LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Noovemba lup. 26-30
  • Mpulira nga Nnina Obukuumi Obwa Nnamaddala Kubanga Nneesiga Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mpulira nga Nnina Obukuumi Obwa Nnamaddala Kubanga Nneesiga Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ENGERI GYE NNAMANYAMU YAKUWA ERA NE NTANDIKA OKUMWESIGA
  • NNEESIGA YAKUWA NGA MPEEREREZA MU KITUNDU EKYAKOSEBWA OLUTALO
  • TUYIGGANYIZIBWA MU NIGER
  • “TETULINA NNYO KYE TUMANYI KU MULIMU GWA KUBUULIRA MU GUINEA”
  • NZE NE MUKYALA WANGE TWESIGA YAKUWA
  • ENSIBUKO Y’OBUKUUMI OBWA NNAMADDALA
  • Okugaziya Obuweereza Bwaffe
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Okutendekebwa Kwe Nnafuna mu Buto Kwannyweza mu by’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Ndabye Abantu ba Yakuwa Abalina Okukkiriza okw’Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Noovemba lup. 26-30
Israel Itajobi.

EBYAFAAYO

Mpulira nga Nnina Obukuumi Obwa Nnamaddala Kubanga Nneesiga Yakuwa

BYAYOGERWA ISRAEL ITAJOBI

ABANTU bwe bambuuza engeri gye nkozesezzaamu obulamu bwange mu kuweereza Yakuwa, ntera okubagamba nti: “Ndi mugugu oguli mu mikono gya Yakuwa!” Kye mba ntegeeza kiri nti, nga bwe ntwala omugugu gwange buli gye mba njagala, njagala Yakuwa n’ekibiina kye nabo bakole kye kimu ku nze, kwe kugamba, okuŋŋamba aw’okugenda na ddi lwe nnina okugendayo. Mpeereddwa obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina kya Yakuwa. Obumu ku bwo tebubadde bwangu era nga buzingiramu okussa obulamu bwange mu kabi. Naye njize nti bwe nneesiga Yakuwa, mbeera n’obukuumi obwa nnamaddala.

ENGERI GYE NNAMANYAMU YAKUWA ERA NE NTANDIKA OKUMWESIGA

Nnazaalibwa mu 1948 mu kaalo akamu akasangibwa mu bukiikaddyo bwa Nigeria. Mu kiseera ekyo, taata wange omuto ayitibwa Moustapha ne muganda wange omukulu ayitibwa Wahabi, baabatizibwa ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnali wa myaka mwenda, taata wange yafa era ekyo kyandeetera obulumi bungi. Mukulu wange Wahabi yaŋŋamba nti tusobola okuddamu okulaba taata ng’azuukidde. Ekyo kye yaŋŋamba kyambudaabuda nnyo era kyandeetera okutandika okuyiga Bayibuli. Nnabatizibwa mu 1963. Baganda bange abalala basatu nabo baabatizibwa.

Mu 1965, nnagenda okubeera ne mukulu wange Wilson mu kibuga Lagos, era nnanyumirwa nnyo okubeera ne bapayoniya abaali mu kibiina ky’e Igbobi. Bwe nnalaba essanyu bapayoniya abo lye baalina, kyankwatako nnyo era mu Jjanwali 1968, nange nnatandika okuweereza nga payoniya.

Ow’oluganda Albert Olugbebi, eyali aweereza ku Beseri yateekateeka olukuŋŋaana okwogerako naffe abavubuka ku bwetaavu bw’okuweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu bukiikakkono bwa Nigeria. Nzijukira engeri ow’oluganda oyo gye yayogeramu n’ebbugumu. Yagamba nti: “Muli bato, era musobola okukozesa amaanyi gammwe n’ebiseera byammwe okuweereza Yakuwa. Waliwo eby’okukola bingi mu kitundu ekyo!” Nnayagala okubeera nga nnabbi Isaaya, kwe kugamba, okuba omwetegefu okugenda buli wamu Yakuwa gy’aba antumye. Bwe ntyo nnajjuzaamu foomu okuweereza nga payoniya ow’enjawulo.​—Is. 6:8.

