Kiki Isaaya kye yalagula ku Masiya?
3 Mu nsi empya, Yakuwa ajja kufuga abantu mu ngeri ennungi ng’ayitira mu Bwakabaka bwa Masiya. (Dan. 7:13, 14) Ng’ayogera ku Kabaka waabwo, Isaaya yalagula nti: “Mu kikolo kya Yese muliva ensibuka, n’ettabi eririva mu mmizi gye liribala ebibala: n’omwoyo gwa Mukama gulibeera ku ye, omwoyo ogw’amagezi n’okutegeera, omwoyo ogw’okuteesa n’amaanyi, omwoyo ogw’okumanya n’okutya Mukama.” (Is. 11:1, 2) Omwoyo gwa Katonda Omutukuvu gusobozesezza gutya ‘ensibuka eva mu kikolo kya Yese’—Yesu Kristo—okufuna ebisaanyizo okufuga abantu? Mikisa ki obufuzi bwe gye bunaaleeta? Era kiki kye tulina okukola okusobola okufuna emikisa egyo?
Katonda y’Amusobozesa Okufuna Ebisaanyizo
4-6. Kumanya kwa ngeri ki okujja okusobozesa Yesu okukola nga Kabaka ow’amagezi era omusaasizi, Kabona Asinga Obukulu, era Omulamuzi?
4 Yakuwa ayagala abantu be bonna bafuuke abatuukiridde nga bakulemberwa Kabaka ow’amagezi era omusaasizi, Kabona Asinga Obukulu, era Omulamuzi. Eyo y’ensonga lwaki Katonda yalonda Yesu Kristo, gwe yayamba okufuna ebisaanyizo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obw’amaanyi ng’akozesa omwoyo omutukuvu. Weetegereze ezimu ku nsonga lwaki Yesu ajja kusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo Katonda bw’amuwadde.
5 Yesu y’asinga okumanya Katonda obulungi. Omwana eyazaalibwa omu yekka abadde ne Kitaawe okumala emyaka mingi okusinga omuntu omulala yenna. Kino kiyambye Yesu okumanya obulungi Katonda ne kiba nti asobola okwogerwako ‘ng’ekifaananyi kya Katonda atalabika.’ (Bak. 1:15) Yesu yagamba nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.”—Yok. 14:9.
6 Yesu y’addirira Yakuwa mu kuba n’okumanya okukwata ku butonde bwonna, nga mw’otwalidde n’abantu. Abakkolosaayi 1:16, 17 wagamba nti: “Okuyitira mu ye [Omwana wa Katonda] ebintu ebirala byonna byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika . . . Ate era, ye yasooka ebintu byonna, era okuyitira mu ye ebintu ebirala byonna byatondebwa.” Kirowoozeeko! Yesu ‘ng’omukoza’ wa Katonda, yeenyigira mu kutonda ebintu ebirala byonna. Bwe kityo, amanyi buli kimu ekikwata ku butonde, okuviira ddala ku buntu obusembayo okuba obusirikitu okutuukira ddala ku bwongo bw’omuntu obw’ekitalo. Yee, Kristo alina amagezi mangi nnyo!—Nge. 8:12, 22, 30, 31.
7, 8. Omwoyo gwa Katonda gwayamba gutya Yesu mu buweereza bwe?
7 Katonda yafuka amafuta ku Yesu ng’akozesa omwoyo omutukuvu. Yesu yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi, yantuma okubuulira abasibe nti bajja kuteebwa n’abazibe b’amaaso nti bajja kulaba, okusumulula abo abanyigirizibwa, n’okubuulira omwaka gwa Yakuwa ogw’okukkiririzibwamu.” (Luk. 4:18, 19) Yesu bwe yamala okubatizibwa, kirabika omwoyo omutukuvu gw’amujjukiza ebintu bye yayiga nga tannaba kujja ku nsi, nga mw’otwalidde n’ebyo Katonda bye yali ayagala atuukirize mu kiseera ky’obuweereza bwe obw’oku nsi nga Masiya.—Soma Isaaya 42:1; Lukka 3:21, 22; Yokaana 12:50.
