Kolera ku Ebyo Ebiri Mu Ssaala Ya Yesu
“Kitange, . . . gulumiza omwana wo naye akugulumize.”—YOK. 17:1.
1, 2. Kiki Yesu kye yakola ng’ali n’abatume be oluvannyuma lw’okukwata embaga y’Okuyitako mu mwaka gwa 33 E.E.?
OLUNAKU lwa Nisani 14, omwaka 33 E.E., era obudde bwa kiro. Yesu awamu ne mikwano gye baakamala okukwata embaga y’Okuyitako, ebajjukiza engeri Katonda gye yanunulamu Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri. Naye abayigirizwa ba Yesu abeesigwa baali ba kununulibwa ku kigero ekisingako bafune “obulokozi obw’olubeerera.” Enkeera, Yesu yali agenda kuttibwa abalabe be. Naye okufa kwa Yesu kwali kugenda kuvaamu emikisa. Ssaddaaka ya Yesu yali egenda kusobozesa abantu okununulibwa okuva mu kibi n’okufa.—Beb. 9:12-14.
2 Okusobola okulaba nti tetwerabira kirabo ekyo eky’omuwendo Katonda kye yatuwa, Yesu yatandikawo omukolo ogwadda mu kifo ky’embaga ey’Okuyitako. Kino yakikola ng’amenyamu, omugaati ogutaali muzimbulukuse n’aguwa abayigirizwa be abeesigwa 11 ng’agamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange ogugenda okuweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” Mu ngeri y’emu, yakwata ekikopo ky’envinnyo n’akibawa ng’agamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.”—Luk. 22:19, 20.
3. (a) Nkyukakyuka ki ey’amaanyi eyaliwo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu? (b) Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza ebikwata ku ssaala ya Yesu eri mu Yokaana essuula 17?
3 Endagaano y’Amateeka Katonda gye yali akoze n’Abaisiraeri yali enaatera okukoma. Mu kifo kyayo, waali wagenda kuddawo endagaano empya eyandibadde wakati wa Yakuwa n’abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta. Yesu yali tayagala eggwanga lino ery’omwoyo eriggya libeere ng’eggwanga lya Isiraeri. Abaisiraeri tebaali bumu mu kusinza Katonda era ekyo kyaleeta ekivume ku linnya lya Katonda ettukuvu. (Yok. 7:45-49; Bik. 23:6-9) Yesu yali ayagala abagoberezi be basigale nga bali bumu basobole okukolera awamu era baweese erinnya lya Katonda ekitiibwa. Kati olwo kiki Yesu kye yakola? Yasaba essaala ennungi ennyo ne yeegayirira Yakuwa ayambe abagoberezi be. (Yok. 17:1-26; laba ekifaananyi waggulu.) Nga twetegereza essaala eyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, “Katonda azzeemu essaala ya Yesu? Nfuba okukolera ku ebyo ebiri mu ssaala eyo?”
EBINTU YESU BYE YALI ATWALA NG’EBISINGA OBUKULU
4, 5. (a) Kiki kye tuyigira ku bigambo Yesu bye yayogera ng’atandika essaala ye? (b) Yakuwa yaddamu atya ekyo Yesu kye yeesabira?
4 Yesu yayigiriza abayigirizwa be ebintu bingi okutuukira ddala ekiro mu ttumbi. Oluvannyuma yatunula waggulu n’asaba Katonda ng’agamba nti: “Kitange, essaawa etuuse; gulumiza omwana wo naye akugulumize, kubanga omuwadde obuyinza ku bantu bonna, asobole okuwa abo bonna b’omuwadde obulamu obutaggwaawo. . . . Nkugulumizza ku nsi kubanga mmalirizza omulimu gwe wampa okukola. Kaakano Kitange, ngulumiza mbeere ku lusegere lwo, mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.”—Yok. 17:1-5.