Mu Maayi 1968, nnasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo mu kibuga Kano, ekiri mu bukiikakkono bwa Nigeria. Kino kyaliwo mu kiseera ky’olutalo oluyitibwa Biafra (1967-1970), olwakosa ennyo ekitundu ekyo nga terunnaba kusaasaana kutuuka mu buvanjuba bwa Nigeria. Ow’oluganda omu yagezaako okuŋŋaana okugenda mu kitundu ekyo, naye nnamugamba nti: “Weebale nnyo olw’okunfaako. Naye Yakuwa bw’aba ayagala mmuweerereze mu kitundu ekyo, ndi mukakafu nti ajja kunkuuma.”

Mmaapu y’Obugwanjuba bwa Afirika, eraga ebitundu Israel Itajobi gye yabeeranga era gye yaweererezanga: Conakry, Guinea; Sierra Leone; Niamey, Niger; Kano, Orisunbare, ne Lagos, Nigeria.

NNEESIGA YAKUWA NGA MPEEREREZA MU KITUNDU EKYAKOSEBWA OLUTALO

Kyali kya nnaku nnyo okulaba engeri olutalo gye lwakosaamu abantu mu kibuga Kano. Bwe twabanga tubuulira, oluusi twasanganga emirambo gy’abantu abaabanga battiddwa. Wadde nga waaliwo ebibiina bingi mu kibuga ekyo, ab’oluganda abasinga obungi baali baakiddukamu. Waali wasigaddeyo ababuulizi abatawera 15, era baali baggwaamu amaanyi ate nga bali mu kutya. Baganda baffe ne bannyinaffe abo baasanyuka nnyo bapayoniya ab’enjawulo mukaaga bwe twatuuka mu kitundu ekyo. Twafuba okubazzaamu amaanyi era baakwatibwako nnyo. Twabayamba okuddamu okuba n’enkuŋŋaana n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Ate era twatandika okuweereza lipooti zaabwe ez’obuweereza ku ofiisi y’ettabi era n’okusaba ebitabo.

Ffenna bapayoniya ab’enjawulo, twatandika okuyiga olulimi oluyitibwa Hausa. Bwe twabuuliranga abantu nga tukozesa olulimi lwabwe, bangi baatuwulirizanga. Naye abantu b’eddiini eyali esinga obunene mu Kano, tebaayagala mulimu gwaffe. N’olwekyo, twalina okuba abeegendereza ennyo. Lumu nze n’oyo gwe nnali mbuulidde naye, waliwo omusajja eyatugoba ng’akutte akambe. Eky’omukisa omulungi, twadduka ne tumuleka! Wadde ng’obulamu bwaffe bwali mu kabi, Yakuwa yatuyamba “okuba mu mirembe,” era omuwendo gw’ababuulizi gwatandika okweyongera. (Zab. 4:8) Leero mu kibuga Kano waliyo ebibiina 11 era birimu ababuulizi abasukka mu 500.

TUYIGGANYIZIBWA MU NIGER

Nga mpeereza nga payoniya ow’enjawulo mu Niamey, Niger

Mu Agusito 1968, nga nnaakamala emyezi mitono mu kibuga Kano, nze wamu ne bapayoniya abalala babiri ab’enjawulo, twasindikibwa okuweerereza mu Niamey, ekibuga ekikulu eky’ensi eyitibwa Niger. Bwe twatuukayo, twakizuula nti ensi eyo, esangibwa mu Bugwanjuba bwa Afirika, y’emu ku nsi ezisinga okubaamu ebbugumu eringi. Ng’oggyeeko okugumira ebbugumu eringi, twalina n’okuyiga Olufalansa, olulimi olukulu olwogerwa mu nsi eyo. Wadde nga waaliwo okusoomooza okwo, twesiga Yakuwa era twatandika okubuulira mu kibuga ekikulu wamu n’ababuulizi abatonotono be twasangayo. Mu kiseera kitono, kumpi buli muntu eyali asobola okusoma mu kibuga Niamey, twamuwa akatabo ke twakozesanga okuyigiriza abantu Bayibuli akaali kyayitibwa The Truth That Leads to Eternal Life. Abantu baatunoonyanga n’okutunoonya nga baagala okufuna akatabo ako!

