Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Maayi 31
WIIKI ETANDIKA MAAYI 31
□ Okusoma Baibuli okw’Ekibiina:
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Baibuli: 2 Samwiri 16-18
Na. 1: 2 Samwiri 17:1-13
Na. 2: Ensonga Lwaki Yesu Ayitibwa “Mukama wa Ssabbiiti” (Mat. 12:8)
Na. 3: Ddala Tusaanidde Okusinza “Abatukuvu” Basobole Okutwegayiririra eri Katonda? (rs-E lup. 184 ¶5–lup. 185 ¶2)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: “Olaze Abantu ku Mulundi Ogusookera Ddala Engeri gye Tuyigirizaamu Baibuli?” Kwogera. Ng’omaze okwogera ku magezi agaweereddwa mu kitundu laga ekyokulabirako ng’okozesa amagezi ago.
Ddak. 20: “Engeri y’Okutendekamu Abapya Okubuulira.” Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo. Nga mumaze akatundu 5, laga ekyokulabirako ng’omukadde mu kibiina abuulira n’omubuulizi omupya. Omubuulizi omupya awa ennyanjula ye naye n’atasoma kyawandiikibwa. Bwe bava ku nnyumba eyo omukadde awabula omubuulizi omupya mu ngeri ey’amagezi era ey’ekisa, ng’amukubiriza okukozesa Baibuli mu buweereza bw’ennimiro.