Nyiikirira Okusoma
OMUNTU omu ku buli bantu mukaaga tamanyi kusoma, era nga bangi tebamanyi kusoma olw’okuba tebaafuna mukisa kugenda mu ssomero. Ate era ne mu abo abamanyi okusoma, bangi tebatera kusoma. Kyokka, bw’oba omanyi okusoma osobola okumanya ebiri mu nsi endala, n’omanya n’abantu abaliyo era n’obaako ne by’obayigirako. Era okusoma kukusobozesa okumanya engeri y’okwaŋŋangamu embeera enzibu mu bulamu.
By’osomera abaana bo biyinza okubayamba okukulaakulanya engeri ennungi
Engeri omuyizi gy’akolamu ku ssomero yeesigama nnyo ku kumanya okusoma. Bw’atandika okukola, omulimu gw’afuna era n’essaawa z’alina okukola okusobola okweyimirizaawo byesigama nnyo ku kusoma. Abakyala abafumbo abamanyi okusoma basobola bulungi okulabirira amaka gaabwe ku bikwata ku ndya ennungi, eby’obuyonjo era n’okuziyiza endwadde. Ate era bamaama abamanyi okusoma basobola okuyamba abaana baabwe okukulaakulana obulungi mu birowoozo.
Kya lwatu, omuganyulo ogw’okumanya okusoma ogusingirayo ddala guli nti kusobozesa omuntu ‘okuzuula okumanya okukwata ku Katonda.’ (Nge. 2:5) Engeri nnyingi ze tuyitiramu okuweereza Katonda zitwetaagisa okuba nti tumanyi okusoma. Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako bisomebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Okusobola okufuna ebibala mu buweereza bw’ennimiro kisinziira nnyo ku ngeri gy’osomamu. Era okweteekerateekera ebintu ebyo kyetaagisa okusoma. N’olw’ensonga eyo, okukulaakulana kwo mu by’omwoyo kwesigama nnyo ku ngeri gy’ojjumbiramu okusoma.
Kozesa Bulungi Omukisa gw’Olina
Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde
Abamu ku abo abayiga amakubo ga Katonda, si bayigirize nnyo. Kiyinza okubeetaagisa okuyigirizibwa okusoma basobole okukulaakulana mu by’omwoyo. Oba kiyinza okwetaagisa okubayamba okulongoosa mu ngeri gye basomamu. Bwe wabeerawo obwetaavu, ebibiina biyinza okukola entegeka okuyigiriza abalinga abo okusoma n’okuwandiika nga beeyambisa akatabo Apply Yourself to Reading and Writing. Bangi baganyuddwa mu nteekateeka eno. Olw’obukulu bw’okumanya okusoma obulungi, ebibiina ebimu bikola enteekateeka ey’okuyigiriza okusoma mu kiseera kye kimu bwe wabeererawo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Enteekateeka eyo ne bw’etabaawo, omuntu ayinza okukulaakulana ng’awaayo ekiseera buli lunaku okusoma mu ddoboozi eriwulikika era ng’abaawo mu ssomero obutayosa era n’alyenyigiramu.
Eky’ennaku, obutabo obulimu ebisesa, ttivi, n’ebirala bireetedde bangi okulagajjalira okusoma. Okulaba ttivi n’obutaagala kusoma bintu bingi kiyinza okulemesa omuntu okukulaakulana mu kusoma, okulowooza obulungi era n’okusobola okweyogerako.
Ebitabo ebituyamba okutegeera Baibuli bituweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Bibaamu ebintu bingi ebikwata ku nsonga ez’eby’omwoyo. (Mat. 24:45; 1 Kol. 2:12, 13) Era bitutegeeza ebintu ebikulu ebibaawo mu nsi n’amakulu gaabyo, bituyamba okutegeera obutonde, awamu n’okutuyigiriza engeri y’okwaŋŋangamu ensonga ezitukwatako. Okusinga byonna, bitulaga engeri y’okuweerezaamu Katonda mu ngeri gy’asiima. Okusoma ebitabo ng’ebyo kijja kukuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo.
Kya lwatu, okusobola okusoma obulungi ku bwakyo tekimala. Tulina okusoma ebintu ebisaanira. Ng’omuntu bw’atamala galya bulyi, tetumala gasoma buli kintu. Lwaki wandiridde emmere etaliimu biriisa oba eyinza n’okubaamu obutwa? Mu ngeri y’emu, lwaki osoma wadde okuyisaamu obuyisi amaaso mu bintu ebiyinza okwonoona ebirowoozo byo n’omutima gwo? Tusaanidde okukozesa emisingi gya Baibuli nga tusalawo bye tunaasoma. Nga tonnasalawo kya kusoma, lowooza ku byawandiikibwa nga Omubuulizi 12:12, 13; Abeefeso 4:22-24; 5:3, 4; Abafiripi 4:8; Abakkolosaayi 2:8; 1 Yokaana 2:15-17; ne 2 Yokaana 10.
Soma ng’Olina Ekiruubirirwa Ekirungi
Obukulu bw’okubeera n’ekiruubirirwa ekirungi mu kusoma bweyoleka bwe twekenneenya ebiri mu Njiri. Ng’ekyokulabirako, mu Njiri ya Matayo, Yesu yasooka n’abuuza abakulembeze b’amadiini abaali bamanyi ebyawandiikibwa ebibuuzo nga “Temusomanga?” ne “Temusomangako?” nga tannaddamu bibuuzo byabwe ng’asinziira ku Byawandiikibwa. (Mat. 12:3, 5; 19:4; 21:16, 42; 22:31) Ekimu kye tuyigira ku kino kiri nti singa tetuba na kiruubirirwa kirungi nga tusoma, tuyinza okusalawo mu bukyamu oba obutafuna makulu gennyini ag’ensonga eyogerwako. Abafalisaayo baali basoma Ebyawandiikibwa nga balowooza nti okuyitira mu byo, bandifunye obulamu obutaggwaawo. Ekirabo ekyo, nga Yesu bwe yagamba, tekiweebwa abo abataagala Katonda era abatakkiriza nteekateeka gy’ataddewo okuleeta obulokozi. (Yok. 5:39-43) Abafalisaayo tebaalina kiruubirirwa kirungi kubanga baali beefaako bokka; n’olwekyo bingi bye baasalangawo byali bikyamu.
Okwagala Yakuwa kye kiruubirirwa ekisingayo obulungi kye twandibadde nakyo nga tusoma Baibuli. Okwagala ng’okwo kutukubiriza okuyiga by’ayagala, kubanga okwagala ‘kusanyukira amazima.’ (1 Kol. 13:6) Wadde tuyinza okuba nga tetwanyumirwanga kusoma mu biseera eby’emabega, okwagala Yakuwa ‘n’amagezi gaffe gonna’ kujja kutukubiriza okufuba okufuna okumanya okukwata ku Katonda. (Mat. 22:37) Okwagala kutukubiriza okussaayo omwoyo, ate bwe tussaayo omwoyo kitusobozesa okuyiga.
Lowooza ku Sipiidi gy’Osomerako
Okwetegereza by’osoma kikulu nnyo ng’osoma. Ne kaakati ng’osoma, by’osoma obyetegereza era n’ojjukira amakulu gaabyo. Oyinza okwongera ku sipiidi gy’osomerako. Mu kifo ky’okusomayo ekigambo kimu kimu, gezaako okusoma ebigambo ebiwerako omulundi gumu. Bw’onookola bw’otyo, ojja kutegeera bulungi by’osoma.
Yiga okusoma n’ebbugumu
Kyokka, bw’oba osoma ebintu ebizibu okutegeera, waliwo enkola endala esobola okukuyamba okubitegeera obulungi. Ng’akubiriza Yoswa okusoma Ebyawandiikibwa, Yakuwa yagamba: “Ekitabo kino eky’amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu [“onookifumiitirizangako,” NW] emisana n’ekiro.” (Yos. 1:8) Ng’ofumiitiriza, obeera olowooza nnyo era obeera toyanguyiriza. Okusoma ng’ofumiitiriza kusobozesa Ekigambo kya Katonda okutuuka ku birowoozo byo n’omutima gwo. Baibuli erimu obunnabbi, okubuulirira, engero, ebikwate, ebirangiriro ebikwata ku musango Katonda gw’asaze, ebikwata ku kigendererwa Kye era n’ebyokulabirako ebikwata ku bintu ebyaliwo ddala—byonna nga bya muwendo eri abo abatambulira mu makubo ga Yakuwa. Nga kiganyula nnyo okusoma Baibuli mu ngeri ekusobozesa okugitegeerera ddala!
Yiga Okussaayo Omwoyo
Engeri gy’osomamu erina ky’ekola ku kukulaakulana kwo okw’eby’omwoyo
Bw’oba osoma, weeteeke mu mbeera eba eyogerwako. Gezaako okukuba ekifaananyi ku abo b’osomako, era lowooza ku nneewulira zaabwe. Ekyo kiba kyangu gamba ng’osoma ebikwata ku Dawudi ne Goliyaasi, ebiri mu 1 Samwiri essuula 17. Kyokka n’ebiri mu Okuva ne Eby’Abaleevi ebikwata ku kuzimba weema oba okutongozebwa kw’obwakabona bijja kukunyumira nnyo singa onoobisoma ng’ofumiitiriza ku bipimo, ebyakozesebwa mu kuzimba, oba akaloosa k’obubaane, eŋŋaano ensiike n’ebisolo ebyaweebwangayo. Lowooza ku nkizo ey’ekitalo ey’okuweereza nga kabona! (Luk. 1:8-10) Bw’osoma mu ngeri eyo kijja kukuyamba okutegeera amakulu g’ebyo by’osoma era kijja kukuyamba okubijjukira.
Kyokka, bw’oteegendereza, ebirowoozo byo biyinza okuwuguka ng’osoma. Oyinza okutunuulira olupapula lw’osoma, kyokka ng’ebirowoozo byo biri walala. Kuliko ennyimba oba ttivi? Ab’awaka bo banyumya? Bwe kiba kisoboka, somera mu kifo ekisirifu. Kyokka, ggwe kennyini oyinza okuba nga gwe ovaako ebikutaataaganya. Oboolyawo wakooye nnyo. Nga kiba kyangu nnyo okulowooza ku mirimu gye wakoze! Si kibi okugirowoozaako naye si mu kiseera ng’osoma. Oboolyawo otandika ng’ebirowoozo byo biri ku ky’osoma, sinnakindi n’osooka n’okusaba nga tonnatandika kusoma. Naye bw’oba osoma, ebirowoozo byo ne bitandika okuwuguka, tolekulira naye weeyongere okusoma. Weefuge olabe nti ebirowoozo byo obissa ku by’osoma. Mpolampola ojja kulaba nga waliwo enkyukakyuka.
Okola ki bw’osanga ekigambo ky’otategeera? Ebigambo ebimu ebizibu biyinza okunnyonnyolebwa oba okutangaazibwako mu kitundu ekyo. Oba oyinza okutegeera amakulu gaabyo ng’osinziira ku birala by’osomye. Bw’olemererwa, bikebere mu nkuluze y’ebigambo bw’oba ogirina, oba kirambe osobole okubuuza omuntu omulala amakulu gaakyo. Kino kijja kukuyamba okwongera ku bigambo by’omanyi era kikusobozese okweyongera okutegeera obulungi by’osoma.
Okusoma mu Lujjudde
Okusomera awamu kigatta ab’omu maka
Omutume Pawulo bwe yagamba Timoseewo okunyiikirira okusoma, yali ategeeza okusoma mu ngeri eganyula abalala. (1 Tim. 4:13) Okusoma obulungi mu lujjudde tekitegeeza kusoma busomi mu ddoboozi eriwulikika. Omusomi yeetaaga okutegeera amakulu g’ebyo by’asoma. Bw’abitegeera, aba asobola okusoma ng’aggirayo ddala amakulu era n’ayoleka n’enneewulira eri mu by’asoma. Kya lwatu, ekyo kyetaagisa okutegeka obulungi n’okwegezaamu. N’olwekyo Pawulo yakubiriza: ‘Nyiikiriranga okusoma.’ Ojja kutendekebwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Waayo Ebiseera Okusoma
“Enteekateeka z’omuntu omunyiikivu zivaamu emiganyulo, naye buli muntu ayanguyiriza aba n’ekimubulako.” (Nge. 21:5, NW) Ekyo nga kituufu nnyo bwe kituuka ku kusoma! Okusobola okufuna “emiganyulo,” twetaaga okukola enteekateeka ennungi ebirala bye tukola bireme okutulemesa okufuna akadde okusoma.
Osoma ddi? Oganyulwa bw’osoma ku makya? Oba osobola kusoma luvannyumako? Singa owaayo eddakiika 15 oba 20 buli lunaku okusoma, ojja kwesanga nti osomye ebintu bingi. Ekikulu kwe kusoma obutayosa.
Lwaki Yakuwa yawandiisa ebigendererwa bye mu kitabo? Abantu basobole okubisoma. Ekyo kibasobozesa okulowooza ku bikolwa bye eby’ekitalo, okubibuulira abaana baabwe, era n’okubijjukira. (Zab. 78:5-7) Engeri gye tusiimamu obulungi bwa Yakuwa mu nsonga eno yeeyolekera mu ngeri gye tunyiikiramu okusoma Ekigambo kye ekiwa obulamu.