Funa Essanyu mu Kusoma Ekigambo kya Katonda
ALINA essanyu oyo ‘asanyukira amateeka ga Yakuwa.’ Omuntu ng’oyo asoma Ekigambo kya Katonda ‘n’akifumiitirizaako emisana n’ekiro.’ (Zab. 1:1, 2) Naawe olina essanyu ng’eryo? Oyinza otya okwongera ku ssanyu ly’ofuna mu Kigambo kya Katonda?
Wuliriza nga Yakuwa Ayogera
Bw’oba osoma, tosoma busomi bigambo, wabula kuba ekifaananyi ku ebyo by’osoma. Teebereza nti owulira amaloboozi g’abo aboogerwako. Ng’osoma essuula ezisooka mu Baibuli, wuliriza Yakuwa kennyini ng’ayogera ebikolebwa okufuula ensi ekifo ekirungi omuntu asobole okugibeerako. Wuliriza ng’ategeeza Omwana we, Omukozi Omukulu, nti ekiseera kituuse okutonda abantu abasooka. Kuba ekifaananyi ku byaliwo: Adamu ne Kaawa bajeema, Katonda abasalira omusango, era n’ekivaamu abagoba mu Lusuku lwe. (Olubereberye, essuula 1-3) Owuniikirira bw’osoma nti eddoboozi okuva mu ggulu ligamba nti Yesu Kristo ye Mwana wa Katonda omwagalwa, gwe yasindika okuwaayo obulamu bwe ku lw’abantu? (Mat. 3:16, 17) Kuba ekifaananyi ku ekyo omutume Yokaana kye yakola bwe yawulira nga Yakuwa agamba: “Laba, byonna mbizzizza buggya.” (Kub. 21:5) Mu butuufu, okusoma Ekigambo kya Katonda mu ngeri eno kisanyusa nnyo!
Bwe weeyongera okusoma ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa, ojja kukizuula nti Yakuwa wa kitiibwa nnyo era wa kitalo. Ojja kusikirizibwa nnyo eri Katonda ng’oyo atwagala, atuyisa mu ngeri ey’ekisa, atuyamba bwe tufuba okukola by’ayagala, era atulaga engeri y’okutuuka ku buwanguzi mu bye tukola.—Yos. 1:8; Zab. 8:1; Is. 41:10.
Gy’okoma okuwaayo ebiseera okusoma Baibuli, gy’okoma okumanya Katonda by’ayagala. Era bw’onoofuba okukola ekyo, essanyu ly’onoofuna lijja kuba lya nsusso. By’osoma bwe bikuyamba okukola ku bizibu mu ngeri ey’amagezi, ojja kuwulira ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba: “Bye wategeeza bya kitalo: emmeeme yange kyeva ebyekuuma.” (Zab. 119:129) Naawe ojja kusanyuka bw’onootegeera emisingi gy’omu Byawandiikibwa eginaakuyamba okutereeza endowooza yo.—Is. 55:8, 9.
Baibuli erimu obulagirizi obutuyamba okwewala akabi era obutulaga ekkubo ettuufu. Bwe tugisoma, tutegeera nti Yakuwa Kitaffe amanyi ebizibu ebiyinza okubaawo bwe tutwalirizibwa okwegomba kw’omubiri. Tayagala tutuukibweko mitawaana egiva mu kubuusa amaaso emitindo gye egy’empisa. Atufaako era ayagala tunyumirwe obulamu. Bwe tusoma Ekigambo kye, tutegeerera ddala enkizo ey’ekitalo ey’okuba nti ye Katonda waffe era Kitaffe ow’omu ggulu.
Soma Baibuli Buli Lunaku
Omuwandiisi wa zabbuli yayogera bw’ati ku muntu asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku: ‘Buli ky’akola kivaamu ebirungi.’ (Zab. 1:3) Yee, wadde tetutuukiridde era nga tuli mu nsi ya Setaani embi, era nga Setaani agezaako okutuvaabira, okusoma Ekigambo kya Katonda obutayosa awamu n’okussa mu nkola bye tusoma kijja kutuyamba okutuuka ku buwanguzi mu bintu byonna ebikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa.
Okuva bwe tunyigirizibwa mu nsi eno, tujja kuddamu amaanyi singa tusoma Ekigambo ky’Omutonzi waffe ne bwe kiba okumala ekiseera kitono buli lunaku. Abamu abaasibibwa olw’okukkiriza kwabwe baasanga ebyawandiikibwa ebitonotono mu mpapula z’amawulire. Baasala obutundu obwo kwe byali, ne babikwata mu mutwe, era ne babifumiitirizaako. Yakuwa yawa omukisa okufuba kwabwe kubanga baakola kyonna kye baali basobola okuyiga ebiri mu Kigambo kye. (Mat. 5:3) Kyokka, abasinga obungi ku ffe tetuziyizibwa kusoma Kigambo kya Katonda. Tetwandirowoozezza nti okusoma olunyiriri lumu mu Baibuli buli lunaku, ku bwakyo, kinaatuyamba mu ngeri ey’ekyamagero. Kyokka, tujja kufuna emikisa singa tukyusa mu nteekateeka yaffe tusobole okusoma Baibuli buli lunaku, tulowooze ku bye tusomye, era tubikozese mu bulamu bwaffe.
Kyo kituufu nti n’enteekateeka ennungi ze tuba tukoze ziyinza okugootaana. Ekyo bwe kibaawo, tukulembeze ebisinga obukulu. Ng’ekyokulabirako, mu bugenderevu tetuyinza kumala lunaku lumu oba bbiri nga tetunywa mazzi. Mu ngeri y’emu tetwandiragajjalidde kusoma Kigambo kya Katonda ka kibe ki ekibaawo mu bulamu bwaffe.—Bik. 17:11.
