Okutegeka Emboozi ya Bonna
BULI wiiki, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisinga obungi bifuna emboozi ya bonna eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Bw’oba ng’oli mukadde oba muweereza, olaga nti osobola okuyigiriza obulungi? Singa kiba bwe kityo, oyinza okusabibwa okuwa emboozi ya bonna. Essomero ly’Omulimu gwa Katonda liyambye ab’oluganda mitwalo na mitwalo okusobola okukulaakulana okutuuka ku nkizo eno ey’obuweereza. Singa osabibwa okuwa emboozi ya bonna, onootandika otya okugiteekateeka?
Soma Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa
Nga tonnaba kutandika kunoonyereza, sooka osome ekiwandiiko okuzimbirwa emboozi ekiba kikuweereddwa era okifumiitirizeeko okutuusa ng’okitegedde bulungi. Fuba okuteegera obulungi omutwe gw’emboozi. Kiki ky’ogenda okuyigiriza abanaakuwuliriza? Olina kigendererwa ki?
Tegeera bulungi ensonga enkulu eziri mu kiwandiiko ky’emboozi. Buli emu ekwatagana etya n’omutwe? Wansi wa buli nsonga nkulu, waliwo ensonga endala entono. Ate wansi waazo ne wabaawo ebirala ebiziwagira. Weetegereze engeri buli kitundu gye kikwataganamu n’ekiba kivuddeko, era n’engeri gye kiyungamu n’ekikiddirira, ate era n’engeri buli kitundu gye kiyamba okutuukiriza ekigendererwa ky’emboozi. Bw’omala okutegeera omutwe, ekigendererwa ky’emboozi, n’engeri ensonga enkulu gye zituukiriza ekigendererwa ekyo, awo ojja kuba osobola okutandika okutegeka emboozi.
Okusooka, kiyinza okukuyamba singa emboozi yonna ogitwala ng’erimu emboozi endala ennyimpimpi nnya oba ttaano, nga buli emu ku mboozi zino erimu ensonga enkulu. Buli emu ku zo gitegeke ku bwayo.
Ekiwandiiko ekiba kikuweereddwa kw’ojja okusinziira okutegeka. Ebiriko si by’olina okusoma ng’owa emboozi. Ekiwandiiko ekyo kiringa nnyumba gye bazimba. Eserekebwa, eteekebwamu enzigi, amadirisa, awamu n’ebirala ebyetaagisa okusobola okugiyingira.
Okukozesa Ebyawandiikibwa
Yesu Kristo n’abayigirizwa be beesigamyanga enjigiriza zaabwe ku Byawandiikibwa. (Luk. 4:16-21; 24:27; Bik. 17:2, 3) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Ebyawandiikibwa by’olina okwesigamyako emboozi yo. Mu kifo ky’okunnyonnyola obunnyonnyozi n’okulaga emiganyulo egiri mu nsonga eziri ku kiwandiiko ky’emboozi ekyakuweereddwa, weetegereze engeri Ebyawandiikibwa ebiweereddwa gye biwagiramu ensonga ezo, era by’oyigiriza obyesigamye ku Byawandiikibwa ebyo.
Bw’oba otegeka emboozi yo, weekenneenye buli kyawandiikibwa ekiragiddwa ku kiwandiiko ky’emboozi. Tunuulira ennyiriri ezikiriraanye. Ebyawandiikibwa ebimu biyinza kukuyamba buyambi kutegeera ebikwata ku nsonga eba eyogerwako. Tekikwetaagisa kubisoma byonna oba okubyogerako. Kozesa ebyo ebinaasinga okuyamba abakuwuliriza. Bwe weemalira ennyo ku byawandiikibwa ebiweereddwa ku kiwandiiko ky’emboozi ekikuweereddwa, oyinza obuteetaaga kukozesa birala bitakuweereddwa.
Emboozi yo okuba ennungi tekisinziira ku bungi bwa byawandiikibwa by’okozesa, wabula ku ngeri gy’oyigirizaamu. Bw’oba ng’oyanjula ebyawandiikibwa, laga ensonga lwaki ogenda kubisoma. Waayo ebiseera ebimala okubinnyonnyola. Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa, Baibuli togibikkako bw’oba okyakinnyonnyola. Abakuwuliriza nabo tebajja kubikkako zaabwe. Osobola otya okuyamba abakuwuliriza okussaayo omwoyo basobole okuganyulwa mu bujjuvu mu Kigambo kya Katonda? (Nek. 8:8, 12) Kino osobola okukikola ng’onnyonnyola ebyawandiikibwa, ng’owa ekyokulabirako ekituukirawo, era ng’olaga engeri y’okubikozesaamu.
Okunnyonnyola. Bw’oba ng’otegeka okunnyonnyola ekyawandiikibwa, weebuuze: ‘Kitegeeza ki? Lwaki ŋŋenda kukikozesa mu mboozi yange? Biki abanaampuliriza bye bayinza okwebuuza ku lunyiriri luno?’ Kiyinza okukwetaagisa okwekenneenya ennyiriri eziriraanyewo, ebyaliwo, ebigambo ebikozeseddwa, n’ekigendererwa ky’omuwandiisi eyaluŋŋamizibwa. N’olwekyo, kikwetaagisa okunoonyereza. Ojja kusanga ebintu bingi mu bitabo ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45-47) Togezaako kunnyonnyola byonna ebyogerwako mu lunyiriri olwo, naye bannyonnyole ensonga lwaki olusomye n’engeri gye lukwataganamu ne by’oyogerako.