Oluvannyuma lw’ekiseera twakizuula nti ab’obuyinza baali tebaagala Bajulirwa ba Yakuwa. Mu Jjulaayi 1969, twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwasookera ddala mu nsi eyo, era twaliwo abantu nga 20. Twali twesunga nnyo okulaba ababuulizi babiri abaali bagenda okubatizibwa. Kyokka ku lunaku olwasooka olw’olukuŋŋaana olwo, abapoliisi bajja ne baluyimiriza. Baatwala bapayoniya bonna ab’enjawulo era n’omulabirizi w’ekitundu ku poliisi. Bwe baamala okutusoya ebibuuzo baatugamba nti tukomewo ku lunaku oluddako. Bwe twakiraba nti ab’obuyinza baali bayinza okutulemesa, twateekateeka emboozi ekwata ku kubatizibwa mu maka agamu era oluvannyuma twatwala abo abaali bagenda okubatizibwa ku mugga ne tubabatiza.

Nga wayiseewo wiiki ntono, nze wamu ne bapayoniya ab’enjawulo abalala bataano, ekitongole ekikola ku nsonga ez’omunda mu ggwanga eryo kyatulagira okwamuka eggwanga eryo mu bwangu. Baatuwa essaawa 48 zokka era ffe twalina okwenoonyeza engeri gye tulifulumamu. Twakola nga bwe baatugamba era twagenda buteerevu mu Nigeria ku ofiisi y’ettabi, era eyo baatusindika okuweerereza mu bitundu ebirala.

Nze nnasindikibwa okuweerereza mu kyalo ekimu ekiri mu Nigeria ekiyitibwa Orisunbare, gye nnanyumirwa ennyo obuweereza bwange nga ndi wamu n’ababuulizi abatonotono abaali babeerayo. Kyokka oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, ofiisi y’ettabi yansaba nzireyo e Niger. Mu kusooka nnatyamu, naye era nnali njagala nnyo okuddayo okulaba ab’oluganda abaali mu Niger!

Nnaddayo mu kibuga Niamey. Enkeera waliwo omusuubuzi Omunigeria eyategeera nti ndi Mujulirwa wa Yakuwa era yatandika okumbuuza ebibuuzo bingi ebikwata ku Bayibuli. Nnamuyigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli era oluvannyuma yalekera awo okunywa ssigala n’omwenge omungi, era n’abatizibwa. Nnanyumirwa nnyo okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga ndi wamu n’ab’oluganda mu nsi eyo, era ne ndaba ng’abantu bagenda beeyongera mpolampola okuyiga amazima mu bitundu ebitali bimu mu Niger. We nnasookera okugenda mu nsi eyo, waaliyo Abajulirwa ba Yakuwa 31 naye we nnaviirayo, baali 69.

“TETULINA NNYO KYE TUMANYI KU MULIMU GWA KUBUULIRA MU GUINEA”

Mu Ddesemba 1977, nnaddayo e Nigeria okutendekebwa. Oluvannyuma lwa wiiki ssatu ez’okutendekebwa okuggwaako, ow’oluganda Malcolm Vigo, eyali akwanaganya Akakiiko k’Ettabi, yansaba nsome ebbaluwa eyali evudde ku ofiisi y’ettabi ly’omu Sierra Leone. Ab’oluganda abo baali banoonya payoniya ali obwa nnamunigina eyali asobola okwogera Olungereza n’Olufalansa asobole okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Guinea. Ow’oluganda Vigo yaŋŋamba nti nnali ntendekebwa nsobole okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo. Kyokka yakikkaatiriza nti obuweereza obwo tebwandibadde bwangu. Yaŋŋamba nti: “Sooka okirowoozeko nnyo nga tonnakkiriza.” Amangu ago nnamuddamu nti: “Okuva bwe kiri nti Yakuwa y’antuma, nja kugenda.”

