ESSUULA 16
‘Beera Mwenkanya ng’Otambula ne Katonda’
1-3. (a) Lwaki tusiima nnyo Yakuwa? (b) Yakuwa omununuzi waffe atwetaagisa ki?
KITEEBEREZEEMU ng’oli mu mmeeri ebbira. Bw’oba okyalowooza nti tewakyaliwo ssuubi lya kuwona, wabaawo akudduukirira n’akuggya mu mmeeri eyo. Kya lwatu nti owulira obuweerero bwa maanyi nnyo bwe wabaawo ajja n’akuggya mu kabi ako! Tewandiwulidde nti olina ebbanja ddene nnyo eri omuntu oyo? Mu butuufu, wandikitutte nti y’akusobozesezza okubeera ng’okyali mulamu.
2 Ekyokulabirako ekyo kituyamba okutegeera ekyo Yakuwa kye yatukolera. Mazima ddala obulamu bwaffe buyimiriddewo ku lulwe. Ye kennyini ye yatukolera enteekateeka y’ekinunulo, ne kitusobozesa okununulibwa mu kibi n’okufa. Tuli bakakafu nti bwe tukkiririza mu ssaddaaka eyo ey’omuwendo, ebibi byaffe bisonyiyibwa, era tuba n’essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso. (1 Yokaana 1:7; 4:9) Nga bwe twalaba mu Ssuula 14, ekinunulo kye kirabo ekisingayo okulaga okwagala n’obwenkanya bwa Yakuwa. Kiki kye tusaanidde okukola okulaga Yakuwa nti tusiima ekirabo ekyo?
3 Kikulu okulowooza ku ekyo Omununuzi waffe atwagala ennyo ky’atwetaagisa. Yakuwa yayogera bw’ati okuyitira mu nnabbi Mikka: “Akubuulidde ggwe omuntu ekirungi. Era kiki Yakuwa ky’akwetaagisa? Tewali kirala wabula okuba omwenkanya n’okwagala obwesigwa, n’okuba omwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo!” (Mikka 6:8) Weetegereze nti, ekimu ku ebyo Yakuwa by’atwetaagisa kwe ‘kuba abenkanya.’ Tuyinza tutya okwoleka obwenkanya?
Noonya ‘Obutuukirivu obw’Amazima’
4. Tumanya tutya nti Yakuwa atusuubira okugoberera emitindo gye egy’obutuukirivu?
4 Yakuwa atusuubira okugoberera emitindo gye egikwata ku kirungi n’ekibi. Okuva emitindo gye bwe giri egy’obwenkanya era egy’obutuukirivu, tuba twoleka obwenkanya n’obutuukirivu bwe tutuukana nagyo. Isaaya 1:17 lugamba nti: “Muyige okukola ebirungi, munoonye obwenkanya.” Ekigambo kya Katonda era kitukubiriza ‘okunoonya obutuukirivu.’ (Zeffaniya 2:3) Ate era kitukubiriza “okwambala omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima.” (Abeefeso 4:24) Obutuukirivu obw’amazima, kwe kugamba, obwenkanya obw’amazima, tebulina kakwate konna na bikolwa bya bukambwe, obutali bulongoofu, n’obugwenyufu, kubanga ebintu ebyo bikontana n’ebintu ebitukuvu.—Zabbuli 11:5; Abeefeso 5:3-5.
5, 6. (a) Lwaki okukolera ku mitindo gya Yakuwa tetwandikitutte ng’omugugu? (b) Bayibuli eraga etya nti okunoonya obutuukirivu kintu ekirina okukolebwa buli kiseera?
5 Okutuukana n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu mugugu gye tuli? Nedda. Abaagala Yakuwa tebatwala ebyo by’atwetaagisa okuba omugugu. Olw’okuba twagala nnyo Katonda waffe awamu n’engeri ze ennungi, twagala okweyisa mu ngeri emusanyusa. (1 Yokaana 5:3) Jjukira nti Yakuwa “ayagala ebikolwa eby’obutuukirivu.” (Zabbuli 11:7) Bwe tuba ab’okukoppa obwenkanya bwa Katonda, oba obutuukirivu bwe, tulina okwagala ebyo by’ayagala n’okukyawa ebyo by’akyawa.—Zabbuli 97:10.