5 Yesu yatandika essaala ye ng’ayogera ku bintu bye yali atwala ng’ebisinga obukulu. Ekintu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu kwe kugulumizibwa kwa Kitaawe ow’omu ggulu, era ekyo kikwatagana bulungi n’ekintu Yesu kye yasooka okwogerako mu ssaala ye ey’okulabirako. Yagamba nti: “Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.” (Luk. 11:2) Ekintu Yesu kye yazzaako kyali kikwata ku bayigirizwa be. Yasaba ‘asobole okubawa obulamu obutaggwaawo.’ Oluvannyuma, Yesu yasaba ekintu ekikwata ku ye kennyini ng’agamba nti: “Kitange, ngulumiza mbeere ku lusegere lwo, mu kitiibwa kye nnalina nga ndi ku lusegere lwo ng’ensi tennabaawo.” Yakuwa yawulira essaala y’Omwana we omwesigwa era n’amuwa ebisinga ku ebyo bye yasaba. Yamuwa “erinnya erisinga” amannya ga bamalayika bonna.—Beb. 1:4.
‘OKUMANYA KATONDA OMU OW’AMAZIMA’
6. Kiki abatume kye baalina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, era tumanya tutya nti ekyo baasobola okukikola?
6 Bwe yali asaba, Yesu era yayogera ku kintu ffe abantu abatatuukiridde kye tulina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. (Soma Yokaana 17:3.) Yagamba nti tulina okweyongera ‘okumanya’ Katonda ne Yesu. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Ekisooka, tulina okukola kyonna ekisoboka okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we. Eky’okubiri, tulina okukolera ku ebyo bye tuyiga. Abatume ba Yesu baali bakoze ebintu ebyo byombi kubanga Yesu bwe yali asaba yagamba nti: “Ebigambo bye wampa mbibawadde, babikkirizza.” (Yok. 17:8) Kyokka okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kyali kibeetaagisa okweyongera okufumiitiriza ku ebyo bye baali bayiga mu Kigambo kya Katonda n’okweyongera okubikolerako. Naye ekyo abatume baasobola okukikola obulamu bwabwe bwonna? Yee. Kubanga amannya ga buli omu ku bo gawandiikiddwa ku mayinja 12 ag’omusingi gwa Yerusaalemi Ekiggya.—Kub. 21:14.
7. ‘Okumanya’ Katonda kitegeeza ki, era lwaki ekyo kikulu nnyo?
7 Bwe tuba twagala okubeerawo emirembe gyonna, tulina ‘okumanya’ Katonda. Ekyo kitegeeza ki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okumanya’ era kisobola okuvvuunulwa “okweyongera okumanya.” N’olwekyo, ‘okumanya’ Katonda kitegeeza okweyongera okuyiga ebimukwatako. Naye okumanya Katonda kisingawo ku kumanya obumanya engeri ze n’ekigendererwa kye. Tulina okumwagala ennyo n’okufuba okuba n’enkolagana ey’okulusegere naye. Era tulina okwagala bakkiriza bannaffe. Bayibuli egamba nti: “Oyo atalina kwagala tamanyanga Katonda.” (1 Yok. 4:8) N’olwekyo, okumanya Katonda kizingiramu n’okumugondera. (Soma 1 Yokaana 2:3-5.) Nga nkizo ya maanyi okuba mu abo abamanyi Yakuwa! Kyokka tulina okuba abeegendereza okulaba nti tetufiirwa nkolagana yaffe naye, nga Yuda Isukalyoti bwe yakola. Bwe tufuba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, ajja kutuwa ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo.—Mat. 24:13.
“OLW’ERINNYA LYO”
8, 9. Mu buweereza bwe ku nsi, kiki Yesu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu, era kiki abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya kye baakolanga ekitaasanyusa Yesu?
8 Ebyo bye tusoma mu ssaala ya Yesu eri mu Yokaana essuula 17, biraga nti Yesu yali ayagala nnyo abatume be awamu n’abo abandifuuse abayigirizwa be mu biseera eby’omu maaso. (Yok. 17:20) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti obulokozi bwaffe si kye kintu Yesu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu. Ekintu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu mu buweereza bwe bwonna ku nsi kwe kutukuzibwa n’okugulumizibwa kw’erinnya lya Kitaawe. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali mu kkuŋŋaaniro ly’e Nazaaleesi, yalaga ensonga enkulu eyali emuleese ku nsi ng’asoma mu muzingo gwa nnabbi Isaaya nti: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi.” Tewali kubuusabuusa nti Yesu bwe yali asoma ebigambo ebyo, yayatula bulungi erinnya lya Katonda.—Luk. 4:16-21.
