ESSOMO 25
Okukozesa Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa
ABANTU bangi batya okuwa emboozi nga bakozesa ekiwandiiko ekiriko ensonga emboozi kw’ezimbirwa. Baba baagala byonna bye bagenda okwogera bibe nga biri mu buwandiike oba nga bakikutte bukusu.
Naye, ekituufu kiri nti, byonna bye twogera buli lunaku tetusoma bisome. Bwe kityo bwe kibeera nga tunyumya n’ab’omu maka gaffe oba ne mikwano gyaffe. Era bwe kityo bwe kiba nga tuli mu buweereza bw’ennimiro. Ate era ne bwe tuba nga tusaba oba nga tukulembera abalala mu kusaba, bye twogera tetusoma bisome.
Waliwo omuganyulo gwonna mu kuwa emboozi nga by’oyogera tosoma bisome? Wadde ng’okusoma obusomi by’oyogera kikusobozesa okukozesa ebigambo by’oteeseteese, kiba kizibu okutuuka ku mitima gy’abawuliriza, ate era tekiba kyangu kwogera mu ngeri eya bulijjo. Singa amaaso ogamalira ku by’owandiise, abakuwuliriza bayinza obutassaayo nnyo mwoyo ku by’oyogera olw’okuba bayinza okulowooza nti tobafuddeko. By’oyogera okusobola okukubiriza abantu okubaako kye bakolawo, tolina kubisoma busomi.
Bye tuyiga mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda bituyamba mu mbeera eza bulijjo. Bwe tusanga mikwano gyaffe, tetuggyayo lupapula ne tutandika okubasomera bye twawandiise. Bwe tuba mu buweereza bw’ennimiro, tetuba na lupapula okuli ebigambo bye tusomera abantu nga tutya nti tuyinza okwerabira ensonga ezimu. Bw’oba ogenda kulaga ekyokulabirako mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda ku ngeri y’okubuulira mu mbeera ng’ezo ezoogeddwako, weegezeemu. Bw’otegeka obulungi, ojja kukisanga nti ekiwandiiko ekiriko ensonga emboozi kw’ezimbirwa kiba kikuyamba buyambi okujjukira obulungi ensonga z’oyagala okwogerako. Naye kiki ekiyinza okukuyamba okukikozesa obulungi?
Sengeka Bulungi Ensonga Zo. Okusobola okukozesa ekiwandiiko ng’ekyo ng’owa emboozi, weetaaga okusengeka obulungi ensonga zo. Kino kizingiramu okusooka okulowooza ku by’onooyogera.
Mu mbeera eya bulijjo, omuntu bw’ayogera nga tasoose kulowooza, ayinza okwogera ebintu ate n’abyejjusa. Omulala ayinza okwogera ebintu ebitakwatagana. Ebyo byombi bisobola okwewalibwa singa osooka kulowooza ku by’ogenda okwogera. Okusooka, olina okuba n’ekiruubirirwa, ekiddako, manya ky’osaanidde okukola okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo. Oluvannyuma lw’ekyo, tandika okwogera.
Oteekateeka kugenda kubuulira? Ng’oggyeko okuteeka mu nsawo bye weetaaga okukozesa mu nnimiro, olina n’okulowooza ku ky’ogenda okwogera. Bw’osalawo okukozesa emu ku nnyanjula eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka, giyitemu enfunda n’enfunda osobole okutegeera obulungi ensonga enkulu z’ogenda okwogerako. Ensonga enkulu ezirimu ziwumbewumbeko mu sentensi emu oba bbiri ennyimpimpi. Yogera mu bigambo byo ku bubwo era okakase nti by’oyogera bituukagana n’embeera z’omu kitundu. Kijja kukuyamba okusengeka mu birowoozo byo ensonga kw’onoozimbira by’onooyogera. By’onooyogera biyinza kuzingiramu ki? (1) Ennyanjula. Mu nnyanjula yo, oyinza okwogera ku kintu ekikwata ku bantu abasinga obungi mu kitundu kyo. Saba omuntu gw’oyogera naye abeeko ky’ayogera. (2) Ensonga ey’okwogerako, awamu n’ekyawandiikibwa kimu oba bibiri ebiraga Katonda ky’asuubiza okukola okusobola okuggyawo embeera embi. Singa ofuna akakisa, kiggumize nti Yakuwa ajja kumalawo embeera embi ng’ayitira mu Bwakabaka bwe, gavumenti ye ey’omu ggulu. (3) Okukubiriza omuntu okukolera ku by’oyogedde. Oyinza okumuwa ekitabo oba okumugamba nti oyagala okumuyigiriza Baibuli era n’okola enteekateeka okweyongera okukubaganya naye ebirowoozo.
