Ka Bonna Balangirire Ekitiibwa kya Yakuwa
“Mumuwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi. Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye.”—ZABBULI 96:7, 8.
1, 2. Bintu ki ebiwa Yakuwa ekitiibwa, era baani abakubirizibwa okubyeyungako?
DAWUDI, mutabani wa Yese, mu buto bwe yali musumba mu Besirekemu. Ng’ateekwa okuba nga yatunulanga ku ggulu erijjudde emmunyeenye mu budde obw’ekiro ng’alunda endiga za kitaawe! Awatali kubuusabuusa, yajjukira ebintu ebyo bye yalaba bwe yaluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda, n’ayiiya era n’ayimba ebigambo ebirungi ennyo ebiri mu Zabbuli 19, ebigamba: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye. Okuyigiriza kwabyo kubunye mu nsi zonna, n’ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero y’ensi.”—Zabbuli 19:1, 4.
2 Awatali bigambo, lulimi, wadde eddoboozi, eggulu eryewuunyisa ennyo Yakuwa lye yatonda, limuwa ekitiibwa buli lunaku na buli kiro. Obutonde tebulekera awo kuwa Katonda kitiibwa, era kituleetera okumanya nti tetulina bwe tuli bwe tufumiitiriza ku bujulizi obwo ‘obweyoleka mu nsi yonna,’ abantu bonna bwe basobola okulaba. Kyokka, obujulizi obuweebwa ebitonde ebitayogera tebumala. Abantu abeesigwa bakubirizibwa okubyeyungako nga bawa obujulirwa mu ddoboozi eriwulikika. Omuwandiisi wa Zabbuli atamanyiddwa linnya yakubiriza abasinza abeesigwa ng’akozesa ebigambo bino: “Mumuwe Mukama, mmwe ebika eby’amawanga, mumuwe Mukama ekitiibwa n’amaanyi. Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye: muleete ssaddaaka, mujje mu mpya ze.” (Zabbuli 96:7, 8) Abo bonna abalina enkolagana ennungi ne Yakuwa basanyufu okwanukula omulanga ogwo. Naye kiki ekizingirwa mu kuwa Katonda ekitiibwa?
3. Lwaki abantu bawa Katonda ekitiibwa?
3 Okuwa Katonda ekitiibwa kyetaagisa okukola ekisingawo ku kwogera obwogezi. Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Isaaya baawa Katonda ekitiibwa kya ku mimwa, kyokka abasinga obungi tebaali beesimbu. Okuyitira mu Isaaya Yakuwa yagamba: “Abantu bano bansemberera ne banzisaamu ekitiibwa kya mu kamwa kaabwe era kya ku mimwa gyabwe, naye omutima gwabwe baguntadde wala, n’okuntya kwabwe kiragiro kya bantu kye bayigirizibwa.” (Isaaya 29:13) Okutendereza kw’abantu abo tekwalina makulu. Okutendereza okusobola okubeera okw’amakulu, kulina kuva mu mutima ogujjudde okwagala Yakuwa era ne mu kutegeerera ddala ekitiibwa kye eky’enjawulo. Yakuwa yekka ye Mutonzi. Ye Muyinza w’ebintu byonna, Asingirayo ddala okuba ow’obwenkanya era ensibuko y’okwagala. Ye nsibuko y’obulokozi bwaffe era Omufuzi ow’obutonde bwonna agwanidde okugonderwa buli muntu omulamu ku nsi ne bamalayika mu ggulu. (Okubikkulirwa 4:11; 19:1) Bwe tuba nga ddala ebintu bino tubikkiriza, ka tumuwe ekitiibwa n’omutima gwaffe gwonna.
