LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • yc essomo 13 lup. 28-29
  • Timoseewo Yali Ayagala Okuyamba Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Timoseewo Yali Ayagala Okuyamba Abantu
  • Yigiriza Abaana Bo
  • Similar Material
  • Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Pawulo ne Timoseewo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Abavubuka Muluubirire Ebyo Ebiweesa Katonda Ekitiibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Yigiriza Abaana Bo
yc essomo 13 lup. 28-29
Timoseewo ng’ayigirizibwa Maama we Ewuniike ne jjajjaawe Looyi

ESSOMO 13

Timoseewo Yali Ayagala Okuyamba Abantu

Timoseewo yali muvubuka eyali ayagala ennyo okuyamba abantu. Yatambula mu bifo bingi okuyamba abantu. Ekyo kyamuyamba okufuna essanyu mu bulamu. Wandyagadde okumanya ebisingawo ebikwata ku Timoseewo?—

Maama wa Timoseewo ne jjajjaawe baamuyigiriza ebikwata ku Yakuwa

Timoseewo yakulira mu kibuga ekiyitibwa Lusitula. Bwe yali akyali muto, jjajjaawe Looyi ne maama we Ewuniike, baatandika okumuyigiriza ebikwata ku Yakuwa. Bwe yakula, yayagala nnyo okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Yakuwa.

Timoseewo bwe yali akyali muvubuka, Pawulo yamusaba agende naye babuulire mu bifo ebirala. Yakkiriza! Yali mwetegefu okugenda okuyamba abalala.

Timoseewo yagenda ne Pawulo mu kibuga ky’omu Makedoni ekiyitibwa Ssessalonika. Okusobola okutuukayo baasooka kutambuza bigere olugendo oluwerako, n’oluvannyuma ne balinnya eryato. Bwe baatuukayo baayamba abantu bangi okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Naye abantu abamu baabakambuwalira era ne bagezaako okubatuusaako akabi. Pawulo ne Timoseewo baava mu kibuga ekyo ne bagenda ne babuulira mu bitundu ebirala.

Timoseewo n’omutume Pawulo bali mu lyato bagenda

Timoseewo yalina obulamu obweyagaza

Nga wayiseewo emyezi egiwerako, Pawulo yagamba Timoseewo addeyo e Ssessalonika alabe ab’oluganda bwe bali. Okusobola okuddayo mu kibuga ekyo kyali kyetaagisa obuvumu. Naye Timoseewo yaddayo olw’okuba yali afaayo ku b’oluganda. Yaleetera Pawulo amawulire amalungi n’amugamba nti ab’oluganda mu Ssessalonika baali baweereza Yakuwa n’obwesigwa!

Timoseewo yakolera wamu ne Pawulo okumala emyaka mingi. Lumu Pawulo yawandiika nti Timoseewo ye muntu gwe yali asinga okwesiga era gwe yali asobola okusindika okuyamba ebibiina. Timoseewo yali ayagala nnyo Yakuwa era ng’ayagala nnyo n’abantu.

Naawe oyagala nnyo abantu era oyagala okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa?— Bwe kiba kityo, ojja kufuna essanyu mu bulamu nga Timoseewo.

SOMA MU BAYIBULI

  • 2 Timoseewo 1:5; 3:15

  • Ebikolwa 16:1-5; 17:1-10

  • 1 Abassessalonika 3:2-7

  • Abafiripi 2:19-22

EBIBUUZO:

  • Timoseewo yakulira wa?

  • Timoseewo yakola atya Pawulo bwe yamusaba atambulenga naye mu ŋŋendo ze? Lwaki?

  • Lwaki Timoseewo yaddayo e Ssessalonika?

  • Osobola otya okufuna essanyu mu bulamu nga Timoseewo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share