9 Ng’ekyabulayo emyaka mingi Yesu ajje ku nsi, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali bakubiriza abantu obutakozesa linnya lya Katonda. Ekyo kiteekwa okuba nga Yesu tekyamusanyusa n’akatono. Yagamba abo abaali bamuwakanya nti: “Nzize mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; singa omuntu omulala azze mu linnya lye, oyo mwandimusembezza.” (Yok. 5:43) Era bwe waali wabula ennaku ntono Yesu attibwe, yaddamu okwogera ku kintu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu. Yagamba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.” (Yok. 12:28) Era n’essaala ya Yesu gye twetegereza mu kitundu kino eraga bulungi nti okugulumizibwa kw’erinnya lya Kitaawe kye kintu kye yali asinga okutwala ng’ekikulu.
10, 11. (a) Yesu yamanyisa atya erinnya lya Kitaawe? (b) Lwaki abayigirizwa ba Yesu bamanyisa abantu erinnya lya Yakuwa?
10 Yesu yasaba nti: “Erinnya lyo ndimanyisizza eri abantu be wampa mu nsi. Baali babo n’obampa era bakutte ekigambo kyo. Ate era, sikyali mu nsi, naye bo bali mu nsi era nze nzija gy’oli. Kitange Omutukuvu, bakuume olw’erinnya lyo lye wampa, basobole okuba omu nga ffe bwe tuli.”—Yok. 17:6, 11.
11 Yesu bwe yali amanyisa erinnya lya Kitaawe eri abayigirizwa be, teyakoma ku kubabuulira bubuulizi linnya Yakuwa. Naye era yabayamba okutegeera amakulu g’erinnya eryo. Yababuulira ku ngeri za Katonda ez’ekitalo n’engeri ennungi Katonda gy’atuyisaamu. (Kuv. 34:5-7) Yesu kati afuga nga Kabaka mu ggulu era yeeyongera okuyamba abayigirizwa be okumanyisa erinnya lya Kitaawe mu nsi yonna. Lwaki abayigirizwa be bamanyisa erinnya lya Kitaawe? Ekyo bakikola okusobola okuyamba abantu bangi okuyiga ebikwata ku Yakuwa ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu tennatuuka. Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kulokola abajulirwa be abeesigwa, era buli omu ajja kumanya erinnya lya Yakuwa ekkulu!—Ez. 36:23.
“ENSI ERYOKE EKKIRIZE”
12. Bintu ki ebisatu bye tusaanidde okukola okusobola okutuukiriza omulimu Yesu gwe yatandikawo?
12 Yesu bwe yali ku nsi yafuba nnyo okuyamba abayigirizwa be okulwanyisa obunafu bwabwe. Ekyo baali beetaaga okukikola okusobola okumaliriza omulimu gwe yatandikawo. Yesu yasaba Katonda nti: “Nga bwe wantuma mu nsi, nange mbatuma mu nsi.” Mu ssaala ye, Yesu yasaba Yakuwa ayambe abayigirizwa be mu bintu bisatu. Ekisooka, yasaba Yakuwa abayambe obutaba ba nsi ya Sitaani embi. Eky’okubiri, yasaba batukuzibwe, nga bakolera ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Eky’okusatu, Yesu yasaba nti abayigirizwa be babe bumu mu kwagala nga naye bw’ali obumu ne Kitaawe. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nfuba okukola ebintu ebyo ebisatu Yesu bye yayogerako mu ssaala ye?’ Yesu yali mukakafu nti abayigirizwa be bwe bandikoze ebintu ebyo, ‘ensi yandikkiriza nti Katonda ye yamutuma.’—Soma Yokaana 17:15-21.
Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baakolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ne basobola okukuuma obumu (Laba akatundu 13)
13. Yakuwa yaddamu atya essaala ya Yesu mu kyasa ekyasooka?
13 Ebyo bye tusoma mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume biraga nti Yakuwa yaddamu essaala ya Yesu. Mu Bakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka mwalimu Abayudaaya n’Ab’amawanga, abagagga n’abaavu, abaddu, n’abo abaalina abaddu. Wadde kyali kityo, bonna baali bumu ne kiba nti baali ng’omubiri gumu nga Yesu ye mutwe gwabwe. (Bef. 4:15, 16) Abakristaayo abo tebandisobodde kuba bumu mu nsi ya Sitaani ejjudde enjawukana, naye baasobola okuba obumu olw’okuba Yakuwa yabawa mwoyo gwe omutukuvu.—1 Kol. 3:5-7.
