Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Febwali 27
WIIKI ETANDIKA FEBWALI 27
Oluyimba 135 n’Okusaba
□ Okusoma Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 12 ¶21-26, akas. ku lup. 152 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Isaaya 63-66 (Ddak. 10)
Okwejjukanya (Ddak. 20)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Ng’okozesa ennyanjula eweereddwa ku lupapula 4, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli ku Lwomukaaga olusooka mu Maaki.
Ddak. 20: Yamba Abo Abatakkiririza mu Bayibuli. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 64-68. Lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri.
Ddak. 5: “Onooganyulwa mu Watchtower Egonzeddwamu?” Kwogera. Bwe kiba kisoboka, ow’oluganda anaakubiriza ekitundu kino asaanidde okufuna kkopi bbiri eza Watchtower egonzeddwamu okuva ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti ogwa jw.org. [Magazini eno esangibwa wansi w’omutwe: “Latest Magazines (English).” Asaanidde okulondako “Watchtower (Simplified)” omuli ebifaanayi (PDF).] Zisaanidde okuteekebwa ku mmeeza y’ebitabo okumala wiiki eziwerako ababuulizi basobole okuzeekenneenya obulungi.
Oluyimba 100 n’Okusaba