Nnalinnya ennyonyi ne ŋŋenda mu Sierra Leone ne nsisinkana ab’oluganda abaali ku Kakiiko k’Ettabi. Omu ku b’oluganda abo yaŋŋamba nti: “Tetulina nnyo kye tumanyi ku mulimu gwa kubuulira mu Guinea.” Wadde nga ofiisi y’ettabi ly’e Sierra Leone ye yali erabirira omulimu gw’okubuulira mu Guinea, tewaaliwo mpuliziganya n’ab’oluganda mu Guinea olw’embeera y’eby’obufuzi mu nsi eyo. Era wadde nga ofiisi y’ettabi yagezaako enfunda eziwera, yali eremereddwa okufuna omuntu agikiikirira mu nsi eyo. N’olwekyo, ab’oluganda bansaba ŋŋende mu Conakry, ekibuga ekikulu ekya Guinea, ngezeeko okufuna obutuuze.

“Okuva bwe kiri nti Yakuwa y’antuma, nja kugenda”

Bwe nnatuuka mu Conakry, nnagenda ku kitebe kya Nigeria ne nsisinkana omubaka wa Nigeria mu Guinea. Nnamugamba nti nnali njagala kukola mulimu gwa kubuulira mu Guinea. Yaŋŋamba obutasigala mu Guinea, nti kubanga nnali nja kusibibwa oba okukolebwa ekintu ekisingawo n’obubi. Yaŋŋamba nti: “Ddayo e Nigeria obuulireyo.” Naye nnamuddamu nti: “Ndi mumalirivu okusigala mu Guinea.” Bwe kityo, yawandiikira omukungu wa Guinea eyali akola ku nsonga z’eggwanga ez’omunda n’amugamba annyambe, era omukungu oyo yannyamba nnyo.

Waayita ekiseera kitono ne nzirayo ku ofiisi y’ettabi mu Sierra Leone ne ntegeeza ab’oluganda ekyo omukungu oyo kye yali asazeewo. Ab’oluganda baasanyuka nnyo bwe baakiraba nti Yakuwa yali awadde olugendo lwange omukisa. Nnali mpeereddwa obutuuze mu Guinea!

Israel ng’atwala ebintu bye.

Nga nkola omulimu gw’okukyalira ebibiina mu Sierra Leone

Okuva mu 1978 okutuuka mu 1989, nnakola omulimu gw’okukyalira ebibiina mu Guinea, mu Sierra Leone, ne mu Liberia. Mu kusooka nnalwalalwalanga nnyo. Oluusi ekyo kyabangawo nga ndi mu bitundu eby’esudde. Naye ab’oluganda baakolanga kyonna kye basobola okuntwala mu ddwaliro.

Lumu nnalwala omusujja gw’ensiri ogw’amaanyi ennyo, era nnafuna n’ebiwuka by’omu lubuto. Oluvannyuma bwe nnawona, nnakitegeera nti ab’oluganda baali bateesezza ku wa gye bandinziise! Wadde nga nnayolekagana n’ebintu ng’ebyo ebyali bissa obulamu bwange mu kabi, saalowoozaako ku kya kuleka buweereza bwange. Nnali mukakafu nti obukuumi obwa nnamaddala buva eri Katonda, kubanga ne bwe tufa asobola okutuzuukiza.

NZE NE MUKYALA WANGE TWESIGA YAKUWA

Israel ne Dorcas ku lunaku lwabwe olw’embaga.

