Omulabe Alisembayo Okuggibwawo Kwe Kufa
“Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.”—1 KOL. 15:26.
1, 2. Bulamu bwa ngeri ki Adamu ne Kaawa bwe baalina mu kusooka, era bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
ADAMU ne Kaawa bwe baali baakatondebwa, baali tebalina mulabe yenna. Baali bantu abatuukiridde era nga babeera mu lusuku lwa Katonda. Baalina enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waabwe era baali baana be. (Lub. 2:7-9; Luk. 3:38) Katonda yabakwasa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo. (Soma Olubereberye 1:28.) Adamu ne Kaawa okusobola okuzaala ‘bajjuze ensi,’ kyali tekibeetaagisa kubaawo mirembe gyonna. Naye okusobola ‘okufuga buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi,’ Adamu ne Kaawa kyali kibeetaagisa okubaawo emirembe gyonna. Adamu ne Kaawa baali ba kubaawo emirembe gyonna okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabakwasa.
2 Naye lwaki leero ebintu tebiri nga Katonda bwe yali ayagala bibe? Omuntu yatuuka atya okuba n’abalabe abangi ennyo b’alina kati, ng’omu ku balabe abo kwe kufa? Katonda anaamalawo atya abalabe abo? Bayibuli etuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, nga bwe tugenda okulaba.
EKIRAGIRO KATONDA KYE YAWA
3, 4. (a) Kiragiro ki Katonda kye yawa Adamu ne Kaawa? (b) Lwaki kyali kikulu okugondera ekiragiro ekyo?
3 Wadde nga Adamu ne Kaawa baali ba kubeerawo emirembe gyonna, baali tebaweereddwa bulamu obutasobola kuzikirizibwa. Okusobola okusigala nga balamu, baalina okussa, okulya, okunywa, n’okwebaka. N’ekisinga obukulu, baalina okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, ensibuko y’obulamu bwabwe. (Ma. 8:3) Okusobola okweyongera okuba abalamu era nga basanyufu, baalina okugoberera obulagirizi bwa Katonda. Bwe yali tannatonda Kaawa, Katonda yagamba Adamu nti: “Buli muti ogw’omu lusuku olyangako nga bw’onooyagalanga: naye omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi togulyangako: kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa.”—Lub. 2:16, 17.
4 “Omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi” gwali gukiikirira obuyinza Katonda bw’alina okusalawo ekirungi n’ekibi. Okuva bwe kiri nti Adamu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era ng’alina omuntu ow’omunda, yalina obusobozi obw’okumanya ekirungi n’ekibi. Kyokka omuti ogwo gwali gwa kujjukiza Adamu ne Kaawa nti bulijjo baali beetaaga obulagirizi okuva eri Yakuwa. Okulya ku muti ogwo kyandiraze nti baali tebeetaaga Katonda kubawa bulagirizi. Era nga Katonda bwe yali agambye, ekyo kyandiviiriddeko Adamu ne Kaawa okufa awamu n’abaana be bandizadde.
ENGERI OKUFA GYE KWABUNA KU BANTU BONNA
5. Lwaki Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda?
5 Kaawa bwe yamala okutondebwa, Adamu yamubuulira ekiragiro Katonda kye yali awadde. Kaawa yali amanyi bulungi ekiragiro ekyo ne kiba nti yali asobola okukyogera kumpi kigambo ku kigambo. (Lub. 3:1-3) Ekyo tukirabira ku ngeri gye yaddamu Sitaani, oyo eyali ayogera naye ng’ayitira mu musota. Sitaani Omulyolyomi yali alese omutima gwe okutwalirizibwa omwoyo gwa kyetwala n’ogw’okwagala obuyinza. (Geraageranya Yakobo 1:14, 15.) Okusobola okutuuka ku biruubirirwa bye, Sitaani yawaayiriza Katonda nti mulimba. Yagamba Kaawa nti bwe yandijeemedde Katonda teyandifudde, wabula yandibadde nga Katonda. (Lub. 3:4, 5) Kaawa yakkiriza obulimba obwo, n’asalawo okwewaggula ng’alya ku kibala Katonda kye yali abagaanye, era yasendasenda ne Adamu okumwegattako. (Lub. 3:6, 17) Mu butuufu, Omulyolyomi yalimbalimba Kaawa. (Soma 1 Timoseewo 2:14.) Adamu yali akimanyi bulungi nti kyali kikyamu okulya ku kibala ekyo, naye yasalawo ‘okuwuliriza eddoboozi lya mukazi we.’ Wadde ng’omusota gwalabika ng’ogutaalina mutawaana gwonna, oyo eyali emabega waagwo yali Sitaani Omulyolyomi, omulabe atalina kisa era eyali akimanyidde ddala nti ebyo ebyandivuddemu mu bujeemu byandibadde bibi nnyo.
