LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 5/1 lup. 3-4
  • Lwaki Obulyi bw’Enguzi Bucaase Nnyo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Lwaki Obulyi bw’Enguzi Bucaase Nnyo?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Biki Ebiviirako Obulyi bw’Enguzi?
  • Okulwanyisa Obulyi bw’Enguzi n’Ekitala ky’Omwoyo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Obwakabaka bwa Katonda—Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebizibu Ebiva mu Kulya Enguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 5/1 lup. 3-4

Lwaki Obulyi bw’Enguzi Bucaase Nnyo?

“Toteekwa kukkiriza nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’abantu abalina okutegeera era esobola okukyusa ebigambo by’abasajja abatuukirivu.”​—Okuva 23:8, New International Version.

EMYAKA 3,500 egiyiseewo, Amateeka ga Musa gaavumirira obulyi bw’enguzi. Ebyasa by’emyaka bwe bizze biyitawo, amateeka agalwanyisa obulyi bw’enguzi geeyongedde nnyo. Wadde kiri kityo, amateeka agassiddwawo tegasobodde kuziyiza bulyi bwa nguzi. Obukadde n’obukadde bw’abantu balya enguzi buli lunaku, era obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu babonaabona olw’ebyo ebivaamu.

Obulyi bw’enguzi bucaase nnyo era bwa ngeri nnyingi ne kiba nti bufuuse bwa kabi eri embeera y’abantu. Mu nsi ezimu kumpi tewabaawo kikolebwa okuggyako ng’owaddeyo enguzi. Enguzi bw’eweebwa omuntu oyo agisabye, omuntu ayinza okuyita ebigezo, okufuna layisensi y’okuvuga ekidduka, okufuna omulimu, oba okuwangula omusango mu kkooti. “Obulyi bw’enguzi bumalamu abantu amaanyi,” bw’atyo Arnaud Montebourg, munnamateeka w’omu Paris bwe yagamba.

Obulyi bw’enguzi bucaase nnyo mu busuubuzi. Kampuni ezimu zitegekawo kimu kya kusatu ku magoba gaazo okuwa enguzi abakungu ba gavumenti. Okusinziira ku magazini y’omu Bungereza eyitibwa The Economist, ebitundu ebiwerera ddala 10 ku buli kikumi ku buwumbi bwa doola 25 obusaasaanyizibwa mu busuubuzi bw’eby’okulwanyisa mu nsi yonna, zisasulwa ng’enguzi eri bakasitoma. Okuva obulyi bw’enguzi bwe bweyongedde ennyo, n’ebibuvuddemu byeyongedde okuba ebibi. Mu myaka ekkumi egiyise, enkola z’obusuubuzi eziganyula abantu abamu abatono abalina be bamanyi mu bifo ebikulu​—zigambibwa nti zoonoonye eby’enfuna by’ensi nnamba.

Kya lwatu, abo abasinga okubonaabona olw’obulyi bw’enguzi era n’okwonooneka kw’eby’enfuna kwe buleetawo, be baavu​—abatatera kuba na busobozi bwa kuwa nguzi. The Economist kaawumbawumbako nti, “obulyi bw’enguzi ngeri emu ey’okunyigiriza.” Okunyigirizibwa okw’engeri eno kuyinza okuvvuunukibwa, oba obulyi bw’enguzi tebuyinza kwewalibwa? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tulina okusooka okumanya ebintu ebimu ebiviirako obulyi bw’enguzi.

Biki Ebiviirako Obulyi bw’Enguzi?

Lwaki abantu balondawo okulya enguzi mu kifo ky’okubeera abeesigwa? Eri abamu, okulya enguzi eyinza okuba engeri esinga obwangu​—oba engeri yokka​—ey’okufunamu kye baagala. Emirundi egimu, enguzi eyinza okusobozesa omuntu okwewala okubonerezebwa. Abantu bangi bwe balaba nti, bannabyabufuzi, abaserikale, era n’abalamuzi babuusa amaaso obulyi bw’enguzi oba nga babwenyigiramu, nabo bagoberera ekyokulabirako kyabwe.

Obulyi bw’enguzi bwe bweyongera, butandika okukkirizibwa okutuusa bwe bufuuka engeri y’obulamu. Abantu abafuna omusaala omutono ennyo bafuna endowooza nti tebayinza kubwewala. Baba balina okusaba enguzi okusobola okweyimirizaawo. Era abo abasaba enguzi oba abagisasula okufuna enkizo mu ngeri etali ya bwenkanya bwe batabonerezebwa, batono ababa abeetegefu okulwanyisa obulyi bw’enguzi. “Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi,” bw’atyo Kabaka Sulemaani bwe yagamba.​—Omubuulizi 8:11.

Ebintu bibiri eby’amaanyi bikuma omuliro mu bulyi bw’enguzi: Okwerowoozaako n’omululu. Olw’okwerowoozaako, abalyi b’enguzi tebafaayo ku kubonaabona obulyi bw’enguzi bwabwe kwe buleetera abalala, era baba n’ensonga ze beekwasa okulya enguzi kubanga babuganyulwamu. Abo abeenyigira mu bulyi bw’enguzi gye bakoma okutuuma ebintu gye bakoma n’okubeera ab’omululu. “Ayagala ffeeza taamatirenga ffeeza,” bw’atyo Sulemaani bwe yagamba, “wadde oyo ayagala obugagga okumatira ebintu.” (Omubuulizi 5:10, NW) Kyo kituufu omululu guyinza okuganyula mu kukola ssente, naye gubuusa amaaso obulyi bw’enguzi n’obumenyi bw’amateeka.

Ensonga endala etalina kubuusibwa maaso kye kifo ky’omufuzi w’ensi eno atalabika, Baibuli gw’eyita Setaani Omulyolyomi. (1 Yokaana 5:19; Okubikkulirwa 12:9) Setaani atumbula obulyi bw’enguzi. Enguzi esingirayo ddala yeeyo Setaani gye yali ayagala okuwa Kristo. ‘Nja kukuwa obwakabaka bw’ensi bwonna bw’onoovunama okunsinza.’​—Matayo 4:8, 9.

Kyokka, Yesu yali tayinza kugulirirwa, era yayigiriza abagoberezi be okweyisa mu ngeri y’emu. Enjigiriza za Kristo ziyinza okukozesebwa okulwanyisa obulyi bw’enguzi leero? Ekitundu ekiddako kijja kwekenneenya ekibuuzo ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share