LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 1 lup. 6-17
  • “Laba! Ono Ye Katonda Waffe!”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Laba! Ono Ye Katonda Waffe!”
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Amakulu g’Erinnya lya Katonda
  • Yakuwa Mukama Afuga Byonna
  • Katonda Alina Engeri Nnyingi
  • “Laba! Ono Ye Katonda Waffe!”
  • Katonda Alina Erinnya
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Okutegeera Amakubo ga Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Ssa Ekitiibwa mu Linnya lya Yakuwa Ekkulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Katonda ow’Amazima y’Ani?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 1 lup. 6-17
Musa ng’abisse ku maaso ge okumpi n’ekisaka ekyaka omuliro.

ESSUULA 1

“Laba! Ono Ye Katonda Waffe!”

1, 2. (a) Bibuuzo ki bye wandyagadde okubuuza Katonda? (b) Musa yabuuza ki Katonda?

KUBA akafaananyi ng’onyumya ne Katonda! Okukirowoozaako obulowooza nti Omufuzi w’obutonde bwonna ayogera naawe kiyinza okukuleetera okutya! Osooka n’otamattama, naye ate oluvannyuma n’osobola okwogera obulungi. Akuwuliriza n’akuddamu, era n’owulira muli ng’osobola okubuuza ekibuuzo kyonna awatali kutya. Kibuuzo ki kye wandimubuuzizza?

2 Edda ennyo, waaliwo omusajja eyali mu mbeera efaananira ddala bw’etyo. Omusajja oyo yali ayitibwa Musa. Kyokka ekibuuzo kye yabuuza Katonda kiyinza okukwewuunyisa. Teyamubuuza bimukwatako ye kennyini nga Musa, ebiseera bye eby’omu maaso, oba ebizibu abantu bye balina. Wabula yabuuza Katonda erinnya lye. Ekyo kiyinza okukwewuunyisa kubanga Musa yali amanyi erinnya lya Katonda. N’olwekyo, ekibuuzo kye kiteekwa okuba nga kyalina amakulu ag’omunda. Mu butuufu, kye kyali ekibuuzo ekisingayo obukulu Musa kye yali ayinza okubuuza. Kye yaddibwamu kitukwatako ffenna. Kiyinza okukuyamba okubaako ky’okolawo okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Mu ngeri ki? Ka twekkaanye ebyo Musa bye yayogera ne Katonda.

3, 4. Biki ebyaliwo ebyaviirako Musa okunyumya ne Katonda, era biki bye baayogera?

3 Musa yalina emyaka 80. Yali amaze emyaka 40 nga tabeera wamu na bantu be, Abayisirayiri, abaali mu buddu e Misiri. Bwe yali alunda endiga za taata wa mukazi we, yalaba ekintu ekyewuunyisa. Ekisaka kyali kikutte omuliro naye nga tekiggya. Kyali kyaka nnyo era nga kivaako ekitangaala kya maanyi. Musa yakisemberera okukyetegereza. Ng’ateekwa okuba nga yeekanga okuwulira eddoboozi nga lyogera okuva mu muliro! Okuyitira mu malayika, Katonda yayogera ne Musa okumala akaseera. Era mu kiseera ekyo Katonda yagamba Musa eyali atidde ennyo, addeyo e Misiri anunule Abayisirayiri mu buddu.— Okuva 3:1-12.

4 Musa yandisobodde okubuuza Katonda ekibuuzo kyonna. Kyokka weetegereze ekibuuzo kye yamubuuza: “Bwe nnaagenda eri Abayisirayiri ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli,’ ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye y’ani?’ Nnaabagamba ntya?”—Okuva 3:13.

5, 6. (a) Ekibuuzo Musa kye yabuuza kituyigiriza kintu ki ekikulu? (b) Kintu ki ekikyamu ekikoleddwa ku bikwata ku linnya lya Katonda? (c) Lwaki kikulu okuba nti Katonda ategeezezza abantu erinnya lye?