6, 7. Yakuwa yakwata atya ensonga oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okumujeemera?
6 Adamu ne Kaawa beerowoozaako bokka ne basalawo okujeemera Katonda eyali abawadde obulamu n’ebintu byonna ebirungi bye baalina. Kya lwatu nti Yakuwa yali alabye ebyo byonna ebyali bibaddewo. (1 Byom. 28:9; soma Engero 15:3.) Nga kiteekwa okuba nga kyanakuwaza nnyo Yakuwa okulaba nga Adamu, Kaawa, ne Sitaani basazeewo okumujeemera. (Geraageranya Olubereberye 6:6.) Ng’Omulamuzi, Yakuwa yasalira abajeemu abo omusango ng’asinziira ku tteeka lye yali abawadde.
7 Katonda yali yagamba Adamu nti olunaku lwe yandiridde ku muti ogw’okumanya obulungi n’obubi, yandifudde. Adamu ayinza okuba nga yali alowooza nti “olunaku” Katonda lwe yali ayogeddeko lwali lwa ssaawa 24. Oluvannyuma lw’okwonoona, Adamu ayinza okuba nga yalowooza nti yali agenda kufa ng’enjuba tennagwa. Naye ku olwo mu kiseera eky’akawungeezi, Yakuwa yayogera ne Adamu ne Kaawa. (Lub. 3:8) Ng’omulamuzi omulungi, Yakuwa yasooka n’awuliriza Adamu ne Kaawa. (Lub. 3:9-13) Oluvannyuma yasalira abajeemu abo omusango. (Lub. 3:14-19) Singa Yakuwa yabattirawo, ekigendererwa kye eri abantu tekyandituukiridde. (Is. 55:11) Wadde nga Adamu ne Kaawa baatandikirawo okufuna ebizibu ebiva mu kibi, Yakuwa yabaleka okweyongera okuba abalamu ne bazaala abaana abandiganyuddwa mu nteekateeka endala ze yandikoze. Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona, mu maaso ga Katonda baali ng’abafudde. Era okuva bwe kiri nti mu maaso ga Yakuwa emyaka 1,000 giri ‘ng’olunaku’ olumu, Adamu ne Kaawa baafa mu lunaku lumu.—2 Peet. 3:8.
8, 9. Ekibi kya Adamu kyakwata kitya ku baana be ne bazzukulu be? (Laba ekifaananyi ku lupapula 23.)
8 Ekibi Adamu ne Kaawa kye baakola kyandikutte ne ku baana baabwe? Yee. Kubanga Abaruumi 5:12 wagamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” Omwana waabwe eyasooka okufa yali ayitibwa Abbeeri. (Lub. 4:8) Oluvannyuma abaana ba Adamu abalala ne bazzukulu be baagenda bakaddiwa era ne bafa. Abantu bonna baasikira ekibi n’okufa? Omutume Pawulo yagamba nti: “Obujeemu bw’omuntu omu bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi.” (Bar. 5:19) Abantu bonna baasikira ekibi n’okufa, abalabe ababiri abantu abatatuukiridde be batasobola kusimatuka. Wadde nga tetusobola kutegeerera ddala ngeri ekibi n’okufa gye byagenda bibuna ku bantu bonna, waliwo bingi ebiraga nti twasikira ekibi n’okufa.
9 Kituukirawo bulungi okuba nti Bayibuli egeraageranya ekibi n’okufa ku ‘kibikka ekyaliiriddwa ku bantu bonna, n’eggigi erisaanikidde ku mawanga gonna.’ (Is. 25:7) Tewali muntu n’omu ataasikira kibi na kufa. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti ‘bonna baafiira mu Adamu.’ (1 Kol. 15:22) Bwe kityo, Pawulo yabuuza nti: “Ani alinnunula mu mubiri ogundeetera okufa?” Waliwo eyali asobola okununula Pawulo?a—Bar. 7:24.
