LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 8/15 lup. 12-16
  • Gulumiza Yakuwa ng’Oyoleka Ekitiibwa Kye

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Gulumiza Yakuwa ng’Oyoleka Ekitiibwa Kye
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Tusobola Okwoleka Ekitiibwa kya Katonda?
  • Ekitiibwa kya Yakuwa n’Obukulu Bwe Byeyoleka
  • Ekitiibwa kya Katonda n’Obukulu Bwe Bitukwatako Bitya?
  • Yesu Yayoleka Ekitiibwa kya Katonda mu Bujjuvu
  • Okwoleka Ekitiibwa mu Kusinza
  • Weeyongere Okwoleka Ekitiibwa kya Katonda
  • Okuweebwa Ekitiibwa—Kisoboka eri Bonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Ekitiibwa ky’Omuntu—Kitera Okutyoboolebwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Obukulu bwa Yakuwa Tebunoonyezeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Kiki Kye Tuyigira ku Byambalo bya Bakabona?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 8/15 lup. 12-16

Gulumiza Yakuwa ng’Oyoleka Ekitiibwa Kye

‘Omulimu gwa Yakuwa gwa kitiibwa era gwa bukulu.’​—ZAB. 111:3.

1, 2. (a) Ekigambo “ekitiibwa” kitegeeza ki? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

BWE yabuuzibwa kye kitegeeza “okubaow’ekitiibwa,” Madison ow’emyaka ekkumi yaddamu nti, “Kwambala bulungi.” Omuwala oyo omuto ayinza okuba nga yali tamanyi nti mu Baibuli ayogera ku Katonda ‘ng’ayambadde ekitiibwa.’ (Zab. 104:1) Oluusi abantu bambala bulungi balage nti ba kitiibwa. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yakubiriza abakazi Abakristaayo ‘okweyonjanga mu byambalo ebisaana, n’okukwatibwanga ensonyi n’okwegendereza, si mu kulanganga nviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez’omuwendo omungi.’ (1 Tim. 2:9) Naye, okugulumiza Yakuwa ng’oyoleka ‘ekitiibwa kye n’obukulu bwe’ kisukkawo ku kwambala obulungi.​—Zab. 111:3.

2 Mu Baibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “ekitiibwa” era kisobola okuvvuunulwa “obukulu,” oba “obulungi.” Okusinziira ku nkuluze emu, ekigambo “ekitiibwa” “ye mbeera y’okubeera ng’osiimibwa abalala, ng’otenderezebwa oba ng’ogulumizibwa.” Era tewali n’omu agwanira kuweebwa kitiibwa kusinga Yakuwa. N’olwekyo, ffe ng’abaweereza be, tusaanidde okwoleka ekitiibwa kye mu bigambo byaffe ne mu bikolwa. Naye, lwaki abantu basobola okwoleka ekitiibwa kya Katonda? Ekitiibwa kya Yakuwa n’obukulu bwe byeyoleka bitya? Ekitiibwa kya Katonda kyandikukutteko kitya? Yesu Kristo atuyigiriza ki ku kwoleka ekitiibwa kya Katonda? Era tuyinza tutya okwoleka ekitiibwa kya Katonda?

Lwaki Tusobola Okwoleka Ekitiibwa kya Katonda?

3, 4. (a)  Tusaanidde kukola ki olw’ekitiibwa ekituweereddwa? (b) Zabbuli 8:​5-9 esonga ku ani? (Laba obugambo obuli wansi.) (c) Baani Yakuwa be yawa ekitiibwa mu biseera eby’edda?

3 Olw’okuba baakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, abantu bonna balina obusobozi bw’okwoleka ekitiibwa kye. Yakuwa yawa omuntu eyasooka ekitiibwa bwe yamuwa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira ensi. (Lub. 1:​26, 27) Omuntu ne bwe yali ng’amaze okwonoona n’afuuka atatuukiridde, Yakuwa yalaga nti omuntu akyalina obuvunaanyizibwa ku nsi. Bwe kityo, Katonda abantu ‘akyabassaako engule’ ng’abawa ekitiibwa. (Soma Zabbuli 8:​5-9.)a Olw’okuba Yakuwa atuwa ekitiibwa, naffe tulina okumuwa ekitiibwa nga tutendereza erinnya lye ekkulu.

