ESSUULA 11
“Amakubo Ge Gonna ga Bwenkanya”
1, 2. (a) Yusufu yayisibwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Yakuwa yamalawo atya obutali bwenkanya obwo?
TEKYALI kya bwenkanya n’akamu. Omuvubuka eyali alabika obulungi eyali tazzizza musango gwonna, yasibibwa mu kkomera ng’avunaanibwa okugezaako okukwata omukazi. Ate ogwo si gwe gwali omulundi ogusooka okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Emabegako, ng’aweza emyaka 17, omuvubuka oyo, ayitibwa Yusufu, baganda be baamulyamu olukwe, era katono bamutte. Baamutunda mu buddu mu nsi engwira. Ng’ali mu nsi eyo, mukyala wa mukama we yamusendasenda okwegatta naye, naye yagaana. Omukazi oyo yayogera eby’obulimba ku Yusufu, era Yusufu n’asibibwa mu kkomera. Eky’ennaku, kyalabika ng’awataaliwo n’omu yali ayinza kuwolereza Yusufu.
2 Kyokka Katonda “ayagala obutuukirivu n’obwenkanya” yali alaba ebigenda mu maaso. (Zabbuli 33:5) Yakuwa alina kye yakolawo okumalawo obutali bwenkanya obwo, era oluvannyuma Yusufu yasumululwa. Ng’oggyeeko okusumululwa mu kkomera, yaweebwa ekifo eky’obuvunaanyizibwa era eky’ekitiibwa. (Olubereberye 40:15; 41:41-43; Zabbuli 105:17, 18) Mu nkomerero, kyakakasibwa nti Yusufu teyalina musango gwonna gwe yazza, era yakozesa ekifo kye okutuukiriza ebigendererwa bya Katonda.—Olubereberye 45:5-8.
Yusufu yayisibwa mu ngeri etaali ya bwenkanya, bwe yasibibwa mu kkomera
3. Lwaki tekyewuunyisa nti ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya?
3 Ebyo ebyaliwo naffe bitukwatako. Ani ku ffe atalabangako balala nga bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya oba atayisibwangako mu ngeri etali ya bwenkanya? Mazima ddala, ffenna twagala okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Ekyo tekyewuunyisa kubanga Yakuwa yatutonda nga tulina engeri eziringa ezize, era obwenkanya y’emu ku ngeri ze enkulu. (Olubereberye 1:27) Okusobola okumanya Yakuwa obulungi, twetaaga okutegeera engeri gy’atwalamu obwenkanya. Mu ngeri eyo, tujja kweyongera okusiima amakubo ge era tujja kwagala okufuna enkolagana ennungi naye.
Obwenkanya Kye Ki?
4. Okusinziira ku bantu abamu, obwenkanya kye ki?
4 Okusinziira ku bantu abamu, obwenkanya butwalibwa ng’okugoberera amateeka kye gagamba. Ekitabo ekiyitibwa Right and Reason—Ethics in Theory and Practice kigamba nti: “Obwenkanya bukwataganyizibwa n’amateeka, obuvunaanyizibwa, n’eddembe ly’omuntu, era tebubaamu kusosola kwonna.” Kyokka, bwo obwenkanya bwa Yakuwa busingawo ku kugoberera obugoberezi amateeka.
5, 6. (a) Ebigambo ebyakozesebwa mu lulimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa ebivvuunulwa “obwenkanya,” birina makulu ki? (b) Bayibuli bw’egamba nti Katonda mwenkanya eba etegeeza ki?
5 Tuyinza okutegeera obulungi obwenkanya bwa Yakuwa bwe twekenneenya ebigambo ebyakozesebwa mu Bayibuli mu lulimi mwe yasooka okuwandiikibwa. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebigambo bisatu ebikulu bikozesebwa. Ekigambo ekitera okuvvuunulwa nga ‘obwenkanya’ era kiyinza okuvvuunulwa nga “ekituufu.” (Olubereberye 18:25) Ebigambo ebirala ebibiri bitera kuvvuunulwa nga “obutuukirivu.” Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekivvuunulwa “obutuukirivu” kitegeeza “ekituufu oba eky’obwenkanya.” N’olwekyo, tewaliiwo njawulo ya maanyi wakati w‘obutuukirivu n’obwenkanya.—Amosi 5:24.
