LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 8/1 lup. 3-4
  • Ekitiibwa ky’Omuntu—Kitera Okutyoboolebwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekitiibwa ky’Omuntu—Kitera Okutyoboolebwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekitiibwa ky’Omuntu Kye Ki?
  • Gulumiza Yakuwa ng’Oyoleka Ekitiibwa Kye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okuweebwa Ekitiibwa—Kisoboka eri Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Kiki Kye Tuyigira ku Byambalo bya Bakabona?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Goberera Kristo nga Weeyisa mu Ngeri Eweesa Yakuwa Ekitiibwa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 8/1 lup. 3-4

Ekitiibwa ky’Omuntu​—Kitera Okutyoboolebwa

“Engeri gye twayisibwangamu mu nkambi yalaga nti ekitiibwa ky’omuntu kyali kityoboolebwa.”​—EBIGAMBO EBYO BYAYOGERWA, MAGDALENA KUSSEROW REUTER, EYAWONAWO MU NKAMBI Z’ABASAJJA BA HITLER.

WADDE abasajja ba Hitler baakola ebikolobero bya ntiisa nnyo mu nkambi y’abasibe mu Ssematalo II, eyo si ye yali entandikwa oba enkomerero y’okufeebya n’okutyoboola kw’ekitiibwa ky’omuntu. Ka tube nga twekenneenya ebyaliwo edda oba ebiriwo mu kiseera kino, kyeyoleka kaati nti, okumala ekiseera kiwanvu, “omuntu abadde afeebezebwa era nga n’ekitiibwa kye kityoboolebwa.”

Kyokka, okutyoboola ekitiibwa ky’omuntu tekikoma ku bikolwa eby’obukambwe n’ebikolobero ebikoleddwa ku muntu mu byafaayo byonna. Emirundi mingi abantu batyoboolebwa mu ngeri endala nnyingi. Lowooza ku mwana asekererwa olw’obulemu bw’alina ku mubiri gwe. Oba abo abasengukira mu nsi endala abasekererwa olw’empisa zaabwe ez’obuwangwa. Oba abantu abasosolwa olwa langi oba eggwanga lyabwe. Abakola ebyo bayinza okukitwala ng’eby’olusaago, naye abayisibwa mu ngeri eyo tebakitwala bwe batyo kubanga kibalumya era kibafeebya.​—Engero 26:18, 19.

Ekitiibwa ky’Omuntu Kye Ki?

Enkuluze emu ennyonnyola ekitiibwa ky’omuntu ‘ng’okutwalibwa ng’ow’omugaso, ow’omuwendo n’okuweebwa ekitiibwa.’ N’olwekyo, ekitiibwa ky’omuntu kizingiramu engeri gye twetwalamu n’engeri abalala gye batuyisaamu. Wadde nga waliwo ensonga ezitali zimu eziyinza okukwata ku ngeri gye twewuliramu, engeri abalala gye batutwalamu ne gye batuyisaamu erina kinene nnyo ky’etukolako mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.

Mu buli kitundu mulimu abaavu, abatalina mwasirizi, n’abatalina bukuumi. Kyokka, omuntu okubeera mu mbeera ng’eyo ku bwakyo si kye kimumalamu ekitiibwa. Engeri abalala gye bamutunuuliramu ne gye bamuyisaamu y’eyinza okumumalamu ekitiibwa. Eky’ennaku kiri nti, abantu abaali mu mbeera embi be batera obutaweebwa kitiibwa oba okunyoomebwa. Tutera okuwulira ng’abaavu, bannamukadde, abatabufu b’emitwe, n’abalina obulemu ku mubiri nga bayitibwa ‘abatalina mugaso,’ oba ‘abatagwanira’!

Lwaki abantu banyoomagana? Ekiseera kirituuka abantu bonna ne baba nga bassibwamu ekitiibwa? Ekitundu ekiddako kijja kutuwa eby’okuddamu ebimatiza okuva mu Kigambo kya Katonda, Baibuli.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share