LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Agusito lup. 3
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Mujjukire Mukazi wa Lutti
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Mukyala wa Lutti Yatunula Emabega
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Nnazaalibwa mu Bwavu Naye Kati Ndi Mugagga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Totunuulira Bintu Bye Waleka Emabega
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Agusito lup. 3
Mukazi wa Lutti atunula emabega ku kibuga Sodomu, era afuuka empagi y’omunnyo

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Mujjukire Mukazi wa Lutti

Bayibuli tetubuulira nsonga lwaki mukazi wa Lutti yatunula emabega bwe baali badduka okuva mu Sodomu. (Lub 19:17, 26) Okusinziira ku bigambo Yesu bye yayogera nga tannaba kuwa kulabula okwo, kirabika mukazi wa Lutti yeegomba ebintu bye yali alese emabega. (Luk 17:31, 32) Kiki ekiyinza okutuyamba obutafiirwa nkolagana yaffe ne Yakuwa nga mukazi wa Lutti? Tetusaanidde kwemalira ku kunoonya bintu. (Mat 6:33) Yesu yagamba nti ‘tetusobola kuba baddu ba Katonda na ba byabugagga.’ (Mat 6:24) Naye twandikoze ki singa tukizuula nti tumalira obudde bungi ku kunoonya eby’obugagga mu kifo ky’okufaayo ku by’omwoyo? Tusobola okusaba Yakuwa atuyambe okulaba enkyukakyuka ze tusaanidde okukola, era atuwe obuvumu n’amaanyi tusobole okuzikola.

MUDDEEMU EBIBUUZO BINO EBIKWATA KU VIDIYO, MUJJUKIRE MUKAZI WA LUTTI:

  • Anna ng’ali ku mulimu; Gloria ne kojja we; Brian ne Gloria basaba

    Nnyinza ntya okukiraga nti ‘nzijukira mukazi wa Lutti’?

    Gloria bwe yapikirizibwa okunoonya omulimu ogusasula ssente ennyingi, kyakyusa kitya endowooza ye, enjogera ye, n’enneeyisa ye?

  • Biki bye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku mukazi wa Lutti?

  • Okukolera ku misingi gya Bayibuli kyayamba kitya John n’ab’omu maka ge?

  • Abantu Anna be yakolanga nabo baamuleetera batya okuddirira mu by’omwoyo?

  • Lwaki kitwetaagisa obuvumu bwe wabaawo abatupikiriza okukulembeza eby’obugagga?

  • Kiki ekyayamba Brian ne Gloria okuddamu okukulembeza eby’omwoyo?

  • Misingi ki egya Bayibuli egiragibwa mu vidiyo eyo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share