LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 5/1 lup. 4-7
  • Okulwanyisa Obulyi bw’Enguzi n’Ekitala ky’Omwoyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okulwanyisa Obulyi bw’Enguzi n’Ekitala ky’Omwoyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obulyi bw’Enguzi Busobola Butya Okuziyizibwa?
  • Baibuli Evumirira Obulyi bw’Enguzi
  • Okuwangula Obulyi bw’Enguzi n’Amazima ga Baibuli
  • “Oyo Akyawa Obulyi bw’Enguzi Ajja Kubeera Mulamu”
  • Lwaki Obulyi bw’Enguzi Bucaase Nnyo?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Obwakabaka bwa Katonda—Gavumenti Eteribaamu Kulya Nguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebizibu Ebiva mu Kulya Enguzi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 5/1 lup. 4-7

Okulwanyisa Obulyi bw’Enguzi n’Ekitala ky’Omwoyo

‘Mwambale omuntu omuggya eyatondebwa mu kifaananyi kya katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima.’​—Abaefeso 4:24.

NGA buli ku ntikko yaabwo, Obwakabaka bwa Rooma bwe bwali obufuzi bw’abantu obusingirayo ddala obukulu mu nsi mu kiseera ekyo. Amateeka g’Abaruumi gaali malungi nnyo ne kiba nti n’okutuuka kati gakyesigamiziddwako amateeka g’ensi nnyingi. Kyokka, wadde Rooma yalina obuwanguzi bwe yatuukako, amagye gaayo tegaasobola kuwangula mulabe omu ow’akabi ennyo: obulyi bw’enguzi. Mu nkomerero, obulyi bw’enguzi bwaviirako Rooma okugwa.

Omutume Pawulo yali omu ku abo abaayisibwa obubi wansi w’abakungu Abaruumi abalyi b’enguzi. Ferikisi, gavana Omuruumi eyamusokaasoka ebibuuzo, kirabika yategeera nti Pawulo teyalina musango. Naye Ferikisi, omu ku bagavana abaali basingayo okulya enguzi mu kiseera ekyo, yalwawo okuwozesa Pawulo, ng’asuubira nti Pawulo anamuwa ssente asobole okumusumulula.​—Ebikolwa 24:22-26.

Mu kifo ky’okuwa Ferikisi enguzi, Pawulo yayogera gy’ali mu bwesimbu ku ‘butuukirivu n’okwefuga.’ Ferikisi teyakyusa makubo ge, era Pawulo n’asigala mu kkomera mu kifo ky’okwebalama amateeka ng’awa enguzi. Yabuulira obubaka obw’amazima n’obwesigwa, era n’abigoberera mu bulamu bwe. “Tukakasa nti tulina omuntu ow’omunda omulungi,” bw’atyo bwe yawandiikira Abakristaayo Abayudaaya, “nga twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Abaebbulaniya 13:18, NW.

Ennyimirira ng’eyo yali ya njawulo nnyo okuva ku mpisa ezaaliwo mu kiseera ekyo. Pallas, muganda wa Ferikisi yali omu ku basajja abaali basingayo obugagga mu nsi ey’edda, era obugagga bwe​—obwabalirirwamu obukadde bwa doola 45​—yabufuna okusingira ddala olw’obulyi bw’enguzi n’obukumpanya. Kyokka, obugagga bwe buba butono nnyo bw’obugeraageranya n’obuwumbi bwa doola abafuzi abalyi b’enguzi ab’omu kyasa 20 bwe baterese ku akawunta z’omu banka ez’ekyama. Kya lwatu, abajega bokka be bayinza okukkiriza nti gavumenti z’omu kiseera kino ziwangudde olutalo lw’okulwanyisa obulyi bw’enguzi.

Okuva obulyi bw’enguzi bwe busimbye amakanda okumala ekiseera kiwanvu, tukitwale nti buli mu butonde bw’omuntu? Oba waliwo ekisobola okukolebwa okuziyiza obulyi bw’enguzi?

Obulyi bw’Enguzi Busobola Butya Okuziyizibwa?