5 Okusooka, ekibuuzo ekyo kituyigiriza nti Katonda alina erinnya. Ensonga eyo twandigitutte nga nkulu nnyo. Kyokka bangi tebagitwala ng’enkulu. Erinnya lya Katonda liggiddwa mu nkyusa za Bayibuli nnyingi era mu bifo we lyandibadde ne bakozesa ebitiibwa nga “Mukama” ne “Katonda.” Kino kye kimu ku bintu ebisingayo okuba ebikyamu era ebinakuwaza amadiini bye gakoze. Abaffe, kiki ky’osooka okukola nga waakasisinkana omuntu? Tomubuuza linnya lye? Kye kimu bwe kituuka ku kumanya Katonda. Tekiri nti talina linnya, tatuukirikika, oba nti tetuyinza kumumanya oba kumutegeera. Wadde talabika, wa ddala era alina erinnya. Erinnya lye ye Yakuwa.

6 Ate era Katonda bw’ategeeza abantu erinnya lye, kitegeeza nti waliwo ekintu ekikulu era ekibuguumiriza ky’aba agenda okukola mu maaso awo. Ayagala tumumanye. Ayagala tusalewo ekintu ekisingayo obulungi mu bulamu bwaffe, kwe kugamba, okuba n’enkolagana ennungi naye. Kyokka, Yakuwa tatubuulidde linnya lye kyokka. Atubuulidde ebimukwatako nga ye nnannyini linnya eryo.

Amakulu g’Erinnya lya Katonda

7. (a) Erinnya lya Katonda litegeeza ki? (b) Kiki Musa kye yali ayagala okumanya bwe yabuuza Katonda erinnya lye?

7 Yakuwa kennyini ye yeerondera erinnya lye, era erinnya eryo lirina amakulu mangi. Erinnya “Yakuwa” litegeeza nti, “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Wa njawulo nnyo, kubanga ye yasobozesa ebintu byonna okubaawo. Ate era asobozesa ebigendererwa bye byonna okutuukirira, era asobola okuleetera abaweereza be abatatuukiridde okubeera ekyo kyonna ky’ayagala. Bwe tulowooza ku ebyo byonna, tuwuniikirira. Naye erinnya lya Katonda lirina amakulu amalala? Kirabika Musa yali ayagala okumanya ebisingawo ku linnya eryo. Yali amanyi nti Yakuwa ye mutonzi, era yali amanyi erinnya lya Katonda. Ekituufu kiri nti erinnya lya Katonda teryali ppya gy’ali. Abantu baali bamaze ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga balikozesa. N’olwekyo, Musa bwe yabuuza Katonda erinnya lye, yali abuuza ebikwata ku nnyini linnya eryo. Mu ngeri endala, yali ng’agamba nti: ‘Kiki ekikukwatako kye nnyinza okubuulira abantu bo Abayisirayiri ekinaabaleetera okukukkiriza, n’okubamatiza nti ddala ojja kubanunula?’

8, 9. (a) Yakuwa yaddamu atya ekibuuzo kya Musa, era bye yamuddamu bivvuunulwa bitya mu ngeri enkyamu? (b) Ebigambo “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera” bitegeeza ki?

8 Yakuwa bye yamuddamu byoleka ekintu ekikulu ennyo ekimukwatako, era ekintu ekyo kikwatagana n’amakulu g’erinnya lye. Yagamba Musa nti: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo Okubeera.” (Okuva 3:14) Enkyusa za Bayibuli nnyingi wano zisoma nti: “Nninga bwe Ndi.” Naye Bayibuli ezavvuunulwa n’obwegendereza ziraga nti Katonda yali takiraga bulazi nti gy’ali. Wabula Yakuwa yali ayigiriza Musa, era naffe, nti ‘yali ajja kubeera,’ oba nti yali ajja kufuuka kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Enkyusa ya J. B. Rotherham eyogera bw’eti ku lunyiriri luno: “Ndifuuka kyonna kye njagala.” Omukugu omu ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya annyonnyola bw’ati amakulu g’ebigambo bino: “K’ebeere mbeera ki oba bwetaavu ki . . . , Katonda ‘afuuka’ ekyo ekikola ku bwetaavu obuba buliwo.”

