LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be lup. 71-lup. 73 kat. 3
  • Okweyambisa Amabaluwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okweyambisa Amabaluwa
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuwa Obujulirwa ng’Owandiika Ebbaluwa
  • Ebbaluwa bw’Erina Okubeera
  • Ebigambo Ebisaanira
  • Ebbaluwa ey’Okulabirako
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuwandiika Amabaluwa Amalungi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be lup. 71-lup. 73 kat. 3

Okweyambisa Amabaluwa

AMABALUWA gasobozesezza abantu bukadde na bukadde okulongoosa obulamu bwabwe. Ebitabo ebisinga obungi ebiri mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, gaali mabaluwa. Naffe leero tuyinza okuwandiika amabaluwa okusobola okuzzaamu abappya amaanyi, okuwuliziganya ne mikwano gyaffe, okuzzaamu amaanyi baganda baffe abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi, okuzzaamu amaanyi abo aboolekaganye n’embeera enzibu, n’okuwa obulagirizi obwetaagisa okusobola okutuukiriza emirimu gy’ekibiina.​—1 Bas. 1:1-7; 5:27; 2 Peet. 3:1, 2.

Ate era tuyinza okuwandiika amabaluwa okuwa obujulirwa. Mu bifo ebimu, abantu bangi babeera mu bizimbe ebikuumibwa ennyo nga kibeera kizibu nnyo okubuulirayo. Abamu ebiseera ebisinga obungi tebabeera waka, n’olwekyo tetubasangawo bwe tuba nga tubuulira nju ku nju. Abalala babeera mu bifo ebyesudde.

Obulwadde, embeera y’obudde embi oba obutakkirizibwa kutambula ebiseera ebimu, biyinza okukuleetera okusigala awaka. Mu mbeera ng’eyo, oyinza okuwa obujulirwa ng’owandiika amabaluwa eri ab’eŋŋanda zo n’eri abo be wayogerako nabo embagirawo? Omu ku bayizi bo aba Baibuli yasenguka? Kiyinza okumuyamba okweyongera okusiima eby’omwoyo singa afuna ebbaluwa okuva gy’oli. Oba oyinza okuwandiika ebbaluwa ng’owa amagezi agava mu Byawandiikibwa abo abaakafumbiriganwa, abaakafuuka abazadde, n’abafiiridwako abaagalwa baabwe.

Okuwa Obujulirwa ng’Owandiika Ebbaluwa

Bw’owandiikira omuntu gw’otonyumyangako naye ebbaluwa, ng’oyogala okumuwa obujulirwa, sooka weeyanjule. Oyinza okumunnyonnyola nti weenyigidde mu mulimu gw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna. Bwe kiba nga kisaanira, mutegeeze nti oli omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Mutegeeze ensonga lwaki osazeewo okumuwandiikira mu kifo ky’okugendayo ggwe kennyini okumukyalira. Muwandiikire ng’olinga anyumya naye obutereevu. Goberera obulagirizi obugamba nti, “mubanga n’amagezi ng’emisota, era mubanga ng’amayiba obutaba na bukuusa,” ng’omutegeeza ebikukwatako.​—Mat. 10:16.

Mutegeeze ekyo kyennyini kye wandyogeddeko singa obadde omukyalidde bukyalizi. Oyinza okukozesa ennyanjula okuva mu katabo Reasoning oba mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka akaakafuluma. Oyinza okumubuuza ekibuuzo era n’omukubiriza okukirowoozaako. Ababuulizi abamu bannyonnyola nti tulina enteekateeka ey’okuddamu ebibuuzo ebyesigamiziddwa ku Baibuli, era ne boogera egimu ku mitwe egisangibwa mu bitabo bye tukozesa okuyigiriza Baibuli. Ekyokulabirako eky’ebbaluwa ey’engeri eyo kisangibwa ku lupapula 73. Kisobola okukuyamba okumanya engeri y’okuwandiikamu, naye tekitegeeza nti olina kukozesa bigambo ebyo byennyini ebiri mu bbaluwa eyo. Singa tokyusa mu bigambo ebyo, abantu bayinza okufuna ebbaluwa ze zimu buli kiseera.