4. Yesu yatutegeeza ki ku ngeri y’okuwaamu Katonda ekitiibwa, era ekyo tusobola kukikola tutya?
4 Yesu Kristo yatutegeeza engeri y’okuwaamu Katonda ekitiibwa. Yagamba: “Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga, ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.” (Yokaana 15:8) Tusobola tutya okubala ebibala bingi? Okusooka, nga twenyigira mu kubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” n’omutima gwaffe gwonna, era mu ngeri eyo tuba twegatta ku bitonde byonna mu ‘kubuulira’ ‘engeri za Katonda ezitalabika.’ (Matayo 24:14, NW; Abaruumi 1:20) Ate era, mu ngeri emu oba endala, ffenna tuba twenyigira mu kufuula abayigirizwa abappya abongera amaanyi mu kutendereza Yakuwa Katonda. Eky’okubiri, tubala ebibala by’omwoyo omutukuvu era ne tufuba okukoppa engeri za Yakuwa Katonda ennungi ennyo. (Abaggalatiya 5:22, 23; Abaefeso 5:1; Abakkolosaayi 3:10) N’ekivaamu, engeri gye tweyisaamu buli lunaku eweesa Katonda ekitiibwa.
“Mu Nsi Zonna”
5. Nnyonnyola engeri Pawulo gye yaggumizaamu obuvunaanyizibwa Abakristaayo bwe balina obw’okuwa Katonda ekitiibwa nga bategeeza abalala enzikiriza yaabwe.
5 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yaggumiza obuvunaanyizibwa Abakristaayo bwe balina obw’okuwa Katonda ekitiibwa nga bategeeza abalala enzikiriza yaabwe. Obubaka obukulu obuli mu kitabo ky’Abaruumi buli nti abo bokka abakkiririza mu Yesu Kristo, be basobola okulokolebwa. Mu Abaruumi essuula 10, Pawulo yakiraga nti Abaisiraeri ab’omu kiseera kye baali bakyagezaako okufuna enkolagana ennungi ne Katonda nga bagoberera Amateeka ga Musa, wadde nga ‘Kristo ye yali enkomerero y’amateeka.’ N’olwekyo, Pawulo yagamba: “Bw’oyatula Yesu nga ye Mukama n’akamwa ko, n’okkiririza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka.” Okuva mu kiseera ekyo n’okweyongerayo, ‘tewabaddewo njawulo wakati w’Omuyudaaya n’Omuyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira: kubanga, buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.’—Abaruumi 10:4, 9-13.
6. Pawulo yakozesa atya Zabbuli 19:4?
6 Awo ate Pawulo n’alyokka abuuza mu ngeri etuukirawo: “Balikaabirira batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira?” (Abaruumi 10:14) Pawulo ayogera bw’ati ku Isiraeri: ‘Bonna tebaagondera njiri.’ Lwaki Abaisiraeri tebaagondera njiri? Lwa kuba tebaalina kukkiriza so si nti tebaafuna mukisa. Ekyo Pawulo akyogerako ng’ajuliza Zabbuli 19:4 era n’agikwataganya n’omulimu gw’Ekikristaayo ogw’okubuulira so si n’obujulizi obuweebwa ebitonde ebitayogera. Agamba: “Weewaawo, ddala, eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna n’ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z’ensi.” (Abaruumi 10:16, 18) Yee, ng’ebitonde ebitalina bulamu bwe bitendereza Katonda, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baabuulira amawulire amalungi ag’obulokozi mu buli kifo era mu ngeri eyo ne batendereza Katonda mu “nsi yonna.” Mu bbaluwa ye eri Abakkolosaayi, Pawulo era yannyonnyola engeri amawulire amalungi gye gaali gabunyeemu. Yagamba nti amawulire amalungi gaali gabuuliddwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu.”—Abakkolosaayi 1:23.
Abajulirwa Abanyiikivu
7. Okusinziira ku Yesu, buvunaanyizibwa ki Abakristaayo bwe balina?
7 Kirabika Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi ebbaluwa ye nga wayiseewo emyaka nga 27 bukya Yesu Kristo afa. Amawulire amalungi gandisobodde gatya okubuna ne gatuuka ne mu Kkolosaayi mu kiseera ekitono bwe kityo? Kyali bwe kityo kubanga Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baali banyiikivu, era Yakuwa yabawa omukisa olw’obunyiikivu bwabwe. Yesu yali agambye nti abagoberezi be bandibadde babuulizi abanyiikivu bwe yagamba: ‘Amawulire amalungi kigagwanira okusooka okubuulirwa mu mawanga gonna.’ (Makko 13:10) Ku bunnabbi obwo, Yesu yagattako ekiragiro ekiri mu nnyiriri ezisembayo mu njiri ya Matayo: “Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’Omwoyo Omutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe.” (Matayo 28:19, 20) Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yesu okuddayo mu ggulu, abagoberezi be baatandika okutuukiriza ebigambo ebyo.