Ku lunaku lwaffe olw’embaga mu 1988

Mu 1988, nnasisinkana mwannyinaffe Dorcas, eyali aweereza nga payoniya. Yali ayagala nnyo Yakuwa era nga mwetoowaze nnyo. Twafumbiriganwa era n’anneegattako mu mulimu gw’okukyalira ebibiina. Dorcas yayolekanga omwoyo ogw’okwefiiriza nga tukola omulimu ogwo. Oluusi twatambuzanga bigere olugendo lwa mayiro nga 15 okuva ku kibiina ekimu okutuuka ku kirala nga tusitudde ensawo zaffe. Okusobola okutuuka mu bibiina ebyali ewalako, twakozesanga entambula yonna eyabangawo, nga tuyita mu nguudo ezaabanga zijjudde ebisooto n’ebinnya.

Dorcas mukyala muvumu nnyo. Ng’ekyokulabirako, oluusi twalinanga okusomoka emigga egyalimu ggoonya nnyingi. Lumu twali ku lugendo olwali lugenda okututwalira ennaku ttaano okutuuka gye twali tulaga, era olw’okuba olutindo lwali lumenyese, twalina kukozesa kaato akatono okusobola okusomoka omugga. Dorcas bwe yali ava mu kaato ako, yagwa mu mazzi era we yagwa waali wawanvu nnyo. Yali tasobola kuwuga era nga nange sisobola; ate mu mugga ogwo mwalimu ggoonya. Ekirungi, waaliwo abavubuka abaayingira mu mazzi ne bamuggyayo. Ekyo ekyabaawo ffembi kyatutiisa nnyo okumala ekiseera, naye tweyongera okuweereza.

Jahgift ne Eric nga bakyali bato nga bayimiridde mu maaso g’Ekizimbe ky’Obwakabaka.

Abaana baffe, Jahgift ne Eric, birabo okuva eri Yakuwa

Mu 1992, twewuunya nnyo okukimanya nti Dorcas yali lubuto. Ekyo kyali kitegeeza nti tugenda kulekera awo okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Twagamba nti, “Yakuwa atuwadde ekirabo.” N’olwekyo muwala waffe twamutuuma Jahgift (Mu Lungereza ekitegeeza, “Ekirabo okuva eri Yakuwa”). Nga wayiseewo emyaka ena, mwannyina, Eric, naye yazaalibwa. Abaana baffe bombi ddala birabo okuva eri Yakuwa. Okumala ekiseera, Jahgift yaweerezaako ku ofiisi awavvuunulirwa ebitabo mu Conakry, ate Eric akola ng’omuweereza mu kibiina.

Israel ne Dorcas nga bali ne mutabani waabwe, Eric, ne muwala waabwe, Jahgift, mu maaso g’Ekizimbe ky’Obwakabaka.

Wadde nga Dorcas yalina okulekera awo okuweereza nga payoniya ow’enjawulo, yeeyongera okuweereza nga payoniya owa bulijjo nga bw’alabirira abaana baffe. Nze nneeyongera okuweereza mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Abaana baffe bwe baamala okukula, Dorcas yaddamu okuweereza nga Payoniya ow’enjawulo. Kati ffembi tuweereza ng’abaminsani mu Conakry.

ENSIBUKO Y’OBUKUUMI OBWA NNAMADDALA

Bulijjo mbaddenga ŋŋenda yonna Yakuwa gy’abaddenga antwala. Emirundi mingi nze ne mukyala wange tulabye engeri Yakuwa gy’atukuumyemu era n’engeri gy’atuwaddemu emikisa. Okwesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga eby’obugagga, kituyambye okwewala ebizibu bingi n’okweraliikirira bangi bye bafuna. Nze ne Dorcas tukirabye nti ensibuko y’obukuumi obwa nnamaddala ye Yakuwa “Katonda ow’obulokozi bwaffe.” (1 Byom. 16:35) Ndi mukakafu nti abo bonna abeesiga Yakuwa, ‘ajja kubakuuma ng’omuntu bw’akuuma ebintu eby’omuwendo ebizingiddwa mu nsawo.’​—1 Sam. 25:29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share