LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 10 lup. 30
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yamba Abalala Okwaŋŋanga Ebibeeraliikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 10 lup. 30
Mukazi wa Lutti ng’afuuse empagi y’omunnyo nga Lutti ne bawala be badduka okuva mu Sodomu

ESSOMO 10

Mujjukire Mukazi wa Lutti

Lutti yali abeera ne Ibulayimu, muganda wa taata we, mu nsi ya Kanani. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Ibulayimu ne Lutti baafuna ebisolo bingi nnyo ne kiba nti ekitundu kye baali babeeramu kyali tekikyabamala. Ibulayimu yagamba Lutti nti: ‘Tetukyasobola kubeera wamu. Nkusaba olondewo gy’onoogenda. Bw’onoogenda ku luuyi olwa kkono, nze nga ŋŋenda ku lwa ddyo; bw’onoogenda ku luuyi olwa ddyo, nze nga ŋŋenda ku lwa kkono.’ Ibulayimu yali teyeerowoozaako yekka.

Lutti yalaba ekitundu ekyali kirabika obulungi ennyo ekyali okumpi n’ekibuga ekyali kiyitibwa Sodomu. Kyalimu amazzi mangi n’omuddo omulungi. Bw’atyo yalonda ekifo ekyo era ye n’ab’omu maka ge ne bagenda okubeera eyo.

Abantu b’omu Sodomu n’ab’omu kibuga Ggomola ekyali kiriraanyewo baali babi nnyo, era Yakuwa yasalawo okuzikiriza ebibuga ebyo. Naye Katonda yali ayagala okuwonyaawo Lutti n’ab’omu maka ge. Bwe kityo yatuma bamalayika babiri okugamba Lutti n’ab’omu maka ge nti: ‘Mwanguwe muve mu kibuga kino! Yakuwa agenda kukizikiriza.’

Naye Lutti yalwawo okuva mu kibuga. Olw’okuba yali yeekunya, malayika yamukwata ku mukono awamu ne mukyala we ne bawala be ababiri n’abafulumya mu kibuga, n’abagamba nti: ‘Mudduke muleme okufa era temutunula mabega. Bwe munaatunula emabega mujja kufa!’

Omuliro n’obuganga nga bitonnya ku Sodomu ne Ggomala

Bwe baatuuka mu kibuga Zowaali, Yakuwa yatonnyesa omuliro n’amayinja agookya ku Sodomu ne ku Ggomola. Ebibuga ebyo ebibiri byasaanyizibwawo. Mukyala wa Lutti bwe yajeemera Yakuwa n’atunula emabega, yafuuka empagi y’omunnyo! Naye ye Lutti ne bawala be baawonawo kubanga baagondera Yakuwa. Kiteekwa okuba nga kyabanakuwaza nnyo okuba nti mukyala wa Lutti teyagondera Yakuwa. Naye era kyabasanyusa nnyo okuba nti baagondera Yakuwa.

“Mujjukire mukazi wa Lutti.”​—Lukka 17:32

Ebibuuzo: Lwaki Yakuwa yazikiriza Sodomu ne Ggomola? Lwaki mukyala wa Lutti yafuuka empagi y’omunnyo?

Olubereberye 13:1-13; 19:1-26; Lukka 17:28, 29, 32; 2 Peetero 2:6-9

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share