LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 7/1 lup. 19-24
  • Langirira Amawulire Amalungi n’Omwoyo Ogwagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Langirira Amawulire Amalungi n’Omwoyo Ogwagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Nga “Omuliro Ogubuubuuka” mu Mitima Gyaffe
  • “Temuzikizanga Omuliro ogw’Omwoyo”
  • Muliraanwa Waffe Atubanja Ki?
  • Tuyinza Okwesiga Obuyambi bwa Yakuwa
  • ‘Okutwala Amawulire ag’Ebigambo Ebirungi’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • “Mwake n’Omwoyo”
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Otuukiriza Obuweereza Bwo mu Bujjuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 7/1 lup. 19-24

Langirira Amawulire Amalungi n’Omwoyo Ogwagala

“Mwakaayakanenga n’omwoyo. Mubeere baddu ba Yakuwa.” ​—ABARUUMI 12:11, NW.

1, 2. Ndowooza ki Abakristaayo gye bafuba okubeera nayo ng’ababuulizi b’amawulire amalungi?

OMUVUBUKA musanyufu nnyo olw’omulimu gwe omuppya. Ku lunaku lwe olusookera ddala ku mulimu, alindirira ebiragiro bya mukama we. Yeesunga ky’anaasooka okuweebwa okukola era akitwala nga kikulu nnyo. Ayagala nnyo okukola ekisingayo obulungi.

2 Mu ngeri y’emu, ffe ng’Abakristaayo tuyinza okwerowoozako ng’abakozi abappya. Okuva essuubi lyaffe bwe liri okubeerawo emirembe gyonna, kiyinza okugambibwa nti twakatandika okukolera Yakuwa. Mazima ddala Omutonzi waffe alina emirimu mingi gy’ajja okutuwa okukola emirembe gyonna. Naye omulimu gwe twasookera ddala okufuna gwe gw’okulangirira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwe. (1 Abasessaloniika 2:4) Tuwulira tutya ku bikwata ku mulimu guno ogutuweereddwa Katonda? Ng’omuvubuka oli, twagala okugukola obulungi nga bwe tusobola, n’obunyiikivu, n’essanyu​—yee, n’omwoyo ogwagala!

3. Kiki ekyetaagisa okusobola okutuuka ku buwanguzi ng’omuweereza w’amawulire amalungi?

3 Kyo kituufu, okubeera n’endowooza entuufu ng’eyo kuyinza okubeera okusoomooza okw’amaanyi. Ng’oggyeko obuweereza bwaffe, tulina obuvunaanyizibwa obulala bungi, obumu ku bwo nga butukooya mu mubiri ne mu birowoozo. Emirundi mingi, tukola ku bintu bino byonna ng’ate bwe tukola n’obuweereza bwaffe. Naye era, kyetaagisa okufuba buli kiseera. (Makko 8:34) Yesu yakiggumiza nti okutuuka ku buwanguzi ng’Abakristaayo kyandyetaagisizza okufuba okw’amaanyi ennyo.​—Lukka 13:24.

4. Okweraliikirira okwa buli lunaku kuyinza kutukolako ki mu by’omwoyo?

4 Olw’okubeera n’ebintu ebingi eby’okukola, kyangu ebiseera ebimu okuwulira ng’otendewereddwa oba ng’ozitoowereddwa nnyo. “Okweraliikirira eby’obulamu” kuyinza okukendeeza obunyiikivu bwaffe n’okusiima kwe tulina eri emirimu gya teyokulase. (Lukka 21:34, 35; Makko 4:18, 19) Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okufiirwa ‘okwagala kwe twalina olubereberye.’ (Okubikulirwa 2:1-4) Era, ebitundu ebimu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa tuyinza okubikola okutuukiriza obutuukiriza omukolo. Baibuli esobola etya okutuzzaamu amaanyi ne tusigala nga tuli banyiikivu mu buweereza bwaffe?

Nga “Omuliro Ogubuubuuka” mu Mitima Gyaffe

5, 6. Omutume Pawulo yatwala atya enkizo ye ey’okubuulira?

5 Obuweereza Yakuwa bw’atukwasizza bwa muwendo nnyo ne kiba nti tetuyinza kubutwala ng’obutali bukulu. Omutume Pawulo omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi yagutwala okubeera enkizo ey’amaanyi ennyo, era yakitwala nti ye yali tasaanira kukwasibwa mulimu ogwo. Yagamba: “Nze, omuto okusinga abato ab’omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka; n’okumulisanga bonna balabe okugaba kw’ekyama bwe kuli, ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna.”​—Abaefeso 3:8, 9.

