Okutegeka Emboozi ez’Okuwa mu Kibiina
PROGRAMU y’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda etegekeddwa okuganyula ekibiina kyonna. Ate era, waliwo ebintu ebirala eby’omuganyulo ebiyigirizibwa mu kibiina ne mu nkuŋŋaana ennene. Singa oba oweereddwa emboozi mu emu ku programu zino, obwo buba buvunaanyizibwa bwa maanyi. Omutume Pawulo yakubiriza omulabirizi Omukristaayo Timoseewo okufaayo ennyo ku ngeri gy’ayigirizaamu. (1 Tim. 4:16) Abo ababeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo baba bawaddeyo ebiseera byabwe eby’omuwendo basobole okuyigirizibwa ebikwata ku nkolagana yaabwe ne Katonda ate nga n’abamu baba bafubye nnyo okusobola okubaawo. Okuwa emboozi mu kibiina eba nkizo ya maanyi nnyo! Wanditeeseteese otya emboozi ng’eyo?
Okunokolayo Ebimu ku Ebyo Ebisomeddwa mu Baibuli
Ekitundu kino eky’essomero kyesigamizibwa ku ebyo ebiba bisomeddwa mu Baibuli wiiki eyo. Essira lisaanidde kuteekebwa ku ngeri ebiri mu ssuula eziba zisomeddwa gye bitukwatako. Nga bwe kiragibwa mu Nekkemiya 8:8, Ezera ne banne baasoma Ekigambo kya Katonda, ne bakinnyonnyola era ne ‘bakiteekamu amakulu,’ abantu ne basobola okukitegeera. Naawe osobola okukola bw’otyo bw’oba ng’onokolayo ebimu ku ebyo ebiri mu kitundu ekiba kisomeddwa mu Baibuli.
Wanditeeseteese otya ekitundu kino? Bwe kiba kisoboka, soma essuula za Baibuli ezirina okusomebwa ng’ekyabulayo wiiki ng’emu oba n’okusingawo. Oluvannyuma lowooza ku byetaago by’ekibiina. Kino kisse mu kusaba kwo. Weebuuze, kubuulirira ki, byakulabirako ki, oba misingi ki egiri mu ssuula ezo ebisobola okuyamba ekibiina?
Kikulu okunoonyereza. Olina Watchtower Library ku kompyuta oba ekitabo ekiyitibwa Watch Tower Publications Index mu lulimi lwo? Bw’oba nabyo, byeyambise. Bw’onoonyereza ku nnyiriri z’oba olonze okuggumiza, oyinza okufuna ensonga ezikuyamba okutangaaza ku nnyiriri ezo, ezikuyamba okunnyonnyola ebikwata ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi, n’ezikuyamba okunnyonnyola ebyawandiikibwa ebimu kye byogera ku Yakuwa n’emisingi gye. Toyogera ku nsonga nnyingi. Essira lisse ku nnyiriri ntono z’oba olonze. Kiba kirungi okusoma ennyiriri ntono era n’ozinnyonnyola bulungi.
Ate era kiyinza okukwetaagisa okusaba abawuliriza okwogera ku ngeri gye baaganyuddwa mu ebyo bye baasomye mu Baibuli wiiki eyo. Kiki kye baalabye ekinaabaganyula mu buweereza bwabwe oba mu mbeera endala yonna ey’obulamu oba mu kusoma kwabwe kinnoomu oba ng’amaka? Ngeri ki eza Yakuwa ezeeyoleka mu ngeri gye yakolaganamu n’abantu kinnoomu era n’amawanga? Abawuliriza baayize ki ekyanywezezza okukkiriza kwabwe era ne beeyongera okusiima Yakuwa? Essira tolissa ku nsonga nzibu kunnyonnyola. Wabula lisse ku kulaga amakulu n’omugaso oguli mu nnyiriri z’oba olonze.
Emboozi Esooka
Emboozi eno yeesigamizibwa ku kitundu ekimu mu Omunaala gw’Omukuumi oba Awake! oba oluusi ku kitabo ekimu. Emirundi egisinga bw’oba oweereddwa w’oba ogenda okuggya emboozi wabaawo eby’okwogerako bingi nga tosobola kubyogerako byonna mu kiseera ekiba kikuweereddwa. Emboozi eno wandigiwadde otya? Ng’olina ekigendererwa kya kuyigiriza, so si kwogera bwogezi ku byonna ebiri mu kitundu ekyo w’oba ojje emboozi. Omulabirizi ateekwa okuba ‘ng’amanyi okuyigiriza.’—1 Tim. 3:2.