9 Ekyo kyali kitegeeza ki eri Abayisirayiri? Ka babe nga baali boolekedde kizibu ki, era ka babe ng’embeera gye baalimu yali nzibu etya, Yakuwa yandifuuse ekyo kyonna ekyetaagisa okubanunula mu buddu n’okubatwala mu Nsi Ensuubize. Mazima ddala, erinnya eryo lyandibaleetedde okussa obwesige mu Katonda. Naffe lyandituleetedde okukola kye kimu leero. (Zabbuli 9:10) Lwaki tugamba bwe tutyo?

10, 11. Erinnya lya Yakuwa lituyamba litya okukiraba nti ye Taata asingayo obulungi? Waayo ekyokulabirako.

10 Lowooza ku kyokulabirako kino: Abazadde bakimanyi nti bateekwa okutuukana n’embeera ebaawo nga bakuza abaana baabwe. Mu lunaku lumu, omuzadde ayinza okubeera omusawo, omufumbi, omusomesa, omukangavvuzi, omulamuzi, n’ebirala. Bangi bazitoowererwa olw’obuvunaanyizibwa ng’obwo bwe basuubirwa okutuukiriza. Abazadde kibasukkirirako bwe balaba obwesige abaana baabwe bwe babateekamu nga bakakafu nti Maama oba Taata ayinza okuwewula ku bulumi bwabwe, okugonjoola ebizibu byonna, okuddaabiriza eky’okuzannyisa ekyonoonese, era n’okuddamu ekibuuzo kyonna ekiyinza okujja mu birowoozo by’abaana. Abazadde abamu bawulira nga tebasaanira kussibwamu bwesige ng’obwo era oluusi baggwaamu n’amaanyi olw’ebyo bye batayinza kukola. Bawulira nga tebalina busobozi bwa kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo bwonna.

11 Yakuwa naye Taata ayagala abaana be. Kyokka, awatali kusuula muguluka mitindo gye egy’obutuukirivu, tewaliiwo ky’atayinza kubeera okusobola okulabirira abaana be ab’oku nsi mu ngeri esingayo obulungi. N’olwekyo erinnya lye, Yakuwa, lituleetera okumulowoozaako nga Taata asingayo obulungi. (Yakobo 1:17) Musa n’Abayisirayiri abalala abeesigwa baakitegeera nti Yakuwa atuukana n’amakulu g’erinnya lye. Baawuniikirira nnyo bwe yeeraga okuba Omuduumizi w’amagye nnantawunyikamu, Omuteesi w’Amateeka atenkanika, Omulamuzi, Omukubi wa Pulaani, Omugabi w’emmere n’amazzi, ow’Obuyinza asobola okukuuma engoye n’engatto ne bitayonooneka, afuga amaanyi g’obutonde bwonna, n’ebirala bingi.

12. Endowooza Falaawo gye yalina ku Yakuwa yayawukana etya ku ya Musa?

12 Mu ngeri eyo, Katonda amanyisizza erinnya lye, atubuulidde ebimukwatako bingi nga nnannyini linnya eryo, era akoze n’ebintu ebiraga nti bye yeeyogerako bituufu. Awatali kubuusabuusa Katonda ayagala tumumanye. Ekyo kyanditukutteko kitya? Musa yali ayagala nnyo okumanya Katonda. Okwagala ennyo okumanya Katonda kirina kinene nnyo kye kyakola ku ngeri gye yeeyisaamu, era kyamuleetera okufuna enkolagana ennungi ne Kitaawe ow’omu ggulu. (Okubala 12:6-8; Abebbulaniya 11:27) Eky’ennaku, batono nnyo abaaliwo mu kiseera kya Musa abaayagala okumanya Katonda. Musa bwe yayogera ku linnya lya Yakuwa mu maaso ga Falaawo, omufuzi oyo ow’amalala yaddamu nti: “Yakuwa y’ani?” (Okuva 5:2) Falaawo teyayagala kuyiga bikwata ku Yakuwa, wabula yatwala Katonda wa Isirayiri ng’atali mukulu. Bangi leero balina endowooza ng’eyo, era eremesezza abantu okumanya agamu ku mazima agasingayo obukulu, nti Yakuwa ye Mukama Afuga Byonna.

