LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w09 11/15 lup. 3-7
  • Essaala Zo Ziraga Ki ku Nkolagana Yo ne Yakuwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Essaala Zo Ziraga Ki ku Nkolagana Yo ne Yakuwa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ba Mwetoowaze ng’Osaba Yakuwa
  • Weegayirire Katonda era Mwebaze
  • Sabira Abalala
  • Ebirala Essaala Zaffe Bye Ziraga
  • Okukiikirira Abalala mu Kusaba
  • Tuyinza Kwogera Ki nga Tusaba?
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Enkizo ey’Okusaba
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • ‘Bye Mwagala Mubitegeezenga Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Okusaba Kukuyamba Okusemberera Katonda
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
w09 11/15 lup. 3-7

Essaala Zo Ziraga Ki ku Nkolagana Yo ne Yakuwa?

“Ai ggwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli.”​—ZAB. 65:2.

1, 2. Lwaki abaweereza ba Yakuwa tebasaanidde kulonzalonza kumusaba?

YAKUWA tayinza kugaana kuwuliriza kusaba kw’abaweereza be abeesigwa. Tuli bakakafu nti awuliriza essaala zaffe. Abajulirwa ba Yakuwa ne bwe baba bangi batya bonna ne basaba mu kiseera kye kimu, Katonda asobola okubawuliriza.

2 Nga mukakafu nti Katonda yali awulira okusaba kwe, omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Ai gwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli.” (Zab. 65:2) Okusaba kwa Dawudi kwaddibwangamu olw’okuba yali aweereza Yakuwa n’obwesigwa. Naffe tusaanidde okwebuuza: ‘Essaala zange ziraga nti nneesiga Yakuwa era nti okusinza okulongoofu nkutwala ng’ekintu ekikulu? Essaala zange ziraga ki ku nkolagana yange ne Yakuwa?’

Ba Mwetoowaze ng’Osaba Yakuwa

3, 4. (a) Tusaanidde kwoleka ki nga tusaba Katonda? (b) Tusaanidde kukola ki bwe tuba tutawaanyizibwa mu ‘birowoozo’ olw’ekibi eky’amaanyi kye twakola?

3 Bwe tuba twagala Katonda okuddamu essaala zaffe tulina okuba abeetoowaze nga tumusaba. (Zab. 138:6) Tusaanidde okusaba nga Dawudi eyagamba Yakuwa nti: “Onkebere, ai Katonda, omanye omutima gwange: onkeme, omanye ebirowoozo byange: olabe oba ng’ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze, era onnuŋŋamyanga mu kkubo eritakoma.” (Zab. 139:23, 24) Ng’oggyeko okusaba Katonda, tusaanidde okumukkiriza atukebere n’okukolera ku kubuulirira okuli mu Kigambo kye. Yakuwa asobola okutukulembera mu “kkubo eritakoma” ng’atuyamba okunywerera ku kkubo eritutuusa mu bulamu obutaggwawo.

4 Ate kiba kitya singa tuba tutawaanyizibwa mu ‘birowoozo’ olw’ekibi eky’amaanyi kye twakola? (Soma Zabbuli 32:1-5.) Ng’omuti bwe guwotoka nga gwokeddwa nnyo omusana, naffe tuwotoka ng’omuntu waffe ow’omunda atulumiriza olw’ekibi kye tuba tusirikidde. Ekibi Dawudi kye yakola kyamuleetera okubulwa essanyu, era ayinza n’okuba nga yalwala. Naye nga yafuna obuweerero bwa maanyi bwe yeenenyeza Katonda! Lowooza ku ssanyu Dawudi lye yafuna bwe yamanya nti Yakuwa ‘amusonyiye ekyonoono kye.’ Omuntu bw’aba akoze ekibi ne yeenenya afuna obuweerero, era okuyambibwa abakadde kimusobozesa okuddamu amaanyi mu by’omwoyo.​—Nge. 28:13; Yak. 5:13-16.

Weegayirire Katonda era Mwebaze

5. Tusaanidde kukola ki nga tulina ebitweraliikiriza?

5 Bwe tuba n’ekitweraliikiriza, tusaanidde okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo kuno: “Temweraliikiriranga kintu kyonna, naye mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” (Baf. 4:6) Tusaanidde okwegayirira Yakuwa okutuyamba n’okutuwa obulagirizi, naddala nga tuyigganyizibwa oba nga tuli mu kabi.

6, 7. Lwaki tusaanidde okwebaza Katonda nga tusaba?