6 Bwe kityo, Bayibuli bw’egamba nti Katonda mwenkanya, eba eraga nti bulijjo by’akola biba bituufu era tasosola. (Abaruumi 2:11) Mazima ddala tasobola n’akamu kukola kintu ekitali kituufu oba ekitali kya bwenkanya. Eriku omusajja eyali omwesigwa yagamba nti: “Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!” (Yobu 34:10) Mazima ddala, tekiyinzika n’akamu Yakuwa ‘okukola ebintu ebitali bya bwenkanya.’ Lwaki? Olw’ensonga bbiri enkulu.
7, 8. (a) Lwaki Yakuwa tasobola kweyisa mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Kiki ekireetera Yakuwa okubeera omutuukirivu oba omwenkanya mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala?
7 Ensonga esooka, mutukuvu. Nga bwe twalaba mu Ssuula 3, Yakuwa mulongoofu. N’olwekyo, tayinza kukola kintu kitali kya butuukirivu oba kitali kya bwenkanya. Kirowoozeeko, olw’okuba Kitaffe ali mu ggulu mutukuvu, tayinza n’akamu kuyisa bubi baana be. Ne Yesu yali mukakafu ku ekyo. Ekiro ekyasembayo ng’ali ku nsi, yasaba Katonda nti: “Kitange Omutukuvu, [abayigirizwa] bakuume olw’erinnya lyo.” (Yokaana 17:11) Mu Byawandiikibwa, ebigambo “Kitange Omutukuvu,” bikozesebwa ku Yakuwa yekka. Kino kituukirawo, kubanga tewali taata yenna ku nsi amwenkana obutukuvu. Yesu yali mukakafu nti abayigirizwa be bandibadde bulungi nga balabirirwa Kitaawe, omulongoofu era atalina kakwate na bintu bibi.—Matayo 23:9.
8 Ensonga ey’okubiri, Katonda alina okwagala kungi era teyeefaako. Okwagala ng’okwo kumuleetera okuba omutuukirivu oba omwenkanya mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala. Kyokka obutali bwenkanya obw’engeri zonna, gamba ng’obusosoze ne kyekubiira, busibuka ku mululu n’okwerowoozaako, ebintu ebikontana n’okwagala. Bayibuli eyogera bw’eti ku Katonda ow’okwagala: “Yakuwa mutuukirivu era ayagala ebikolwa eby’obutuukirivu.” (Zabbuli 11:7) Yakuwa kennyini yeeyogerako bw’ati: “Nze Yakuwa njagala obwenkanya.” (Isaaya 61:8) Nga kizzaamu amaanyi okukimanya nti Katonda waffe ayagala okukola ekituufu oba eky’obwenkanya!—Yeremiya 9:24.
Obusaasizi n’Obwenkanya bwa Yakuwa Obutuukiridde
9-11. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe? (b) Obwenkanya bwa Yakuwa awamu n’obusaasizi bwe byeyolekera bitya mu ngeri gy’akolaganamu n’abantu aboonoonyi?
9 Obwenkanya bwa Yakuwa, okufaananako engeri ze endala, butuukiridde era tebulina kye bubulako. Bwe yali atendererza Yakuwa, Musa yagamba nti: “Olwazi, by’akola bituukiridde, amakubo ge gonna ga bwenkanya. Katonda omwesigwa ataliimu butali bwenkanya; Mutuukirivu era mwenkanya.” (Ekyamateeka 32:3, 4) Yakuwa bw’aba alaga obwenkanya tagwa lubege, tawa ddembe lisukkiridde ate taba mukambwe kiyitiridde.