8 Olw’okuba yalina omwoyo omutukuvu era ng’alina omubiri n’ebirowoozo ebituukiridde, Yesu ye musajja eyasingirayo ddala okwatiikirira ku nsi era Omuyigiriza omukulu. Mu butuufu, abantu abaamuwulirizanga ‘baawuniikiriranga olw’engeri gye yayigirizangamu.’ (Mat. 7:28) Kino kiri kityo kubanga Yesu yasobola okwogera ku bintu ebisibukako okubonaabona kw’abantu—ekibi, obutali butuukirivu, n’ekizikiza eky’eby’omwoyo. N’ekirala, yali asobola okumanyira ddala ekyo ekiri mu mitima gy’abantu bw’atyo n’akolagana nabo mu ngeri esaanira.—Mat. 9:4; Yok. 1:47.
9. Okulowooza ku buweereza bwa Yesu obw’oku nsi kinyweza kitya okukkiriza kw’omulinamu ng’Omufuzi?
9 Yesu yaliko omuntu. Ebyo bye yayitamu ng’omuntu n’okukolagana n’abantu abatatuukiridde byakola kinene nnyo mu kufuula Yesu Kabaka omulungi. Omutume Pawulo yagamba nti: “[Yesu] yalina okufuuka nga ‘baganda’ be mu byonna, alyoke afuuke kabona asinga obukulu, omusaasizi era omwesigwa mu kuweereza Katonda, asobole okuwaayo ssaddaaka etabaganya olw’ebibi by’abantu. Olw’okuba ye kennyini yabonaabona ng’agezesebwa, naye asobola okuyamba abo abagezesebwa.” (Beb. 2:17, 18) Olw’okuba Yesu naye ‘yagezesebwa,’ asobola okulumirirwa abo abagezesebwa. Ebyo Yesu bye yakola mu buweereza bwe obw’oku nsi, byayoleka bulungi nti musaasizi. Abalwadde, abalina obulemu ku mubiri, abanyigirizibwa—n’abaana—kyabanguyiranga okumutuukirira. (Mak. 5:22-24, 38-42; 10:14-16) Abantu abawombeefu n’abo abaalina enjala ey’eby’omwoyo nabo baasikirizibwanga okugenda gyali. Ku luuyi olulala, abantu ab’amalala, abakakanyavu, era ‘abataalina kwagala kwa Katonda’ tebaamukkiririzaamu, baamukyawa, era baamuziyiza.—Yok. 5:40-42; 11:47-53.
10. Yesu yalaga atya nti atwagala nnyo?
10 Yesu yawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe, oboolyawo bwe bukakafu obusingayo okulaga nti teri mufuzi asinga Yesu. (Soma Zabbuli 40:6-10.) Kristo yagamba nti: “Tewali n’omu alina kwagala nga kuno, omuntu okuwaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.” (Yok. 15:13) Okwawukana ku bafuzi abatatuukiridde, ababeera mu bulamu obw’okwejalabya nga banyigiriza abo be bafuga, Yesu yawaayo obulamu bwe ku lw’abantu.—Mat. 20:28.
Aweereddwa Obuyinza Okutuusa Emiganyulo gy’Ekinunulo ku Bantu
11. Lwaki tusobola okwesiga Yesu ng’Omununuzi waffe?
11 Nga kituukirawo bulungi okuba nti Yesu nga Kabona Asinga Obukulu y’ajja okuwoma omutwe mu kututuusaako emiganyulo gya ssaddaaka y’ekinunulo kye! Mu butuufu, mu buweereza bwe obw’oku nsi, Yesu yalaga ekyo ky’ajja okukola ng’Omununuzi waffe mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi, bwe tujja okubeeramu singa tufuba okusigala nga tuli beesigwa. Yawonya abalwadde n’abalema, yazuukiza abafu, yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu, era yalaga nti alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. (Mat. 8:26; 14:14-21; Luk. 7:14, 15) Kyokka, ebintu bino byonna teyabikola lwa kwagala kweraga olw’obuyinza bwe yalina n’amaanyi, wabula yabikola olw’okuba yali musaasizi era ng’alina okwagala. Yagamba omugenge eyamwegayirira okumuwonya nti: “Njagala.” (Mak. 1:40, 41) Yesu ajja kulaga obusaasizi ng’obwo mu Bufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi—naye ekyo ajja kukikola ku kigero eky’ensi yonna.