6 Naye singa lwe tuba ne kye twetaaga lwokka lwe tusaba Yakuwa, ekyo kiba kiraga ki ku nkolagana yaffe naye? Pawulo yagamba nti tusaanidde okutegeeza Katonda bye twetaaga ‘n’okumwebaza.’ Ensonga nnyingi ezituleetera okukkiriziganya n’ebigambo bya Dawudi bino: “Obukulu bubwo n’amaanyi n’ekitiibwa n’okuwangula n’okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi (bibyo); obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna. . . . Katonda waffe, tukwebaza ne tutendereza erinnya lyo ery’ekitiibwa.”​—1 Byom. 29:11-13.

7 Yesu yeebaza Katonda olw’emmere gye yawa abantu, n’olw’omugaati ne nvinnyo ebyakozesebwa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe. (Mat. 15:36; Luk. 22:18, 19) Ng’oggyeko okwebaza Yakuwa olw’ebintu ng’ebyo, tusaanidde ‘okumwebaza’ “olw’eby’amagero bye eri abaana b’abantu,” ‘olw’emisango gye egy’ensonga,’ n’olw’ekigambo kye, oba obubaka obuli mu Baibuli.​—Zab. 107:15; 119:62, 105.

Sabira Abalala

8, 9. Lwaki tusaanidde okusabira Bakristaayo bannaffe?

8 Kya lwatu nti twesabira, naye era tusaanidde okusabira n’abalala, omuli ne Bakristaayo bannaffe be tutamanyi. Wadde ng’abakkiriza abamu abaali mu Kkolosaayi Pawulo yali tabamanyi, yawandiika nti: “Bulijjo twebaza Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo nga tubasabira, okuva lwe twawulira ku kukkiriza kwammwe mu Kristo Yesu n’okwagala kwe mulina eri abatukuvu bonna.” (Bak. 1:3, 4) Pawulo era yasabira Abakristaayo b’omu Ssessaloniika. (2 Bas. 1:11, 12) Essaala ng’ezo ziraga enkolagana yaffe ne Yakuwa w’eyimiridde n’engeri gye tutwalamu bakkiriza bannaffe.

9 Bwe tusabira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne bannaabwe ‘ab’endiga endala,’ kiba kiraga nti tulumirirwa ekibiina kya Katonda. (Yok. 10:16) Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne okumusabira ‘aweebwe obusobozi bw’okwogera asobole okubuulira n’obuvumu ng’amanyisa ekyama ekitukuvu eky’amawulire amalungi.’ (Bef. 6:17-20) Naawe ofuba okusabira Bakristaayo banno?

10. Tukwatibwako tutya bwe tusabira abalala?

10 Okusabira abalala kiyinza okutuleetera okukyusa engeri gye tubatunuuliramu. Omuntu ne bw’oba tomwagala, bw’oba otera okumusabira kiba kizibu nnyo okumuyisa obubi. (1 Yok. 4:20, 21) Essaala ng’ezo zizimba era ziyamba mu kuleetawo obumu mu b’oluganda. Essaala ezo era ziraga nti tulina okwagala ng’okwa Kristo. (Yok. 13:34, 35) Okwagala kuno kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Naawe osaba Yakuwa okukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okwoleka ekibala kyagwo​—okwagala, essanyu, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga? (Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23) Bwe kiba kityo, bye twogera ne bye tukola bijja kulaga nti tukulemberwa omwoyo omutukuvu.​—Soma Abaggalatiya 5:16, 25.

11. Lwaki kirungi okugamba abalala okutusabira?

11 Bwe tumanya nti abaana baffe basikirizibwa okubba ebigezo ku ssomero, tulina okubasabira n’okukozesa Ebyawandiikibwa okubayamba basobole okuba abeesigwa era beewale okukola ekikyamu. Pawulo yagamba Abakristaayo b’omu Kkolinso nti: “Tusaba Katonda muleme kukola kikyamu kyonna.” (2 Kol. 13:7) Essaala ng’ezo zisanyusa Yakuwa era ziraga nti tuli bantu balungi. (Soma Engero 15:8.) Tuyinza n’okugamba abalala okutusabira nga Pawulo bwe yakola. Yawandiika nti: “Mutusabirenga kubanga tuli bakakafu nti tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, kubanga twagala okubeera abeesigwa mu bintu byonna.”​—Beb. 13:18.

