Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 12
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 12
Oluyimba 80 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 7 ¶19-23 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 120-134 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 124:1–126:6 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kuleetawo Ensi Omuli Okwagala n’Obumu—rs-E lup. 231 ¶4-6 (Ddak. 5)
Na. 3: Tuyinza Tutya Okuba ‘n’Eriiso Eriraba Awamu’?—Mat. 6:22, 23 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo “Ebyatuukibwako mu Mulimu gw’Okubuulira” ebiri ku lupapula 4. Basiime olw’ebirungi ebyava mu ebyo ebyakolebwa mu mwezi gwa Apuli.
Ddak. 10: Engeri y’Okutuuka ku Mutima—Ekitundu 1. Kwogera nga kwesigamiziddwa ku kitabo Ssomero ly’Omulimu, olupapula 258 okutuuka ku lupapula 261, akatundu 1. Mu bufunze, laga ekyokulabirako kimu oba bibiri ku ngeri y’okukozesaamu amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo.
Ddak. 10: Tomanyi bwe Ziri ku Zo Eziriraba Omukisa. (Mub. 11:6) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo 2011 Yearbook, olupapula 96, akatundu 1-2, n’olupapula 113, akatundu 2, okutuuka ku lupapula 114, akatundu 3. Saba abawuliriza boogere ku ebyo bye bayize.
Ddak. 10: “Enkizo Yo ey’Obuweereza Gitwale nga ya Muwendo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 22 n’Okusaba