Yee, Eno Ye Magazini ey’Okusoma mu Kibiina!
Waliwo enkyukakyuka ezikoleddwa mu magazini ey’Okusoma mu Kibiina esobole okweyongera okuba ng’esikiriza n’okukuyamba okuyiga Ekigambo kya Yakuwa eky’omuwendo.—Zab. 1:2; 119:97.
Kati wayiseewo emyaka ena okuva lwe twatandika okufulumya magazini za Omunaala gw’Omukuumi ez’emirundi ebiri, eya bonna n’eyaffe—Abajulirwa ba Yakuwa n’abayizi baffe aba Bayibuli abakulaakulana.
Ng’ayogera ku magaziini ey’okusoma mu kibiina, ow’oluganda omu amaze ebbanga eddene ng’aweereza Yakuwa yagamba nti: ‘Oluvannyuma lw’okusoma magaziini ey’okusoma mu kibiina eyasooka, nnawulira ng’entuuse ku mutima. Nnakwatibwako nnyo engeri gy’ennyonnyolamu amazima ga Bayibuli. Mwebale nnyo olw’okutukubira magazini eno.’ Ow’oluganda omulala yagamba nti: “Mba nneesunga okusoma magaziini ey’okusoma mu kibiina okumala essaawa eziwerako nga nkozesa Reference Bible.” Tusuubira nti naawe bw’otyo bw’owulira.
Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ebadde efulumizibwa okuva mu 1879 (yali mu Lungereza mu kiseera ekyo). Kino tekibadde kyangu naye kisobose olw’obuyambi bw’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. (Zek. 4:6) Mu myaka 133 magazini eno gy’emaze ng’efulumizibwa, wabaddewo enkyukakyuka nnyingi ezikoleddwa ku ddiba lyayo. Mu mwaka 2012, eddiba lya magazini eno lijja kubangako ekifaananyi ekiraga ab’oluganda nga babuulira, ekijja okutujjukizanga omulimu Katonda gwe yatuwa ogw’okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Yakuwa. (Bik. 28:23) Ekifaananyi ekinaabanga ku ddiba kijja kwogerwangako ku lupapula 2. Ojja kumanya wa gye kyakubirwa n’ekigenda mu maaso. Mu mwaka ogwo gwonna, ebifaananyi ebyo bijja kutujjukizanga nti abantu ba Yakuwa babuulira amawulire amalungi “mu nsi yonna etuuliddwamu.”—Mat. 24:14.
Nkyukakyuka ki endala ezikoleddwa mu magazini eno? Akasanduuko omuli ebibuuzo eby’okwejjukanya kajja kubeeranga ku ntandikwa ya buli kitundu eky’okusoma. Kino kijja kukuyamba okumanya ensonga enkulu z’osaanidde okunoonya ng’osoma ekitundu ekyo. Kya lwatu nti abo abakubiriza olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi bajja kweyongera okukozesa ebibuuzo ebyo okwejjukanya ensonga enkulu oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekirina okusomebwa wiiki eyo. Ojja kukiraba nti ennamba eziri ku mpampula n’obutundu zirabika mangu okusinga bwe kibadde.
Nga bwe kiragibwa mu magazini ey’omwezi guno, waliwo ekitundu ekipya ekiyitibwa, “Etterekero Lyaffe,” ekijja okufulumiranga mu magazini eno. Ekitundu ekyo kijja kwogeranga ku byafaayo by’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino. Era ebiseera ebimu mu magazini eno mujja kufulumirangamu n’ebyafaayo by’ab’oluganda wansi w’omutwe, “Beewaayo Kyeyagalire.” Ebyafaayo ebyo bijja kulaga essanyu n’obumativu baganda baffe ne bannyinnaffe bye bafunye nga baweereza mu bitundu ebirimu obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako.
Weeyongere okunyumirwa okusoma Ekigambo kya Katonda ng’okozesa magazini eno.
Abagikuba
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
1879
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
1895
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
1931
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
1950
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
1974
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
2008