‘Bye Mwagala Mubitegeezenga Katonda’
“Mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.”—ABAFIRIPI 4:6.
1. Tulina nkizo ya kwogera n’ani, era lwaki kyewuunyisa?
SINGA osaba okwogerako n’omukulembeze w’ensi yo, olowooza bandikuzeemu batya? Ab’omu ofiisi ye bayinza okukuddamu mu ngeri ey’eggonjebwa, naye kiba kizibu nnyo okukukkiriza okwogera naye. Kyokka, ekyo si bwe kiri eri Omufuzi w’Obutonde Bwonna, Yakuwa Katonda. Tusobola okumutuukirira mu kusaba ekiseera kyonna ka tube nga tuli mu kifo ki. Awuliriza essaala z’asiima. (Engero 15:29) Ekyo nga kirungi nnyo! Ekyo tekyanditukubirizza okusabanga obutayosa Oyo “Awulira okusaba”?—Zabbuli 65:2.
2. Kiki ekyetaagisa Katonda okusobola okukkiriza okusaba kwaffe?
2 Kyokka abamu bayinza okubuuza nti, ‘Kusaba ki Katonda kw’akkiriza?’ Baibuli ennyonnyola ekintu kimu ekyetaagisa okusaba kwaffe okusobola okukkirizibwa. Egamba nti: “Awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6) Nga bwe kinnyonnyoddwa mu kitundu ekivuddeko, ekintu ekikulu ennyo ekyetaagisa okusobola okutuukirira Katonda kwe kukkiriza. Katonda mwetegefu okukkiriza okusaba kw’abo abamutuukirira, naye bateekwa okuba n’okukkiriza era nga booleka ebikolwa ebirungi, nga beesimbu era nga balina omutima omulungi.
3. (a) Nga bwe kirabikira mu kusaba kw’abaweereza ba Katonda abeesigwa ab’edda, biki bye tuyinza okuteeka mu kusaba kwaffe? (b) Okusaba kwaffe kuyinza kuba kwa ngeri ki?
3 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ab’omu kiseera kye nti: “Temweraliikiriranga kigambo kyonna kyonna; naye mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.” (Abafiripi 4:6, 7) Baibuli erimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaatuukirira Katonda mu kusaba ne bamutegeeza ebizibu byabwe. Mu bo mwe muli Kaana, Eriya, Keezeekiya, ne Danyeri. (1 Samwiri 2:1-10; 1 Bassekabaka 18:36, 37; 2 Bassekabaka 19:15-19; Danyeri 9:3-21) Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kyabwe. Ate era, kyetegereze nti ebigambo bya Pawulo biraga nti okusaba kwaffe kwa ngeri nnyingi. Yayogera ku kwebaza, kwe kugamba, okusaba mwe tulagira okusiima kwaffe olw’ebyo Katonda by’atukoledde. Okusaba kuno kuyinza okubaamu okutendereza. Ate era, eriyo n’okwegayirira. Era tuyinza n’okutegeeza Katonda kye twetaaga. (Lukka 11:2, 3) Kitaffe ow’omu ggulu asanyuka bwe tumutuukirira nga tukozesa emu ku ngeri ezo ez’okusaba ezoogeddwako.
4. Wadde nga Yakuwa amanyi bye twetaaga, lwaki tulina okumutuukirira mu kusaba?
4 Abamu bayinza okubuuza nti, ‘Yakuwa aba tamanyi byonna bye twetaaga?’ Aba abimanyi. (Matayo 6:8, 32) Kati olwo lwaki ayagala tumutuukirire mu kusaba? Lowooza ku kyokulabirako kino: Nnannyini dduuka ayinza okuwa ekirabo abamu ku abo abamugulako ebintu. Kyokka, okusobola okufuna ekirabo ekyo, abo abamugulako ebintu baba balina okugenda ne bakinona. Abo ababa tebagenze kukinona, baba balaga nti tebasiimye kirabo ekyo. Mu ngeri y’emu, bwe tutategeeza Yakuwa bye twagala mu kusaba kwaffe tuba tulaga nti tetusiima by’atuwa. Yesu yagamba: “Musabe, muliweebwa.” (Yokaana 16:24) Bwe tusaba, tuba tulaga nti twesiga Katonda.
