Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 19
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 19
Oluyimba 78 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 7 ¶24-27, akas. ku lup. 89 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Zabbuli 135-141 (Ddak. 10)
Na. 1: Zabbuli 137:1–138:8 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Ensonga Lwaki Ebigambo bya Pawulo Ebiri mu Abaruumi 14:7-9 Bitubudaabuda (Ddak. 5)
Na. 3: Obwakabaka bwa Katonda Bujja Kufuula Ensi Olusuku Lwe—rs-E lup. 232 ¶1-3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 5: Ebirango.
Ddak. 10: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Kwogera nga kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ku ebyo ekibiina kyammwe bye kyakola mu mwaka gw’obuweereza oguwedde, ng’essira oliteeka ku birungi ebyatuukibwako era beebaze olw’ebirungi bye baakola. Buuza omubuulizi omu oba babiri boogere ku birungi bye baafuna mu buweereza bwabwe. Yogera ku kintu kimu oba bibiri ekibiina kyammwe bye kyetaaga okukolako mu mwaka guno omupya ogw’obuweereza, era owe amagezi ku ngeri kino gye kiyinza okukolebwamu.
Ddak. 10: Osobola Okunnyonnyola? Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Organized, olupapula 198, ekibuuzo 12-13.
Ddak. 10: “Yakuwa Atutendeka Okukola Omulimu Guno.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 117 n’Okusaba