Yakuwa Mukama Afuga Byonna

13, 14. (a) Lwaki Yakuwa aweebwa ebitiibwa bingi mu Bayibuli, era ebimu ku byo bye biruwa? (Laba akasanduuko ku lupapula 16.) (b) Lwaki Yakuwa ye yekka agwanidde okuyitibwa “Mukama Afuga Byonna”?

13 Yakuwa asobola okutuukana na buli mbeera ne kiba nti Bayibuli eyogera ku bitiibwa bingi by’alina. Ebitiibwa ebyo si bye bisinga erinnya lye obukulu; wabula, bituyigiriza ebisingawo ku ekyo erinnya lye kye likiikirira. Ng’ekyokulabirako, ayitibwa “Yakuwa Mukama Afuga Byonna.” (2 Samwiri 7:22) Ekitiibwa ekyo, ekirabika emirundi emingi mu nnimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, kituyamba okumanya ekifo kya Yakuwa. Ye yekka agwanidde okuba Omufuzi w’obutonde bwonna. Weetegereze ensonga lwaki kiri bwe kityo.

14 Yakuwa ye Mutonzi yekka. Okubikkulirwa 4:11 lugamba nti: “Yakuwa, Katonda waffe ow’amaanyi, ogwanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo, kubanga watonda ebintu byonna, era olw’okusiima kwo byabaawo era byatondebwa.” Ebigambo ebyo bikozesebwa ku Yakuwa yekka. Ebintu byonna byatondebwa Yakuwa! Awatali kubuusabuusa, Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa n’ettendo olw’okuba y’Afuga Byonna era ye Mutonzi wa byonna.

15. Lwaki Yakuwa ayitibwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe”?

15 Ekitiibwa ekirala ekikozesebwa ku Yakuwa yekka kye kino, “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (1 Timoseewo 1:17; Okubikkulirwa 15:3) Kino kitegeeza ki? Kizibu ffe abantu okukitegeera, naye Yakuwa abaddewo emirembe n’emirembe era ajja kubaawo emirembe gyonna. Zabbuli 90:2, lugamba nti: “Okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna, ggwe Katonda.” N’olwekyo, Yakuwa talina ntandikwa; abaddewo ekiseera kyonna. N’olw’ensonga eyo, ayitibwa “Oyo Abaddewo Okuva Edda n’Edda,” amakulu nti yaliwo emirembe n’emirembe ng’ebintu byonna tebinnatondebwa. (Danyeri 7:9, 13, 22) Kale, ani ayinza okubuusabuusa obanga agwanidde okuba Mukama Afuga Byonna?

16, 17. (a) Lwaki tetuyinza kulaba Yakuwa, era lwaki ekyo tekyanditwewuunyisizza? (b) Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali owa ddala okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okulaba oba okukwatako?

16 Kyokka nga Falaawo bwe yakola, abamu babuusabuusa obanga Yakuwa ye Mukama Afuga Byonna. Ensonga emu ebaleetera okubuusabuusa eri nti abantu abatatuukiridde bakkiririza nnyo mu ebyo bye balaba n’amaaso. Tetuyinza kulaba Mukama Afuga Byonna. Yakuwa alina omubiri gwa mwoyo, abantu tebasobola kumulaba. (Yokaana 4:24) Ng’oggyeeko ekyo, singa omuntu ow’omubiri n’omusaayi ayimiririra mu maaso ga Yakuwa Katonda, omuntu oyo afa bufi. Yakuwa kennyini yagamba Musa nti: “Toyinza kundaba mu maaso, kubanga tewali muntu asobola kundaba n’asigala nga mulamu.”—Okuva 33:20; Yokaana 1:18.