Tandika ng’osoma ekitundu w’ogenda okuggya emboozi. Kebera ebyawandiikibwa. Fumiitiriza. Fuba okukola bino ng’olunaku lw’onoowa emboozi lukyali wala. Kijjukire nti ab’oluganda bakubirizibwa okusoma ekitundu okuba kwesigamiziddwa emboozi eno nga bukyali. Ekigendererwa kyo si kuyita buyisi mu bikuweereddwa okwogerako oba okubiwumbawumbako, wabula okulaga engeri gye biyinza okussibwa mu nkola. Kozesa ebyo by’olaba nga bye bijja okuganyula ekibiina.
Nga buli mwana bw’ali ow’enjawulo, n’ebibiina bwe bityo. Omuzadde ayigiriza obulungi, tabuulira bubuulizi mwana we mitindo gya mpisa. Amulaga emiganyulo egiri mu kugoberera emitindo egyo. Kimwetaagisa okumanya engeri z’omwana n’ebizibu by’ayolekaganye nabyo. Mu ngeri y’emu, abayigiriza mu kibiina bafuba okuyigiriza mu ngeri ekwataganira ddala n’ebyetaago by’abo be baba bayigiriza. Kyokka, oyo ayigiriza mu ngeri ey’amagezi, yeewala okukozesa ebyokulabirako ebiyinza okuswaza abamu ku bamuwuliriza. Alaga emiganyulo egiri mu kutambulira mu makubo ga Yakuwa era ayogera ne ku kubuulirira okuli mu Byawandiikibwa okusobola okuyamba abali mu kibiina okwaŋŋanga ebizibu bye boolekaganye nabyo.
Omuntu bw’ayigiriza mu ngeri ennungi aba asobola okutuuka ku mitima gy’abamuwuliriza. Okuyigiriza mu ngeri eyo tekitegeeza kubaako bubeezi na by’abagamba ku nsonga ezimu, wabula kizingiramu n’okubayamba okuzisiima. Okusobola okukola ekyo kyetaagisa okubeera ng’obalumirirwa. Abasumba ab’eby’omwoyo basaanidde okumanya ekisibo obulungi. Singa bamanya ebizibu abali mu kibiina bye boolekaganye nabyo, bajja kusobola okwogera nabo mu ngeri ezzaamu amaanyi, era ey’ekisa.
Ng’abo abayigiriza obulungi bwe bakimanyi, emboozi erina okuba n’ekigendererwa. Esaanidde okuweebwa mu ngeri eneesobozesa ensonga enkulu okuvaayo obulungi era n’okujjukirwa amangu. Kino kijja kusobozesa abawuliriza okukozesa ensonga ezo mu bulamu bwabwe.
Olukuŋŋaana olw’Obuweereza
Bw’oba ow’okuwa emboozi eyeesigamiziddwa ku kitundu ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, engeri gy’ogitegekamu eyinza okwawukanamu katono. Emirundi egisinga obungi kiba kikwetaagisa okwogera ku ebyo byonna ebiri mu kitundu ekyo so si kulondobamu ggwe by’olaba nga bye bisaanira. Yamba abakuwuliriza okutegeera ebyawandiikibwa okwesigamiziddwa okubuulirira okuweereddwa. (Tit. 1:9) Ebiseera ebiba bikuweereddwa emirundi egisinga tebikusobozesa kugattamu bintu birala.
Ku luuyi olulala, oyinza okusabibwa okubaako by’oyogera nga tebyesigamiziddwa ku kitundu kyonna ekiri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. By’oyogera biyinza okuva mu Omunaala gw’Omukuumi oba biyinza okwesigamizibwa ku nsonga entonotono eziba zikuweereddwa. Kirekeddwa eri ggwe ng’omusomesa okumanya engeri ekibiina gye kisobola okuganyulwa mu ebyo ebiba bikuweereddwa okwogerako. Kiyinza okukwetaagisa okukozesa ekyokulabirako ekituukirawo. Kijjukire nti tolina kwogera bwogezi ku ebyo ebikuweereddwa, wabula okubyeyambisa okulaga abali mu kibiina engeri gye bayinza okutuukirizamu omulimu ogulagibwa mu Kigambo kya Katonda era n’okufuna essanyu nga bagukola.—Bik. 20:20, 21.
Ng’otegeka ekitundu ekyo, lowooza ku mbeera z’abo abali mu kibiina. Beebaze olw’ebyo bye bakola. Singa banassa mu nkola amagezi agaweereddwa mu kitundu ekyo kinaabayamba kitya okweyongera okufuna ebibala n’essanyu mu buweereza bwabwe?
