Kikulu Nnyo Okutunula Kati Okusinga Bwe Kyali Kibadde
“Kale mutunule[nga]; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’alijjirako.”—MATAYO 24:42.
1, 2. Kiki ekiraga nti tuli mu mafundikira ng’enteekateeka eno ey’ebintu?
“ENTALO zirina kinene nnyo kye zaakola mu kyasa eky’amakumi abiri,” bw’atyo omuwandiisi w’ebitabo Bill Emmott bw’agamba. Wadde akimanyi nti okuviira ddala emabega wabaddewo entalo n’ettemu, ayongerako bw’ati: “Okufaananako ebyasa ebirala, ekyasa eky’amakumi abiri nakyo kyalimu entalo, naye zo zaali ku kigero kya waggulu nnyo. Ekyasa ekyo kyalimu ssematalo eyasooka . . . Kyokka, era kyalimu n’ow’okubiri.”
2 Yesu Kristo yalagula nti ‘eggwanga lirumba eggwanga n’obwakabaka bulirumba obwakabaka.’ Kyokka, entalo kye kimu ku bintu ebiri mu ‘kabonero k’okubeerawo kwa Kristo n’akamafundikira ng’enteekateeka eno ey’ebintu.’ Era, mu bunnabbi buno obukulu, Yesu yayogera ku njala, kawumpuli ne musisi. (Matayo 24:3, 7, 8, NW; Lukka 21:6, 7, 10, 11) Ebintu ebyo byeyongedde nnyo. Obubi bw’omuntu bweyongedde obungi, nga bwe kyeyolekera mu ngeri gy’atwalamu Katonda ne muntu munne. Empisa z’abantu zoonoose nnyo era n’obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’obukambwe nabyo byeyongedde. Kati abantu baagala nnyo ssente okusinga Katonda, era bakulembeza bya masanyu. Bino byonna bikakasa nti tuli mu “biro eby’okulaba ennaku.”—2 Timoseewo 3:1-5.
3. Twandikwatiddwako tutya ‘akabonero k’ebiseera bye tulimu’?
3 Otunuulira otya embeera z’abantu ezeeyongera okwonooneka? Bangi tebeefiirayo ku mbeera embi eziriwo. Abantu abatutumufu ab’omu nsi tebategeera makulu ‘g’akabonero k’ebiseera bye tulimu’; era n’abakulembeze b’eddiini tebawadde bantu bulagirizi butuufu ku nsonga eno. (Matayo 16:1-3) Kyokka Yesu yakubiriza abagoberezi be: “Kale mutunule[nga]; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw’alijjirako.” (Matayo 24:42) Wano Yesu tatukubiriza kutunula butunuzi kyokka wabula ‘okutunulanga.’ Okusobola okutunulanga, tulina okubeera obulindaala. Kino kisingawo ku kumanya obumanya nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, era nti tuli mu biseera ebizibu. Tulina okubeera abakakafu nti “enkomerero ya byonna eri kumpi.” (1 Peetero 4:7) Mu ngeri eyo tujja kulaga nti tukitwala nti ebiseera bye tulimu bikulu. N’olwekyo, ekibuuzo kye tusaanidde okulowoozaako kye kino: ‘Kiki ekinaatuyamba okubeera abakakafu nti enkomerero eri kumpi?’
4, 5. (a) Kiki ekinaatuyamba okubeera abakakafu nti enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu eri kumpi, era lwaki? (b) Kufaanagana ki okumu okuliwo wakati w’ekiseera kya Nuuwa n’eky’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu?
4 Weetegereze embeera eyaliwo ng’ekintu eky’enjawulo mu byafaayo by’omuntu tekinnabaawo, kwe kugamba, Amataba ag’amaanyi ag’omu kiseera kya Nuuwa. Abantu baali babi nnyo ne kiba nti Yakuwa ‘yanakuwala mu mutima gwe.’ Yagamba: “Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi.” (Olubereberye 6:6, 7) Era ekyo kye yakola. Ng’ageraageranya ebyaliwo mu kiseera ekyo n’ebyo ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe, Yesu yagamba: “Ng’ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.”—Matayo 24:37.