10 Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’obwenkanya bwa Yakuwa n’obusaasizi bwe. Zabbuli 116:5 egamba nti: “Yakuwa wa kisa era mutuukirivu; [“mwenkanya,” The New American Bible] Katonda waffe musaasizi.” Mazima ddala Yakuwa mwenkanya era musaasizi. Engeri ezo zombi tezikontana. Bw’alaga obusaasizi, aba tabuusa maaso bwenkanya bwe. Wabula, emirundi mingi bw’abaako ky’akola akikola mu ngeri ey’obwenkanya era eyoleka obusaasizi. Lowooza ku kyokulabirako kino.
11 Abantu bonna baasikira ekibi era bwe kityo bagwanidde okusasulwa empeera y’ekibi, nga kwe kufa. (Abaruumi 5:12) Naye Yakuwa tasanyukira kufa kw’ababi. Ye “Katonda omwetegefu okusonyiwa, ow’ekisa, omusaasizi.” (Nekkemiya 9:17) Wadde kiri kityo, olw’okuba mutukuvu, tayinza kubuusa maaso butali butuukirivu. Kati olwo, asaasira atya abantu abaasikira ekibi? Eky’okuddamu kikwataganyizibwa n’amazima agasingayo okuba ag’omuwendo agali mu Kigambo kya Katonda. Amazima ago ye nteekateeka ya Yakuwa ey’okulokola abantu okuyitira mu kinunulo. Mu Ssuula 14, tujja kuyiga ebisingawo ebikwata ku nteekateeka eno ey’okwagala. Ate era enteekateeka eno ya bwenkanya era ya busaasizi. Okuyitira mu nteekateeka eyo, Yakuwa asaasira aboonoonyi abeenenya ng’ate mu kiseera kye kimu agoberera emitindo gye eby’obwenkanya.—Abaruumi 3:21-26.
Tukwatibwako Nnyo Obwenkanya bwa Yakuwa
12, 13. (a) Lwaki obwenkanya bwa Yakuwa butuleetera okumwagala? (b) Kiki Dawudi kye yategeera ku Yakuwa, era ekyo kituzzaamu kitya amaanyi?
12 Obwenkanya bwa Yakuwa tebutuleetera kumutya, wabula butuleetera okumwagala. Bayibuli ennyonnyola bulungi obwenkanya bwa Yakuwa, oba obutuukirivu bwe. Ka tulabe engeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya bwe.
13 Obwenkanya bwa Yakuwa bumuleetera okubeera omwesigwa eri abaweereza be. Dawudi, omuwandiisi wa Zabbuli, yakitegeera nti Yakuwa mwenkanya. Ebyo bye yayitamu n’engeri Katonda gy’akolamu ebintu byamuleetera kutegeera ki? Yagamba nti: “Yakuwa ayagala obwenkanya, era talyabulira abo abeesigwa gy’ali. Anaabakuumanga bulijjo.” (Zabbuli 37:28) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi! Katonda waffe tayinza n’akamu kwabulira abo abamwesiga. Olw’okuba mwenkanya, tuli bakakafu nti ajja kubeeranga naffe era atulabirire.—Engero 2:7, 8.
14. Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri gaalaga gatya nti afaayo ku banaku?
14 Obwenkanya bwa Katonda bumuleetera okumanya ebyetaago by’abo abali mu nnaku. Amateeka Yakuwa ge yawa Abayisirayiri gaalaga bulungi nti afaayo ku banaku. Ng’ekyokulabirako, Amateeka ago gaalimu enteekateeka ey’enjawulo eyali esobozesa bamulekwa ne bannamwandu okulabirirwa. (Ekyamateeka 24:17-21) Olw’okuba yali amanyi bulungi nti abantu ng’abo obulamu tebwandibabeeredde bwangu, Yakuwa kennyini yafuuka Omulamuzi waabwe era Omukuumi waabwe, oyo “akola ku nsonga z’omwana atalina kitaawe n’eza nnamwandu.”a (Ekyamateeka 10:18; Zabbuli 68:5) Yakuwa yagamba Abayisirayiri nti bwe bandiyisizza obubi abakazi n’abaana abatalina mwasirizi, yandibaddeko ky’akolawo. Yagamba nti: “Obusungu bwange bujja kubuubuuka.” (Okuva 22:22-24) Wadde ng’obusungu si ngeri ya Yakuwa enkulu, asunguwala singa abanaku n’abatalina buyambi, mu bugenderevu bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.—Zabbuli 103:6.