Twandituukiridde Tutya Katonda?
5. Lwaki twetaaga okusaba mu linnya lya Yesu?
5 Yakuwa tatuteerawo lukunkumuli lw’amateeka ku ngeri y’okusabamu. Wadde kiri kityo, twetaaga okuyiga okumutuukirira mu ngeri entuufu eyogerwako mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu yayigiriza abagoberezi be nti: ‘Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.’ (Yokaana 16:23) N’olwekyo, twetaaga okusaba mu linnya lya Yesu, nga tukitegeera nti Yesu gwe mukutu gwokka Katonda gw’ayitiramu okuwa abantu emikisa.
6. Bwe tuba tusaba, tulina engeri yonna ey’enjawulo gye tulina okubaamu?
6 Waliwo engeri yonna ey’enjawulo gye tulina okubaamu nga tusaba? Tewaliwo ngeri yonna ya njawulo eyogerwako mu Baibuli gye tulina kubaamu okusaba kwaffe okusobola okuwulirwa. (1 Bassekabaka 8:22; Nekkemiya 8:6; Makko 11:25; Lukka 22:41) Ekikulu kwe kusaba Katonda mu bwesimbu era nga tulina omutima omulungi.—Yoweeri 2:12, 13.
7. (a) Ekigambo “amiina” kirina makulu ki? (b) Kikozesebwa kitya mu ngeri esaanira mu kusaba?
7 Ate kiri kitya ku kukozesa ekigambo “amiina”? Ebyawandiikibwa biraga nti kisaanira okukozesa ekigambo ekyo nga tufundikira okusaba, naddala nga tusaba mu lujjudde. (Zabbuli 72:19; 89:52) Ekigambo ky’Olwebbulaniya, ʼa·menʹ , kitegeeza nti “mazima ddala.” Ekitabo kya John McClintock ne James Strong ekiyitibwa Cyclopedia of Biblical, Theological, and Ecclesiastical Literature, kinnyonnyola nti, okugamba nti “Amiina” ku nkomerero y’okusaba kiba “kiraga nti okkiriziganyizza n’ebyo ebiba byogeddwa, era nti oyagala bituukirire.” Bwe kityo, oyo aba asaba bw’afundikira n’ekigambo “Amiina,” aba alaga nti asabye mu bwesimbu. Omukristaayo akiikirira ekibiina mu kusaba bw’afundikira okusaba n’ekigambo ekyo, abamuwuliriza nabo bayinza okugamba nti “Amiina” mu mutima gwabwe oba mu ddoboozi eriwulikika okulaga nti bakkiriziganya n’ebyo ebiva okwogerwa.—1 Abakkolinso 14:16.
8. Okumu ku kusaba kwaffe kuyinza kutya okufaanana okwa Yakobo oba Ibulayimu, era bwe tukola ekyo tuba twoleka ki?
8 Wabaawo ebiseera Katonda lw’atuleka okwoleka nti tukwatibwako nnyo ebyo bye tuba tumusaba. Kiyinza okutwetaagisa okubeera nga Yakobo ow’edda, eyameggana ne malayika ekiro kyonna asobole okufuna omukisa. (Olubereberye 32:24-26) Oba embeera ezimu ziyinza okutwetaagisa okubeera nga Ibulayimu, eyeegayirira Yakuwa enfunda n’enfunda ku lwa Lutti n’abantu abalala abatuukirivu be yalowooza nti bayinza okubeera mu Sodomu. (Olubereberye 18:22-33) Mu ngeri y’emu, naffe tuyinza okwegayirira Yakuwa ku bintu bye tutwala ng’eby’omuwendo, ekyo nga tukikola kubanga tumanyi nti mwenkanya, musaasizi era wa kisa.
Biki bye Tuyinza Okusaba?
