Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jan. 15
“Mu kiseera kino eky’omwaka, abantu bangi balowooza ku ebyo bamalayika bye baayogera nga Yesu azaaliddwa. [Soma Lukka 2:14.] Ddala olowooza emirembe giribaawo ku nsi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eyogera ku ngeri Yesu gy’anaatera okuleetawo emirembe egya nnamaddala ku nsi.”
Awake! Des.
“Eddiini nnyingi zirina endowooza ez’enjawulo ku nkozesa y’omwenge. Olowooza Katonda alina ndowooza ki ku ngeri omwenge gye gusaanidde okukozesebwamu? [Muleke abeeko ky’addamu.] Wadde nga mu kyamagero kye ekyasooka Yesu yafuula amazzi okuba omwenge, Baibuli era etuwa okulabula kuno. [Soma Engero 20:1.] Ekitundu kino kiwa endowooza ya Baibuli etagudde lubege ku nkozesa y’omwenge.” Mulage ekitundu ekitandikira ku lupapula 18.
The Watchtower Jan. 1
“Olowooza omuntu okuba obulungi mu bulamu kisinziira ku by’obugagga by’aba alina? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma 1 Timoseewo 6:9, 10.] Wadde nga Baibuli tevumirira ssente, naye era ekiraga nti omuntu okuba obulungi mu bulamu tekyesigamye ku bya bugagga. Magazini eno ennyonnyola ensonga eno.”
Awake! Jan.
“Olowooza ekyogerwako mu Kyawandiikibwa kino kirituukirira? [Soma Isaaya 33:24. Oluvannyuma muleka abeeko ky’addamu.] Magazini eno ennyonnyola ebyo bannasayansi bye batuuseeko mu by’ekisawo era n’engeri ekisuubizo kino eky’omu Baibuli gye kijja okutuukirizibwamu.”