4 Yakuwa naddala awadde abo abamuweereza ekitiibwa. Yakuwa yawa Abbeeri ekitiibwa bwe yakkiriza ekiweebwayo kye, ate n’agaana ekya Kayini. (Lub. 4:​4, 5) Musa yalagirwa ‘okwawuliza ku Yoswa ekitiibwa kye,’ ng’ono ye musajja eyali ow’okumuddira mu bigere ng’omukulembeze w’eggwanga lya Isiraeri. (Kubal. 27:​20, NW ) Ng’eyogera ku mutabani wa Dawudi Sulemaani, Baibuli egamba nti: “Mukama n’agulumiza nnyo Sulemaani mu maaso ga Isiraeri yenna n’amuwa ekitiibwa eky’obwakabaka ekitalabwanga ku kabaka yenna eyamusooka mu Isiraeri.” (1 Byom. 29:25) Katonda ajja kuwa ekitiibwa eky’enjawulo Abakristaayo abaafukibwako amafuta abalangiridde n’obwesigwa “ekitiibwa eky’obukulu bw’obwakabaka bwe.” (Zab. 145:​11-​13) Olw’okuba batendereza Yakuwa mu ngeri y’emu, abagoberezi ba Yesu ‘ab’endiga endala’ abeeyongera obungi enkya n’eggulo nabo bakola omulimu ogw’ekitiibwa.​—Yok. 10:16.

Ekitiibwa kya Yakuwa n’Obukulu Bwe Byeyoleka

5. Yakuwa wa kitiibwa kwenkana wa?

5 Ng’alaga nti Katonda ali waggulu nnyo ku bantu, omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ai [Yakuwa], Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu.” (Zab. 8:1) Okuva emirembe n’emirembe nga Katonda tannatonda ‘ggulu na nsi’ okutuusa emirembe n’emirembe, ng’amaze n’okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okufuula ensi olusuku lwe n’olulyo lw’omuntu okulufuula olutuukiridde, Yakuwa Katonda ye Muntu asingayo obukulu n’ekitiibwa mu butonde bwonna.​—Lub. 1:1; 1 Kol. 15:​24-​28; Kub. 21:​1-5.

6. Lwaki omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti Yakuwa ayambadde ekitiibwa?

6 Ng’omuwandiisi wa zabbuli ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yatunula ekiro n’alaba ekitiibwa ky’eggulu erijjudde emmunyeenye! Nga yeewuunya engeri Yakuwa gye ‘yatimba eggulu ng’eggigi,’ omuwandiisi wa zabbuli yamwogerako ng’ayambadde ekitiibwa olw’obusobozi Bwe obw’ekitalo. (Soma Zabbuli 104:​1, 2.) Ekitiibwa kya Katonda omuyinza w’ebintu byonna atalabika n’obukulu bwe byeyolekera mu bintu ebirabika bye yatonda.

7, 8. Ebitonde ebiri mu bwengula byoleka bitya ekitiibwa kya Yakuwa n’obukulu bwe?

7 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku kibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Milky Way. Mu kibinja kino ekinene ennyo, ensi eringa kaweke ka musenyu ku lubalama lw’ennyanja. Ekibinja ky’emmunyeenye kino kyokka kirimu emmunyeenye ezisukka mu buwumbi 100! Singa oba wa kubala emmunyeenye emu buli katikitiki emisana n’ekiro, kijja ku kutwalira emyaka egisoba mu 3,000 okuzibala zonna.

8 Oba ng’ekibinja ky’emmunyeenye ekyo kyokka kirimu emmunyeenye ezisoba mu buwumbi 100, olwo mu bwengula eyo waliyo emmunyeenye mmeka? Abekenneenya ebifa mu bwengula bateebereza nti ng’oggyeko ekibinja kino ekiyitibwa Milky Way, eriyo ebibinja by’emmunyeenye ebirala ebiri wakati w’obuwumbi 50 ne 125. Kati olwo emmunyeenye ziri mmeka mu bwengula? Omuwendo gwazo gusukkiridde okutegeera kwaffe. Kyokka, ye Yakuwa ‘abala omuwendo gw’emmunyeenye ezo era zonna azituuma amannya.’ (Zab. 147:4) Bw’omala okukiraba nti Yakuwa ayambadde ekitiibwa n’obukulu ebyenkanidde awo, tekikuleetera kutendereza linnya lye ekkulu?