9. Kiki kye twanditutte ng’ekikulu nga tusaba?
9 Jjukira, Pawulo yagamba nti: ‘Mu kigambo kyonna bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.’ (Abafiripi 4:6) Bwe kityo, okusaba kwa buli muntu kinnoomu kuyinza okukwata ku buli mbeera yonna ey’obulamu. Kyokka, twandibadde tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala. Danyeri yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno. Abaisiraeri bwe baabonerezebwa olw’ebibi bye baakola, Danyeri yeegayirira Yakuwa okubalaga ekisa ng’agamba, ‘Tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, ku lw’erinnya lyo.’ (Danyeri 9:15-19) Naffe tulaga mu kusaba kwaffe nti kye tutwala ng’ekikulu kwe kutukuza erinnya lya Yakuwa n’okutuukirizibwa kw’ebyo by’ayagala?
10. Tumanya tutya nti kisaanira okusaba ku nsonga ezitukwatako kinnoomu?
10 Wadde kiri kityo, kiba kituukirawo n’okusaba ebyo ebitukwatako ffe kennyini. Ng’ekyokulabirako, okufaananako omuwandiisi wa zabbuli, tuyinza okusaba tusobole okutegeera ebintu eby’omunda ebikwata ku Katonda. Yasaba bw’ati: “Ompe amagezi, nange neekuumanga amateeka go; weewaawo naagakwatanga n’omutima gwange gwonna.” (Zabbuli 119:33, 34; Abakkolosaayi 1:9, 10) Yesu “yawaayo okwegayirira n’okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa.” (Abaebbulaniya 5:7) Mu kukola ekyo, yalaga nti kisaanira okusaba okusobola okuweebwa amaanyi ng’oyolekaganye n’ebizibu. Bwe yayigiriza abayigirizibwa be essaala ey’okulabirako, Yesu yazingiramu n’ensonga ezikwata ku bantu kinnoomu, gamba ng’okusonyiwa ebibi n’okufuna eby’okulya buli lunaku.
11. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba obutagwa mu bikemo?
11 Mu ssaala eyo ey’okulabirako, Yesu era yagamba nti: “Totutwala mu kukemebwa, naye tulokole eri omubi.” (Matayo 6:9-13) Oluvannyuma yababuulirira bw’ati: “Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.” (Matayo 26:41) Kikulu nnyo okusaba bwe tuba tukemebwa. Tuyinza okukemebwa okusuula omuguluka emisingi gya Baibuli nga tuli ku mulimu oba ku ssomero. Abantu abatali Bajulirwa bayinza okutuyita okubeegattako okukola ebintu Abakristaayo bye batalina kukola. Tuyinza okugambibwa okukola ekintu ekikontana n’emisingi egy’obutuukirivu. Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okugoberera okubuulirira kwa Yesu okukwata ku kusaba—nga tetunnakemebwa oba nga twolekaganye n’ekikemo—nga tusaba Katonda atuyambe tuleme kugwa mu kikemo.
12. Bintu ki ebitweraliikiriza ebituleetera okusaba, era kiki kye tuyinza okusuubira okuva eri Yakuwa?
12 Abaweereza ba Katonda leero banyigirizibwa mu ngeri nnyingi era balina n’ebintu ebirala bingi ebibeeraliikiriza. Obulwadde n’enneewulira ezimalamu amaanyi bireetera bangi okweraliikirira. Embeera embi ezitwetoolodde zikalubya obulamu. Ebizibu by’eby’enfuna bikifuula kizibu okweyimirizaawo. Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yakuwa awuliriza abaweereza be abamutegeeza ebizibu ng’ebyo mu kusaba! Zabbuli 102:17 eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Alowoozezza okusaba kw’abo abafiiriddwa, so tanyoomye kusaba kwabwe.”
13. (a) Bintu ki ebitukwatako bye twandibadde tuteeka mu kusaba kwaffe? (b) Waayo ekyokulabirako ekikwata ku kusaba okw’engeri ng’eyo.
