LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 2 lup. 10-lup. 11 kat. 1
  • Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Omusajja n’Omukazi Abaasooka
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Lwaki Tukaddiwa ne Tufa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Onooganyulwa Otya mu Kufa kwa Yesu n’Okuzuukira Kwe?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 2 lup. 10-lup. 11 kat. 1
Adamu ne Kaawa nga bali mu lusuku Edeni

ESSOMO 2

Katonda Yatonda Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Yakuwa yasimba olusuku mu kifo ekiyitibwa Edeni. Olusuku olwo lwalimu ebimuli bingi, emiti, n’ensolo. Oluvannyuma Katonda yakola omuntu eyasooka, Adamu, okuva mu nfuufu, n’afuuwa omuka mu nnyindo ze. Omanyi ekyaddirira? Omuntu yafuuka omulamu! Yakuwa yawa Adamu omulimu gw’okulabirira olusuku, era yamugamba n’okutuuma ensolo zonna amannya.

Yakuwa yawa Adamu etteeka ekkulu ennyo. Yamugamba nti: ‘Osobola okulya ku bibala by’emiti gyonna, okuggyako omuti gumu gwokka. Bw’onoolya ku bibala by’omuti ogwo, ojja kufa.’

Oluvannyuma Yakuwa yagamba nti: ‘Ŋŋenda kukolera Adamu omuyambi.’ Yakuwa yaleetera Adamu otulo tungi, n’amuggyamu olubiriizi lumu n’alukolamu omukazi. Omukazi oyo yali ayitibwa Kaawa. Adamu ne Kaawa be bafumbo abaasooka. Adamu yawulira atya ng’afunye omukyala? Yasanyuka nnyo era n’agamba nti: ‘Laba Yakuwa ky’akoze okuva mu lubiriizi lwange! Kati nfunye omuntu alinga nze.’

Yakuwa yagamba Adamu ne Kaawa okuzaala abaana bajjuze ensi. Yali ayagala bakolere wamu bafuule ensi yonna olusuku olulabika obulungi, ng’olusuku Edeni. Naye ekyo tekyasoboka. Lwaki? Tujja kumanya ebisingawo mu ssuula eddako.

“Oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi.”​—Matayo 19:4

Ebibuuzo: Mulimu ki Yakuwa gwe yawa Adamu? Kiki ekyandibaddewo Adamu ne Kaawa bwe bandiridde ku muti Katonda gwe yabagaana okulyako?

Olubereberye 1:27-31; 2:7-9, 15-23; Zabbuli 115:16; Matayo 19:4-6

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share