Ebirala Essaala Zaffe Bye Ziraga

12. Bintu ki ebikulu ebirina okuba mu ssaala zaffe?

12 Essaala zaffe ziraga nti tuli baweereza ba Yakuwa abasanyufu era abanyiikivu? Essaala zaffe ziraga nti tufaayo ku kukola Katonda by’ayagala, ku kubuulira obubaka bw’Obwakabaka, ku kulaga nti Yakuwa y’asaanidde okufuga obutonde bwonna, ne ku kutukuzibwa kw’erinnya lye? Essaala ya Yesu ey’okulabirako eraga nti ebyo bintu bikulu era birina okuba mu ssaala zaffe. Etandika bw’eti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”​—Mat. 6:9, 10.

13, 14. Bye twogera nga tusaba biraga ki?

13 Essaala zaffe ziraga ebigendererwa byaffe n’ebintu bye tutwala ng’ebikulu mu bulamu. Yakuwa amanyi kye tuli munda. Engero 17:3 wagamba nti: “Entamu erongoosa eba ya ffeeza, n’ekikoomi kya zaabu: naye Mukama ye akema emitima.” Yee, Katonda alaba ekiri mu mitima gyaffe. (1 Sam. 16:7) Amanyi engeri gye tutwalamu enkuŋŋaana zaffe, obuweereza bwaffe, n’ab’oluganda. Yakuwa amanyi bye tulowooza ku “baganda” ba Kristo. (Mat. 25:40) Amanyi obanga bye tusaba ddala tuba tubyagala oba tuba tubyogera kutuusa mukolo. Yesu yagamba nti: “Bwe mubanga musaba, temuddiŋŋananga bigambo ng’ab’amawanga bwe bakola, kubanga balowooza nti bajja kuwulirwa olw’okwogera ebigambo ebingi.”​—Mat. 6:7.

14 Bye twogera nga tusaba era biraga obanga twesiga Katonda. Dawudi yagamba nti: ‘Yakuwa wali kiddukiro gye ndi, ekigo eky’amaanyi mu maaso g’omulabe. Nnaatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Nneeyunanga ekisiikirize eky’ebiwaawaatiro byo.’ (Zab. 61:3, 4) Katonda ‘bw’atubikkako weema ye’ mu ngeri ey’akabonero, tuba n’obukuumi bwe. (Kub. 7:15) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okusemberera Yakuwa nga tuyitira mu kusaba, nga tuli bakakafu nti aba ‘ku luuyi lwaffe’ nga tugezesebwa!​—Soma Zabbuli 118:5-9.

15, 16. Bwe tuba twagala okufuna enkizo z’obuweereza, okusaba kuyinza kutuyamba kulaba ki?

15 Okusaba Yakuwa mu bwesimbu ne tumutegeeza bye twagala kituyamba okulaba obanga ddala bye tusaba bisaanira. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala enkizo ey’okutwala obukulembeze mu bantu ba Katonda, ekiruubirirwa kyaffe kya kukulaakulanya mulimu gwa Bwakabaka oba kufuna “kifo ekisooka,” oboolyawo ‘tukajjale’ ne ku balala? Abantu ba Yakuwa tebasaanidde kuba na biruubirirwa bikyamu. (Soma 3 Yokaana 9, 10; Lukka 22:24-27.) Bwe tuba n’ebiruubirirwa ebikyamu, okusaba Yakuwa Katonda mu bwesimbu kijja kutuyamba okubiraba n’okweggyamu endowooza embi nga tennasimba makanda.

16 Abakyala Abakristaayo bayinza okwagala babbaabwe bafuuke abaweereza oba abakadde mu kibiina. Kino bannyinaffe abo bayinza okuba nga bakiteeka ne mu ssaala zaabwe era nga bafuba okweyisa obulungi. Kiba kirungi bwe bakola batyo kubanga engeri ab’omu kibiina gye batunuuliramu ow’oluganda esinziira nnyo ku njogera ne ku nneeyisa y’ab’omu maka ge.