15, 16. Tumanya tutya nti Yakuwa tasosola?
15 Yakuwa era atukakasa nti ‘tasosola era talya nguzi.’ (Ekyamateeka 10:17) Okwawukana ku bantu bangi abalina obuyinza, Yakuwa ye tatunuulira byabugagga omuntu by’aba nabyo wadde endabika ye ey’okungulu. Tasosola n’akamu. Weetegereze obujulizi obw’enkukunala obulaga nti tasosola. Awa abantu bonna akakisa okumuweereza basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli egamba nti: “Mu buli ggwanga omuntu amutya n’akola ekituufu amukkiriza.” (Ebikolwa 10:34, 35) Buli muntu k’abe mu mbeera ki, wa kika ki, oba ggwanga ki, asobola okufuuka omuweereza wa Yakuwa. Mazima ddala, Yakuwa mwenkanya nnyo!
16 Engeri endala Yakuwa gy’ayolekamu obwenkanya gye tusaanidde okulowoozaako ekwata ku ngeri gy’ayisaamu abo abatagondera mitindo gye egy’obutuukirivu.
Talekaayo Kubonereza
17. Lwaki obutali bwenkanya obuli mu nsi tebutegeeza nti Yakuwa si mwenkanya?
17 Abamu bayinza okugamba nti: ‘Bwe kiba nti Yakuwa tabuusa maaso butali butuukirivu, lwaki obutali bwenkanya, okubonaabona n’obulyi bw’enguzi bicaase nnyo leero?’ Ebikolwa ng’ebyo ebibi ebiriwo tebitegeeza nti obwenkanya bwa Yakuwa buliko ekikyamu. Obutali bwenkanya obuliwo leero busibuka ku kibi abantu kye baasikira ku Adamu. Mu nsi abantu mwe basazeewo okugoberera amakubo gaabwe amabi, obutali bwenkanya bungi nnyo, naye tebujja kubaawo kiseera kiwanvu.—Ekyamateeka 32:5.
18, 19. Kiki ekiraga nti Yakuwa tajja kugumiikiriza emirembe gyonna abo abamenya amateeka ge ag’obutuukirivu mu bugenderevu?
18 Wadde nga Yakuwa alaga obusaasizi abo abafuba okubeera n’enkolagana ennungi naye, tajja kugumiikiriza mbeera ereeta ekivume ku linnya lye ettukuvu ebbanga lyonna. (Zabbuli 74:10, 22, 23) Katonda ow’obwenkanya tasekererwa, era tajja kulema kubonereza abo abagwanidde okubonerezebwa. Yakuwa ye “Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi, . . . naye atalirema kubonereza oyo aliko omusango.” (Okuva 34:6, 7) Ng’atuukagana n’ebigambo ebyo, emirundi egimu Yakuwa abonereza abo abamenya amateeka ge ag’obutuukirivu mu bugenderevu.
19 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’Abayisirayiri. Abayisirayiri ne bwe baali nga bamaze okutuuka mu Nsi Ensuubize, enfunda n’enfunda beenyigiranga mu bikolwa ebibi. Wadde amakubo gaabwe amabi ‘gaanakuwazanga’ Yakuwa, teyayanguwa kubaabulira. (Zabbuli 78:38-41) Wabula, yabawa akakisa okukyusa amakubo gaabwe. Yabagamba nti: “Sisanyukira kufa kwa mubi, wabula njagala omuntu omubi akyuke aleke ebikolwa bye ebibi, asigale nga mulamu. Mukyuke, mukyuke muleke ebikolwa byammwe ebibi; lwaki mwagala okufa mmwe ab’ennyumba ya Isirayiri?” (Ezeekyeri 33:11) Olw’okuba Yakuwa yali atwala obulamu bwabwe nga bwa muwendo, enfunda n’enfunda yatuma bannabbi be eri Abayisirayiri basobole okuleka amakubo gaabwe amabi. Naye okutwalira awamu, abantu abo abaali abakakanyavu baagaana okuwuliriza n’okwenenya. Ku nkomerero, olw’erinnya lye ettukuvu n’ekyo kye likiikirira, Yakuwa yabawaayo mu mikono gy’abalabe baabwe.—Nekkemiya 9:26-30.