5 Kiba kya magezi okugamba nti Yakuwa atunuulira ensi eriwo kati mu ngeri y’emu gye yatunuuliramu eyo eyaliwo mu kiseera ng’Amataba tegannaba kujja. Okuva bwe yazikiriza ensi eyali tetya Katonda ey’omu kiseera kya Nuuwa, ajja kuzikiriza n’ensi embi eriwo kati. Bwe tutegeera obulungi engeri ekiseera ekyo gye kifaanaganamu n’ekiseera kyaffe twongera okuba abakakafu nti enkomerero y’ensi eno eri kumpi. Kati olwo, ekiseera ekyo kifaanagana kitya n’ekyaffe? Waliwo okufaanagana kwa mirundi ng’etaano. Okufaanagana okusooka kuli nti okulabula okukwata ku kuzikiriza kuweebwa mu ngeri etegeerekeka obulungi.
Yategeezebwa ‘Ebintu Ebyali Bitannabaawo’
6. Yakuwa yamalirira kukola ki mu kiseera kya Nuuwa?
6 Mu kiseera kya Nuuwa, Yakuwa yagamba: “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” (Olubereberye 6:3) Ebigambo ebyo ebyalangirirwa Katonda mu 2490 B.C.E., byalaga nti ekiseera eky’enkomerero y’ensi eyo eyali temutya kyali kitandise. Teeberezaamu ebigambo ebyo kye byategeeza eri abo abaaliwo mu kiseera ekyo! Waali wasigaddeyo emyaka 120 gyokka, Yakuwa aleete ‘amataba ku nsi okuzikiriza buli ekirina omubiri kyonna era ekirimu omukka ogw’obulamu wansi w’eggulu.’—Olubereberye 6:17.
7. (a) Nuuwa yakola ki ng’alabuddwa ku kujja kw’Amataba? (b) Twandikozeewo ki ku kulabula okukwata ku nkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu?
7 Nuuwa yategeezebwa ku kuzikiriza okwali kugenda okujja ng’ekyabulayo amakumi g’emyaka, era yakozesa bulungi ekiseera ekyo okweteekerateekera okuwonawo. “Bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitanna[baawo],” bw’atyo omutume Pawulo bw’agamba, “[Nuuwa n’azimba] eryato olw’okulokola ennyumba ye.” (Abaebbulaniya 11:7) Kiri kitya eri ffe? Kati wayiseewo emyaka nga 90 bukya ennaku ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu zitandika mu 1914. Mazima ddala tuli mu “kiseera eky’enkomerero.” (Danyeri 12:4) Twandikozeewo ki ku kulabula okutuweereddwa? Baibuli egamba: “Akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) N’olwekyo, kati kye kiseera okunyiikirira okukola Yakuwa by’ayagala.
8, 9. Kulabula ki okuweereddwa mu kiseera kyaffe, era kulangirirwa mu ngeri ki?
8 Mu kiseera kyaffe, abayizi ba Baibuli abeesimbu bayize okuva mu byawandiikibwa nti enteekateeka eno ey’ebintu egenda kuzikirizibwa. Ekyo tukikkiriza? Weetegereze ekyo Yesu Kristo kye yagamba: “Waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.” (Matayo 24:21) Ate era Yesu yagamba nti alijja ng’Omulamuzi Katonda gwe yateekawo, era alyawulawo abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi. Abo abalisangibwa nga tebasaanira “baligenda mu kibonerezo ekitaggwaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.”—Matayo 25:31-33, 46.
9 Yakuwa ategeezezza abantu be ebikwata ku bintu ebyo ng’ayitira mu mmere ey’eby’omwoyo etuukira mu kiseera ekituufu etuweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Matayo 24:45-47) Ate era, abantu okuva mu buli ggwanga, ekika n’olulimi bakubirizibwa ‘okutya Katonda era bamuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’okusala omusango gwe kituuse.’ (Okubikkulirwa 14:6, 7) Ekimu ku ebyo ebiri mu bubaka bw’Obwakabaka Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira mu nsi yonna, kwe kulabula nti mangu nnyo Obwakabaka bwa Katonda bugenda kuggyawo obufuzi bw’abantu. (Danyeri 2:44) Okulabula okwo tekulina kutwalibwa ng’okw’olusaago. Bulijjo Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna atuukiriza ebisuubizo bye. (Isaaya 55:10, 11) Yabituukiriza mu kiseera kya Nuuwa, era ajja kukola kye kimu mu kiseera kyaffe.—2 Peetero 3:3-7.