13 Mu butuufu, ensonga yonna ekwata ku buweereza bwaffe oba ku nkolagana yaffe ne Yakuwa tuyinza okugyogerako mu kusaba kwaffe. (1 Yokaana 5:14) Bw’oba oyagala okusalawo ebikwata ku bufumbo oba ku mirimu gy’onookola oba ku kugaziya obuweereza bwo, tolonzalonza kusaba Yakuwa kukuwa bulagirizi. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu mu Philippines yayagala okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Kyokka, teyalina mulimu ogumuyamba okweyimirizaawo. Agamba bw’ati: “Olw’omukaaga olumu, nnasaba Yakuwa ku bikwata ku kuweereza nga payoniya. Oluvannyuma ku lunaku olwo lwennyini, bwe nnali mbuulira, nnawa omutiini akatabo. Nga sikisuubira, omuwala oyo yaŋŋamba: ‘Ku Bbalaza ku makya sooka ogende ku ssomero gye nsomera.’ Nnamubuuza, ‘Lwaki?’ Yaŋŋamba nti beetaagayo omukozi amangu ddala nga bwe kisoboka. Nnagenda ku ssomero eryo era amangu ago baampa omulimu. Ebyo byonna byabaawo mangu nnyo.” Abajulirwa bangi okwetooloola ensi ekintu ekifaananako ekyo kyali kibatuuseeko. N’olw’ekyo, tolonzalonza kutegeeza Katonda ebikuli ku mutima ng’oyitira mu kusaba!
Kiba Kitya nga Tukoze Ekibi?
14, 15. (a) Lwaki omuntu teyanditidde kusaba wadde ng’ayonoonye? (b) Ng’oggyeko omuntu okwesabira ye kennyini, kiki ekirala ekijja okuyamba omuntu oyo okuddamu amaanyi?
14 Okusaba kuyinza kutya okuyamba omuntu akoze ekibi? Olw’okuwulira ensonyi, abamu ababa bakoze ekibi batya okusaba. Kyokka, ekyo tekiba kya magezi. Okuwaayo ekyokulabirako: Abagoba b’ennyonyi bakimanyi nti bwe babula, bayinza okutegeeza abo abakola ku ntambula y’ennyonyi ne bafuna obuyambi. Watya singa omugoba w’ennyonyi, olw’okutya okuswala tategeeza abakola ku ntambula y’ennyonyi nti abuze? Ekyo kiyinza okuvaamu akabi ak’amaanyi! Mu ngeri y’emu, omuntu akoze ekibi singa tatuukirira Katonda mu kusaba olw’okutya okuswala, embeera ye eyinza okwongera okwonooneka. Okutya okuswala olw’ekibi ekikoleddwa tekyandiremesezza muntu kutuukirira Yakuwa mu kusaba. Mu butuufu, Katonda ayagala abantu abakoze ekibi eky’amaanyi okumutuukirira mu kusaba. Nnabbi Isaaya yakubiriza aboonoonyi mu kiseera kye okutuukirira Yakuwa mu kusaba, ‘kubanga asonyiyira ddala nnyo.’ (Isaaya 55:6, 7) Kya lwatu, omuntu ayinza okwetaaga ‘okusaba ekisa kya Yakuwa’ nga yeewombeeka, n’alekayo ekibi era ne yeenenya mu bwesimbu.—Zabbuli 119:58; Danyeri 9:13.
15 Bwe wabaawo ekibi ekiba kikoleddwa, kiba kikulu okusaba olw’ensonga endala. Omuyigirizwa Yakobo ayogera bw’ati ku muntu eyeetaaga obuyambi bw’eby’omwoyo: “[A]yitenga abakadde b’ekkanisa; bamusabirenga, . . . [Yakuwa] alimuyimusa.” (Yakobo 5:14, 15) Yee, omuntu asaanidde okutegeeza Yakuwa ebibi bye mu kusaba, naye era ayinza n’okusaba abakadde okumusabira. Ekyo kijja kumuyamba okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.