EKIBI N’OKUFA BIJJA KUGGIBWAWO
10. (a) Ebimu ku byawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa ajja kuggyawo okufa bye biruwa? (b) Ebyawandiikibwa ebyo bituyigiriza ki ku Yakuwa n’Omwana we?
10 Mu butuufu, Yakuwa yali asobola okununula Pawulo. Bayibuli egamba nti: “[Alimirira] ddala okufa okutuusa ennaku zonna; era Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna.” (Is. 25:8) Okufaananako taata aggyawo ekintu ekibadde kireetera omwana we ennaku era n’amusangula amaziga, Yakuwa ajja kuggyawo okufa okwava ku kibi kya Adamu! Yesu akolera wamu ne Yakuwa okutuukiriza ekyo. Mu 1 Abakkolinso 15:22 tusoma nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo.” Pawulo bwe yabuuza nti “Ani alinnunula?” yaddamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Katonda yeebazibwe okuyitira mu Yesu Kristo Mukama waffe!” (Bar. 7:25) Kya lwatu nti oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona, Yakuwa teyalekera awo kwagala bantu. Era ne Yesu, oyo eyakolera awamu ne Yakuwa mu kutonda abantu ababiri abaasooka, teyalekera awo kwagala bantu. (Nge. 8:30, 31) Naye abantu bandisobodde batya okununulibwa okuva mu kibi n’okufa?
11. Kiki Yakuwa kye yakola okuyamba abantu okuva mu kibi n’okufa?
11 Adamu bwe yayonoona, Yakuwa yamusalira ogw’okufa. Ate era abantu bonna baasikira obutali butuukirivu n’okufa okuva ku Adamu. (Bar. 5:12, 16) Bayibuli egamba nti: ‘Okuyitira mu kibi ekimu abantu aba buli ngeri baasingibwa omusango.’ (Bar. 5:18) Kiki Yakuwa kye yakola okuyamba abantu ate nga mu kiseera kye kimu tamenye mitindo gye egy’obutuukirivu? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bya Yesu bino: ‘Omwana w’omuntu teyajja kuweerezebwa wabula okuweereza n’okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Mat. 20:28) Ng’omuntu atuukiridde, Yesu yali asobola okuwaayo ekinunulo. Ekinunulo ekyo kyayoleka kitya obwenkanya bwa Yakuwa?—1 Tim. 2:5, 6.
12. Ekinunulo kyayoleka kitya obwenkanya bwa Yakuwa?
12 Ng’omuntu atuukiridde, Yesu yali asobola okubaawo emirembe gyonna, era ekyo Yakuwa kye yali ayagaliza ne Adamu. Yakuwa yali ayagala ensi ejjule abaana n’abazzukulu ba Adamu abatuukiridde. Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe awamu n’abantu, yakkiriza okuwaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Obulamu bwe yawaayo bwali butuukiridde ng’obwo Adamu bwe yali abuzizza. Oluvannyuma Yakuwa yazuukiza Omwana we ng’ekitonde eky’omwoyo. (1 Peet. 3:18) Ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu yayoleka bulungi obwenkanya bwa Yakuwa kubanga obulamu obutuukiridde bwaweebwayo okusasulira obulamu obutuukiridde Adamu bwe yali abuzizza. Yesu yalinga azze mu kifo kya Adamu. Bwe kityo, Pawulo yagamba nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu eyasooka Adamu yafuuka omuntu omulamu.’ Adamu ow’oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.”—1 Kol. 15:45.
Abbeeri, omuntu eyasooka okufa, ajja kuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu (Laba akatundu 13)
13. Kiki “Adamu ow’oluvannyuma” ky’anaakolera abantu abaafa?
13 Ekiseera kinaatera okutuuka “Adamu ow’oluvannyuma” akirage nti ddala ye ‘mwoyo oguwa obulamu.’ Ekyo ajja kukikola ng’azuukiza abantu abaafa. Bangi ku baana n’abazzukulu ba Adamu bajja kuzuukizibwa baddemu okuba abalamu.—Yok. 5:28, 29.
14. Yakuwa anaanunula atya abantu okuva mu butali butuukirivu bwe baasikira okuva ku Adamu?
14 Abantu banaanunulwa batya okuva mu butali butuukirivu bwe baasikira okuva ku Adamu? Yakuwa yateekawo Obwakabaka obw’omu ggulu era nga mu Bwakabaka obwo, “Adamu ow’oluvannyuma” wa kufugira awamu ne 144,000, abaagulibwa okuva mu bantu. (Soma Okubikkulirwa 5:9, 10.) Abo abanaafugira awamu ne Yesu bajja kuba bategeera bulungi kye kitegeeza okubeera omuntu atatuukiridde. Yesu awamu n’abo banaafuga nabo, bajja kumala emyaka 1,000 nga bayamba abantu ku nsi okufuuka abatuukiridde.—Kub. 20:6.