Obugwenyufu Bucaaka Nnyo
10. Kiki ekiyinza okwogerwa ku bugwenyufu bw’omu kiseera kya Nuuwa?
10 Ekiseera kyaffe era kirina engeri endala gye kifaanaganamu n’ekya Nuuwa. Yakuwa yali alagidde omukazi n’omusajja abaasooka okuzaala abaana ‘bajjuze ensi,’ nga beetaba mu ngeri eweesa obufumbo ekitiibwa. (Olubereberye 1:28) Mu kiseera kya Nuuwa, bamalayika abajeemu beenyigira mu kwetaba okw’obugwenyufu. Bajja ku nsi ne bambala emibiri egy’ennyama ne beetaba n’abakazi abalabika obulungi era ne bazaala Abanefuli, kwe kugamba, abaana abaalina engeri ez’obuntu n’eza badayimooni. (Olubereberye 6:2, 4) Ekibi ekyakolebwa bamalayika abo kigeraageranyizibwa ku bikolwa ebibi ebyaliwo mu Sodomu ne Ggomola. (Yuda 6, 7) N’ekyavaamu, obugwenyufu bwacaaka nnyo mu kiseera ekyo.
11. Mu ngeri ki empisa z’abantu leero gye zifaanagana n’ez’omu kiseera kya Nuuwa?
11 Empisa z’abantu ziri zitya leero? Mu nnaku zino ez’oluvannyuma, abantu bangi balowooleza nnyo mu by’okwetaba. Pawulo aboogerako ‘ng’abatakyalina nsonyi,’ era nti bangi ‘beewaayo mu bwenzi okukolanga eby’obugwagwa bwonna mu kwegomba.’ (Abaefeso 4:19) Ebifaananyi eby’obugwenyufu, obukaba, okwetaba n’abaana abato n’okulya ebisiyaga bintu ebiriwo leero. Abamu batandise okukungula ‘empeera ebasaanira’ nga bafuna endwadde eziyitira mu kwetaba, ng’amaka gaabwe gasasika, era nga bafuna n’ebizibu ebirala.—Abaruumi 1:26, 27.
12. Lwaki twandikyaye ekibi?
12 Mu kiseera kya Nuuwa, Yakuwa yaleeta Amataba era n’azikiriza ensi eyo eyali erowooleza ennyo mu by’okwetaba. Tetusaanidde kwerabira nti ekiseera kye tulimu kifaananira ddala n’ekya Nuuwa. “Ekibonyoobonyo ekinene” ekigenda okujja kijja kusaanyawo ‘abenzi, abakaba, n’abalyi b’ebisiyaga.’ (Matayo 24:21; 1 Abakkolinso 6:9, 10; Okubikkulirwa 21:8) N’olw’ensonga eyo, nga kikulu nnyo okuba nti tukyawa ekibi era ne twewala embeera yonna eyinza okutuleetera okwenyigira mu bwenzi!—Zabbuli 97:10; 1 Abakkolinso 6:18.
Ensi “Ejjula Ettemu”
13. Mu kiseera kya Nuuwa, lwaki ensi ‘yajjula ettemu’?
13 Ng’eyogera ku ngeri endala ekiseera kya Nuuwa gye kifaanaganamu n’ekyaffe, Baibuli egamba: “Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n’ejjula [ettemu].” (Olubereberye 6:11) Ettemu teryatandikira mu kiseera kya Nuuwa. Kayini mutabani wa Adamu yatta muganda we omutuukirivu. (Olubereberye 4:8) Ng’ayogera ku ttemu eryaliwo mu kiseera kye, Lameka yayiiya ekitontome nga yeewaana olw’engeri gye yattamu omusajja, mbu nga yeetaasa. (Olubereberye 4:23, 24) Eky’enjawulo mu kiseera kya Nuuwa kyali nti ebikolwa eby’ettemu byali ku kigero kya waggulu nnyo. Bamalayika abajeemu bwe baawasa abakazi ab’oku nsi era ne babazaalamu abaana Abanefuli, ettemu lyatuuka ku kigero ekitabangawo. Enzivuunula ya New World Translation eraga nti ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyajulizibwa ku gatemu gano agawagguufu kiri “Agasuuzi,” ekitegeeza “abo abasuula abalala.” (Olubereberye 6:4) Ekyavaamu, ensi ‘yajjula ettemu.’ (Olubereberye 6:13, NW) Teebereza ebizibu Nuuwa by’ayinza okuba nga yayolekagana nabyo okukuliza abaana be mu mbeera ng’eyo! Wadde kyali kityo, Nuuwa yali ‘mutuukirivu mu maaso ga Yakuwa mu mulembe ogwo.’—Olubereberye 7:1.