6 Si kyangu abantu abatatuukiridde okunoonya obutuukirivu. Tuteekwa okweyambulako omuntu ow’edda ne twambala omuggya. Bayibuli egamba nti omuntu omuggya ‘afuulibwa muggya’ okuyitira mu kumanya okutuufu. (Abakkolosaayi 3:9, 10) Ebigambo “afuulibwa omuggya” mu Luyonaani biraga nti okwambala omuntu omuggya kintu ekikolebwa buli kiseera, era ekyetaagisa okufuba okw’amaanyi. Ne bwe tufuba kwenkana wa okukola ekituufu, ebiseera ebimu ekibi kye twasikira kituleetera okwonoona mu birowoozo, mu bigambo, oba mu bikolwa.—Abaruumi 7:14-20; Yakobo 3:2.
7. Twandikitutte tutya singa oluusi tulemererwa okukola ekituufu?
7 Twandikitutte tutya singa oluusi tulemererwa okukola ekituufu? Kya lwatu, tetwandyagadde kubuusa maaso kibi. Naye era, tetusaanidde kuggwaamu maanyi nga tulowooza nti ensobi zaffe zitufuula abatasaanira kuweereza Yakuwa. Katonda waffe ow’ekisa akoze enteekateeka okusonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu. Lowooza ku bigambo by’omutume Yokaana bino ebizzaamu amaanyi: “Mbawandiikira ebintu bino mulemenga okukola ekibi.” Kyokka yagattako nti: “Omuntu yenna bw’akola ekibi [olw’ekibi kye twasikira], tulina omuyambi ali ne Kitaffe, Yesu Kristo omutuukirivu.” (1 Yokaana 2:1) Yakuwa yawaayo ekinunulo tusobole okumuweereza mu ngeri gy’asiima wadde nga twasikira ekibi. Ekyo tekitukubiriza okwagala okukola kyonna ekisoboka okusanyusa Yakuwa?
Amawulire Amalungi n’Obwenkanya bwa Katonda
8, 9. Okubuulira amawulire amalungi kwoleka kutya obwenkanya bwa Yakuwa?
8 Tusobola okukoppa obwenkanya bwa Katonda nga twenyigira mu bujjuvu mu kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’amawulire amalungi?
9 Yakuwa tajja kuzikiriza nteekateeka eno embi nga tasoose kulabula bantu. Yesu bwe yali ayogera ku ebyo ebyandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero yagamba nti: “Amawulire amalungi galina okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.” (Makko 13:10; Matayo 24:3) Ekigambo “okusooka,” kiraga nti ebintu ebirala bijja kuddirira omulimu gw’okubuulira. Mu ebyo mulimu ekibonyoobonyo ekinene, ababi mwe bajja okuzikirizibwa era oluvannyuma waddewo ensi empya ey’obutuukirivu. (Matayo 24:14, 21, 22) Mazima ddala, tewali n’omu ayinza kugamba nti Yakuwa tabadde mwenkanya eri ababi. Bw’alabula ababi, aba abawa akakisa okukyusa amakubo gaabwe bawone okuzikirizibwa.—Yona 3:1-10.
10, 11. Okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi kyoleka kitya obwenkanya bwa Katonda?
10 Bwe tubuulira amawulire amalungi kyoleka kitya obwenkanya bwa Katonda? Okusooka, kikulu okukola kyonna kye tusobola okuyamba abalala okufuna obulokozi. Lowooza nate ku kyokulabirako eky’okudduukirirwa n’oggibwa mu mmeeri ebbira. Ng’omaze okuwonyezebwa, naawe oba oyagala okuyamba abalala abakyali mu mazzi. Mu ngeri y’emu, tulina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abo abali mu “mazzi” g’ensi eno embi. Kyo kituufu, bangi bagaana obubaka bwaffe. Naye olw’okuba Yakuwa yeeyongera okubagumiikiriza, tulina obuvunaanyizibwa okubawa akakisa ‘okwenenya’ basobole okufuna obulokozi.—2 Peetero 3:9.