Okuwa Ekyokulabirako. Ekigendererwa ky’okukozesa ebyokulabirako kwe kuyamba abakuwuliriza okutegeera by’oba oyogerako mu ngeri esingawo oba okubayamba okubijjukira oba okujjukira omusingi gw’oba oyogeddeko. Ebyokulabirako biyamba abantu okutegeera by’oba obabuulidde era ne babikwataganya n’ebyo bye baba bamanyi. Kino Yesu kye yakola mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi. “Ennyonyi z’omu bbanga,” “amalanga ag’omu ttale,” ‘omulyango omufunda,’ ‘enju ku lwazi,’ n’ebigambo ebirala ebiringa ng’ebyo bingi byafuula okuyigiriza kwe okuba nga kutegeerekeka, era nga kwangu okujjukira.—Mat., essuula 5–7.
Okulaga Abawuliriza eky’Okukola. Okunnyonnyola ekyawandiikibwa era n’okuwa ebyokulabirako kiyamba omuntu okubaako by’ayiga, naye okulaga omugaso gwakyo, kye kivaamu ebibala. Ekituufu kiri nti abakuwuliriza be bavunaanyizibwa okussa mu nkola bye baba basomye mu Baibuli, naye osobola okubayamba okumanya ekyo kyennini kye basaanidde okukola. Bw’omala okukakasa nti abakuwuliriza bategedde bulungi olunyiriri lw’oba obannyonnyola, ng’era obalaze n’engeri gye lukwataganamu n’emboozi, balage ate engeri gye lusobola okubayamba okunyweza okukkiriza kwabwe oba engeri gye lusobola okubayamba okwekuuma mu by’empisa. Laga emigaso egiri mu kwesamba endowooza enkyamu oba empisa ezikontana n’ebyo bye baba bayize.
Nga bw’olowooza ku ngeri gy’oyinza okulaga amakulu agali mu byawandiikibwa, jjukira nti abakuwuliriza bayise mu mbeera za njawulo. Muyinza okubaamu abappya, abavubuka, bannamukadde, n’abalala abalina ebizibu ebitali bimu. Laba nti bonna emboozi yo ebaganyula. Weewale okwogera mu ngeri eyinza okulabika ng’alina b’osonzeeko olunwe.
Omwogezi by’Asalawo
Ebiwandiiko ebimu biraga bulungi ensonga enkulu n’ebiseera by’olina okumala ku buli emu. Kyokka, waliwo ebintu ebirala ggwe by’olina okwesalirawo. Oyinza okusalawo okulwa ku nsonga ezimu entonotono eziri wansi wa buli nsonga nkulu okusinga ku ndala. Tokitwala nti buli nsonga entonotono olina okugimalako ebiseera bye bimu. Ekyo kiyinza okukuviirako okuwa emboozi yo ng’oyanguyiriza, ne kireetera abawuliriza obutaganyulwa mu by’oyogera. Osobola otya okusalawo ensonga z’oyinza okulwako, oba z’oyinza okwogerako akatono? Weebuuze: ‘Nsonga ki ezinannyamba okuggumiza omutwe gw’emboozi? Nsonga ki ezirabika nga ze zinaasinga okuganyula abawuliriza? Singa mba sikozesezza ekimu ku byawandiikibwa ebiweereddwa n’ensonga ezikikwatako, kinaaleetera ensonga gye nnyinnyonnyola obutategeerekeka?’
Weewalire ddala okuwa endowooza yo. N’Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, yeewala okwogera ‘ebibye ku bubwe.’ (Yok. 14:10) Jjukira nti abantu bajja mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa okuyiga ebikwata ku Baibuli. N’olwekyo, bw’oba otwalibwa okuba omwogezi omulungi, ekyo kivudde ku kuba nti toleetera bantu kussa birowoozo byabwe ku ggwe ng’omwogezi, wabula okubissa ku Kigambo kya Katonda. Eno ye nsonga lwaki emboozi zo zisiimibwa.—Baf. 1:10, 11.
Ng’omaze okutegeka obulungi emboozi yo, kati oba weetaaga okugyegezaamu. Kiba kirungi okukikola mu ddoboozi eriwulikika. By’ogenda okwogera olina okuba ng’obitegeeredde ddala bulungi. Oteekwa okwogera nga weekakasa era onnyonnyole by’oyogera mu ngeri ey’ebbugumu. Nga tonnaba kuwa mboozi yo, weebuuze: ‘Kiki kye njagala okutuukiriza? Ensonga enkulu zinaavaayo bulungi? Emboozi yange ngyesigamizza ku Byawandiikibwa? Ensonga ezirimu nzisengese bulungi ne kiba nti ziyungagana? Emboozi eno eneereetera abalala okusiima Yakuwa awamu n’ebyo by’atuwa? Bye nnaayogera nga nfundikira bikwatagana bulungi n’omutwe, era binaalaga abawuliriza eky’okukola n’engeri ey’okukikolamu?’ Bw’oba oyinza okuddamu nti yee mu bibuuzo bino, olwo nno ojja kuba osobola ‘okwogera nga bwe kisaanira,’ oganyule ekibiina, era oweese Yakuwa ettendo!—Nge. 15:2.