14. Ensi ‘ejjudde etya ettemu’ leero?
14 Ettemu libaddewo mu byafaayo byonna eby’abantu. Naye nga bwe kyali mu kiseera kya Nuuwa, ebikolwa eby’ettemu byeyongeredde ddala nnyo mu kiseera kyaffe. Tutera okuwulira ebikwata ku ttemu mu maka, ebikolwa bya bannalukalala, n’okutirimbula abantu awatali kigendererwa. Ate kuno kw’ogatta okuyiwa omusaayi okubaawo mu ntalo. Nate ensi ezzeemu okujjula ettemu. Lwaki? Kiki ekiviiriddeko ettemu bwe lityo? Eky’okuddamu kitulaga engeri endala ekiseera kya Nuuwa gye kifaanaganamu n’ekyaffe.
15. (a) Kiki ekiviiriddeko ettemu okweyongera mu nnaku zino ez’oluvannyuma? (b) Tuli bakakafu nti kiki ekijja okubaawo?
15 Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo mu 1914, Yesu Kristo, Kabaka eyatuuzibwa ku nnamulondo, alina eky’amaanyi kye yakolawo. Setaani Omulyolyomi ne badayimooni baagobebwa mu ggulu era ne basuulibwa ku nsi. (Okubikkulirwa 12:9-12) Ng’Amataba tegannaba, bamalayika abajeemu baasalawo okuleka ebifo byabwe eby’omu ggulu; kyokka mu kiseera kyaffe baagobebwayo. Ate era, mu kiseera kino tebalina busobozi bwa kweyambaza mibiri egy’ennyama wano ku nsi okusobola okwetaba n’abantu. N’olwekyo, mu busungu obungi era nga batya omusango ogubasaliddwa, bakubiriza abantu era n’ebibiina by’abantu okwenyigira mu ttemu erisinga n’eryo eryaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Yakuwa yasaanyawo ensi eyaliwo ng’Amataba tegannaba oluvannyuma lwa bamalayika abajeemu n’abaana baabwe okugijjuza obubi. Mu ngeri y’emu, Yakuwa ajja kusaanyawo ababi ab’omu kiseera kyaffe. (Zabbuli 37:10) Kyokka, leero abo abasigala nga batunula bamanyi nti okununulibwa kwabwe kuli kumpi.
Obubaka Bubuulirwa
16, 17. Ngeri ki ey’okuna ekiseera kya Nuuwa gye kifaanaganamu n’ekyaffe?
16 Engeri ey’okuna ekiseera kyaffe gye kifaananamu n’ekya Nuuwa, yeeyolekera mu mulimu Nuuwa gwe yaweebwa okukola. Nuuwa yazimba eryato eddene ennyo. Ate era yali ‘mubuulizi.’ (2 Peetero 2:5) Bubaka ki bwe yabuulira? Kirabika Nuuwa yakubiriza abantu okwenenya era n’abalabula ku kuzikiriza okwali kugenda okujja. Yesu yagamba nti abantu b’omu kiseera kya Nuuwa ‘tebeefiirayo okutuusa amataba lwe gaabasaanyawo bonna.’—Matayo 24:38, 39.
17 Mu ngeri y’emu, ng’Abajulirwa ba Yakuwa banyiikirira omulimu gwabwe ogw’okubuulira, obubaka obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda bugenda bubuulirwa mu nsi yonna. Kumpi mu buli kanyomero k’ensi, abantu basobola okuwulira era ne basoma obubaka bw’Obwakabaka mu lulimi lwabwe. Akatabo Omunaala gw’Omukuumi, buli lwe kafuluma obutabo obusukka mu 25,000,000 bukubibwa mu nnimi 140. Mazima ddala, amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda gabuulirwa “mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna.” Omulimu ogwo bwe gunaakolebwa okutuusa ku ssa Katonda ly’ayagala, enkomerero ejja kutuuka.—Matayo 24:14.