11 Bwe tubuulira bonna be tusanga amawulire amalungi, twoleka obwenkanya mu ngeri endala enkulu: Tuba tetusosola. Kijjukire nti “Katonda tasosola, naye mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Bwe tuba ab’okukoppa obwenkanya bwe, tetusaanidde kusosola mu bantu. Wabula, tusaanidde okubuulira bonna amawulire amalungi ka babe ba ggwanga ki, ka babe mu mbeera ki, oba ka babe baavu oba bagagga. Mu ngeri eyo, tuba tuwa bonna abatuwuliriza akakisa okuwulira amawulire amalungi babeeko kye bakolawo.—Abaruumi 10:11-13.
Engeri Gye Tuyisaamu Abalala
12, 13. (a) Lwaki tetwandyanguye kusalira balala musango? (b) Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti “mulekere awo okusalira abalala omusango” ne “mulekere awo okuvumirira abalala”? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
12 Era tuyinza okwoleka obwenkanya nga tuyisa abalala nga Yakuwa bw’atuyisa. Kyangu nnyo okusalira abalala omusango, okubavumirira olw’ensobi zaabwe, n’okulowooza nti balina ebiruubirirwa ebibi. Naye ani ku ffe eyandyagadde Yakuwa okubuusabuusa ebyo by’akola oba okumunenya awatali busaasizi olw’ensobi z’akola? Eyo si ye ngeri Yakuwa gy’atuyisaamu. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zabbuli 130:3) Tetuli basanyufu nti Katonda waffe omwenkanya era omusaasizi tatunuulira nsobi zaffe? (Zabbuli 103:8-10) Kati olwo twandiyisizza tutya abalala?
13 Bwe tuba nga tusiima obwenkanya bwa Katonda obuzingiramu obusaasizi, tetujja kwanguwa kusalira balala musango mu nsonga ezitatukwatako oba ezitali nkulu. Mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yalabula nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe muleme kusalirwa musango.” (Matayo 7:1) Okusinziira ku njiri ya Lukka, Yesu yagattako nti: “Mulekere awo okuvumirira abalala nammwe muleme kuvumirirwa.”a (Lukka 6:37) Yesu yali amanyi nti abantu abatatuukiridde batera okusalira abalala omusango. Omuntu yenna ku abo abaali bamuwuliriza eyalina omuze ogwo, yalina okugukomya amangu ddala.
Twoleka obwenkanya bwa Katonda bwe tubuulira abalala amawulire amalungi awatali kusosola
14. Lwaki tulina ‘okulekera awo okusalira abalala musango’?
14 Lwaki tulina ‘okulekera awo okusalira abalala omusango’? Okusookera ddala, obuyinza bwaffe buliko ekkomo. Omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Omuwi w’Amateeka era Omulamuzi ali omu,” Yakuwa. N’olwekyo, Yakobo yabuuza nti: “Ggwe ani asalira munno omusango?” (Yakobo 4:12; Abaruumi 14:1-4) Ate era ekibi kye twasikira kiyinza okutuleetera okusalawo mu ngeri etali ya bwenkanya. Endowooza n’ebiruubirirwa bye tuba nabyo, nga mw’otwalidde n’okwekubiira, okulowooza nti tuyisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya, obuggya, n’okwetwala okuba abatuukirivu, biyinza okutulemesa okutunuulira bannaffe mu ngeri entuufu. Tulina n’obunafu obulala, era ekyo bwe tukimanya kyandituleetedde obutayanguyiriza kunoonya nsobi mu balala. Tetuyinza kusoma mitima gy’abantu, era tetuyinza kumanya byonna ebikwata ku balala. Kati olwo, ffe baani okulowooleza bakkiriza bannaffe ebintu ebibi oba okuvumirira bye bakola mu buweereza bwabwe eri Katonda? Kirungi nnyo ffe okukoppa Yakuwa ne tutunuulira ebirungi baganda baffe ne bannyinaffe bye bakola mu kifo ky’okutunuulira ensobi zaabwe!
