Ebirimu
Jjanwali 15, 2012
Ogw’Okusoma Mu Kibiina
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
FEBWALI 27, 2012–MAAKI 4, 2012
Abakristaayo ab’Amazima Bassa Ekitiibwa mu Bayibuli
OLUPAPULA 4 • ENNYIMBA: 113, 116
MAAKI 5-11, 2012
Sigala ng’Otunula ng’Abatume Bwe Baakola
OLUPAPULA 9 • ENNYIMBA: 125, 43
MAAKI 12-18, 2012
Yigira ku ‘Bintu Ebikulu Ebikwata ku Mazima’
OLUPAPULA 16 • ENNYIMBA: 107, 13
MAAKI 19-25, 2012
Waayo Ssaddaaka eri Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
OLUPAPULA 21 • ENNYIMBA: 66, 56
MAAKI 26, 2012–APULI 1, 2012
Bakabona era Bakabaka Abajja Okuganyula Abantu Bonna
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 60, 102
EKIGENDERERWA KY’EBITUNDU EBY’OKUSOMA
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 1 OLUPAPULA 4-8
Ekitundu kino kijja kulaga engeri Abakristaayo ab’amazima okumala ebyasa bingi gye bafubye okukolera ku bulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda. Era kyogera ku kyawandiikibwa ky’omwaka 2012.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 2 OLUPAPULA 9-13
Ekitundu kino kiraga ebintu bisatu bye tuyigira ku batume awamu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe kituuka ku kusigala nga tutunula. Ekitundu kino kijja kutuyamba okuba abamalirivu okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku Bwakabaka bwa Katonda.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA 3, 4 OLUPAPULA 16-25
Amateeka ga Musa gaali geetaagisa Abaisiraeri ab’edda okuwaayo ssaddaaka ezitali zimu eri Yakuwa. Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ago. Kyokka ng’ebitundu bino bwe biraga, emisingi egiri mu Mateeka ago giraga nti Yakuwa ayagala abantu abamusinza okumuweereza n’essanyu.
EKITUNDU EKY’OKUSOMA 5 OLUPAPULA 26-30
Ekintu abantu kye basinga okwetaaga kwe kutabaganyizibwa ne Katonda. Ekitundu kino kiraga engeri bakabona abaweereza nga bakabaka gye bajja okuyamba abantu okutabagana ne Katonda, era kiraga engeri gye bajja okutuganyula.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
3 Yee, Eno ye Magazini ey’Okusoma mu Kibiina!
14 ‘Nnaasobola Ntya Okubuulira?’
15 Ebinaatuyamba Okwongera Okuganyulwa mu Kwesomesa Bayibuli
KU DDIBA: Ow’oluganda ne mukyala we abaayiga olulimu oluyitibwa Tzotzil era abaweereza nga bapayoniya nga babuulira mu katale akali mu kibuga San Cristóbal de las Casas ekya Mexico.
MEXICO
OMUWENDO GW’ABANTU
108,782,804
ABABUULIZI
710,454
OMULIMU GW’OKUVVUUNULA
Ennimi 30