18. Engeri abantu gye batwalamu obubaka bwe tubabuulira efaanagana etya n’ey’ab’omu kiseera kya Nuuwa?
18 Olw’okuba abantu baali tebeefiirayo n’akamu ku bya mwoyo era nga n’empisa zaabwe zaali mbi nnyo ng’Amataba tegannajja, n’ab’omu maka ga Nuuwa baakudaalirwa era ne basekererwa baliraanwa baabwe. Kyokka, enkomerero yajja. Mu ngeri y’emu, ‘abasekerezi’ bangi nnyo mu nnaku zino ez’oluvannyuma. “Naye olunaku lwa [Yakuwa] lulijja nga mubbi,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. (2 Peetero 3:3, 4, 10) Lujja kujja mu kiseera ekigereke. Terujja kulwa. (Kaabakuuku 2:3) Nga tuba ba magezi bwe tweyongera okutunula!
Batono Abawonawo
19, 20. Mu ngeri ki Amataba n’okuzikirizibwa kw’enteekateeka eno ey’ebintu gye bifaanaganamu?
19 Obubi bw’abantu n’okuzikirizibwa kwabwe si bye byokka ebireetera ekiseera kya Nuuwa okufaanagana n’ekyaffe. Nga bwe waaliwo abaawonawo Amataba, ne mu kiseera kyaffe waliwo abajja okuwonawo ng’enteekateeka eno ey’ebintu ezikirizibwa. Abo abaawonawo Amataba baali bantu abawombeefu abateeyisa ng’abalala. Baagondera okulabula okwava eri Katonda era ne beeyawula ku nsi embi ey’omu kiseera ekyo. “Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. “Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye.” (Olubereberye 6:8, 9) Mu bantu bonna abaaliwo, amaka gamu, ‘kwe kugamba, abantu munaana, be bataazikirizibwa.’ (1 Peetero 3:20) Era, abo abaawonawo Yakuwa Katonda yabawa ekiragiro ng’agamba: “Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi.”—Olubereberye 9:1.
20 Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti “ekibiina ekinene” kijja ‘kuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene.’ (Okubikkulirwa 7:9, 14) Ekibiina ekinene kinaabaamu abantu bameka? Yesu yagamba: “Omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Bw’obageraageranya n’obuwumbi bw’abantu abaliwo kati ku nsi, abo abanaawonawo ku kibonyoobonyo ekinene bajja kubeera batono nnyo. Kyokka, nabo bayinza okufuna enkizo ng’eyo eyaweebwa abo abaawonawo Amataba. Okumala ekiseera, abo abanaawonawo bayinza okuzaala abaana mu nsi empya.—Isaaya 65:23.
‘Mutunulenga’
21, 22. (a) Oganyuddwa otya mu kwekenneenya ebikwata ku Mataba? (b) Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2004 kye kiruwa, era lwaki twandifuddeyo ku kubuulirira okukirimu?
21 Wadde ng’Amataba gaaliwo dda nnyo, gatuwa okulabula kwe tutasaanidde kubuusa maaso. (Abaruumi 15:4) Okuba nti ekiseera kya Nuuwa kifaanaganamu n’ekyaffe kyandituleetedde okweyongera okussaayo omwoyo ku ebyo ebiriwo kati era n’okulindirira okujja kwa Yesu ng’omubbi okuzikiriza ababi.
22 Leero, Yesu Kristo akubiriza omulimi omukulu ogw’okuzimba mu by’omwoyo. Abasinza ab’amazima okusobola okuwonawo era n’okufuna obukuumi, balina okubeera mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo olugeraageranyizibwa ku lyato lya Nuuwa. (2 Abakkolinso 12:3, 4) Okusobola okuwonawo mu kibonyoobonyo ekinene, tulina okusigala mu lusuku olwo olw’eby’omwoyo. Olusuku luno olw’eby’omwoyo lwetooloddwa ensi ya Setaani eyeetegese okuvaabira buli yenna asumagira mu by’omwoyo. N’olwekyo, kikulu nnyo ‘okutunulanga’ era n’okweteekerateekera olunaku lwa Yakuwa.—Matayo 24:42, 44.
Ojjukira?
• Kulabula ki Yesu kwe yawa okukwata ku kujja kwe?
• Kiki Yesu kye yageraageranya ku kubeerawo kwe?
• Mu ngeri ki ekiseera kyaffe gye kifaanaganamu n’ekya Nuuwa?
• Okwekennenya okufaanagana okuliwo wakati w’ekiseera kyaffe n’ekya Nuwa kwanditukutteko kutya?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2004 kijja kuba: ‘Mutunulenga era Mweteeketeeke.’—Matayo 24:42, 44.