9, 10. Omugaati gwoleka gutya nti Omutonzi waffe alina amagezi ga kitalo?

9 Kati amaaso gaffe ka tugaggye ku biri mu bwengula tugazze ku kintu ekya bulijjo ng’omugaati. Yakuwa ‘eyakola eggulu n’ensi,’ era ‘y’awa abalumwa enjala emmere.’ (Zab. 146:​6, 7) ‘Ekitiibwa kya Katonda n’obukulu bwe’ byeyolekera mu mirimu gye egy’ekitalo, nga mu gyo mwe muli n’ebimera omuva emmere. (Soma Zabbuli 111:​1-5.) Yesu yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Tuwe leero emmere yaffe eya leero.” (Mat. 6:​11) Edda, mu mawanga mangi nga mw’otwalidde ne Isiraeri, omugaati gwe gwalinga emmere enkulu. Wadde nga kyangu okufumba omugaati, engeri ­ebintu ­omugaati mwe gukolebwa gye byetabulatabula ne bivaamu ekintu ekiwooma bwe kityo, si nnyangu kutegeera.

10 Mu biseera bya Baibuli, Abaisiraeri baakozesanga obuwunga bw’eŋŋaano n’amazzi okufumba omugaati. Oluusi baateekangamu n’ekizimbulukusa. Ebintu bino birina engeri eyeewuunyisa gye bikwataganamu ne bivaamu omugaati. Naye engeri eyo tewali agitegeera bulungi. Ng’oggyeko ekyo, engeri omubiri gye gunyunyunta ekiriisa okuva mu mugaati omuntu gw’aba alidde nayo yeewuunyisa. Tekyewuunyisa nti omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi”! (Zab. 104:24) Naawe olina ebikuleetera okutendereza Yakuwa?

Ekitiibwa kya Katonda n’Obukulu Bwe Bitukwatako Bitya?

11, 12. Okufumiitiriza ku bintu Katonda bye yatonda kiyinza kutukwatako kitya?

11 Tekitwetaagisa kuba bannasayansi okwewuunya bye tulaba mu bwengula ekiro oba okumanya nti omugaati guwooma. Kyokka okusobola okutegeera obulungi obukulu bw’Omutonzi waffe, tulina okuwaayo ebiseera okufumiitiriza ku bintu bye yatonda. Okufumiitiriza okw’engeri eyo kutuganyula kutya? Kutuganyula mu ngeri y’emu nga bwe tuganyulwa bwe tufumiitiriza ku bintu ebirala Yakuwa bye yatonda.

12 Bwe yali ayogera ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakolera abantu Be, Dawudi yagamba nti: “Ku bukulu obw’ekitiibwa obw’ettendo lyo, ne ku mirimu gyo egy’ekitalo, kwe nnaalowoozanga.” (Zab. 145:5) Tulaga nti tufaayo ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakola nga tusoma Baibuli era ne tufumiitiriza ku bye tusoma. Kino kinaatuganyula kitya? Kijja kutuyamba okweyongera okutegeera ekitiibwa kya Katonda n’obukulu bwe. Awatali kubuusabuusa, tujja kuba nga Dawudi eyatendereza Yakuwa n’agamba nti: “N[n]aategezanga obukulu bwo.” (Zab. 145:6) Okufumiitiriza ku bintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakola kinyweza enkolagana yaffe naye era kituleetera okuba abamalirivu okubuulira abalala ebimukwatako. Oli munyiikivu mu kulangirira amawulire amalungi ne mu kuyamba abantu okutegeera ekitiibwa kya Yakuwa Katonda n’obukulu bwe?

Yesu Yayoleka Ekitiibwa kya Katonda mu Bujjuvu

13. (a) Okusinziira ku Danyeri 7:​13, 14, Yakuwa yawa ki Omwana we? (b) Nga Kabaka, Yesu ayisa atya abo b’afuga?