Omutendera ogusooka mu kuziyiza obulyi bw’enguzi kwe kutegeera nti obulyi bw’enguzi bwonoona era bukyamu, okuva bwe buganyula ababi ne bufiiriza abalala. Wabaddewo ekirungi ekituukiddwako ku nsonga eno. James Foley, omumyuka w’omuwandiisi w’eggwanga lya Amereka, yagamba: “Fenna tukitegeera nti akabi akava mu bulyi bw’enguzi kanene nnyo. Obulyi bw’enguzi bunafuya obufuzi obulungi, bugootaanya eby’enfuna n’enteekateeka z’enkulaakulana, bwonoona obusuubuzi, era ne bufiiriza abantu okwetooloola ensi.” Bangi bakkiriziganya naye. Nga Ddesemba 17, 1997, ensi enkulu 34 zaateeka omukono ku “kiwandiiko ekikwata ku bulyi bw’enguzi” ekyategekebwa “okulwanyisa obulyi bw’enguzi mu nsi yonna.” Ekiwandiiko ekyo kigamba nti “kikolwa ekimenya amateeka okuwa oba okusuubiza okuwa enguzi omukungu ow’ensi endala okusobola okufuna oba okusigaza enkolagana mu by’obusuubuzi n’ensi eyo.”

Kyokka, okuwa enguzi okusobola okufuna emirimu gy’obusuubuzi mu nsi endala, kitundu kitono nnyo eky’enguzi eweebwa. Okumalawo obulyi bw’enguzi obwa buli ngeri kyetaagisa omutendera ogw’okubiri, omuzibu ennyo okusingawo: okukyuka kw’omutima, oba okukyuka kw’emitima emingi. Abantu wonna wonna bateekwa okuyiga okukyawa obulyi bw’enguzi n’okugulirira. Awo nno obulyi bw’enguzi bwe buyinza okuggwaawo. Okusobola okutuukiriza kino, kamagazini akayitibwa Newsweek kaagamba nti abantu abamu balowooza nti gavumenti zisaanidde “okukubiriza abantu okufaayo ku mpisa ennungi.” Transparency International, ekibiina ekirwanyisa obulyi bw’enguzi, nakyo kikubiriza abawagizi baakyo “okusiga ‘ensigo y’obwesigwa’” ku mirimu.

Olutalo olw’okulwanyisa obulyi bw’enguzi lutalo olw’empisa olutayinza kuwangulibwa na kussaawo mateeka kyokka oba ‘n’ekitala’ ky’okubonerezebwa mu mateeka. (Abaruumi 13:4, 5) Ensigo z’empisa ennungi n’obwesigwa ziteekwa okusigibwa mu mitima gy’abantu. Kino kiyinza okutuukibwako ng’okozesa ekyo Pawulo kye yayita “ekitala eky’[o]mwoyo,” Ekigambo kya Katonda, Baibuli.​—Abaefeso 6:17.

Baibuli Evumirira Obulyi bw’Enguzi

Lwaki Pawulo yagaana okuttira eriiso obulyi bw’enguzi? Kubanga yayagala okukola ebyo Katonda “atasosola era atalya nguzi” by’ayagala. (Ekyamateeka 10:17, NW) Ate era, awatali kubuusabuusa Pawulo yajjukira ebyali mu Mateeka ga Musa: “Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g’ab’amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by’abatuukirivu.” (Ekyamateeka 16:19) Kabaka Dawudi naye yategeera nti Yakuwa akyawa obulyi bw’enguzi, era yasaba Katonda obutamutwalira mu babi, “omukono gwabwe ogwa ddyo [oguba] gujjudde enguzi.”​—Zabbuli 26:10.

Abo abasinza Katonda mu bwesimbu balina ensonga endala ezibaleetera okwesamba obulyi bw’enguzi. “Olw’obwenkanya kabaka aleetera ensi obutebenkevu,” bw’atyo Sulemaani bwe yawandiika, “naye ayagala enguzi agisuula.” (Engero 29:4, New International Version) Obwenkanya​—naddala bwe bwolesebwa okuviira ddala ku mukungu owa waggulu okutuuka ku wa wansi​—kireetawo obutebenkevu, ng’ate bwo obulyi bw’enguzi bwavuwaza ensi. Akatabo Newsweek kaagamba: “Mu nteekateeka nga buli omu ayagala okulya enguzi era ng’amanyi engeri y’okugifunamu, eby’enfuna bigootaana.”

Eby’enfuna ne bwe bitagootaana, abaagazi b’obwenkanya baggwaamu amaanyi obulyi bw’enguzi bwe bweyongera awatali kukugirwa kwonna. (Zabbuli 73:3, 13) Omutonzi waffe, eyatuteekamu okwagala obwenkanya, naye aba azziddwako omusango. Mu biseera ebyayita, Yakuwa yayingira mu nsonga okumalirawo ddala obulyi bw’enguzi. Ng’ekyokulabirako, yagamba butereevu abatuuze b’omu Yerusaalemi ensonga lwaki yandirese abalabe baabwe okubalumba.

Okuyitira mu nnabbi we, Mikka, Katonda yagamba: “Muwulire kino, mbeegayirira, mmwe abakulu b’ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango [“obwenkanya,” NW], era abalya ensonga zonna. Abakulu baakyo basala omusango, baweebwa empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe ffeeza . . . Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng’omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n’olusozi olw’ennyumba ng’ebifo ebigulumivu eby’omu kibira.” Obulyi bw’enguzi bwayonoona abantu mu Isiraeri, ng’era bwe bwayonoona Rooma nga wayiseewo ebyasa by’emyaka. Nga kituukiriza ekyo Katonda kye yalabulako, nga wayiseewo ekyasa oluvannyuma lwa Mikka okwogera ebigambo ebyo, Yerusaalemi kyazikirizibwa era ne kifuuka amatongo.​—Mikka 3:9, 11, 12.

Kyokka, tewali ggwanga oba omuntu eyeetaaga okulya enguzi. Katonda akubiriza ababi okuleka ekkubo lyabwe ery’obulamu n’okukyusa endowooza yaabwe. (Isaaya 55:7) Ayagala buli omu ku ffe okulekayo omululu afuuke omuntu ateerowoozaako era n’okwoleka obutuukirivu mu kifo ky’okulya enguzi. “Ajooga omwavu avuma Omutonzi we: naye asaasira oyo eyeetaaga [assaamu Katonda] ekitiibwa.”​—Engero 14:31.

Okuwangula Obulyi bw’Enguzi n’Amazima ga Baibuli

Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okukola enkyukakyuka ng’eyo? Amaanyi ge gamu agaaleetera Pawulo okwesamba obulamu bw’Ekifalisaayo okufuuka omugoberezi wa Yesu Kristo omunywevu. “Ekigambo kya Katonda kiramu era kirina amaanyi,” bw’atyo bwe yawandiika. (Abaebbulaniya 4:12, NW) Leero amazima g’omu Byawandiikibwa gakyakubiriza obwesigwa, ne mu abo abaali beenyigidde ennyo mu bulyi bw’enguzi. Lowooza ku kyokulabirako kino.

Ekiseera kitono oluvannyuma lw’okumaliriza obuweereza bwe mu magye, Alexander, okuva mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba, yeegatta ku kibinja ekyenyigiranga mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka n’obulyi bw’enguzi.a “Omulimu gwange gwali okuwaliriza abasuubuzi abagagga okumpa ssente ez’okubakuuma,” bw’atyo bw’agamba. “Omusuubuzi bwe yanzisangamu obwesige, abalala mu kibinja kyaffe baamutiisatiisanga okumukolako akabi. Awo ne mmusuubiza okukola ku nsonga eyo​—ng’asasudde ssente nnyingi. ‘Bakasitoma’ bange banneebazanga okubayamba okukola ku bizibu byabwe, ng’ate nze nnabireetanga. Wadde kiyinza okwewuunyisa omulala, omulimu guno nnagwagala nnyo.

“Era ssente n’eby’amasanyu obulamu buno bwe byansobozesanga okufuna nnabyagalanga nnyo. Nnalina emmotoka ey’ebbeeyi, nnalina ennyumba ennungi, era nnalina ssente ezinsobozesa okugula kyonna kye nnali njagala. Abantu baali bantya, ne kindeetera okuwulira nti ndi wa buyinza. Nnalowooza nti ndi nnantagambwako era nti ndi waggulu w’amateeka. Obuzibu bwonna bwe nnandifunye n’abapoliisi bwandigonjoddwa munnamateeka omukugu, eyandizudde amakubo ag’okwebalamamu enkola y’amateeka, oba nga mpa enguzi omuntu ali mu kifo ekituufu.

“Kyokka, tewatera kubaawo bwesigwa mu abo abayimiriddewo ku lw’enguzi. Omuntu omu mu kibinja kyaffe yankyawa, era ne nneesanga nga sikyayagalibwa. Mu bbanga ttono, nnafiirwa emmotoka yange ey’ebbeeyi, ssente zange, ne muganzi wange eyali ayagala eby’ebbeeyi. Era nnakubibwa nnyo. Enkyukakyuka eno yandeetera okulowooza ennyo ku kigendererwa ky’obulamu.