20. (a) Engeri Katonda gye yakolaganamu n’Abayisirayiri etuyigiriza ki? (b) Lwaki kituukirawo empologoma okukiikirira obwenkanya bwa Yakuwa?
20 Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri, etuyigiriza bingi ebimukwatako. Tuyiga nti alaba obutali butuukirivu obuliwo era nti anakuwala nnyo olw’ebyo by’alaba. (Engero 15:3) Era kizzaamu amaanyi okukimanya nti alaga obusaasizi singa wabaawo ensonga kw’asinziira okubulaga. Ate era tuyiga nti tayanguyiriza kubonereza bakoze bintu bibi. Olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, abantu bangi balowooza nti tagenda kubonereza babi. Naye ekyo si kituufu, kubanga engeri Katonda gye yakolaganamu n’Abayisirayiri etuyigiriza nti obugumiikiriza bwe buliko ekkomo. Bulijjo Yakuwa akakasa nti wabaawo obwenkanya. Okwawukana ku bantu oluusi abataba benkanya, tewali kiyinza kumulemesa kunywerera ku kituufu. Eyo ye nsonga lwaki olw’okuba empologoma nvumu nnyo, mu Bayibuli ekiikirira obwenkanya bwa Yakuwa.b (Ezeekyeri 1:10; Okubikkulirwa 4:7) N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okumalawo obutali bwenkanya ku nsi. Mazima ddala, engeri gy’alamulamu eyinza okuwumbibwako bw’eti: anywerera ku kituufu, kyokka asaasira buli lwe kiba kisoboka.—2 Peetero 3:9.
Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda ow’Obwenkanya
21. Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya, twandimututte tutya, era lwaki?
21 Bwe tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya, tetwandimututte ng’omulamuzi omukambwe ayagala obwagazi okubonereza aboonoonyi. Wabula twandimututte nga Kitaffe ow’okwagala anywerera ku kituufu, era ayisa abaana be mu ngeri esingayo obulungi. Olw’okuba Yakuwa ye Kitaffe omwenkanya era omutuukirivu, anywerera ku kituufu ng’ate bw’asaasira abaana be ab’oku nsi, abeetaaga obuyambi n’okusonyiyibwa.—Zabbuli 103:10, 13.
22. Olw’obwenkanya bwe, kiki Yakuwa ky’atusuubizza, era lwaki?
22 Nga tuli basanyufu nnyo okumanya nti obwenkanya bwa Katonda busingawo ku kusalira obusalizi aboonoonyi emisango! Olw’okuba Yakuwa mwenkanya, atuwadde essuubi ery’ekitalo ery’obulamu obutaggwaawo era obutuukiridde mu nsi ‘omulibeera obutuukirivu.’ (2 Peetero 3:13) Ekyo kiraga nti olw’okuba mwenkanya, ayagala okuwonya abantu so si okubasalira omusango. Mazima ddala, okutegeera obulungi obwenkanya bwa Yakuwa kituleetera okwagala okufuna enkolagana ennungi naye! Mu ssuula eziddako, tujja kwekenneenya engeri Yakuwa gy’alagamu engeri eno ennungi ennyo.
a Ebigambo “omwana atalina kitaawe” biraga nti Yakuwa yali afaayo ku baana bonna abataalina bakitaabwe ka babe bawala oba balenzi. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yalagira nti abaana ba Zerofekaadi abaali abawala baweebwe obusika bwa kitaabwe. Ekyo Yakuwa kye yalagira kyandisobozesezza abaana abawala nabo okufunanga obusika.—Okubala 27:1-8.
b Yakuwa yeegeraageranya ku mpologoma bwe yali ayogera ku ngeri gye yabonerezaamu Abayisirayiri abataali beesigwa.—Yeremiya 25:38; Koseya 5:14.