Amawulire Amalungi ag’Obwakabaka Kye KI?
Omwaka ogwayita, mu nsi 235 okwetooloola ensi, abantu 6,035,564 abato n’abakulu baamala essaawa 1,171,270,425 nga bagabuulirako abantu. Ng’oggyeko okugatuusa ku bantu nga boogera nabo, baagabira abantu ebitabo ebisukka mu bukadde 700 okusobola okugalangirira n’okugannyonnyola. Era baagaba enkumi n’enkumi za kassetti ne vidiyo okusobola okugabunyisa. Kye kiki ekyo?
GE MAWULIRE amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Mu butuufu, tekibangawo mu byafaayo by’omuntu “amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka” okubuulirwa ku kigero kye tulaba leero.—Matayo 24:14, NW.
Abo abakola omulimu guno ogw’okubuulira n’okuyigiriza mu nsi yonna bonna bannakyewa. Bw’obatunuulira mu ngeri etali ya ddiini, bayinza okulabika ng’abatalina bisaanyizo bya kukola mulimu guno. Kati olwo, kiki ekibaleetera obuvumu era n’obuwanguzi? Amaanyi g’amawulire amalungi ag’Obwakabaka ye nsonga enkulu, kubanga ge mawulire agakwata ku mikisa eginaafunibwa olulyo lw’omuntu. Gino gye mikisa abantu bonna gye beegomba—essanyu, okuvvuunuka ebizibu by’enfuna, gavumenti ennungi, emirembe n’obutebenkevu, n’ekintu ekirala abantu abasinga obungi kye balowooza nti tekisoboka—obulamu obutaggwaawo! Mazima ddala gano mawulire malungi eri abantu abanoonya amakulu n’ekigendererwa mu bulamu. Yee, emikisa gino gyonna n’okusingawo giyinza okuba egigyo singa oyanukula era n’obaako ekirungi ky’okola ku kulangirirwa kw’amawulire amalungi ag’Obwakabaka.
Obwakabaka Kye Ki?
Kati olwo, Obwakabaka obulangirirwa ng’amawulire amalungi kye ki? Bwe Bwakabaka obukadde n’obukadde bw’abantu bwe bayigiriziddwa okusaba mu bigambo bino ebimanyiddwa obulungi: “Kitaffe ali mu ggulu, Erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:9, 10.
Bwe Bwakabaka Danyeri nnabbi Omwebbulaniya bwe yayogerako ebyasa ebisukka mu 25 ebiyise bwe yawandiika: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
Bwe kityo, amawulire amalungi gakwata ku Bwakabaka, oba gavumenti efugibwa Katonda, ejja okumalawo obubi bwonna era efuge ensi yonna mu mirembe. Ejja kutuukiriza ekigendererwa ky’Omutonzi ekyasooka eri olulyo lw’omuntu era n’eri ensi.—Olubereberye 1:28.
“Obwakabaka obw’Omu Ggulu Busembedde”
Emyaka nga 2000 egiyise, omusajja eyali yeewaddeyo era eyawunikiriza abantu bangi olw’endabika n’engeri ze ye yasooka okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu lwatu. Omusajja oyo yali Yokaana Omubatiza, mutabani wa kabona Omuyudaaya, Zaakaliya, ne mukyala we Erisabesi. Yokaana yayambalanga engoye z’ebyoya by’eŋŋamira, nga yeesibye olukoba olw’eddiba mu kiwato, okufaananako nnabbi Eriya eyamukiikirira. Naye obubaka bwe bwe bwasikiriza abantu bangi gyali. “Mwenenye,” bwatyo bwe yalangirira, “kubanga Obwakabaka obw’omu ggulu bunaatera okutuuka.”—Matayo 3:1-6.
Abaawulirizanga Yokaana baali Bayudaaya, abeetwala okuba abasinza ba Katonda ow’amazima, Yakuwa. Ng’eggwanga, baali baamala dda okufuna endagaano y’Amateeka okuyitira mu Musa emyaka nga 1,500 emabega. Era mu Yerusaalemi mwali mukyalimu yeekaalu ey’ekitiibwa, omwaweerwangayo ssaddaaka okusinziira ku Mateeka. Abayudaaya baali bakakafu nti okusinza kwabwe kwali kusiimibwa mu maaso ga Katonda.