Soma Ekigambo kya Katonda Kyonna
Wali osomye Baibuli yonna? Abamu bayinza okulowooza nti kizibu okugisoma okuva ku Olubereberye okutuuka ku Okubikkulirwa. Kyokka, bangi abaayagala okusoma Baibuli yonna baatandikira ku Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Lwaki? Oboolyawo olw’okuba kyabanguyira okulaba engeri ebitabo ebyo gye byabakwatako ng’abantu kinnoomu abaagala okutambulira mu bigere bya Kristo. Oba olw’okuba Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani tebyalabika ng’ebingi okusoma—biri kimu kya kuna ekya Baibuli yonna. Naye bwe baamala okusoma ebitabo ebyo 27, baatandika n’okusoma ebitabo 39 eby’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya era nabyo ne bibanyumira. We baamalirako Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, baali bafunye enkola ey’okusoma Baibuli obutayosa, n’olwekyo baddamu okusoma Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani omulundi ogw’okubiri era n’okutuusa kati tebalekeranga awo kusoma Baibuli. Mu ngeri y’emu, naawe gifuule mpisa yo okusomanga Baibuli buli lunaku mu bulamu bwo bwonna.
Mu maka gammwe oba mu kibiina mulimu omuntu atasobola kusoma? Lwaki tosomera muntu oyo Baibuli obutayosa? Ojja kuganyulwa, ate naye ajja kuganyulwa bw’anaafumiitiriza ku by’awulira era n’abikozesa mu bulamu bwe.—Kub. 1:3.
Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, oyinza okukola enteekateeka ez’enjawulo ez’okusoma Baibuli. Ezimu ku zino ziyinza okukuyamba okutegeera akakwate akaliwo wakati w’ebitundu bya Baibuli eby’enjawulo. Baibuli yo bw’ebaamu ebyawandiikibwa mu miwaatwa, ebyawandiikibwa ebyo biyinza okukuyamba okumanya ebisingawo ku nsonga gy’oba osomako oba okukutwala ku byawandiikibwa ebirala ebyogera ku nsonga y’emu. Biyinza n’okukuyamba okutegeera embeera ezaaviirako okuwandiika zabbuli ez’enjawulo awamu n’ebbaluwa ezaawandiikibwa abatume ba Yesu Kristo. Ekitabo Insight on the Scriptures kitutegeeza bingi ebikwata ku bantu, ebifo, n’engeri ezoogerwako mu Baibuli. Ebipande ebikirimu biraga ebiseera obunnabbi bwa Baibuli lwe bwatuukirizibwa, bakabaka ne bannabbi abaaliwo mu kiseera kye kimu, era biwa ebiseera ebintu we biyinza okuba nga we byabeererawo mu Baibuli.
Ng’ofumiitiriza ku by’osoma, ojja kutegeera ensonga lwaki embeera ezimu zajjawo mu bantu ba Katonda. Era ojja kuzuula ensonga lwaki Yakuwa yayisa abantu nga Baibuli bw’eraga. Era ojja kulaba engeri Yakuwa gy’atunuuliramu ebikolwa bya gavumenti, eby’abantu okutwalira awamu, n’abantu kinnoomu. Kino kijja kukuyamba okutegeera endowooza ye mu ngeri esingawo.
Ojja kweyongera okunyumirwa ebyafaayo bya Baibuli bw’onookuba ekifaananyi ku bifo ebintu ebyo gye by’ali. Mmaapu za Baibuli ziraga engeri ensi gy’efaananamu n’ebbanga eririwo okuva mu kifo ekimu okutuuka mu kirala. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri baasomokera mu kifo ki ku Nnyanja Emmyufu? Ensi Ensuubize yali yenkana wa obunene? Yesu yabuulira kutuuka wa mu buweereza bwe obw’oku nsi? Biki Pawulo bye yalaba ng’ali ku ŋŋendo ze ez’obuminsani? Mmaapu n’ennyinnyonnyola ekwata ku ngeri ebifo gye bifaananamu biwa kalonda asobola okufuula okusoma kwo okunyuvu. Wa w’oyinza okusanga mmaapu z’ebifo ebyogerwako mu Baibuli? Ezimu zisangibwa mu New World Translation of the Holy Scriptures. Emizingo gya Insight girimu mmaapu 70, era ku nkomerero y’omuzingo ogusooka mulimu olukalala lwa mmaapu. Kozesa Watch Tower Publications Index okumanya ebitabo ebirala ebirimu mmaapu. Ebitabo ebyo bw’oba tobirina, weeyambise mmaapu ezibeera mu Watchtower okukuyamba ng’osoma Baibuli.
Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, Kabaka Dawudi yatendereza Yakuwa, ng’agamba: “Ebirowoozo byo nga bya muwendo mungi gye ndi, ai Katonda! Bwe bigattibwa awamu, nga bingi!” (Zab. 139:17) Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, omutume Pawulo yatendereza Yakuwa kubanga ‘yayaka mu mitima gyaffe ne tusobola okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.’ (2 Kol. 4:6) Dawudi ne Pawulo baasanyukira Ekigambo kya Katonda wadde nga Pawulo yaliwo oluvannyuma lw’ebyasa n’ebyasa by’emyaka okuva ku kiseera kya Dawudi. N’olwekyo, naawe osobola okukisanyukira singa owaayo ebiseera okusoma byonna Yakuwa by’atadde mu Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa.