LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 43-lup. 46
  • Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Engeri y’Okutegekamu Emboozi ey’Okusoma
  • Ng’Oweereddwa Omutwe n’Embeera mw’Onoogiweera
  • Bw’Oba wa Kwogera eri Ekibiina
  • Okukozesa Ebikuweereddwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okutegeka Emboozi ez’Okuwa mu Kibiina
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Ebirina Okugobererwa Abalabirizi Abakubiriza Essomero
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Essomero Eritusobozesa Okukola Omulimu Ogusingayo Obukulu mu Bulamu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 43-lup. 46

Okutegeka Emboozi Ezikuweereddwa mu Ssomero

BULI lw’oweebwa emboozi mu ssomero, ofuna akakisa ak’okukulaakulana. Bw’onoofubanga okuzitegeka obulungi, okukulaakulana kwo kujja kweyoleka gy’oli n’eri abalala. (1 Tim. 4:15) Essomero lijja kukuyamba okufuuka omwogezi omulungi.

Ofuna ekiwuggwe bw’olowooza ku kwogera mu maaso g’ekibiina? Ekyo kya mu butonde, wadde ng’obadde mu ssomero okumala ebbanga. Kyokka, waliwo ebintu ebimu ebiyinza okukuyamba okukendeeza ku kutya kw’oyinza okuba nakwo. Weemanyiize okusomanga mu ddoboozi eriwulikika ng’oli awaka. Ate bw’oba ng’oli mu nkuŋŋaana z’ekibiina, baako ne by’oddamu emirundi egiwera. Bw’oba ng’oli mubuulizi, weenyigire mu buweereza bw’ennimiro obutayosa. Kino kijja kukusobozesa okufuna obumanyirivu mu kwogera mu maaso g’abalala. Ng’oggyeko ekyo, tegeka emboozi eziba zikuweereddwa mu ssomero nga bukyali, era weegezeemu okuziwa mu ddoboozi eriwulikika. Jjukira nti abanaaba bakuwuliriza mikwano gyo. Nga tonnaba kuwa mboozi yonna, tuukirira Yakuwa mu kusaba. Awa abaweereza be omwoyo omutukuvu singa baba bagumusabye.​—Luk. 11:13; Baf. 4:6, 7.

Tosuubira kukola bulungi nnyo mu ntandikwa. Okufuna obumanyirivu mu kwogera n’okubeera omuyigiriza omulungi kitwala ekiseera. (Mi. 6:8) Bw’oba ng’okyali muppya mu ssomero, tosuubira nti emboozi gy’onoosooka okuwa egya kuba nnungi nnyo. Kijja kukwetaagisa okukola ku nsonga emu ey’okuwabulwako buli lw’onooba oweereddwa emboozi. Soma essuula ekwata ku nsonga eyo mu kitabo kino. Era bwe kiba kisoboka yita mu by’okukolako ebiweereddwa ku nkomerero y’ekitundu ekyo. Kino kijja kukuwa obumanyirivu ku nsonga gy’ojja okukolako ng’owa emboozi yo. Bw’onookola bw’otyo ojja kukulaakulana.

Engeri y’Okutegekamu Emboozi ey’Okusoma

Okutegeka okusoma mu lujjudde kisingawo ku kusoma obusomi ebiba bikuweereddwa. Fuba okutegeera amakulu g’ebyo by’ogenda okusoma. Amangu ddala nga waakaweebwa ekitundu ky’ogenda okusoma, kiyitemu ng’olina ekigendererwa eky’okukitegeera obulungi. Gezaako okutegeera amakulu agali mu buli sentensi n’ensonga eba eyogerwako mu buli katundu kikusobozese okuggyayo obulungi amakulu ago ng’osoma. Bwe kiba kisoboka, kebera enkuluze osobole okumanya enjatula y’ebigambo by’otomanyi. Fuba okutegeera obulungi by’osoma. Abazadde basobola okuyamba abaana baabwe mu kino.

