LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 7/1 lup. 18-19
  • Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • “Omwana Wange Omwagalwa era Omwesigwa mu Mukama Waffe”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Timoseewo Yali Ayagala Okuyamba Abantu
    Yigiriza Abaana Bo
  • Pawulo ne Timoseewo
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • “Bazzaamu Ebibiina Amaanyi”
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 7/1 lup. 18-19

Yigiriza Abaana Bo

Timoseewo Yali Mwetegefu era ng’Ayagala Okuweereza

“OLI mwetegefu?” Waliwo eyali akubuuzizzaako ekibuuzo ekyo?— Oyo eyakikubuuza yali ayagala kumanya obanga wali weetegese. Oboolyawo omuntu oyo yali kumanya: ‘Ebitabo eby’okukozesa mu kusoma obirina? Bye tugenda okusoma wabiyiseemu?’ Nga bwe tugenda okulaba, Timoseewo yali mwetegefu.

Ate era Timoseewo yali ayagala okuweereza. Omanyi ekyo kye kitegeeza?— Timoseewo bwe yayitibwa okuweereza Katonda, yalina endowooza ng’ey’omuweereza wa Katonda omulala eyagamba nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.” (Isaaya 6:8) Olw’okuba yali mwetegefu era ng’ayagala okuweereza, Timoseewo yafuna essanyu lingi mu bulamu bwe. Wandyagadde okumanya ebimukwatako?—

Timoseewo yazaalibwa mu Lusitula ekiri ewala ennyo ne Yerusaalemi. Jjajjaawe omukazi Looyi ne maama we Ewuniike baali basoma nnyo Ebyawandiikibwa. Baatandika okuyigiriza Timoseewo Ekigambo kya Katonda okuviira ddala nga akyali muwere.​—2 Timoseewo 1:5; 3:15.

Timoseewo bwe yali mu myaka gye egy’obutiini, omutume Pawulo ng’ali ku lugendo lwe olw’okubuulira olusooka yagenda e Lusitula ne Balunabba. Kirabika mu kiseera ekyo maama wa Timoseewo ne jjajjaawe we baafuukira Abakristaayo. Wandyagadde okumanya ebizibu Pawulo ne Balunabba bye baayolekagana nabyo?— Abantu abaali batayagala Bakristaayo baakuba Pawulo amayinja ne bamuwalula ne bamutwala ebweru w’ekibuga. Baali balowooza nti afudde.

Abo abaali bakkirizza Pawulo bye yayigiriza baamwetooloola, era n’ayimuka. Olunaku olwaddako, Pawulo ne Balunabba baava mu kibuga ekyo, naye waayitawo ekiseera kitono ne baddayo e Lusitula. Bwe baddayo, Pawulo yayogera eri abayigirizwa n’abagamba nti: ‘Kitugwanidde okuyita mu nnaku nnyingi okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.’ (Ebikolwa 14:8-22) Omanyi Pawulo kye yali ategeeza?— Yali ategeeza nti abantu bandiyigganyizza abaweereza ba Katonda. Nga wayise ekiseera, Pawulo yawandiikira Timoseewo nti: ‘Bonna abaagala okukwata empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.’​—2 Timoseewo 3:12; Yokaana 15:20.

Pawulo ne Balunabba bwe bava e Lusitula, baddayo ewaabwe. Nga wayise emyezi, Pawulo yalonda Siira okumuwerekera, era bagenda bombi okuzzaamu amaanyi abayigirizwa abappya abaali mu bitundu Pawulo bye yali abuulidde. Nga Timoseewo ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo okuddamu okulaba Pawulo ng’akomyewo e Lusitula! N’ekyasinga okumusanyusa kwe kuba nti yayitibwa okuweereza awamu ne Pawulo ne Siira, era yakkiriza. Yali mwetegefu era yali ayagala okugenda nabo.​—Ebikolwa 15:40–16:5.

Bonsatule baatambula mayiro bikumi na bikumi, n’oluvannyuma baalinnya eryato. Bwe baatuuka ku lukalu, baatambula ne bagenda e Ssessaloniika mu Buyonaani. Abantu b’omu kitundu ekyo bangi baafuuka Abakristaayo. Naye abalala baasunguwala ne beegugunga. Bwe baalaba ng’obulamu bwabwe buli mu kabi, Pawulo, Siira, ne Timoseewo badduka ne bagenda Beroya.​—Ebikolwa 17:1-10.

Pawulo yali mweraliikirivu olwa bakkiriza banne abappya abaali mu Sessaloniika, era yatuma Timoseewo okuddayo. Omanyi lwaki?— Pawulo yannyonnyola bw’ati Abakristaayo b’omu Sessaloniika: ‘Okubanyweza n’okubabudaabuda waleme kubaawo n’omu aggwamu maanyi.’ Omanyi lwaki Pawulo yatuma Timoseewo eyali omuto okukola ekintu ekyali kiyinza okuteeka obulamu bwe mu kabi?— Timoseewo abalabe baali tebamumanyi bulungi, ate naye yali ayagala okugenda. Ng’ekyo kyali kyetaagisa obuvumu obw’amaanyi! Ebintu byagenda bitya? Timoseewo bwe yakomawo eri Pawulo, yamubuulira ku kukkiriza kw’abantu b’omu Sessaloniika. Pawulo kye yava awandiika nti: ‘Tusanyusiddwa ku lwammwe.’​—1 Abasessaloniika 3:2-7.

Timoseewo yeeyongera okuweereza ne Pawulo okumala emyaka emirala kkumi. Pawulo bwe yasibibwa e Ruumi, Timoseewo, eyali yaakava mu kkomera, yagenda abeere naye. Ng’ali mu kkomera, Pawulo yawandiikira Abafiripi ebbaluwa, era kyandiba nti Timoseewo ye yali omuwandiisi we. Pawulo yagamba nti: ‘Nsuubira okubatumira amangu Timoseewo, kubanga sirina mulala mwesigwa ayinza kubaweereza kusinga ye.’​—Abafiripi 2:19-22; Abaebbulaniya 13:23.

Ng’ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byasanyusa nnyo Timoseewo! Pawulo yayagala nnyo Timoseewo kubanga yali mwetegefu era ng’ayagala okuweereza. Tusuubira nti naawe bw’otyo bw’onoobeera.

Ebibuuzo:

○ Timoseewo yakulira wa, era kiki ekyaliyo ku mulundi Pawulo gwe yasooka okugendayo?

○ Timoseewo yakola ki bwe yayitibwa okuweereza awamu ne Pawulo ne Siira?

○ Timoseewo yalaga atya obuvumu, era lwaki Pawulo yamwagala nnyo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Mutawaana ki ogubaddewo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share