Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 20
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 20
Oluyimba 119 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 12 ¶14-20 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 58-62 (Ddak. 10)
Na. 1: Isaaya 61:1-11 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Okwewaayo Kikolwa Ekiraga Okwagala n’Okukkiriza? (Ddak. 5)
Na. 3: Katonda Alina Ndowooza Ki ku ky’Abafumbo Okwawukana?—rs-E lup. 251 ¶3 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Bategeeze ebitabo ebinaagabibwa mu Maaki, era olageyo ekyokulabirako kimu.
Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Zabbuli 63:3-8 ne Makko 1:32-39. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri zino gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.
Ddak. 15: “Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo Atandika nga Maaki 17.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Buli omu muwe akapapula akayita abantu ku kijjukizo, bwe muba mubulina, era mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebikalimu. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 2, aka Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, laga ekyokulabirako mu bufunze ku ngeri y’okugabamu akapapula ako. Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku katundu 3, saba omulabirizi w’obuweereza ayogere enteekateeka ekoleddwa eneebasobozesa okumalako ekitundu kye mubuuliramu.
Oluyimba 8 n’Okusaba