Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 14
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 14
Oluyimba 50 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 30 ¶10-18 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: 2 Bassekabaka 16-18 (Ddak. 8)
Na. 1: 2 Bassekabaka 17:12-18 (Ddak. 3 oba obutawera)
Na. 2: Oyinza Otya Okuganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli?—nwt-E lup. 36 (Ddak. 5)
Na. 3: Omuliro Kabonero ka Kuzikirizibwa—td-34B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Wa obujulirwa ku mawulire amalungi mu bujjuvu.’—Bik. 20:24.
Ddak. 10: ‘Wa Obujulirwa ku Mawulire Amalungi mu Bujjuvu.’ Kwogera nga kwesigamiziddwa ku mulamwa gw’omwezi guno ne ku kitabo Bearing Witness, essuula 1, akatundu 1-11.—Bik. 20:24.
Ddak. 20: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira mu Bifo Awakolerwa Bizineesi.” Kukubaganya birowoozo. Mu bufunze laga ebyokulabirako bibiri. Mu kisooka, omubuulizi takozesa magezi ng’abuulira omuntu mu kifo awakolerwa bizineesi. Ddamu ekyokulabirako kye kimu, naye nga ku luno omubuulizi akozesa amagezi. Saba abawuliriza boogere ensonga lwaki ekyokulabirako eky’okubiri kye kisinga obulungi.
Oluyimba 96 n’Okusaba