“Emyezi mitono emabega, maama wange yali afuuse omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, era ne ntandika okusoma ebitabo byabwe. Ekyawandiikibwa ekiri mu Engero 4:14, 15 kyandeetera okulowooza: “Toyingiranga mu kkubo ery’ababi, so totambuliranga mu lugendo olw’abasajja ababi. Olwesambanga, toluyitangako; okyukanga okuluvaamu, weeyongerenga mu maaso.” Ebigambo nga bino byankakasa nti abo abaagala okutambulira mu bulamu obw’okumenya amateeka tebalina ssuubi mu biseera eby’omu maaso. Nnatandika okusaba Yakuwa era n’okumusaba okunkulembera mu kkubo ettuufu. Nnayiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era mu nkomerero nnawaayo obulamu bwange eri Katonda. Okuva ku olwo mbadde mwesigwa.

“Kya lwatu, okugoberera emitindo gy’obwesigwa kivuddemu okufuna ssente ntono. Naye kati mpulira nti nnina essuubi mu biseera eby’omu maaso, era nti obulamu bwange bulina amakulu aga nnamaddala. Nkitegeera nti obulamu bwange obw’emabega n’eby’okwejjalabya byonna ebyabulimu byalinga ennyumba eyali egenda okugwa ekiseera kyonna. Mu biseera eby’emabega omuntu wange ow’omunda yali takola. Naye kati olw’okusoma Baibuli, annumiriza buli lwe nkemebwa obutabeera mwesigwa​—ne mu busonga obutono. Ngezaako okutuukanya obulamu bwange ne Zabbuli 37:3, olugamba: ‘Weesigenga Mukama, okolenga obulungi; beeranga mu nsi, ogobererenga obwesigwa.’”

“Oyo Akyawa Obulyi bw’Enguzi Ajja Kubeera Mulamu”

Nga Alexander bwe yakizuula, amazima ga Baibuli gayinza okuleetera omuntu okuvvuunuka obulyi bw’enguzi. Yakola enkyukakyuka ezituukana n’ekyo omutume Pawulo ky’ayogerako mu bbaluwa ye eri Abaefeso: “Okwambula omuntu ow’edda, avunda olw’okwegomba okw’obulimba; . . . okufuuka abaggya mu mwoyo ogw’ebirowoozo byammwe, okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw’amazima. Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne: kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na ffekka. Eyabbanga alemenga okubba nate: naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye, alyoke abeerenga n’eky’okumuwa eyeetaaga.” (Abaefeso 4:22-25, 28) Ebiseera by’abantu eby’omu maaso byesigamye ku nkyukakyuka ng’ezo.

Bwe bitakugirwa, omululu n’obulyi bw’enguzi biyinza okwonoona ensi, era nga bwe byayonoona Obwakabaka bwa Rooma. Kyokka, eky’essanyu, Omutonzi w’abantu tagenda kuleka bintu ng’ebyo kweyongera mu maaso. Amaliridde “okuzikiriza abo aboonoona ensi.” (Okubikkulirwa 11:18, NW) Era Yakuwa asuubiza abo abaagala ensi eteriimu bulyi bwa nguzi nti mu kaseera katono wajja kubaawo “eggulu eriggya n’ensi empya, obutuukirivu mwe bu[li]tuula.”​—2 Peetero 3:13.

Kyo kituufu kiyinza obutaba kyangu okugoberera emitindo gy’obwesigwa leero. Wadde kiri kityo, Yakuwa atukakasa nti “omusajja ow’omululu aleetera amaka ge emitawaana, naye oyo akyawa obulyi bw’enguzi ajja kubeera mulamu.”b (Engero 15:27, NIV) Nga twesamba obulyi bw’enguzi kati, tulaga nti tuli beesimbu bwe tusaba eri Katonda: “Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”​—Matayo 6:10.

Nga tulindirira Obwakabaka obwo okubaako kye bukola, buli omu ku ffe asobola ‘okusiga ensigo ez’obutuukirivu’ nga yeesamba okuwagira oba okwenyigira mu bulyi bw’enguzi. (Koseya 10:12, NW) Singa tukola bwe tutyo, obulamu bwaffe bujja kukakasa nti Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kya maanyi. Ekitala ky’omwoyo kiyinza okuwangula obulyi bw’enguzi.

[Obugambo obuli wansi]

a Erinnya lye likyusiddwa.

b Kya lwatu waliwo enjawulo wakati w’enguzi n’okuwa akasiimo. Wadde ng’enguzi eweebwa okwebalama obwenkanya oba olw’ebigendererwa eby’obutali bwesigwa, akasiimo kikolwa ekyoleka okusiima omulimu ogukoleddwa. Kino kinnyonnyolebwa mu kitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu The Watchtower aka Okitobba 1, 1986.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Awamu n’obuyambi bwa Baibuli, tusobola okukulaakulanya “omuntu omuggya” ne twesamba obulyi bw’enguzi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share