8, 9. Okusinziira ku Ebikolwa by’Abatume, Abakristaayo baayanukula batya ekiragiro kya Yesu?
8 Oluvannyuma lw’okufukibwako omwoyo omutukuvu ku Pentekoote 33 C.E., ekintu abagoberezi ba Yesu abeesigwa kye baasooka okukola, kwe kubuulira abantu b’omu Yerusaalemi nga babategeeza “eby’ekitalo ebya Katonda.” Okubuulira kwabwe kwali kulungi nnyo era “abantu ng’enkumi satu” baabatizibwa. Abayigirizwa beeyongera okutendereza Katonda mu lujjudde n’obunyiikivu obw’amaanyi era ebyavaamu byali birungi.—Ebikolwa 2:4, 11, 41, 46, 47.
9 Mangu ddala abakulembeze b’eddiini baafuna lipoota ekwata ku mulimu gw’Abakristaayo abo. Nga tebasanyukidde ebyo Peetero ne Yokaana bye baayogera n’obuvumu, baabalagira okulekera awo okubuulira. Abatume baagamba: “Tetuyinza kulekera awo kwogera bye twalaba [ne] bye twawulira.” Oluvannyuma lw’okutiisibwatiisibwa era n’okusumululwa, Peetero ne Yokaana baddayo eri baganda baabwe, era bonna wamu ne basaba Yakuwa. N’obuvumu baasaba Yakuwa: “Owe abaddu bo bagume nnyo okwogera ekigambo kyo.”—Ebikolwa 4:13, 20, 29.
10. Kuyigganyizibwa ki okwabalukawo, era kiki Abakristaayo ab’amazima kye baakola?
10 Okusaba okwo kwali kutuukagana bulungi ne Yakuwa by’ayagala nga bwe kyeyoleka obulungi oluvannyumako. Abatume baakwatibwa kyokka malayika n’abasumulula mu ngeri ey’ekyamagero. Malayika yabagamba: “Mugende, muyimirire, mubuulire mu yeekaalu abantu ebigambo byonna eby’obulamu buno.” (Ebikolwa 5:18-20) Olw’okubanga abatume baagondera Yakuwa, yeeyongera okubawa omukisa. N’olwekyo, ‘buli lunaku mu yeekaalu ne nnyumba ku nnyumba beeyongera okuyigirizanga n’okubuuliranga amawulire amalungi agakwata ku Kristo Yesu.’ (Ebikolwa 5:42) Kya lwatu, okuziyizibwa okwo okwali okw’amaanyi tekwasobola kulemesa bagoberezi ba Yesu okuwa Katonda ekitiibwa mu lujjudde.
11. Abakristaayo abaasooka baatunuulira batya omulimu gw’okubuulira?
11 Mangu ddala, Suteefano yakwatibwa era n’akubibwa amayinja n’afa. Okuttibwa kwe kwaviirako okuyigganyizibwa okw’amaanyi okubalukawo mu Yerusaalemi, era abayigirizwa bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu bitundu ebirala. Baggwaamu amaanyi olw’okuyigganyizibwa okwo? N’akatono. Tusoma: “Awo abo abaasaasaana ne bagenda nga babuulira ekigambo.” (Ebikolwa 8:1, 4) Obunyiikivu bwe baalina mu kulangirira ekitiibwa kya Katonda bwalabika enfunda n’enfunda. Mu Ebikolwa by’Abatume essuula 9 tusoma nti, Sawulo Omufalisaayo ow’e Taluso, bwe yali agenda e Ddamasiko okuyigganya abayigirizwa ba Yesu mu kitundu ekyo, yafuna okwolesebwa kwa Yesu era n’aziba amaaso. Ng’ali e Ddamasiko, mu ngeri ey’ekyamagero, Ananiya yazibula amaaso ga Sawulo. Kintu ki Sawulo, oluvannyuma eyayitibwa Pawulo, kye yasooka okukola? Ebyawandiikibwa bigamba: ‘Amangu ago n’abuulira mu makuŋŋaaniro nti Yesu ye Mwana wa Katonda.’—Ebikolwa 9:20.