Okukiikirira Abalala mu Kusaba

17. Lwaki kirungi okusaba nga tuli mu kifo awatali bantu?

17 Emirundi mingi Yesu yavanga awali abantu asobole okusaba Kitaawe ng’ali yekka. (Mat. 14:13; Luk. 5:16; 6:12) Kino naffe twetaaga okukikola. Bwe tusaba nga tuli awantu awasirifu, kitwanguyira okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa era etuganyula mu by’omwoyo. Kyokka Yesu yasabanga ne mu lujjudde, era naffe twetaaga okumanya engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

18. Bintu ki ab’oluganda bye balina okujjukira nga bakiikiridde abalala mu kusaba?

18 Mu nkuŋŋaana zaffe, abasajja abeesigwa bakiikirira ab’omu kibiina mu kusaba. (1 Tim. 2:8) Ku nkomerero y’essaala ng’eyo, bakkiriza bannaffe balina okuba nga basobola okugamba nti “amiina,” ekitegeeza nti “kibe bwe kityo.” Naye okusobola okukikola, balina okuba nga bakkiriziganya n’ebyo asabye by’ayogedde. Mu ssaala ye ey’okulabirako, Yesu teyayogera kintu kyonna kitasaana. (Luk. 11:2-4) Era teyayogera ku byetaago oba ku bizibu bya buli muntu eyali amuwuliriza. N’olwekyo, si kirungi kwogera ku byetaago bya bantu kinnoomu nga tukiikiridde abalala mu kusaba, oba okwogera ku nsonga z’abalala ez’ekyama.

19. Kiki kye tulina okujjukira nga tusaba mu kibiina?

19 Bwe wabaawo atukiikiridde mu kusaba, tusaanidde okulaga nti ‘tutya Katonda’ era nti tumuwa ekitiibwa. (1 Peet. 2:17) Waliwo ebintu ebitaba bibi bwe bikolerwa mu kifo ekituufu naye nga tebisaana kukolerwa mu nkuŋŋaana za Kikristaayo. (Mub. 3:1) Ng’ekyokulabirako, singa abantu abawerako bakwatagana emikono mu kusaba, wayinza okubaawo abakitwala obubi, oluusi ng’abamu ku bo bagenyi abatali ba nzikiriza yaffe. Kiyinza obutaba kibi omwami ne mukyala we bwe bakwatagana emikono, naye ate bwe beekwata gamba nga mu kiwato, ababalaba bayinza okwesittala. Bayinza okulowooza nti abafumbo abo bali mu kulagaŋŋana mukwano mu kifo ky’okuwa Yakuwa ekitiibwa. N’olwekyo, ka okutya Katonda kutukubirize ‘okukola byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa,’ twewale okukola ebintu ebyesittaza abalala.​—1 Kol. 10:31, 32; 2 Kol. 6:3.

Tuyinza Kwogera Ki nga Tusaba?

20. Oyinza kunnyonnyola otya ebiri mu Abaruumi 8:26, 27?

20 Oluusi tuyinza obutamanya kya kwogera nga tusaba. Pawulo yawandiika nti: “Kye tusaanidde okusaba nga bwe twagala tetukimanya, naye omwoyo [omutukuvu] gwennyini gwegayirira ku lwaffe bwe tuba tusinda wadde ng’ebituleetera okusinda tetubyogera. [Katonda] oyo akebera omutima amanyi ekigendererwa ky’omwoyo.” (Bar. 8:26, 27) Yakuwa yaluŋŋamya essaala nnyingi ne ziwandiikibwa mu Baibuli. Akitwala nti ebiri mu ssaala ezo naffe twandyagadde okubisaba era bw’atyo abituukiriza. Yakuwa atumanyi bulungi era amanyi n’amakulu agali mu ebyo abawandiisi ba Baibuli bye baawandiika nga baluŋŋamizibwa omwoyo gwe. Addamu okusaba kwaffe omwoyo bwe “gwegayirira” ku lwaffe. Naye bwe tugenda tweyongera okutegeera Ekigambo kya Katonda, bye tusaanidde okwogera nga tusaba bituggira mangu.

21. Biki bye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Nga bwe twalabye, essaala zaffe ziraga enkolagana yaffe ne Yakuwa bw’eyimiridde. Ziyinza okulaga obanga enkolagana yaffe ne Yakuwa nnungi era obanga tumanyi bulungi Ekigambo kye. (Yak. 4:8) Mu kitundu ekiddako, tujja kwekenneenya ezimu ku ssaala eziri mu Baibuli. Okwetegereza essaala ezo ezaaluŋŋamizibwa kinaatuyamba kitya mu kusaba Katonda?

Wandizzeemu Otya?

• Tusaanidde kwoleka ki nga tusaba Yakuwa?

• Lwaki tusaanidde okusabira bakkiriza bannaffe?

• Essaala zaffe ziraga ki ku nkolagana yaffe ne Yakuwa era ne ku biruubirirwa byaffe?

• Kiki kye tulina okujjukira nga tusaba mu kibiina?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Otendereza Yakuwa bulijjo era omwebaza?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Tusaanidde okulaga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa nga tusaba

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share