Oboolyawo, ensonga z’ogenda okwogerako olina kuba nazo mu birowoozo. Bw’obaako by’owandiise bye wandyagadde okutunulako nga tonnagenda ku nnyumba esooka, kiba kirungi ne biba bigambo bitono by’onookozesa mu nnyanjula n’ekyawandiikibwa kimu oba bibiri, n’ebirala by’onooyogera ng’ofundikira. Bwe tutegeka obulungi era ne tukozesa bulungi bye tuwandiise, bye twogera bijja kuba bitegeerekeka era abatuwuliriza bajja kusobola okubijjukira.
Singa mu kitundu ky’obuuliramu, abantu batera okubuuza ebibuuzo ebimu oba okwogera ebintu ebimu okutulemesa okubabuulira, kiba kirungi okubinoonyerezaako. Emirundi mingi, oba weetaaga ensonga bbiri oba ssatu awamu n’ebyawandiikibwa ebiziwagira. Akatundu akayitibwa “Bible Topics for Discussion” mu nkyusa ya New World Translation oba emitwe egiri mu nnukuta enkwafu mu katabo Reasoning From the Scriptures biyinza okukuyamba okufuna ensonga ze weetaaga. Oyinza okufuna ensonga endala ezinaakuyamba mu bitabo ebirala. Baako w’owandiika ensonga mu bufunze, era akapapula kw’owandiise kateeke wamu n’ebintu ebirala by’okozesa mu buweereza bw’ennimiro. Singa nnyinimu akubuuza ekibuuzo oba abaako by’ayogera okukulemesa, mutegeeze nti wandyagadde okumunnyonnyola by’okkiriza. (1 Peet. 3:15) Kozesa ekiwandiiko ekyo okumuddamu.
Era kiba kya muganyulo okusengeka obulungi ensonga zo bw’oba nga ggwe ogenda okukulembera mu kusaba ab’omu maka go, olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo, oba ekibiina. Okusinziira ku Lukka 11:2-4, Yesu yalaga abayigirizwa be engeri gye bayinza okusengekamu bye basaba. Mu kuwaayo yeekaalu ey’omu Yerusaalemi, Sulemaani yasaba okumala ekiseera ekiwanvu. Kya lwatu, ateekwa okuba nga yasooka kulowooza ku ebyo bye yali agenda okusaba. Okusooka, yayogera ku Yakuwa ne ku ebyo bye yasuubiza Dawudi; oluvannyuma n’ayogera ku yeekaalu; olwo ate n’ayogera ku mbeera ezimu ezaaliwo; era ne ku bibiina by’abantu. (1 Bassek. 8:22-53) Tusobola okuganyulwa mu byokulabirako ebyo.
Kola Ekiwandiiko Ekyangu Okugoberera. Ekiwandiiko kyo oyagala kukikozesa ng’owa emboozi? Kyandibaddeko ki?