17 Ekyo tekyanditwewuunyisizza. Kirabika Musa yalaba ku kitiibwa kya Yakuwa okuyitira mu malayika. Kiki ekyabaawo? Obwenyi bwa Musa ‘bwamasamasa’ okumala ekiseera. Abayisirayiri baatya n’okutunula obutereevu ku bwenyi bwa Musa. (Okuva 33:21-23; 34:5-7, 29, 30) N’olwekyo, tewali muntu asobola kulaba Mukama Afuga Byonna mu kitiibwa kye kyonna! Ekyo kitegeeza nti si wa ddala ng’ebintu bye tuyinza okulaba n’okukwatako? Nedda si bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, waliwo ebintu bingi bye tukkiriza nti weebiri wadde nga tetuyinza kubiraba, gamba ng’empewo, amaloboozi agava mu leediyo, n’ebirowoozo. Ate era, Yakuwa abeerawo ebbanga lyonna; okuyitawo kw’ebiseera tekulina kye kumukolako! Mu ngeri eyo, wa ddala n’okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okukwatako oba okulaba, kubanga ebintu ebyo bikaddiwa era byonooneka. (Matayo 6:19) Kati olwo, twandimututte okuba amaanyi obwanyi oba nti tategeerekeka? Ka tulabe.

Katonda Alina Engeri Nnyingi

18. Kiki Ezeekyeri kye yalaba mu kwolesebwa, era obwenyi obuna ‘obw’ebiramu’ ebiri okumpi ne Yakuwa bukiikirira ki?

18 Wadde nga tetuyinza kulaba Katonda, waliwo ebiri mu Bayibuli ebituwa ekifaananyi ku biri mu ggulu. Ekyokulabirako ekimu ye ssuula esooka eya Ezeekyeri. Mu kwolesebwa, Ezeekyeri yalaba eggaali eddene ennyo erikiikirira ekitundu eky’omu ggulu eky’ekibiina kya Yakuwa. Ekyewuunyisa ennyo, by’ebyo by’ayogera ku bitonde eby’omwoyo ebyetoolodde Yakuwa. (Ezeekyeri 1:4-10) “Ebiramu” ebyo biri ku lusegere lwa Yakuwa, era endabika yaabyo etuyamba okumanya ekintu ekikulu ku Katonda gwe biweereza. Buli kimu kirina obwenyi buna, obw’ente ennume, obw’empologoma, obw’empungu, n’obw’omuntu. Kirabika obwenyi obwo bukiikirira engeri za Yakuwa ennya ezikola ng’omusingi engeri za Yakuwa endala zonna kwe zeesigamye.—Okubikkulirwa 4:6-8, 10.

19. Ngeri ki ekiikirirwa (a) obwenyi bw’ente ennume? (b) obwenyi bw’empologoma? (c) obwenyi bw’empungu? (d) obwenyi bw’omuntu?

19 Mu Bayibuli ente ennume etera okukiikirira amaanyi, era ekyo kituukirawo kubanga ensolo eyo ya maanyi nnyo. Ku luuyi olulala, empologoma ekiikirira obwenkanya, kubanga obwenkanya obwa nnamaddala bwetaagisa obuvumu, era empologoma zimanyiddwa ng’ensolo ezirina obuvumu. Empungu emanyiddwa olw’obusobozi bwayo obw’okulaba, ng’esobola n’okulaba ebintu ebiri ewala ennyo. N’olwekyo, obwenyi bw’empungu bukiikirira amagezi ga Katonda agamusobozesa okutegeera eby’omu maaso. Ate obwenyi bw’omuntu? Olw’okuba omuntu yakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, asobola okwoleka engeri ya Katonda esinga obukulu, nga kwe kwagala. (Olubereberye 1:26) Engeri za Yakuwa zino ennya, amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala, zoogerwako emirundi mingi mu Byawandiikibwa ne kiba nti zitwalibwa okuba engeri ze enkulu.