13 Yesu Kristo Omwana wa Katonda yabuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu, era yawa Kitaawe ow’omu ggulu ekitiibwa. Yakuwa yawa Omwana we eyazaalibwa omu yekka ekitiibwa eky’enjawulo bwe yamuwa ‘okufuga n’obwakabaka.’ (Soma Danyeri 7:​13, 14.) Naye Yesu si wa malala era teyeewulira. Mu kifo ky’ekyo, Mufuzi wa kisa, ategeera bulungi obunafu bw’abo b’afuga era abawa ekitiibwa ekibagwanira. Lowooza ku ngeri Yesu eyali alondeddwa okuba Kabaka gye yayisaamu abantu, naddala abo abaali bayisibwamu amaaso.

14. Abagenge baayisibwanga batya mu Isiraeri ey’edda?

14 Mu biseera by’edda, abalwadde b’ebigenge baabanga mu bulumi ate ng’obulwadde obwo bulwawo okubatta. Ebigenge byagendanga birya mpolampola ebitundu by’omubiri gw’omuntu. Okuwonya omuntu ebigenge kyali kizibu nnyo nga bw’olaba okuzuukiza omuntu. (Kubal. 12:12; 2 Bassek. 5:​7, 14) Abagenge tebaabanga balongoofu, tewali yali abaagala era tebakkirizibwanga kubeera mu bantu. Bwe baalengeranga omuntu, baalinanga okwogerera waggulu nti: “Siri mulongoofu, siri mulongoofu!” (Leev. 13:​43-​46) Omugenge kumpi yali atwalibwa ng’omuntu afudde. Ebiwandiiko by’abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya biraga nti omugenge yali takkirizibwa kusemberera Muyudaaya yenna kusukka ffuuti mukaaga. Kigambibwa nti omukulembeze w’eddiini omu bwe yalengera omugenge yamukasukira amayinja aleme kumusemberera.

15. Yesu yayisa atya omusajja omugenge?

15 Naye weetegereza Yesu kye yakola ng’omugenge azze gy’ali okumusaba amuwonye. (Soma Makko 1:​40-​42.) Mu kifo ky’okugoba obugobi omusajja ono, Yesu yamukwata mu ngeri ya kisa era yamuwa ekitiibwa. Yesu yakiraba ng’omusajja ono eyali mu nnaku yali yeetaaga obuyambi. Olw’okumukwatirwa ekisa, Yesu teyalonzalonza kumuyamba. Yagolola omukono gwe n’amukwatako n’amuwonya.

16. Kiki ky’oyize ku ngeri Yesu gye yayisaamu abalala?

16 Ng’abagoberezi ba Yesu, tuyinza tutya okoppa engeri Yesu gye yayolekamu ekitiibwa kya Kitaawe? Engeri emu gye tuyinza okukikola kwe kukitegeera nti abantu bonna​—ka babe ba wansi, balwadde, oba bato​—⁠bagwana okuweebwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:​17) Naddala abo abalina obuvunaanyizibwa ku balala, gamba ng’abaami, abazadde, n’abakadde mu bibiina, balina okussaamu ekitiibwa abo be batwala, n’okubayamba okuwulira nti ba mugaso. Ng’eraga nti Abakristaayo bonna balina okuwa abalala ekitiibwa, Baibuli egamba: “Mu kwagala kw’ab’oluganda mwagalanenga mwekka na mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne.”​—⁠Bar. 12:10.

Okwoleka Ekitiibwa mu Kusinza

17. Ebyawandiikibwa bituyigiriza ki ku kuwa Yakuwa ekitiibwa nga tumusinza?

17 Tusaanidde okuwa Yakuwa ekitiibwa naddala nga tumusinza. Omubuulizi 5:1 wagamba nti: “Okuumanga ekigere kyo bw’ogendanga mu nnyumba ya Katonda.” Musa ne Yoswa bombi baalagirwa okwambulamu engatto bwe baali mu kifo ekitukuvu. (Kuv. 3:5; Yos. 5:​15) Kino baakikola ng’akabonero akalaga okuwa ekitiibwa. Bakabona ba Isiraeri baalagirwa okwambalanga seruwale ­ez’olugoye “okubikka ku mubiri ogw’obwereere bwabwe.” (Kuv. 28:​42, 43) Kino kyabayambanga okwewala okukunama nga baweereza ku kyoto. Abantu b’omu maka ga bakabona bonna baalina okweyisanga mu ngeri eyoleka ekitiibwa kya Katonda.