6 Endowooza ya Pawulo entuufu ku bikwata ku buweereza bwe kyakulabirako kirungi nnyo gye tuli. Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, yagamba: “Kyenva njagala [ennyo] okubuulira amawulire amalungi.” Yali takwatibwa nsonyi ku lw’amawulire amalungi. (Abaruumi 1:15, 16) Yalina endowooza entuufu era yali ayagala nnyo okutuukiriza obuweereza bwe.

7. Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, kiki Pawulo kye yalabulako?

7 Omutume Pawulo yamanya obwetaavu bw’okubeera omunyiikivu, n’olwekyo yakubiriza Abakristaayo mu Rooma: “Temugayaaliriranga mulimu gwammwe. Mwakaayakanenga n’omwoyo. Mubeera baddu ba Yakuwa.” (Abaruumi 12:11, NW) Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘okugayaalirira’ kirina amakulu g’okuba “omunafu, ow’olulembe.” Wadde tuyinza obutagayaalirira buweereza bwaffe, ffenna twetaaga okubeera obulindaala okumanya obubonero bwonna obw’okunafuwa mu by’omwoyo era ne tukola enkyukakyuka ezisaanidde mu ndowooza yaffe nga tulabye obubonero ng’obwo mu ffe ffennyini.​—Engero 22:3.

8. (a) Kiki ekyafuuka nga “omuliro ogubuubuuka” mu mutima gwa Yeremiya, era lwaki? (b) Kiki kye tuyinza okuyiga ku ekyo ekyatuuka ku Yeremiya?

8 Omwoyo gwa Katonda era nagwo guyinza okutuyamba nga tuweddemu amaanyi. Ng’ekyokulabirako, lumu nnabbi Yeremiya yaggwaamu amaanyi, era n’alowooza ne ku kulekayo omulimu gwe nga nnabbi. Era n’ayogera bw’ati ku Yakuwa: “Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye.” Buno bwali bujulizi obulaga nti Yeremiya yali anafuye nnyo mu by’omwoyo? Nedda. Mu butuufu, obunywevu bwa Yeremiya mu by’omwoyo, okwagala kwe eri Yakuwa, era n’obunyiikivu bwe eri amazima byamuwa amaanyi okweyongera okuweereza nga nnabbi. Annyonnyola: “Mu mutima gwange [ekigambo kya Yakuwa] [ne ki]ba ng’omuliro ogubuubuuka ogusibi[dd]wa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so [ne] siyinza kubeerera awo.” (Yeremiya 20:9) Kya mu butonde abaweereza ba Katonda abeesigwa okuggwaamu amaanyi ebiseera ebimu. Naye bwe basaba Yakuwa okubayamba, ajja kusoma emitima gyabwe era abawe omwoyo gwe omutukuvu singa, okufaananako nga Yeremiya, babeera n’ekigambo kye mu mitima gyabwe.​—Lukka 11:9-13; Ebikolwa 15:8.

“Temuzikizanga Omuliro ogw’Omwoyo”

9. Kiki ekiyinza okuziyiza obuyambi bw’omwoyo omutukuvu ku lwaffe?

9 Omutume Pawulo yabuulira Abasessaloniika: “Temuzikizanga omuliro ogw’omwoyo.” (1 Abasessaloniika 5:19, NW) Yee, ebikolwa n’endowooza ebikontana n’emisingi gya Katonda biyinza okuziyiza obuyambi bw’omwoyo omutukuvu ku lwaffe. (Abaefeso 4:30) Abakristaayo leero balina omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Enkizo eno tugitwala nga ya kitiibwa. Tekitwewuunyisa n’akamu abatamanyi Katonda bwe banyooma omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Naye singa Omukristaayo mu bugenderevu alagajjalira obuweereza bwe, kiyinza okuleetera omuliro gw’omwoyo gwa Katonda ogumukubiriza okuzikira.

10. (a) Endowooza y’abantu bannaffe eyinza kutukolako ki? (b) Ndowooza ki entuufu ekwata ku buweereza bwaffe eyogerwako mu 2 Abakkolinso 2:17?

10 Abamu abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo bayinza okutunuulira omulimu gwaffe ng’okugaba obugabi ebitabo. Abamu mu bukyamu bayinza okulowooza nti tugenda nnyumba ku nnyumba okufuna ssente. Singa tukkiriza endowooza ng’ezo enkyamu okubaako kye zikola ku ndowooza yaffe, kiyinza okutuleetera okuddirira mu buweereza bwaffe. Mu kifo ky’okuleka endowooza ng’ezo okubaako kye zitukolako, ka tubeere n’endowooza Yakuwa ne Yesu gye balina eri obuweereza bwaffe. Omutume Pawulo yayoleka endowooza eyo entuufu bwe yagamba: “Ekigambo kya Katonda tetukifuula kya maguzi ng’abantu bangi bwe bakola, naye mu bwesimbu, yee, ng’abatumiddwa Katonda, nga tutunuulirwa Katonda, twogera awamu ne Kristo.”​—2 Abakkolinso 2:17, NW.