15. Bigambo ki era nneeyisa ya ngeri ki etakkirizibwa mu baweereza ba Katonda, era lwaki?
15 Ate tusaanidde kuyisa tutya ab’omu maka gaffe? Amaka kye kifo buli omu mw’alina okuwulirira emirembe. Naye eky’ennaku kiri nti mu nsi ya leero, abantu bangi bayisibwa bubi mu maka. Kya bulijjo okuwulira abaami, abakyala, oba abazadde abavuma ab’omu maka gaabwe oba okubakuba. Kyokka okuvuma, okukiina, n’okukuba, tebikkirizibwa mu baweereza ba Yakuwa. (Abeefeso 4:29, 31; 5:33; 6:4) Okubuulirira kwa Yesu okukwata ku ‘kulekera awo okusalira balala musango’ kulina okugobererwa ne mu maka. Kijjukire nti okwoleka obwenkanya kizingiramu okuyisa abalala nga Yakuwa bw’atuyisa. Katonda waffe tatuyisa mu ngeri ya bukambwe. Wabula abo abamwagala naye ‘abalaga okwagala.’ (Yakobo 5:11) Mu butuufu atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa!
Abakadde Baweereza ‘mu Bwenkanya’
16, 17. (a) Kiki Yakuwa ky’asuubira mu bakadde? (b) Kiki ekirina okukolebwa ng’omwonoonyi agaanye okwenenya, era lwaki?
16 Ffenna tulina okwoleka obwenkanya, naye ate abakadde mu kibiina bavunaanyizibwa nnyo ku nsonga eno. Weetegereze ebigambo bino ebyogerwa ku ‘baami,’ oba abakadde mu bunnabbi bwa Isaaya: “Laba! Kabaka alifuga okuleetawo obutuukirivu, n’abaami balifuga okuleetawo obwenkanya.” (Isaaya 32:1) Yakuwa asuubira abakadde okwoleka obwenkanya. Kino bayinza kukikola batya?
17 Abasajja bano abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo bakimanyi nti obwenkanya oba obutuukirivu, bwetaagisa okukuuma ekibiina nga kiyonjo. Emirundi egimu abakadde balina okusala emisango egikwata ku bibi eby’amaanyi. Nga basala emisango egyo, bajjukira nti obwenkanya bwa Katonda butwaliramu okulaga obusaasizi bwe kiba kisoboka. Bwe kityo, bagezaako okuyamba omwonoonyi okwenenya. Naye kiba kitya singa omwonoonyi agaana okwenenya wadde nga bafubye okumuyamba? Ekigambo kya Yakuwa kigamba nti: “Omuntu omubi mumuggye mu mmwe.” Ekyo kitegeeza okumugoba mu kibiina. (1 Abakkolinso 5:11-13; 2 Yokaana 9-11) Kinakuwaza abakadde okukola ekyo, naye bakimanyi nti kyetaagisa okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo mu by’omwoyo ne mu mpisa. Wadde kiri kityo, baba basuubira nti luliba lumu omwonoonyi oyo ne yeenenya n’akomawo mu kibiina.—Lukka 15:17, 18.
18. Kiki abakadde kye balina okujjukira bwe baba babuulirira abalala nga bakozesa Bayibuli?
18 Abakadde era booleka obwenkanya nga bwe baba babuulirira omuntu bakozesa Bayibuli. Kya lwatu, abakadde tebanoonya nsobi mu balala. Era tebakozesa buli kakisa ke bafuna okuwabula abalala. Kyokka mukkiriza munnaabwe ayinza okukwata “ekkubo ekkyamu naye nga tannakitegeera.” Olw’okuba abakadde bakimanyi nti Katonda tayoleka bwenkanya bwe mu ngeri ey’obukambwe, ‘bagezaako okumutereeza, nga bakikola mu mwoyo omukkakkamu.’ (Abaggalatiya 6:1) N’olwekyo, abakadde tebasaanidde kukambuwalira mwonoonyi wadde okumuvuma. Wabula, omuntu bw’abuulirirwa n’okwagala kimuzzaamu amaanyi. Abakadde bwe baba nga batereeza omuntu, kwe kugamba, nga bamulaga ebiyinza okuva mu kkubo ekkyamu, basaanidde okukijjukira nti mukkiriza munnaabwe oyo, ndiga eri mu kisibo kya Yakuwa.b (Lukka 15:7) Asobezza bw’abuulirirwa oba bw’anenyezebwa mu ngeri ey’okwagala, asobola okutereera.