Kyokka, nga bawuliriza Yokaana, abantu abamu baakitegeera nti eddiini yaabwe teyali ekyo kye baali bagisuubira okuba. Empisa n’obufiirosoofo bw’Abayonaani byali bisensedde enjigiriza y’Abayudaaya. Amateeka ge baali bafunye okuva eri Katonda okuyitira mu Musa kati baali bagoonoonye era nga bagadibaze, olw’enzikiriza n’obulombolombo bw’abantu. (Matayo 15:6) Nga babuzaabuziddwa abakulembeze baabwe ab’eddiini abaali abakakanyavu mu mitima era nga tebalina kisa, abasinga obungi baali tebakyasinza Katonda mu ngeri gy’akkiriza. (Yakobo 1:27) Kyali kibeetaagisa okwenenya ebibi bye baakola eri Katonda n’eri endagaano y’Amateeka.
Mu kiseera ekyo, Abayudaaya bangi baali basuubira okulabika kwa Masiya oba Kristo eyasuubizibwa, era abamu baali beebuuza ebikwata ku Yokaana: ‘Oboolyawo yandiba nga ye Kristo?’ Kyokka, Yokaana teyakkiriza nti ye yali Kristo naye yabalagirira eri omuntu omulala, gwe yayogerako: “Sisaa[na] kusumulula lukoba lwa ngatto ze.” (Lukka 3:15, 16) Ng’ayanjula Yesu eri abayigirizwa be, Yokaana yagamba: “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!”—Yokaana 1:29.
Mazima ddala ago gaali mawulire malungi, kubanga, Yokaana yali alagirira abantu bonna ekkubo erituusa mu bulamu n’essanyu—Yesu, oyo “aggyawo ebibi by’ensi.” Ng’abazzukulu ba Adamu ne Kaawa, abantu bonna bazaalibwa mu bufuge bw’ekibi n’okufa. Abaruumi 5:19 lunnyonnyola: “Ng’olw’obutawulira bw’omuntu omu [Adamu] abangi bwe baafuuka ababi, bwe kityo n’olw’okuwulira kw’oyo omu [Yesu] abangi balifuuka abatuukirivu.” Yesu, ng’omwana gw’endiga oguweebwayo nga ssaddaaka, yali ‘wa kuggyawo ebibi’ era amalewo ennaku abantu gye balimu. “Empeera y’ekibi kwe kufa,” Baibuli ennyonnyola, “naye ekirabo kya Katonda ky’agaba bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Abaruumi 6:23.
Ng’omusajja atuukiridde—mazima ddala, omusajja eyasingirayo ddala okwatiikirira eyali abaddewo—Yesu yabuuliranga amawulire amalungi. Ekyawandiikibwa ekiri mu Makko 1:14, 15 (NW), kitugamba: “Awo nga Yokaana amaze okukwatibwa Yesu n’agenda e Ggaliraaya, ng’abuulira amawulire amalungi aga Katonda ng’agamba: ‘Ekiseera ekigereke kituukiriziddwa, era n’obwakabaka bwa Katonda busembedde. Mwenenye, mmwe abantu, era mukkirize amawulire amalungi.’ ”
Abo abaayanukula obubaka bwa Yesu era ne bakkiriza amawulire amalungi baaweebwa emikisa mingi. Yokaana 1:12 lugamba: “Bonna abaamusembeza [Yesu] yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, [kubanga] bakkiriza erinnya lye.” Olw’okubeera abaana ba Katonda, baali ba kufuna ekirabo ky’obulamu obutaggwaawo.—1 Yokaana 2:25.
Naye enkizo ey’okufuna emikisa gy’Obwakabaka teyakoma ku bantu b’omu kyasa ekyasooka. Nga bwe kyayogeddwako mu ntandikwa, amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda galangirirwa era gayigirizibwa mu nsi yonna etuuliddwamu leero. N’olwekyo, emikisa gy’Obwakabaka gikyaliwo. Kiki ky’oteekwa okukola okufuna emikisa ng’egyo? Ekitundu ekiddako kijja kunnyonnyola.