12. Isaaya 11:9 lunaatuukirizibwa lutya?
12 Kristo awamu n’abo abanaafuga naye bajja kugenda mu maaso n’omulimu ogw’okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, Yesu gwe yatandika emyaka nga 2,000 egiyise. Bwe kityo, ebigambo bino ebiri mu Isaaya 11:9 bijja kutuukirira: “Ensi erijjula okumanya Mukama, ng’amazzi bwe gasaanikira ennyanja.” Okuyigirizibwa okwo awatali kubuusabuusa kujja kuzingiramu engeri y’okulabiriramu ensi awamu n’ebiramu ebingi ebigiriko, nga Adamu bwe yali alagiddwa okukola. Emyaka 1,000 we giriggwerako, ekigendererwa kya Katonda ekiragibwa mu Olubereberye 1:28 kijja kuba kimaze okutuukirira, era n’emiganyulo gya ssaddaaka y’ekinunulo gijja kuba gimaze okufunibwa mu bujjuvu.
Aweereddwa Obuyinza Okuba Omulamuzi
13. Yesu yalaga atya nti ayagala obutuukirivu?
13 Kristo ‘y’Oyo Katonda gwe yalagira okuba omulamuzi w’abalamu n’abafu.’ (Bik. 10:42) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yesu tasobola kulya nguzi, era nti obutuukirivu n’obwesigwa biringa olukoba olusibiddwa mu kiwato kye! (Is. 11:5) Yakiraga nti akyayira ddala omululu, obunnanfuusi, n’ebintu ebirala ebibi, era yavumirira abo abatalumirirwa balala. (Mat. 23:1-8, 25-28; Mak. 3:5) Ate era, Yesu teyabuzaabuzibwanga na ndabika ya ku ngulu, “kubanga yali amanyi ekiri mu muntu.”—Yok. 2:25.
14. Yesu akiraze atya leero nti ayagala obutuukirivu n’obwenkanya, era bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
14 Yesu akyeyongera okulaga nti ayagala obutuukirivu n’obwenkanya ng’alabirira omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza ogukolebwa ku kigero ekitabangawo mu byafaayo by’olulyo lw’omuntu. Tewali muntu, gavumenti, oba mwoyo mubi gusobola kulemesa mulimu guno kukolebwa nga Katonda bw’ayagala. N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti Kalumagedoni w’annaggwera, obwenkanya bwa Katonda bujja kuba bumaze okweyoleka. (Soma Isaaya 11:4; Matayo 16:27.) Kati weebuuze: ‘Nange abantu be nsanga mu buweereza bwange, mbatunuulira nga Yesu bw’abatunuulira? Nfuba okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi ne bwe kiba nti siri mulamu bulungi oba ng’embeera yange tensobozesa kukola ekyo kye nnandyagadde kukola?’
15. Kiki kye tusaanidde okujjukira ekinaatuyamba okuwa Katonda ekisingayo obulungi?
15 Tujja kusobola okuweereza Katonda n’omutima gwaffe gwonna singa tukijjukira nti omulimu gw’okubuulira gugwe. Ye yalagira gukolebwe; agukubiriza ng’ayitira mu Mwana we; era akozesa omwoyo gwe omutukuvu okuwa amaanyi abo abagwenyigiramu. Ogitwala nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Katonda awamu n’Omwana we akulemberwa omwoyo gwe? Ng’oggyeko Yakuwa, muntu ki omulala asobola okukubiriza abantu abasukka mu bukadde omusanvu, ng’abasinga obungi ku bo batwalibwa okuba nga “tebaayigirizibwa nnyo,” okulangirira amawulire ag’Obwakabaka mu nsi 236?—Bik. 4:13.
Funa Emikisa Okuyitira mu Kristo!
16. Ku bikwata ku mikisa gya Katonda, Olubereberye 22:18 lulaga ki?
16 Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: “Mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.” (Lub. 22:18) Kino kiraga nti abo abagitwala nga nkizo okuweereza Katonda n’Omwana we basobola okuba abakakafu nti bajja kufuna emikisa okuyitira mu Zzadde eryasuubizibwa. Era banyiikivu mu kuweereza Katonda leero nga bakuumira emikisa egyo mu birowoozo byabwe.
