Oluyimba 28
Oluyimba Olupya
Printed Edition
1. Luyimba lupya, Luyimbirenga Katonda.
Buulira by’akoze N’ebyo by’alikola.
Tenda ’maanyi ge; Katonda wa buwanguzi.
Alamula ’bantu mu butuukirivu.
(CHORUS)
Muyimbe!
Oluyimba lupya.
Muyimbe!
Yakuwa Kabaka.
2. Yimba n’essanyu, Yimbira Katonda waffe!
Tenda erinnya lye; Muwe ekitiibwa.
Yimbira wamu N’ekibiina ekinene.
’Nnanga n’ekkondeere bivugira kumu.
(CHORUS)
Muyimbe!
Oluyimba lupya.
Muyimbe!
Yakuwa Kabaka.
3. Ennyanja n’ebyo Ebirimu bimutende.
Bonna ku nsi kati, Bamutendereze.
N’emigga nagyo, Ka gikubenga mu ngalo.
’Nsozi n’ebiwonvu bimutendereze
(CHORUS)
Muyimbe!
Oluyimba lupya.
Muyimbe!
Yakuwa Kabaka.
(Era laba Zab. 96:1; 149:1; Is. 42:10.)