11. Kiki ekyasobozesa Abakristaayo abaasooka okusigala nga banyiikivu wadde nga bayigganyizibwa, era ekyokulabirako kyabwe kyanditukutteko kitya?

11 Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, abayigirizwa be mu Yerusalemi baayigganyizibwa. Baatiisibwatiisibwa era ne balagirwa okulekera awo okubuulira. Kyokka, Baibuli egamba nti ‘baasanyukira mu mwoyo omutukuvu era ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuvumu.’ (Ebikolwa 4:17, 21, 31) Ebigambo bya Pawulo eri Timoseewo oluvannyuma lw’emyaka byalaga endowooza entuufu Abakristaayo gye basaanidde okuba nayo. Pawulo yagamba: “Kubanga Katonda ffe teyatuwa omwoyo ogw’okutya, wabula ogw’amaanyi era ogw’okwagala era ogw’okwegenderezanga. Kale, tokwatirwanga nsonyi kutegeeza kwa Mukama waffe, newakubadde nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga [olw’]enjiri ng’amaanyi ga Katonda bwe gali.”​—2 Timoseewo 1:7, 8.

Muliraanwa Waffe Atubanja Ki?

12. Ensonga enkulu lwaki tubuulira amawulire amalungi y’eruwa?

12 Okusobola okubeera n’endowooza entuufu eri obuweereza bwaffe, tuteekwa okubeera n’ekiruubirirwa ekituufu. Lwaki tubuulira? Ensonga enkulu lwaki tubuulira erabibwa mu bigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli: “Abatukuvu bo banaakweyanzanga [Yakuwa]. Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo, banaanyumyanga ku buyinza bwo, okumanyisanga abaana b’abantu ebikolwa bye eby’amaanyi n’ekitiibwa eky’obukulu obw’obwakabaka bwe.” (Zabbuli 145:10-12) Yee, tubuulira okusobola okutendereza Yakuwa mu lujjudde n’okutukuza erinnya lye mu maaso g’abantu bonna. Wadde abatuwuliriza baba batono, bwe tulangirira n’obwesigwa obubaka bw’obulokozi kireetera Yakuwa ettendo.

13. Kiki ekitukubiriza okubuulira abalala essuubi ly’obulokozi?

13 Era tubuulira olw’okwagala abantu n’okwewala okuvunaanibwa omusaayi gwabwe. (Ezeekyeri 33:8; Makko 6:34) Ekikwatagana na kino bye bigambo Pawulo ng’ayogera ku abo abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo: “Abayonaani era ne bannaggwanga, ab’amagezi era n’abasirusiru, bammanja.” (Abaruumi 1:14) Pawulo yawulira ng’alina ebbanja ery’okubuulira abantu amawulire amalungi, okuva Katonda bw’ayagala abantu “aba buli kika okulokolebwa.” (1 Timoseewo 2:4, NW) Leero, naffe tulina okwagala kwe kumu era n’obuvunaanyizibwa bwe bumu eri muliraanwa waffe. Okwagala kwa Yakuwa eri olulyo lw’omuntu kwamuleetera okutuma Omwana we ku nsi okubafiirira. (Yokaana 3:16) Okwo kwali kwerekereza kwa maanyi. Tukoppa okwagala kwa Yakuwa bwe tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi okubuulira abalala amawulire amalungi ag’obulokozi ageesigamye ku ssaddaaka ya Yesu.

14. Baibuli eyogera etya ku nsi eri ebweru w’ekibiina Ekikristaayo?

14 Abajulirwa ba Yakuwa batunuulira bantu bannaabwe ng’abasobola okufuuka ekitundu ky’oluganda olw’Ekikristaayo. Tuteekwa okubuulira n’obuvumu, naye ekyo tekitegeeza kubeera bakambwe. Kyo kituufu, Baibuli ekozesa ebigambo eby’amaanyi ng’eyogera ku nsi. Ekigambo “ensi” Pawulo akikozesa mu ngeri efeebya bw’ayogera ku ‘magezi ag’omu nsi muno’ era “n’okwegomba kw’omu nsi.” (1 Abakkolinso 3:19; Tito 2:12) Pawulo era yajjukiza Abakristaayo b’omu Efeso nti bwe baatambulanga “ng’emirembe gy’ensi eno bwe giri,” baali “bafu” mu by’omwoyo. (Abaefeso 2:1-3) Ebigambo bino awamu n’ebirala ebifaananako bwe bityo bikwatagana n’ebigambo by’omutume Yokaana: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.”​—1 Yokaana 5:19, NW.