Abantu ba Yakuwa mu nsi yonna bali bumu (Laba akatundu 14)
14. Yakuwa azzeemu atya essaala ya Yesu mu kiseera kyaffe?
14 Eky’ennaku kiri nti oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, obwakyewaggula bwayingira mu kibiina Ekikristaayo, era obumu obwo ne bugenda nga busaanawo. (Bik. 20:29, 30) Naye mu 1919, Yesu yanunula abagoberezi be abaafukibwako amafuta okuva mu bufuge bw’eddiini ez’obulimba n’abayamba okuba obumu mu kwagala ‘okunywereza ddala obumu.’ (Bak. 3:14) Biki ebivudde mu mulimu gw’okubuulira gwe bakola? ‘Ab’endiga endala’ abasukka mu bukadde omusanvu okuva “mu buli ggwanga n’ebika n’abantu n’ennimi” beegasse ku baafukibwako amafuta mu kusinza okw’amazima. (Yok. 10:16; Kub. 7:9) Ekyo kiraga bulungi nti Yakuwa azzeemu ekyo Yesu kye yasaba bwe yagamba nti “ensi etegeere nti [ggwe] wantuma era nti obaagala nga bw’onjagala.”—Yok. 17:23.
YESU AKOMEKKEREZA ESSAALA YE
15. Kiki Yesu kye yasabira abagoberezi be abaafukibwako amafuta?
15 Ku lunaku lwa Nisani 14, Yesu era yawa abatume be ekitiibwa bwe yakola nabo endagaano okufugira awamu naye mu Bwakabaka. (Luk. 22:28-30; Yok. 17:22) Oluvannyuma yasabira abo bonna abandifuuse abagoberezi be abaafukibwako amafuta ng’agamba nti: “Kitange, nkusaba abo be wampa babeere we ndi basobole okulaba ekitiibwa kye wampa, kubanga wanjagala ng’ensi tennabaawo.” (Yok. 17:24) Ab’endiga endala basanyufu olw’empeera abaafukibwako amafuta gye bagenda okufuna, era tebabakwatirwa buggya. Ekyo nakyo kiraga nti Abakristaayo ab’amazima bali bumu.
16, 17. (a) Bwe yali akomekkereza essaala ye, kiki Yesu kye yagamba nti yandyeyongedde okukola? (b) Kiki kye tusaanidde okumalirira okukola?
16 Abakulembeze b’amadiini baleetedde abantu bangi mu nsi okubuusa amaaso obukakafu obw’amaanyi obulaga nti Yakuwa alina abantu be abali obumu era abamumanyi obulungi. Bwe kityo bwe kyali ne mu kiseera kya Yesu. N’olwekyo, Yesu yakomekkereza essaala ye ng’agamba nti: “Kitange Omutuukirivu, ensi tekumanyi; naye nze nkumanyi era na bano bategedde nti ggwe wantuma. Mbamanyisizza erinnya lyo era nja kulimanyisa, okwagala kwe wandaga kubeere mu bo nange mbeere bumu nabo.”—Yok. 17:25, 26.
17 Tewali kubuusabuusa nti Yesu amanyisizza erinnya lya Kitaawe. Era ng’Omutwe gw’ekibiina, yeeyongera okutuyamba okumanyisa abalala erinnya lya Kitaawe n’ekigendererwa kye. Ka tweyongere okukolera ku bulagirizi Yesu bw’atuwa nga tubuulira n’obunyiikivu era nga tufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20; Bik. 10:42) Ate era ka tufube okukuuma obumu bwe tulina ng’abantu ba Katonda. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba tukolera ku bigambo ebiri mu ssaala ya Yesu. Ekyo kijja kuleetera erinnya lya Yakuwa okugulumizibwa era kituviiremu essanyu ery’emirembe n’emirembe.