19. Biki abakadde bye balina okusalawo, era balina kusinziira ku ki nga basalawo?
19 Emirundi mingi abakadde kibeetaagisa okusalawo ku nsonga ezikwata ku bakkiriza bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, buli luvannyuma lwa kiseera abakadde batera okukuŋŋaana awamu okwetegereza obanga baganda baabwe mu kibiina balina ebisaanyizo by’okufuuka abakadde oba abaweereza mu kibiina. Abakadde bakimanyi nti kikulu nnyo obutasosola. Mu kusalawo abalina okulondebwa, basinziira ku bisaanyizo ebiri mu Bayibuli, so si ku nneewulira yaabwe. Bwe kityo, basalawo ‘awatali kwekubiira wadde okusaliriza.’—1 Timoseewo 5:21.
20, 21. (a) Abakadde bafuba kukola ki, era lwaki? (b) Biki abakadde bye basobola okukola okuyamba “abennyamivu”?
20 Abakadde booleka obwenkanya mu ngeri endala. Oluvannyuma lw’okugamba nti baliweereza mu ‘bwenkanya,’ Isaaya yagattako nti: “Buli omu aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu okuwona embuyaga, ng’ekifo eky’okweggamamu enkuba ey’amaanyi, aliba ng’emigga mu nsi etaliimu mazzi, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi enkalu.” (Isaaya 32:2) N’olwekyo, abakadde bafuba okubudaabuda bakkiriza bannaabwe n’okubazzaamu amaanyi.
21 Olw’okuba leero waliwo ebizibu bingi ebimalamu amaanyi, bangi beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Abakadde, muyinza kukola ki okuyamba “abennyamivu”? (1 Abassessalonika 5:14) Mubawulirize era mubafeeko. (Yakobo 1:19) Bayinza okuba nga beetaaga okubuulira omuntu gwe beesiga ebibanakuwaza. (Engero 12:25) Mubakakase nti ba muwendo era nti Yakuwa awamu ne bakkiriza baabwe babaagala nnyo. (1 Peetero 1:22; 5:6, 7) Okugatta ku ekyo, muyinza okubasabira oba okusabira awamu nabo. Okuwulira ng’omukadde abasabira okuviira ddala ku mutima, kiyinza okubazzaamu ennyo amaanyi. (Yakobo 5:14, 15) Katonda ow’obwenkanya ajja kusiima nnyo bwe mufuba okuyamba abennyamivu.
Abakadde booleka obwenkanya bwa Yakuwa nga bazzaamu abanafuye amaanyi
22. Tuyinza tutya okukoppa obwenkanya bwa Yakuwa, era biki ebivaamu?
22 Mazima ddala enkolagana yaffe ne Yakuwa yeeyongera okunywera bwe tukoppa obwenkanya bwe! Bwe tukolera ku mitindo gye egy’obutuukirivu, bwe tubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era bwe tutunuulira ebirungi abalala bye bakola mu kifo ky’okutunuulira ensobi zaabwe, tuba twoleka obwenkanya bwa Katonda. Abakadde, bwe mufuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo, bwe muzzaamu abalala amaanyi nga mubabuulirira okuva mu Byawandiikibwa, bwe musalawo awatali kyekubiira, era bwe muzzaamu amaanyi abanafuye, muba mwoleka obwenkanya bwa Katonda. Kiteekwa okuba kisanyusa nnyo Yakuwa bw’alaba abantu be nga bafuba ‘okuba abenkanya’ nga batambula ne Katonda waabwe!
a Enkyusa ezimu eza Bayibuli zigamba nti “temusalira balala musango” oba “temuvumirira balala.” Ekyo kiraga nti ebintu ebyo tebyalina kutandika kukolebwa. Kyokka abawandiisi ba Bayibuli baakozesa ebigambo ebyali biraga ekintu ekyali kigenda mu maaso era nga kirina okukoma.
b Mu 2 Timoseewo 4:2, Bayibuli egamba nti ebiseera ebimu abakadde bateekwa ‘okunenyanga, okulabulanga, n’okubuuliriranga.’ Ekigambo ky’Olwebbulaniya (pa·ra·ka·leʹo) ekyavvuunulwa ‘okubuulirira’ kiyinza okutegeeza “okuzzaamu amaanyi.” Ekigambo ky’Oluyonaani, pa·raʹkle·tos, ekikyefaananyiriza kiyinza okutegeeza omuntu awolereza mu nsonga z’amateeka. Bwe kityo, ne bwe kiba nti abakadde kibeetaagisa okukangavvula omuntu, ekigendererwa kyandibadde kya kumuyamba okutereeza enkolagana ye ne Yakuwa.