Oweereddwa kusoma kitundu mu Baibuli oba kusoma butundu mu Omunaala gw’Omukuumi? Singa by’oba ogenda okusoma biba byafulumizibwako ku butambi bwa kaseti mu lulimi lwo, kiyinza okuba eky’omuganyulo okubuwuliriza era ne weetegereza engeri ebigambo gye byatulwamu, ensengeka yaabyo, essira we liteekeddwa, n’engeri eddoboozi gye likyusibwakyusibwamu. Bw’omala, gezaako okusoma mu ngeri efaananako ng’eyo.

Bw’otandika okutegeka emboozi eba ekuweereddwa, kakasa nti osoma n’obwegendereza ensonga gy’ogenda okuwabulwako eba ekuweereddwa. Ng’omaze okwegezaamu mu mboozi yo mu ddoboozi eriwulikika enfunda n’enfunda, bwe kiba kisoboka ddamu weetegereze ensonga gy’ojja okuwabulwako. Fuba nga bwe kisoboka okussa mu nkola amagezi agakuweereddwa mu kitabo kino.

Okutendekebwa kuno kujja kukuyamba nnyo mu buweereza bwo. Ng’oli mu buweereza bw’ennimiro, ofuna emikisa mingi egy’okusomera abalala. Okuva bwe kiri nti Ekigambo kya Katonda kirina amaanyi okukyusa obulamu bw’abantu, kikulu okukisoma obulungi. (Beb. 4:12) Tosuubira nti ojja kukugukirawo oluvannyuma lw’okusoma omulundi nga gumu oba ebiri mu ssomero. Ng’awandiikira omukadde Omukristaayo eyalina obumanyirivu, omutume Pawulo yagamba bw’ati: ‘Nyiikiriranga okusoma.’​—1 Tim. 4:13.

Ng’Oweereddwa Omutwe n’Embeera mw’Onoogiweera

Singa oweebwa emboozi mu ssomero awamu n’embeera ey’okugiweeramu, onootandika otya okugiteekateeka?

Olina okwetegereza ebintu bisatu ebikulu: (1) ky’ogenda okwogerako, (2) embeera gy’onooyogeramu n’omuntu gw’onooba oyogera naye, ne (3) ensonga gy’ogenda okuwabulwako.

Weetaaga okunoonyereza ku ky’ogenda okwogerako. Nga waakatandika okutegeka, fumiitiriza nnyo ku mbeera gy’onoogiweeramu ne ku oyo gw’onooba oyogera naye, okuva ebyo bwe birina akakwate n’emboozi yo n’engeri gy’onoogiwaamu. Mbeera ki gy’olonze okwogereramu? Onooba obuulira amawulire amalungi omuntu gw’omanyi? Oba onooba olaga ekyo ekiyinza okubaawo ng’oyogera n’omuntu ku mulundi ogusooka? Omuntu oyo akusinga obukulu oba muto ku ggwe? Alina ndowooza ki ku nsonga gy’oteekateeka okukubaganyako naye ebirowoozo? Biki by’ayinza okuba ng’amanyi ku nsonga eyo? Kiruubirirwa ki ky’olina mu kukubaganya naye ebirowoozo? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kukuyamba ng’oteekateeka emboozi yo.

Wa w’onoosanga ebikwata ku mutwe gw’ogenda okwogerako? Ku lupapula 33 okutuuka ku 38 mu kitabo kino kuliko essuula egamba nti: “Engeri y’Okunoonyerezaamu.” Soma essuula eno era weeyambise ebitabo by’olina. Mu mbeera ezisinga obungi ojja kuzuula bingi okusinga ne bye weetaaga okukozesa. Soma ebinaakumala okunnyonnyola ensonga zo mu ngeri ematiza. Ng’okola ekyo, lowooza ku mbeera gy’onooweeramu emboozi n’engeri gy’onookwatamu omuntu gw’onooyogera naye. Weetegereze ensonga ezinaaba ennungi okukozesa.

Nga tonnaba kulonda byonna by’onookozesa mu mboozi yo, sooka osome ensonga gy’ogenda okuwabulwako. Okweyambisa amagezi agali mu nsonga ey’okuwabulwako, y’emu ku nsonga enkulu ekuweesa emboozi.