Buli Omu Yeenyigira mu Kubuulira
12, 13. (a) Okusinziira ku bannabyafaayo, kiki ekyali ekikulu ennyo mu kibiina Ekikristaayo ekyasooka? (b) Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume n’ebigambo bya Pawulo bikkiriziganya bitya n’ebigambo bannabyafaayo bye baayogera?
12 Kimanyiddwa bulungi nti buli omu ku Bakristaayo abaasooka yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Philip Schaff awandiika bw’ati ku Bakristaayo ab’omu kiseera ekyo: “Buli kibiina kyenyigira mu mulimu gw’obuminsani era buli Mukristaayo yali muminsani.” (History of the Christian Church) Omusajja ayitibwa W. S. Williams agamba: “Obujulizi obw’awamu bulaga nti Abakristaayo bonna abaali mu Kkanisa eyasooka, naddala abo abaalina ebirabo eby’omwoyo, baabuuliranga enjiri.” (The Glorious Ministry of the Laity) Era agamba: “Tekyali kigendererwa kya Yesu nti okubuulira kubeere nkizo ya bantu bamu na bamu.” Ne Celsus eyali omulabe w’Abakristaayo mu kyasa ekyasooka, yawandiika: “Abasala ebyoya by’endiga, abakozi b’engato, abawazi b’amaliba, abantu abataali bayigirize n’abantu aba bulijjo, bonna baali banyiikivu nnyo mu kubuulira enjiri.”
13 Obutuufu bw’ebigambo ebyo bulabikira mu byafaayo ebiri mu Ebikolwa by’Abatume. Ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., oluvannyuma lw’okufukibwa kw’omwoyo omutukuvu, abayigirizwa bonna, abasajja n’abakazi, baabuulira mu lujjudde ku bikolwa bya Katonda eby’ekitalo. Oluvannyuma lw’okuyigganyizibwa okwaliwo nga Suteefano amaze okuttibwa, Abakristaayo bonna abaali basaasaanidde mu bitundu ebirala, baabuulira nnyo amawulire amalungi. Nga wayiseewo emyaka nga 28, Pawulo yawandiikira Abakristaayo bonna Abebbulaniya, so si ekibiina ekitono eky’abakulembeze b’eddiini, ng’agamba: “Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” (Abaebbulaniya 13:15) Bwe yali ayogera ku ndowooza gye yalina ku mulimu gw’okubuulira, Pawulo yagamba: “Bwe mbuulira enjiri, siba na kya kwenyumiriza; kubanga nnina okuwalirizibwa; kubanga zinsanze, bwe ssibuulira njiri.” (1 Abakkolinso 9:16) Mu butuufu, Abakristaayo bonna ab’omu kyasa ekyasooka baalina endowooza y’emu.
14. Kakwate ki akali wakati w’okukkiriza n’okubuulira?
14 Mazima ddala, Omukristaayo ow’amazima alina okukola omulimu gw’okubuulira kubanga gugendera wamu n’okukkiriza. Pawulo yagamba: “Omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.” (Abaruumi 10:10) Bantu batono nnyo mu kibiina, gamba ng’ekibiina ky’abakulembeze b’eddiini, abooleka okukkiriza era bwe kityo nga be bokka abalina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira? Si bwe kiri! Abakristaayo ab’amazima bonna balina okuba n’okukkiriza okunywevu mu Mukama waffe Yesu Kristo era bakubirizibwa munda yaabwe okubuulira abalala enzikiriza yaabwe. Bwe batakola bwe batyo, okukkiriza kwabwe kubeera kufu. (Yakobo 2:26) Olw’okuba Abakristaayo abeesigwa bonna ab’omu kyasa ekyasooka baayoleka okukkiriza kwabwe mu ngeri eno, erinnya lya Yakuwa lyatenderezebwa nnyo.
15, 16. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti omulimu gw’okubuulira gweyongera wadde nga waaliwo ebizibu.