Okuddamu Okusaba
16, 17. (a) Yakuwa addamu atya okusaba? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti okusaba kulina akakwate n’okubuulira?
16 Okusaba kuddibwamu kutya? Okumu kuddibwamu mangu era ng’omuntu asobola okukimanya nti kuddiddwamu. (2 Bassekabaka 20:1-6) Okumu kuyinza okulwawo okuddibwamu era kiyinza okuba ekizibu okutegeera engeri gye kuddiddwamu. Nga bwe kiragibwa mu kyokulabirako kya Yesu ekikwata ku nnamwandu eyeetayiriranga omulamuzi, kiyinza okwetaagisa okusaba Katonda enfunda n’enfunda. (Lukka 18:1-8) Kyokka, tusobola okuba abakakafu nti bwe tusaba nga Katonda bw’ayagala, tayinza kutugamba nti: “Tonteganya.”—Lukka 11:5-9.
17 Emirundi mingi, okusaba kw’abantu ba Yakuwa kuddibwamu. Kino kyeyolese mu buweereza bwaffe obwa lukale. Ng’ekyokulabirako, bannyinnaffe babiri mu Philippines baali bagaba ebitabo mu kifo ekyesudde mu nsi yaabwe. Bwe baawa omukyala omu tulakiti, yajja ebiyengeyenge mu maaso. Yagamba: “Ekiro nnasabye Katonda okunsindikira omuntu okunjigiriza Baibuli era ndowooza okusaba kwange kuddiddwamu.” Oluvannyuma lw’akaseera katono, omukyala oyo yatandika okugenda mu nkuŋŋaana ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Mu kitundu ekirala eky’omu Buvanjuba bwa Bukiika Ddyo wa Asiya, ow’oluganda omu yali atya okubuulira ku kizimbe ekimu ekikuumibwa ennyo. Kyokka, yasaba Yakuwa n’afuna obuvumu era n’ayingira mu kizimbe ekyo. Yakonkona ku luggi era omukyala n’aggulawo. Ow’oluganda bwe yamunnyonnyola ensonga emuleese, omukyala oyo yatandika okukaaba. Yagamba nti abadde anoonya Abajulirwa ba Yakuwa era nti abadde asaba Katonda amuyambe asobole okubazuula. Ow’oluganda yamuyamba okuzuula ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa ekyali mu kitundu kye.
18. (a) Okusaba kwaffe bwe kuddibwamu, kiki kye twandikoze? (b) Tuba bakakafu ku ki singa tukozesa buli kakisa ke tufuna okusaba?
18 Okusaba nkizo ya muwendo. Yakuwa mwetegefu okuwulira era n’okuddamu okusaba kwaffe. (Isaaya 30:18, 19) Kyokka, tulina okwetegereza engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwaffe. Ayinza obutatuddamu mu ngeri gye tusuubira. Wadde kiri kityo, bwe tutegeera nti atuzzeemu, tetwerabira kumwebaza n’okumutendereza. (1 Abasessaloniika 5:18) Ate era, bulijjo jjukiranga okubuulirira kw’omutume Pawulo okugamba nti: “Mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda.” Yee, kozesa buli kakisa k’ofuna okwogera ne Katonda. Mu ngeri eyo, ojja kweyongera okulaba obutuufu bw’ebyo Pawulo bye yayogera ebikwata ku abo abaddibwamu okusaba kwabwe, bwe yagamba nti: “N’emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonna, ginaabakuumanga emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe.”—Abafiripi 4:6, 7.
Osobola Okuddamu?
• Okusaba kwaffe kuyinza kuba kwa ngeri ki?
• Twandisabye tutya?
• Biki bye twanditadde mu kusaba kwaffe?
• Okusaba kuyinza kutya okuyamba omuntu ayonoonye?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 29]
Okusaba okuviira ddala ku mutima kutuyamba obutagwa mu bikemo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Okuyitira mu kusaba, tuyinza okwebaza Katonda, okumutegeeza ebitweraliikiriza, n’okumwegayirira