Bw’okozesa obulungi ebiseera ebikuweereddwa okuweeramu emboozi yo, ojja kusobola okugifundikira obulungi. Kyokka nga tuli mu buweereza bwaffe obw’ennimiro tewaba atugerekera biseera bye tulina kumala. N’olwekyo ng’otegeka emboozi yo, lowooza ku biseera ebiba bikuweereddwa, naye ng’essira olissa ku kuyigiriza obulungi.

Ebikwata ku Mbeera mw’Oweera Emboozi. Weetegereze embeera omuweerwa emboozi eziri ku lupapula 82, era olondeko emu gy’oyinza okukozesa mu buweereza bwo obw’ennimiro era ng’ejja na kukusobozesa okukozesa ebikuweereddwa ng’owa emboozi mu ssomero. Bw’oba ng’obadde mu ssomero okumala ebbanga, buli mulundi gw’oweebwa emboozi gutwale ng’omukisa ogw’okwongera okukulaakulana era n’okufuna obumanyirivu mu buweereza bwo.

Akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda bw’akulondera embeera ey’okuweeramu emboozi, eyo gy’oba okozesa. Embeera eziweerwamu emboozi ezisinga zikwata ku kuwa bujulirwa. Bw’oba ng’obadde towangako bujulirwa mu mbeera efaananako bw’etyo, buuza ku babuulizi abaali bakikozeeko bakuwe ku magezi. Bwe kiba kisoboka, nga tonnawa mboozi yo kubaganya ebirowoozo n’omuntu omulala ali mu mbeera efaananako n’eyo gy’ogenda okukozesa mu ssomero. Kino kijja kukuyamba okutuuka ku kiruubirirwa kyo mu ssomero.

Bw’Oba wa Kwogera eri Ekibiina

Bw’oba ng’oli musajja, oyinza okusabibwa okuwa emboozi ennyimpimpi eri ekibiina. Ng’otegeka emboozi ey’engeri eno, amagezi g’olina okugoberera ge gamu n’ago ageeyambisibwa mu kuteekateeka emboozi eziweebwa mu ngeri ey’okukubaganya ebirowoozo. Enjawulo eri mu ngeri gy’owamu emboozi eyo.

Okutwalira awamu kirungi okutegeka emboozi mu ngeri eneeganyula bonna abanaakuwuliriza. Abasinga obungi ku bakuwuliriza baba bamanyi enjigiriza enkulu eza Baibuli. Bayinza n’okuba nga by’oyogerako babimanyi bulungi. Ensonga eyo beera nayo mu birowoozo ng’oteekateeka. Fuba okulaba nti emboozi yo ennebaganyula. Weebuuze: ‘Emboozi eno eyinza etya okunnyamba awamu n’abampuliriza okusiima Yakuwa? Mu mboozi mulimu ki ekinaatuyamba okutegeera Katonda by’ayagala? Emboozi eno esobola etya okutuyamba okusalawo obulungi mu nsi eno ebuutikiddwa omwoyo gw’okwefaako?’ (Bef. 2:3) Okufuna eby’okuddamu ebimatiza mu bibuuzo ebyo kiba kyetaagisa okunoonyereza. Ng’okozesa Baibuli, tosoma busomi byawandiikibwa. Nnyonnyola ebyawandiikibwa by’okozesa, era laga engeri gye biwagiramu ensonga gy’oyogerako. (Bik. 17:2, 3) Toyogera ku bintu bingi. Emboozi yo giwe mu ngeri eneesobozesa abawuliriza okujjukira ensonga z’oyogerako.

Ate era, ng’oteekateeka, osaanidde okulowooza ku ngeri gy’onoowamu emboozi eyo. Kino kitwale nga kikulu. Weegezeemu mu ddoboozi eriwulikika. Bw’ofuba okusoma n’okugoberera amagezi agakuweebwa mu kitabo kino, ojja kukulaakulana nnyo. K’obeere mwogezi muppya oba ng’olina obumanyirivu, tegeka bulungi osobole okwogera nga weekakasa era ng’olina ebbugumu erituukirawo. Ng’owa buli mboozi eba ekuweereddwa mu ssomero, jjukira ekigendererwa ky’okuwa Katonda ekitiibwa ng’okozesa ekitone eky’okwogera Yakuwa ky’akuwadde.​—Zab. 150:6.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share