15, 16. (a) Okufa okwogerwako ‘ng’omulabe alisembayo okuggibwawo’ kwe kuliwa, era kuliggibwawo ddi? (b) Okusinziira ku 1 Abakkolinso 15:28, kiki Yesu ky’alikola?
15 Emyaka Olukumi egy’Obufuzi bwa Kristo we ginnaggwerako, abantu abawulize bajja kuba bamaze okununulibwa okuva mu kibi n’okufa bye baasikira okuva ku Adamu. Bayibuli egamba nti: “Nga bonna bwe bafiira mu Adamu, era bonna bajja kufuulibwa balamu mu Kristo. Naye buli omu mu kiti kye; Kristo ebibala ebibereberye, oluvannyuma abo aba Kristo mu kiseera eky’okubeerawo kwe. Awo ku nkomerero n’alyoka awaayo obwakabaka eri Katonda era Kitaawe, ng’amaze okuggyawo obufuzi bwonna, obuyinza bwonna, n’amaanyi gonna. Kubanga alina okufuga nga kabaka okutuusa nga Katonda amaze okussa abalabe be bonna wansi w’ebigere bye. Omulabe alisembayo okuggibwawo kwe kufa.” (1 Kol. 15:22-26) Mu butuufu, okufa abantu kwe baasikira okuva ku Adamu kujja kuggibwawo. “Ekibikka ekyaliiriddwa ku bantu bonna” kijja kuba kiggiddwaawo emirembe gyonna.—Is. 25:7, 8.
16 Pawulo yagamba nti: “Ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye [alyessa] wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.” (1 Kol. 15:28) Mu kiseera ekyo, ekigendererwa ky’obufuzi bwa Kristo kijja kuba kimaze okutuukirira. Era Yesu ajja kuba musanyufu okuzzaayo obuyinza eri Yakuwa era amukwase abantu mu kiseera ekyo abajja okuba nga batuukiridde.
17. Kiki ekinaatuuka ku Sitaani?
17 Ate kiki ekinaatuuka ku Sitaani, eyavaako ebizibu byonna abantu bye boolekagana nabyo? Okubikkulirwa 20:7-15 waddamu ekibuuzo ekyo. Mu kugezesebwa okusembayo, Sitaani ajja kulekebwa okubuzaabuza abantu abatuukiridde. Omulyolyomi n’abo abalisalawo okumugoberera bajja kuzikirizibwa awatali ssuubi lya kuddamu kubaawo nate. Ekyo kiyitibwa “okufa okw’okubiri.” (Kub. 21:8) Okufa okwo tekujja kuggibwawo kubanga abo abafa mu ‘kufa okw’okubiri’ tebajja kuddamu kuba balamu nate. Kyokka bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, okufa okwo tekusobola kututuukako.
18. Obuvunaanyizibwa Katonda bwe yakwasa Adamu bunaatuukirizibwa butya?
18 Mu kiseera ekyo, abantu bonna bajja kuba batuukiridde era nga Yakuwa alaba nti basaana okufuna obulamu obutaggwaawo. Abalabe b’abantu bonna bajja kuba baweddewo. Obuvunaanyizibwa obwakwasibwa Adamu bujja kutuukirizibwa, wadde nga ye tajja kubaawo. Abaana be n’abazzukulu be bajja kufuna enkizo ey’okulabirira ensi awamu n’ensolo ezinaabaako. Nga tuli basanyufu nnyo okukimanya nti Yakuwa akoze enteekateeka okuggyawo okufa, ng’ono ye mulabe alisembayo okuggibwawo!
a Nga kyogera ku ngeri bannasayansi gye bafubye okunnyonnyola ekiviirako abantu okukaddiwa n’okufa, ekitabo Insight on the Scriptures kigamba nti: “Beerabira nti Omutonzi yennyini ye yasalira abantu ababiri abasooka ogw’okufa, era n’ateeka mu nkola omusango ogwo mu ngeri abantu gye batasobola kutegeera mu bujjuvu.”—Omuzingo 2, lup. 247.