18. Tuyinza tutya okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa nga tumusinza?

18 Bwe kityo, okugulumiza Yakuwa kizingiramu okumuwa ekitiibwa. Bwe tuba ab’okuweebwa ekitiibwa, naffe tulina okweyisa mu ngeri eyoleka ekitiibwa. Tulina okwegendereza okulaba nti ekitiibwa kye twoleka si kya ku ngulu. Kirina okuba nga kiviira ddala ku mutima, kubanga Katonda gw’atunuulira. (1 Sam. 16:7; Nge. 21:2) Engeri gye tulowoozaamu, gye tweyisaamu ne gye twetwalamu, wamu n’enkolagana yaffe n’abalala, byonna birina okwoleka ekitiibwa kya Katonda. Mu butuufu, tulina okwoleka ekitiibwa kya Katonda mu buli kimu kye twogera ne kye tukola ekiseera kyonna. Bwe kituuka ku ngeri gye tweyisaamu, gye twekolako, ne gye twambalamu, tusaanidde okulowooza ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Nga tetuleeta nkonge yonna mu kigambo kyonna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa; naye mu byonna nga twetendereza ng’abaweereza ba Katonda.” (2 Kol. 6:​3, 4) Bwe tukola tutyo tuba ‘tuyonja okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu byonna.’​—Tito 2:​10.

Weeyongere Okwoleka Ekitiibwa kya Katonda

19, 20. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tuwa abalala ekitiibwa? (b) Okusobola okwoleka ekitiibwa kya Katonda, tumaliridde kukola ki?

19 Abakristaayo abaafukibwako amafuta, “ababaka mu kifo kya Kristo,” booleka ekitiibwa kya Katonda. (2 Kol. 5:​20) Bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ nabo babaka ba kitiibwa ab’Obwakabaka bwa Masiya. Omubaka ayogerera gavumenti ye n’obuvumu mu ngeri ey’ekitiibwa. N’olwekyo, tusaanidde okuwagira gavumenti ya Katonda, Obwakabaka bwe, nga twogera n’obuvumu mu ngeri ey’ekitiibwa. (Bef. 6:​19, 20) Bwe tutwalira abalala amawulire amalungi ‘ag’ebintu ebirungi,’ tuba tetulaga nti tubawa ekitiibwa?​—Is. 52:7.

20 Tulina okuba abamalirivu okugulumiza Katonda nga tweyisa mu ngeri eyoleka ekitiibwa kye. (1 Peet. 2:​12) Ka bulijjo tumuwenga ekitiibwa, tumusinze mu ngeri ey’ekitiibwa, era tuwenga ne bakkiriza bannaffe ekitiibwa. Era ka tufube okulaba nti tugulumiza Yakuwa, oyo ayambadde ekitiibwa n’obukulu, nga tumusinza mu ngeri eyoleka ekitiibwa kye.

[Obugambo obuli wansi]

a Dawudi bye yayogera mu Zabbuli ey’omunaana bisonga ku Yesu Kristo ng’omuntu atuukiridde.​—⁠Beb. 2:​5-9.

Wandizzeemu Otya?

• Okutegeera obulungi ekitiibwa kya Yakuwa n’obukulu bwe kyanditukutteko kitya?

• Engeri Yesu gye yayisaamu omugenge ekuyigiriza ki ku kuwa abalala ekitiibwa?

• Tuyinza tutya okugulumiza Yakuwa nga twoleka ekitiibwa kye

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Yakuwa yawa atya Abbeeri ekitiibwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Omugaati gwoleka nti emirimu gya Yakuwa gya kitalo

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Engeri Yesu gye yayisaamu omugenge ekuyigiriza ki ku kuwa abalala ekitiibwa?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Okugulumiza Yakuwa kizingiramu okumuwa ekitiibwa nga tumusinza

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share