17, 18. Kiki Yakuwa kye yasuubiza mu Ekyamateeka 28:2, era kizingiramu ki?
17 Lumu bwe yali ayogera eri bazzukulu ba Ibulayimu, eggwanga lya Isiraeri, Katonda yagamba nti: “Emikisa gino gyonna [egyogerwako mu ndagaano y’Amateeka] ginaakujjiranga ginaakutuukangako, bw’onoowuliranga eddoboozi lya Mukama Katonda wo.” (Ma. 28:2) Ebigambo ebyo bikyali bya makulu eri abaweereza ba Katonda leero. Bw’oba oyagala okufuna emikisa gya Yakuwa, oteekwa ‘okuwulirizanga’ eddoboozi lye. Olwo nno emikisa gye “ginaakujjiranga [era] ginaakutuukangako.” Kati olwo, ‘okuwuliriza’ kizingiramu ki?
18 Okuwuliriza kizingiramu okutwala ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda awamu n’emmere ey’eby’omwoyo gy’atuwa nga bikulu nnyo. (Mat. 24:45) Era kizingiramu okugondera Katonda n’Omwana we. Yesu yagamba nti: “Si buli muntu aŋŋamba nti, ‘Mukama wange, Mukama wange,’ y’aliyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu, wabula oyo akola Kitange ali mu ggulu by’ayagala.” (Mat. 7:21) Era okuwuliriza Katonda kizingiramu okugondera enteekateeka gy’ataddewo, ekibiina Ekikristaayo awamu n’abakadde, ‘ebirabo mu bantu.’—Bef. 4:8.
19. Tuyinza tutya okufuna omukisa?
19 Mu ‘birabo mu bantu’ mwe muli abo abali ku Kakiiko Akafuzi abakiikirira ekibiina Ekikristaayo kyonna. (Bik. 15:2, 6) Mu butuufu, engeri gye tutwalamu baganda ba Kristo ab’omwoyo ejja kusinziirwako nnyo nga tulamulwa mu kibonyoobonyo ekinene. (Mat. 25:34-40) N’olwekyo, engeri emu gye tuyinza okufunamu omukisa kwe kuwagira abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta.
20. (a) Buvunaanyizibwa ki obukulu ‘ebirabo mu bantu’ bwe balina? (b) Tuyinza tutya okulaga nti ab’oluganda bano tubatwala nga ba muwendo?
20 Mu ‘birabo mu bantu’ era mulimu n’ab’oluganda abali ku Bukiiko bw’Amatabi, abalabirizi abatambula, era n’abakadde mu bibiina—nga bano bonna baalondebwa omwoyo omutukuvu. (Bik. 20:28) Obuvunaanyizibwa obukulu ab’oluganda abo bwe balina kwe kuzimba abantu ba Katonda ‘okutuusa bonna lwe balituuka okuba obumu mu kukkiriza ne mu kumanyira ddala Omwana wa Katonda, ne bafuuka ng’omuntu omukulu, ne batuuka ku kigera eky’obukulu bwa Kristo.’ (Bef. 4:13) Kyo kituufu nti nabo tebatuukiridde. Wadde kiri kityo, bwe tutwala ab’oluganda bano nga ba muwendo ne tubagondera, tufuna omukisa.—Beb. 13:7, 17.
21. Lwaki twetaaga okugondera Omwana wa Katonda mu bwangu?
21 Kristo anaatera okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani. Ekyo bwe kinaabaawo, obulamu bwaffe bujja kuba mu mikono gya Yesu, kubanga Katonda yamuwa obuyinza okukulembera ‘ab’ekibiina ekinene’ okubatwala eri “ensulo ez’amazzi ag’obulamu.” (Kub. 7:9, 16, 17) N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka kati okugondera n’okulaga nti tusima Kabaka akulemberwa omwoyo gwa Yakuwa.
Kiki ky’Oyize Okuva mu . . .
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Obusaasizi bwa Yesu bweyoleka bulungi bwe yazuukiza muwala wa Yayiro
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Yesu Kristo alabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa ku kigero ekitabangawo mu byafaayo