Abantu abamu tebaagala kusoma bbaluwa mpanvu naddala eziva eri omuntu gwe batamanyi. N’olwekyo, kiba kya magezi okuwandiika ebbaluwa ennyimpimpi. Ebbaluwa empanvu eyinza okukooya gw’ogiwandiikidde. Kiba kisaanira okussa mu bbaluwa akapapula akamuyita okujja mu nkuŋŋaana ezibeera mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Osobola n’okussaamu tulakiti, brocuwa, oba Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! era n’omunnyonnyola nti bw’aba ng’azeetaaga, asobola okuzifuna buli lwe zifuluma. Oba oyinza okumubuuza obanga yandyagadde omukyalire mu maka ge mweyongere okwogera ku nsonga gy’omuwandiikiddeko.

Ebbaluwa bw’Erina Okubeera

[Akasanduuko akali ku lupapula 73]

Kati tunuulira ebbaluwa eri ku lupapula 73. Weetegereze bino wammanga: (1) Etegekeddwa bulungi, si nfuutiike. (2) Ebbaasa ne bw’eba ebuze, nnyiniyo asigala amanyi erinnya n’endagiriro y’oyo eyamuwandiikira. (3) Ekigendererwa ky’ebbaluwa kiragiddwa butereevu mu katundu akasooka. (4) Buli nsonga nkulu eyogerwako mu katundu ak’enjawulo. (5) Bw’olowooza ku kigendererwa ky’ebbaluwa eyo, eba etuukirawo bulungi.

Ebbaluwa, gamba ng’eyo omuwandiisi w’ekibiina gy’aweereza ku ofiisi y’ettabi, erina okubaako erinnya ly’ekibiina, erinnya ly’omuwandiisi, endagiriro ye, n’ennaku z’omwezi. Erinnya n’endagiriro y’omuntu oba ekitongole ebbaluwa gy’egenda, birina okubaako. Biddirirwa okulamusa okusaanira. Mu kufundikira ebbaluwa, ennimi ezimu zikozesa obugambo nga “nze” oba “owuwo ddala” waggulu w’omukono gwo. Ggwe kennyini agiwandiise olina okussaako omukono.

Ng’owandiika ebbaluwa yonna, faayo ku mpandiika yo, obubonero, amateeka agafuga olulimi, awamu n’ensengeka ennungi. Bw’okola bw’otyo, ebbaluwa yo n’obubaka obugirimu bijja kussibwamu ekitiibwa.

Kungulu ku bbaasa, teekako endagiriro gw’owandiikidde gy’anaakozesa ng’akuddamu. Bw’olaba nga si kya magezi okussa endagiriro yo ku bbaluwa gy’owandiikidde omuntu gw’otamanyi okumuwa obujulirwa, saba abakadde bakukkirize okukozesa endagiriro y’ekibiina kyammwe. Endagiriro ya Sosayate terina kukozesebwa, kubanga bw’ogikozesa, gw’owandiikidde ayinza okulowooza nti ebbaluwa evudde ku ofiisi ya Sosayate era ekyo kiyinza okuleetawo okutabulwatabulwa. Singa oba totaddeko ndagiriro yo, kyokka n’ossaamu akatabo, ekyo nakyo kiyinza okulaga nti Sosayate y’ebiweerezza.

Kakasa nti oteekako sitampu ezimala, naddala singa oba otaddemu obutabo. Bw’otateekako sitampu zimala, gw’ogiwandiikidde ajja kusabibwa okusasula ssente ezibulako, era kino tekijja kuweesa bubaka bwaffe kitiibwa. Kijjukire nti mu nsi ezisinga obungi, bw’oweereza brocuwa oba magazini, ebisale bya poosita biba bingi okusinga ku by’osasula ng’oweereza bbaluwa njereere.

Ebigambo Ebisaanira

Bw’oba omaze okuwandiika ebbaluwa yo, gisomeemu wekkaanye bulungi by’owandiise. Ekuwulikikira etya? Eyoleka omukwano n’ekisa? Okwagala n’ekisa ze zimu ku ngeri ze tufuba okwoleka nga tukolagana n’abalala. (Bag. 5:22, 23) Bw’olabamu ekirowoozo oba ekigambo ekitatuukirawo bulungi oba ekimalamu amaanyi, kitereeze.

Ebbaluwa esobola okutuuka mu bifo ggwe gy’otosobola kugenda. Ekyo ku bwakyo, kiraga nti okuwandiika ebbaluwa ngeri nkulu nnyo ey’okutuukirizaamu obuweereza bwaffe. Okuva ebbaluwa bw’ekukiikirira, lowooza nnyo ku ebyo by’owandiise. Mu ngeri eyo eyinza okuzzaamu amaanyi, oba okukubiriza abo abasiima obubaka bwaffe okweyongera okutambulira mu kkubo ery’obulamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share