OLUYIMBA 62
Oluyimba Olupya
Printed Edition
	- 1. Luyimba lupya; Luyimbirenga Katonda. - Manyisa by’akoze N’ebyo by’alikola. - Tenda ’maanyi ge Kubanga ye muwanguzi. - Mu butuukirivu, - Alamula ensi. - (CHORUS) - Tuyimbe - Oluyimb’o lupya! - Tuyimbe! - Yakuwa Kabaka. 
- 2. Yimba n’essanyu; Yimbira Katonda waffe! - Mugulumizenga; Tenda erinnya lye. - Yimbira wamu N’abantu be abeesigwa. - ’Nnanga n’ekkondeere - Bimutendereza. - (CHORUS) - Tuyimbe - Oluyimb’o lupya! - Tuyimbe! - Yakuwa Kabaka. 
- 3. Ennyanja n’ebyo Ebirimu bimutende. - ’Bantu bonna ku nsi Bamutendereze. - N’emigga nagyo Ka gikubenga mu ngalo. - ’Nsozi n’ebiwonvu - Bimuwe ettendo. - (CHORUS) - Tuyimbe - Oluyimb’o lupya! - Tuyimbe! - Yakuwa Kabaka. 
(Laba ne Zab. 96:1; 149:1; Is. 42:10.)