Ekitundu ekyo ekikuweereddwa kirimu okulaga ekyokulabirako oba okubuuza ebibuuzo? Bwe kiba bwe kityo, bisaanidde okutegekebwa nga bukyali. Kiyinza okukwanguyira okusaba omuntu omulala okukutegekera ekyokulabirako ekyo, naye enkola eyo si nnungi. Bwe kiba kisoboka, muyiteemu naye mu kyokulabirako ekyo ng’olunaku lw’olukuŋŋaana terunnatuuka. Kakasa nti ebyokulabirako oba ebibuuzo by’obuuza mu kitundu kino biyamba okuggumiza ensonga z’oyigiriza.
Enkuŋŋaana Ennene
Ab’oluganda abakulaakulanye mu by’omwoyo era nga boogezi balungi basobola okusabibwa okuwa emboozi mu nkuŋŋaana ennene. Mu nkuŋŋaana zino mubaamu ebintu bingi bye tuyigirizibwa. Aboogezi abamu baweebwa emboozi nga za kusoma busomi, abalala baweebwa ekiwandiiko ky’emboozi kwe banaasinziira, n’abalala basabibwa okukubiriza omuzannyo ogwesigamiziddwa ku Baibuli ogukwata ku bulamu bwaffe obwa bulijjo. Singa oweebwa enkizo ey’okuwa emboozi ku programu ng’eno, soma ebiba bikuweereddwa n’obwegendereza. Bisome okutuusa lw’owulira nti obitegeera bulungi.
Abo ababa baweereddwa emboozi ey’okusoma, basaanidde okusoma buli kigambo. Tebakyusa mu bigambo oba ensengeka yaabyo. Bagisoma n’obwegendereza okusobola okutegeera ensonga enkulu n’engeri gye zigenda zinnyonnyolwamu. Beegezaamu enfunda n’enfunda nga basoma mu ddoboozi eriwulikika okutuusa lwe baba nga basobola okuwa emboozi eno n’ebbugumu, nga baggumiza ebigambo mu ngeri eggyayo obulungi amakulu, era nga bakozesa eddoboozi eriwulikika.
Ab’oluganda ababa baweereddwa ekiwandiiko ky’emboozi balina okutegeka emboozi eyo nga basinziira ku kiwandiiko ekyo. Mu kifo ky’okusoma obusomi ebiri ku kiwandiiko ky’emboozi, omwogezi yandiwadde emboozi eyo mu bigambo bye. Kikulu obutasussa mu budde buba bulagiddwa ku lupapula, kisobozese buli nsonga nkulu okuvaayo obulungi. Omwogezi asaanidde okweyambisa obulungi ebirowoozo awamu n’ebyawandiikibwa ebiba biragiddwa wansi wa buli nsonga nkulu. Tasaanidde kwongeramu nsonga ndala ye z’ayagala zibeeremu ate n’aggyamu ezo eziri ku kiwandiiko ky’emboozi. Ekigambo kya Katonda kye kisinziirwako okuyigiriza. Obuvunaanyizibwa bw’abakadde Abakristaayo kwe ‘kubuulira ekigambo.’ (2 Tim. 4:1, 2) N’olwekyo omwogezi asaanidde okussa essira ku byawandiikibwa ebiri ku kiwandiiko ky’emboozi—abinnyonnyole era alage n’engeri gye biyinza okukozesebwamu.
Tandikirawo Okutegeka
Otera okuwa emboozi mu kibiina kyo? Osobola otya okuzitegeka obulungi zonna? Weewale okutegeka ku ssaawa envannyuma.
Emboozi okusobola okuganyula ekibiina, kyetaagisa okugirowoozaako ekimala. N’olwekyo, somanga ebyo emboozi kw’eba yeesigamiziddwa amangu ddala nga waakagifuna. Kino kijja kukusobozesa okufumiitiriza ku biri mu mboozi yo ng’eno bw’okola emirimu emirala. Ng’ebulayo ennaku oba wiiki owe emboozi yo, oyinza okuwulirayo ebintu by’oyinza okukozesa. Ebyo biyinza okukuyamba okulaba nti emboozi yo etuukidde mu kiseera ekituufu. Kyetaagisa ebiseera okusoma n’okufumiitiriza ku mboozi yo amangu ddala nga waakagifuna, era bw’okola bw’otyo ebiseera byo oba obikozesezza bulungi. Olw’okuba wafumiitiriza ku mboozi nga bukyali ojja kusobola okugitegeka obulungi. Okutegeka emboozi mu ngeri eyo kijja kukuyamba obutafuna kiwuggwe n’okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza.
Bw’onookozesa enkizo eno ekuweereddwa mu nteekateeka ya Yakuwa ey’okuyigiriza abantu be, ojja kuba omuwa ekitiibwa era ojja kuganyula abo abamwagala.—Is. 54:13; Bar. 12:6-8.