Kijjukire nti ekiwandiiko ky’okola kirina kukuyamba kujjukira nsonga nkulu. Kiba kya muganyulo okuwandiika ebigambo ebitonotono by’onookozesa mu nnyanjula yo. Ng’omaze okutegeka ennyanjula, wandiikako ensonga enkulu so si buli kigambo ky’onooyogera. Ensonga enkulu zirina okweyoleka obulungi mu kiwandiiko kyo. Oyinza okuziwandiika mu nnukuta ennene, oba okuzisazaako n’ekkalaamu eya langi. Wansi wa buli nsonga enkulu, wandiikawo ebintu bitono ebinaakuyamba okuginnyonnyola. Wandiika n’ebyawandiikibwa by’oteekateeka okusoma. Yogera ebyawandiikibwa by’ogenda okusoma. Kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa ebyo okuviira ddala mu Baibuli. Wandiika ebyokulabirako by’oyagala okukozesa. Era oyinza okubaako n’ebintu ebirala ebituukirawo by’ojuliza okuva mu nsonda ezitali zimu. Kakasa nti by’owandiika binaakusobozesa okuggyayo obulungi ensonga zo. Kijja kwanguyira okukozesa ekiwandiiko kyo singa oba okitegese bulungi.
Abamu bakozesa ebiwandiiko ebiriko ensonga ntono nnyo ddala. Ebiwandiiko ng’ebyo biyinza okubaako ebigambo bitono, ebyawandiikibwa omwogezi by’ajja okwogerako obwogezi, oba obufaananyi obusobola okumuyamba okujjukira ensonga enkulu. Nga yeeyambisa ekiwandiiko ekifaananako bwe bityo, omwogezi aba asobola bulungi okuwa emboozi ye ng’alinga anyumya. Ekyo kye kiruubirirwa eky’essomo lino.
Okuva ku lupapula 39 okutuuka 42 mu kitabo kino, ojja kusangako obulagirizi obukwata ku “Okukola Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa.” Kijja kukubeerera kya muganyulo okusoma ekitundu ekyo ng’okola ku ssomo lino, “Okukozesa Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa.”
Engeri y’Okukozesaamu Ekiwandiiko Okuli Ensonga Emboozi kw’Ezimbirwa. Ekiruubirirwa kyo kati tekyandibadde kutegeka butegesi mboozi yo ng’okozesa ekiwandiiko ng’ekyo. Wabula, kyandibadde okukozesa obulungi ekiwandiiko ekyo.
Omutendera ogusooka mu kukozesa ekiwandiiko kyo, kwe kukisomamu nga weetegeka okuwa emboozi yo. Tunuulira omutwe, soma buli emu ku nsonga enkulu, era weebuuze engeri buli emu ku nsonga ezo gy’ekwataganamu n’omutwe. Manya ebiseera by’olina okumala ku buli nsonga nkulu. Kati ddayo weetegereze ensonga enkulu esooka. Weekenneenye ebyawandiikibwa n’ebyokulabirako by’oteekateeka okukozesa okusobola okunnyonnyola ensonga eyo. Bino bisomemu emirundi egiwera okutuusa lw’olaba nti buli kimu kitegeerekeka bulungi. Kola kye kimu ne ku nsonga endala enkulu. Lowooza ku ebyo by’oyinza okuggyamu bwe kinaaba kyetaagisa, osobole okumaliriza emboozi yo mu kiseera ekikuweereddwa. Bw’omala ekyo, yita mu mboozi yonna. Essira lisse ku nsonga enkulu so si ku bigambo. Emboozi yo togikwata bukusu.
Ng’owa emboozi yo, osaanidde okutunuulira abakuwuliriza. Bw’omala okusoma ekyawandiikibwa, wandikinnyonnyodde ng’okozesa Baibuli yo awatali kukebera bye wawandiise. Mu ngeri y’emu, bw’oba n’ekyokulabirako, kyogere nga bwe wandikyogedde ng’onyumya ne mukwano gwo mu kifo ky’okukisoma obusomi. Bw’oba oyogera, totunula mu bye wawandiise buli kiseera. Bw’oyogera okuviira ddala ku mutima gwo, ojja kusobola okutuuka ku mitima gy’abakuwuliriza.
Bw’onooyiga okwogera ng’okozesa ekiwandiiko okuli ensonga emboozi kw’ezimbirwa, ojja kusobola okubeera omwogezi omulungi.