15 Mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yawa abantu be omukisa ne bakulaakulana wadde nga waaliwo ebizibu munda n’ebweru w’ekibiina. Ng’ekyokulabirako, mu Ebikolwa by’Abatume essuula 6, tusangamu obutakkaanya wakati w’abakkiriza abaali boogera olulimi Olwebbulaniya n’abaali boogera Oluyonaani. Abatume baagonjoola ekizibu ekyo. N’ekyavaamu, tusoma: “Ekigambo kya Katonda ne kibuna; omuwendo gw’abayigirizwa mu Yerusaalemi ne gweyongerako nnyo; ekibiina kinene ekya bakabona ne bagondera okukkiriza.”—Ebikolwa 6:7.
16 Oluvannyuma, waabalukawo obukuubagano mu by’obufuzi wakati wa Kabaka w’Ebuyudaaya Kerode Agulipa, n’abantu b’omu Ttuulo ne Sidoni. Abatuuze b’omu bibuga ebyo, baawaanawaana Kerode nga bamusaba okuleetawo emirembe, era ekyo ne kimuviirako okwogera gye bali. Abantu abaali bakuŋŋaanye ne batandika okwogerera waggulu nti: “Eryo ddoboozi lya katonda, si lya muntu.” Amangu ago, malayika wa Yakuwa n’akuba Kerode Agulipa, era n’afa ‘kubanga yali tawadde Katonda kitiibwa.’ (Ebikolwa 12:20-23) Ekyo nga kyali kyekango kya maanyi nnyo eri abo abaali bamwesiga! (Zabbuli 146:3, 4) Kyokka, Abakristaayo bo beeyongera okuwa Katonda ekitiibwa. Ekyavaamu, ‘ekigambo kya Yakuwa ne kyeyongera okukula era ne kibuna’ wadde nga waaliwo obutabanguko mu by’obufuzi.—Ebikolwa 12:24.
Embeera Eyaliwo mu Kiseera Ekyo ne Leero
17. Mu kyasa ekyasooka, abo abeeyongera okubeegattako beenyigira mu ki?
17 Yee, ekibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka kyalimu abantu abaali abanyiikivu mu kutendereza Yakuwa Katonda. Abakristaayo abeesigwa bonna beenyigira mu kubunyisa amawulire amalungi. Abamu baafuna abaali baagala okuyiga ebisingawo, era nga Yesu bwe yagamba baabayigiriza okukwata ebintu byonna bye yalagira. (Matayo 28:19, 20) Ekyavaamu, ekibiina kyakula era abantu bangi nnyo ne beeyunga ku Kabaka Dawudi ow’edda mu kutendereza Yakuwa. Bonna baddamu okwogera ebigambo bino: “Naakutenderezanga, ai Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; era naagulumizinga erinnya lyo emirembe gyonna. Kubanga okusaasira kwo kungi gye ndi.”—Zabbuli 86:12, 13.
18. (a) Njawulo ki eriwo leero wakati w’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ne Kristendomu? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
18 Okusinziira ku ebyo, ebigambo bya profesa w’eby’eddiini Allison A. Trites, bituukirawo. Ng’ageraageranya Kristendomu ey’omu kiseera kino n’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, yagamba: “Leero amakanisa gakulaakulana singa abaana ab’omu kkanisa ey’omu kitundu bafuuka abakkiriza oba singa omuntu ava mu kkanisa emu ne yeegatta ku ndala. Kyokka mu Ebikolwa by’Abatume, okukulaakulana kwajjawo abantu bwe baakyuka ne babeegattako, kubanga ekibiina kyali kyakatandika omulimu gwakyo.” Kati olwo kino kitegeeza nti Obukristaayo obw’amazima tebukyakula mu ngeri Yesu gye yayogerako? Si bwe kiri. Abakristaayo ab’amazima leero banyiikivu mu buli ngeri yonna mu kuwa Katonda ekitiibwa mu lujjudde ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baali. Ekyo tujja kukiraba mu kitundu ekiddako.
Osobola Okunnyonnyola?
• Ngeri ki ez’enjawulo mwe tuweera Katonda ekitiibwa?
• Pawulo yakozesa atya Zabbuli 19:4?
• Kakwate ki akali wakati w’okukkiriza n’okubuulira?
• Kiki ekyali ekikulu mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20 ,21]
Eggulu liwa Katonda ekitiibwa buli kiseera
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Courtesy of Anglo-Australian Observatory, photograph by David Malin
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Omulimu gw’okubuulira n’okusaba bigendera wamu