15. Ku bikwata ku bantu abali ebweru w’ekibiina Ekikristaayo, kiki kye tutalina kukola era lwaki?

15 Naye, jjukira nti, ebigambo ng’ebyo bikwata ku nsi eyeeyawudde ku Katonda, so si ku bantu kinnoomu. Abakristaayo tebagezaako kulamula engeri omuntu yenna gy’anaayanukulamu omulimu gw’okubuulira. Tebalina kwe basinziira okuyita omuntu yenna embuzi. Si buvunaanyizibwa bwaffe okwogera ekirivaamu Yesu bw’alijja okwawula “endiga” okuva ku “mbuzi.” (Matayo 25:31-46) Yesu ye mulamuzi eyalondebwa; so si ffe. Ng’oggyeko ekyo, ebiriwo biraga nti abamu abaali benyigidde mu mize emibi ennyo bakkirizza obubaka bwa Baibuli, ne bakyuka, era ne bafuuka Abakristaayo ab’empisa ennungi. N’olwekyo, wadde tetuyinza kukola mikwano n’abantu abamu, tetulema kwogera nabo ku bikwata ku ssuubi ly’Obwakabaka nga tufunye akakisa. Ebyawandiikibwa byogera ku bantu abamu, wadde nga tebannafuuka bakkiriza, ‘abaali baagala obulamu obutaggwaawo.’ Mu nkomerero baafuuka abakkiriza. (Ebikolwa 13:48, NW) Bwe kityo, tetuyinza kumanya ani ayagala obulamu obutaggwaawo okutuusa nga tumaze okuwa obujulirwa​—oboolyawo emirundi mingi. Nga tulina kino mu birowoozo, abo abatannaba kukkiriza bubaka bw’obulokozi tubakwata ‘n’eggonjebwa’ era ne tubawa “ekitiibwa,” nga tusuubira nti abamu ku bo bayinza okwanukula obubaka bw’obulamu.​—2 Timoseewo 2:25, NW; 1 Peetero 3:15.

16. Nsonga ki emu lwaki twagala okukulaakulanya ‘engeri ennungi ey’okuyigiriza’?

16 Okukuguka mu kuyigiriza kijja kutuleetera okweyongera okwagala ennyo okubuulira amawulire amalungi. Okuwaayo ekyokulabirako: Omuzannyo ogunyuma ennyo guyinza obutanyumira oyo atamanyi kuguzannya. Naye oyo aguzannya obulungi, gumunyumira nnyo. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abakulaakulanya ‘engeri ennungi ey’okuyigiriza’ bongera ku ssanyu lyabwe mu buweereza. (2 Timoseewo 4:2, NW; Tito 1:9) Pawulo yawa Timoseewo amagezi: “Fuba nnyo okusiimibwa Katonda, omukozi atakwatibwa nsonyi, akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.” (2 Timoseewo 2:15, NW) Tuyinza tutya okukuguka mu kuyigiriza?

17. Tuyinza tutya ‘okukulaakulanya okwegomba’ okumanya kw’omu Baibuli, era okumanya ng’okwo kunaaganyula kutya obuweereza bwaffe?

17 Engeri emu kwe kweyongera okufuna okumanya okutuufu. Omutume Peetero atukubiriza: “Ng’abaana abawere abaakajja bazaalibwe, mwegombenga [“mukulaakulanye okwegomba,” NW] amata ag’omwoyo agataliimu bulimba, galyoke gabakuze okutuuka ku bulokovu.” (1 Peetero 2:2) Omwana omulamu obulungi yeegomba amata. Naye, Omukristaayo kiyinza okumwetaagisa ‘okukulaakulanya okwegomba’ okumanya kw’omu Baibuli. Kino ayinza okukikola ng’akulaakulanya engeri ennungi ez’okusoma n’okweyigiriza. (Engero 2:1-6) Okufuba n’okwekubiriza byetaagisa bwe tuba ab’okufuuka abayigiriza b’Ekigambo kya Katonda abakugu, naye okufuba ng’okwo kuvaamu emiganyulo. Essanyu eriva mu kwekenneenya Ekigambo kya Katonda lijja kutuleetera okwakaayakana n’omwoyo gwa Katonda, nga twagala nnyo okubuulira abalala ebintu bye tuyiga.

18. Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zituyamba zitya okukozesa obulungi ekigambo ky’amazima?

18 Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo nazo zirina kinene kye zituyamba mu kukuguka okukozesa Ekigambo kya Katonda. Ebyawandiikibwa bwe bisomebwa mu mboozi za bonna era ne mu kukubaganya ebirowoozo okulala kwonna okwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, kibeera kirungi singa tugoberera mu Baibuli zaffe. Kiba kya magezi okussaayo omwoyo mu nkuŋŋaana, nga mw’otwalidde n’ebitundu ebyo ebikwata ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Tetubuusanga amaaso omugaso gw’ebyokulabirako, oboolyawo nga tukkiriza okuwugulibwa ebintu ebirala. Era, okwekubiriza n’okussaayo omwoyo byetaagisa. (1 Timoseewo 4:16) Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zizimba okukkiriza kwaffe, zituyamba okukulaakulanya okwegomba Ekigambo kya Katonda, era zitutendeka okwagala ennyo okulangirira amawulire amalungi.

Tuyinza Okwesiga Obuyambi bwa Yakuwa

19. Lwaki kikulu okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa?

19 Abakristaayo ‘abaakaayakana n’omwoyo’ era abaagala okubuulira amawulire amalungi bafuba okwenyigira mu buweereza obutayosa. (Abaefeso 5:15, 16) Kyo kituufu, embeera tezifaanagana, era bonna tebayinza kumala biseera bye bimu mu mulimu guno ogw’okuwonya obulamu. (Abaggalatiya 6:4, 5) Naye, oboolyawo ekisinga n’obukulu essaawa zonna awamu ze tumala mu mulimu gw’okubuulira gye mirundi gye tubuulira abalala ku ssuubi lyaffe. (2 Timoseewo 4:1, 2) Gye tukoma okubuulira, gye tukoma okusiima obukulu bw’omulimu guno. (Abaruumi 10:14, 15) Tujja kweyongera okusaasira n’okulumirirwa abalala bwe tuneeyongera okusisinkana abantu abeesimbu abassa ebikkowe n’abakaaba era n’abatalina ssuubi.​—Ezeekyeri 9:4; Abaruumi 8:22.

20, 21. (a) Mulimu ki ogukyali mu maaso? (b) Yakuwa awagira atya okufuba kwaffe?

20 Yakuwa atukwasizza amawulire amalungi. Guno gwe mulimu gwe twasooka okufuna okuva gy’ali nga “bakozi banne.” (1 Abakkolinso 3:6-9) Twagala nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno obwatuweebwa Katonda n’emmeme yaffe yonna, nga bwe tuba tusobodde. (Makko 12:30; Abaruumi 12:1) Ekyaliyo abantu bangi mu nsi abaagala obulamu obutaggwaawo era abalumwa enjala ey’amazima. Waliwo emirimu mingi egy’okukola, naye tuyinza okwesiga obuyambi bwa Yakuwa ng’eno bwe tutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu.​—2 Timoseewo 4:5.

21 Yakuwa atuwadde omwoyo gwe era ne “ekitala eky’omwoyo,” Ekigambo kya Katonda. Nga tulina obuyambi bwe tuyinza okwogera ‘n’obuvumu ekyama ky’amawulire amalungi.’ (Abaefeso 6:17-20) Ka naffe twogerweko ebyo omutume Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo b’omu Sessaloniika: “Kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu mwoyo omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.” (1 Abasessaloniika 1:5) Yee, Ka tubuulire amawulire amalungi n’omwoyo ogwagala!

Okwejjukanya mu Bufunze

• Olw’okweraliikirira eby’obulamu, kiki ekiyinza okutuuka ku bunyiikivu bwaffe mu buweereza?

• Mu ngeri ki okwegomba kwaffe okubuulira amawulire amalungi mwe kuyinza okuba nga “omuliro ogubuubuuka” mu mitima gyaffe?

• Ndowooza ki enkyamu mu buweereza ze tulina okwewala?

• Okutwalira awamu, twanditunuulidde tutya abo be tutali bumu mu nzikiriza?

• Yakuwa atuyamba atya okukuma obunyiikivu bwaffe mu mulimu gw’okubuulira?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]

Abakristaayo bakoppa obunyiikivu bwa Pawulo ne Yeremiya

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 24]

Ffe okwagala ennyo okwenyigira mu buweereza kisibuka mu kwagala kwe tulina eri Yakuwa ne baliraanwa baffe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share