Jjuuni 26–Jjulaayi 2
EZEEKYERI 6-10
Oluyimba 141 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Onooteekebwako Akabonero ak’Okuwonawo?”: (Ddak. 10)
Ezk 9:1, 2—Waliwo bye tuyiga mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna (w16.06 16-17)
Ezk 9:3, 4—Abo abakkiriza obubaka bwe tubabuulira ne babukolerako, akabonero ak’okuwonawo kajja kubateekebwako mu kibonyoobonyo ekinene
Ezk 9:5-7—Yakuwa bw’aliba azikiriza ababi, abatuukirivu bajja kuwonawo
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Ezk 7:19—Olunyiriri luno lutuyamba lutya okwetegekera ebiseera eby’omu maaso? (w09 9/15 23 ¶10)
Ezk 8:12—Olunyiriri luno lulaga lutya nti obutaba na kukkiriza kiyinza okuviirako omuntu okukola ebintu ebibi? (w11 4/15 26 ¶14)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Ezk 8:1-12
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Ku Mulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kub 4:11—Yigiriza Amazima.
Ng’Ozzeeyo: (Ddak. 4 oba obutawera) Zb 11:5; 2Ko 7:1—Yigiriza Amazima.
Ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) bhs 137 ¶4-5—Laga engeri y’okutuuka ku mutima.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Nywerera ku Mitindo gya Yakuwa egy’Empisa”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo erina omutwe, Beera Mukwano gwa Yakuwa—Omusajja Omu, Omukazi Omu.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lv sul. 13 ¶5-15, akas. ku lup. 150
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 27 n’Okusaba