20. Twandirowoozezza nti engeri za Katonda ziyinza okuba nga zaakyuka, lwaki ogamba bw’otyo?

20 Twandirowoozezza nti Katonda ayinza okuba nga yakyuka mu nkumi n’enkumi z’emyaka egiyiseewo kasookedde ayogerwako mu Bayibuli? Nedda. Engeri za Katonda tezikyuka. Atugamba nti: “Nze Yakuwa, sikyuka.” (Malaki 3:6) Mu kifo ky’okumala gakyuka awatali nsonga, Yakuwa yeeraze okuba Kitaffe omulungi olw’okuba atuukana na buli mbeera. Ayoleka engeri ezisinga okutuukirawo mu mbeera ebaawo. Ku ngeri za Katonda zonna, esinga obukulu kwe kwagala. Okwagala kweyoleka mu buli ky’akola. Akozesa amaanyi ge, obwenkanya n’amagezi mu ngeri ey’okwagala. Mu butuufu, Bayibuli erina ekintu eky’enjawulo ky’eyogera ku ngeri eno ekikwata ku Katonda. Egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Kyetegereze nti tegamba nti Katonda alina okwagala oba nti wa kwagala. Wabula egamba nti Katonda kwagala. Okwagala kwe kumuleetera okukola byonna by’akola.

“Laba! Ono Ye Katonda Waffe!”

21. Tunaawulira tutya bwe tuneeyongera okutegeera engeri za Yakuwa?

21 Wali olabye omwana omuto ng’asonga ku kitaawe era n’agamba mikwano gye nga musanyufu nnyo nti, “Oyo ye taata wange”? Abaweereza ba Yakuwa nabo balina ensonga ennungi ebaleetera okwenyumiririza mu Yakuwa. Bayibuli eyogera ku kiseera abantu abeesigwa lwe baligamba nti: “Laba! Ono ye Katonda waffe!” (Isaaya 25:8, 9) Gy’okoma okutegeera engeri za Yakuwa, gy’okoma okukimanya nti olina Kitaawo asingayo obulungi.

22, 23. Bayibuli eyogera etya ku Kitaffe ow’omu ggulu, era tumanya tutya nti ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye?

22 Kitaffe si Katonda atalaga mukwano era atatuukirikika nga bannaddiini abamu n’abafirosoofo bwe bayigiriza. Tetwandyagadde kukola mukwano ne Katonda ng’oyo. Bayibuli eraga nti Kitaffe si bw’atyo bw’ali. Okwawukana ku ekyo, emuyita “Katonda omusanyufu.” (1 Timoseewo 1:11) Alina enneewulira. Bayibuli bw’eba eyogera ku kiseera ebitonde bye ebitegeera lwe bitaagoberera bulagirizi bwe yabiteerawo okubiganyula, egamba nti Katonda ‘yanakuwala mu mutima’ gwe. (Olubereberye 6:6; Zabbuli 78:41) Naye bwe tweyisa mu ngeri ey’amagezi ng’Ekigambo kye bwe kigamba, ‘tusanyusa omutima’ gwe.—Engero 27:11.

23 Kitaffe ayagala tufune enkolagana ennungi naye. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okumunoonyanga n’okumuwammanta okusobola okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.’ (Ebikolwa 17:27) Kyokka, kisoboka kitya abantu obuntu okufuna enkolagana ennungi ne Mukama Afuga obutonde bwonna?

Ebimu ku Bitiibwa bya Yakuwa

  • Omuyinza w’Ebintu Byonna. Amaanyi ge tegaliiko kkomo.—Okubikkulirwa 15:3.

  • Kitaffe. Ye Nsibuko y’obulamu, nga mw’otwalidde n’obulamu obutaggwaawo, era ayagala nnyo abaweereza be.—Engero 27:11; Yokaana 5:21.

  • Omuyigiriza Omukulu. Ye Muyigiriza ow’amagezi, atuyigiriza era atuwa obulagirizi.—Isaaya 30:20; 48:17.

  • Olwazi. Takyuka, kigo kya maanyi.—Ekyamateeka 32:4.

  • Omusumba. Awa obulagirizi era n’akuuma abaweereza be abalinga endiga, era abakolera enteekateeka ez’okubaliisa mu by’omwoyo.—Zabbuli 23:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share